< Marcum 7 >
1 Et conveniunt ad eum Pharisæi, et quidam de scribis, venientes ab Ierosolymis.
Awo abafalisaayo n’abannyonnyozi b’amateeka abamu abaali bavudde e Yerusaalemi ne bakuŋŋaanira awali Yesu.
2 Et cum vidissent quosdam ex discipulis eius communibus manibus, id est non lotis, manducare panes, vituperaverunt.
Ne balaba abamu ku bayigirizwa be nga balya tebanaabye mu ngalo.
3 Pharisæi enim, et omnes Iudæi, nisi crebro laverint manus, non manducant, tenentes traditionem seniorum:
Kubanga Abafalisaayo n’Abayudaaya bonna tebaalyanga nga tebasoose kunaaba mu ngalo n’obwegendereza ng’empisa zaabwe bwe zaali.
4 et a foro nisi baptizentur, non comedunt: et alia multa sunt, quæ tradita sunt illis servare, baptismata calicum, et urceorum, et æramentorum, et lectorum:
Era bwe baddanga eka nga bava mu katale, ekyo kye baasookanga okukola nga tebannaba kukwata ku kyakulya kyonna. Waliwo n’obulombolombo obulala bwe baagobereranga ng’okulongoosa ensuwa zaabwe, n’ebikopo, n’ebbinika n’essowaani, n’ebirala bingi.
5 et interrogabant eum Pharisæi, et scribæ: Quare discipuli tui non ambulant iuxta traditionem seniorum, sed communibus manibus manducant panem?
Awo Abafalisaayo n’abannyonnyozi b’amateeka ne babuuza Yesu nti, “Lwaki abayigirizwa bo tebagoberera mpisa za bajjajjaffe ez’edda? Kubanga balya nga tebanaabye mu ngalo.”
6 At ille respondens, dixit eis: Bene prophetavit Isaias de vobis hypocritis, sicut scriptum est: Populus hic labiis me honorat, cor autem eorum longe est a me.
Yesu n’abaddamu nti, “Bannanfuusi mmwe! Nnabbi Isaaya yaboogerako bulungi ebyobunnabbi bwe yagamba nti, “‘Abantu bano banzisaamu ekitiibwa kya ku mimwa, naye emitima gyabwe tegindiiko.
7 In vanum autem me colunt, docentes doctrinas, et præcepta hominum.
Okusinza kwabwe tekuliimu nsa; kubanga bayigiriza bulombolombo bwabwe.’
8 Relinquentes enim mandatum Dei, tenetis traditionem hominum, baptismata urceorum, et calicum: et alia similia his facitis multa.
Muleka ebiragiro ebiva eri Katonda ne mugoberera obulombolombo bw’abantu.”
9 Et dicebat illis: Bene irritum facitis præceptum Dei, ut traditionem vestram servetis.
N’abagamba nate nti, “Munyooma ekiragiro kya Katonda, ne muggumiza obulombolombo bwammwe.
10 Moyses enim dixit: Honora patrem tuum, et matrem tuam. Et: Qui maledixerit patri, vel matri, morte moriatur.
Musa yagamba nti, ‘Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa.’ Era n’agamba nti, ‘Omuntu yenna ayogera obubi ku kitaawe oba nnyina anattibwanga.’
11 Vos autem dicitis: Si dixerit homo patri, aut matri, Corban, (quod est donum) quodcumque ex me, tibi profuerit:
Naye mmwe mugamba nti kituufu omuntu okulagajjalira bakadde be nga bali mu kwetaaga n’abagamba bugambi nti, ‘Mmunsonyiwe, kubanga kye nandibawadde ye Korubaani.’”
12 et ultra non dimittitis eum quidquam facere patri suo, aut matri,
“Omuntu temumukkiriza kubeerako ky’akolera kitaawe oba nnyina.
13 rescindentes verbum Dei per traditionem vestram, quam tradidistis: et similia huiusmodi multa facitis.
Bwe mutyo munyooma ekigambo kya Katonda mulyoke mutuukirize obulombolombo bwammwe bwe mwaweebwa. N’ebirala bingi ebiri ng’ebyo bye mukola.”
14 Et advocans iterum turbam, dicebat illis: Audite me omnes, et intelligite.
Awo Yesu n’ayita ekibiina ky’abantu n’abagamba nti, “Mmwe mwenna, mumpulirize, era mutegeere.
15 Nihil est extra hominem introiens in eum, quod possit eum coinquinare, sed quæ de homine procedunt illa sunt, quæ coinquinant hominem.
Ebintu ebiyingira mu muntu si bye byonoona empisa ze, wabula ebyo ebiva mu mutima gwe bye bizoonoona.
16 Si quis habet aures audiendi, audiat.
(Omuntu alina amatu agawulira awulirize.)”
17 Et cum introisset in domum a turba, interrogabant eum discipuli eius parabolam.
Yesu n’aviira ekibiina n’ayingira mu nnyumba, abayigirizwa be ne bamubuuza amakulu g’ebigambo bye yayogera.
18 Et ait illis: Sic et vos imprudentes estis? Non intelligitis quia omne extrinsecus introiens in hominem, non potest eum coinquinare?
N’abaddamu nti, “Nammwe temutegedde? Temutegeera nti buli kintu ekiyingira mu muntu si kye kimwonoona?
19 Quia non intrat in cor eius, sed in ventrum vadit, et in secessum exit, purgans omnes escas.
Olw’okuba nga tekiyingira mu mutima gwe naye kiyingira mu lubuto lwe ne kiryoka kigenda mu kabuyonjo.” Mu kwogera atyo Yesu yakakasa nga buli kyakulya bwe kiri ekirongoofu.
20 Dicebat autem, quoniam quæ de homine exeunt, illa coinquinant hominem.
Era n’ayongerako na bino nti, “Ebirowoozo by’omuntu bye bimwonoona.
21 Ab intus enim de corde hominum malæ cogitationes procedunt, adulteria, fornicationes, homicidia,
Kubanga mu mutima gw’omuntu mwe muva ebirowoozo ebibi eby’obukaba, n’obubbi, n’obutemu, n’obwenzi,
22 furta, avaritiæ, nequitiæ, dolus, impudicitiæ, oculus malus, blasphemia, superbia, stultitia.
n’okwegomba, n’omutima omubi, n’obukuusa, n’obumenyi bw’amateeka, n’obuggya, n’okusekeeterera, n’obusirusiru.
23 Omnia hæc mala ab intus procedunt, et coinquinant hominem.
Ebibi bino byonna biva munda mu muntu ne bimwonoona.”
24 Et inde surgens abiit in fines Tyri, et Sidonis: et ingressus domum, neminem voluit scire, et non potuit latere.
Awo Yesu n’alaga mu bitundu by’e Ttuulo, n’atayagala kitegeerekeke nti ali mu bitundu ebyo, naye ne kitasoboka.
25 Mulier enim statim ut audivit de eo, cuius filia habebat spiritum immundum, intravit, et procidit ad pedes eius.
Omukazi eyalina muwala we ng’aliko omwoyo omubi, olwawulira nga Yesu yaakatuuka, n’ajja eri Yesu, n’agwa ku bigere bye.
26 Erat enim mulier Gentilis, Syrophœnissa genere. Et rogabat eum ut dæmonium eiiceret de filia eius.
Omukazi teyali Muyudaaya, yali Musulofoyiniiki, n’amwegayirira agobe dayimooni ku mwana we.
27 Qui dixit illi: Sine prius saturari filios: non est enim bonum sumere panem filiorum, et mittere canibus.
Yesu n’agamba omukazi nti, “Omwana asaana asoke akkute, kubanga tekiba kituufu okuddira emmere y’omwana okugisuulira embwa.”
28 At illa respondit, et dixit illi: Utique Domine, nam et catelli comedunt sub mensa de micis puerorum.
Naye omukazi n’amuddamu nti, “Ekyo bwe kiri, ssebo, naye era n’embwa ezibeera wansi mu mmeeza, ziweebwa ku bukunkumuka obuva ku ssowaani z’abaana.”
29 Et ait illi: Propter hunc sermonem vade, exiit dæmonium a filia tua.
Yesu n’amugamba nti, “Olw’ekigambo ekyo, weddireyo eka, kubanga dayimooni avudde ku muwala wo.”
30 Et cum abiisset domum suam, invenit puellam iacentem supra lectum, et dæmonium exiisse.
Omukazi bwe yaddayo eka yasanga muwala we agalamidde awo ku kitanda, nga muteefu era nga dayimooni amuvuddeko.
31 Et iterum exiens de finibus Tyri, venit per Sidonem ad Mare Galilææ inter medios fines Decapoleos.
Yesu bwe yava mu Ttuulo n’agenda e Sidoni, eyo gye yava n’addayo ku nnyanja ey’e Ggaliraaya ng’ayitira mu “Bibuga Ekkumi” (Dekapoli).
32 Et adducunt ei surdum, et mutum, et deprecabantur eum, ut imponat illi manum.
Awo ne bamuleetera omusajja omuggavu w’amatu ate nga tayogera, abantu bonna ne beegayirira Yesu amusseeko emikono gye amuwonye.
33 Et apprehendens eum de turba seorsum, misit digitos suos in auriculas eius: et expuens, tetigit linguam eius:
Yesu n’aggya omusajja mu bantu n’amulaza wabbali, n’assa engalo ze mu matu g’omusajja; n’awanda amalusu, n’agasiiga n’olunwe lwe ku lulimi lw’omusajja.
34 et suscipiens in cælum, ingemuit, et ait illi: Ephphetha, quod est ad aperire.
Awo Yesu n’atunula waggulu n’assa ekikkowe, n’alyoka alagira omusajja nti, “Efasa!” ekitegeeza nti, “Gguka.”
35 Et statim apertæ sunt aures eius, et solutum est vinculum linguæ eius, et loquebatur recte.
Amangwago amatu g’omusajja ne gagguka n’awulira buli kintu era n’ayogera bulungi!
36 Et præcepit illis ne cui dicerent. Quanto autem eis præcipiebat, tanto magis plus prædicabant:
Yesu n’akuutira ekibiina baleme kutegeezaako balala ku bigambo ebyo okubisaasaanya, naye bo ne beeyongera okutegeeza.
37 et eo amplius admirabantur, dicentes: Bene omnia fecit: et surdos fecit audire, et mutos loqui.
Kye yakola kyali kibayitiriddeko. Ne boogera nga batenda Yesu nti, “Buli ky’akola kya kyewuunyo, aggula n’amatu ga bakiggala n’ayogeza ne bakasiru!”