< Genesis 27 >
1 Senuit autem Isaac, et caligaverunt oculi eius, et videre non poterat: vocavitque Esau filium suum maiorem, et dixit ei: Fili mi? Qui respondit: Adsum.
Awo Isaaka bwe yali ng’akaddiye nnyo n’amaaso ge nga gayimbadde, nga takyayinza kulaba, n’ayita Esawu mutabani we omukulu, n’amugamba nti, “Mutabani,” n’amuddamu nti, “Nze nzuuno.”
2 Cui pater: Vides, inquit, quod senuerim, et ignorem diem mortis meæ.
Isaaka n’amugamba nti, “Laba, nkaddiye, simanyi lwe ndifa.
3 Sume arma tua, pharetram, et arcum, et egredere foras: cumque venatu aliquid apprehenderis,
Kale kaakano kwata by’oyizza, omutego gwo n’obusaale bwo, ogende mu nsiko onjiggire yo omuyiggo.
4 fac mihi inde pulmentum sicut velle me nosti, et affer ut comedam: et benedicat tibi anima mea antequam moriar.
Onteekereteekere ekyokulya ekiwooma ennyo kye njagala, okindeetere nkirye, ndyoke nkusabire omukisa nga sinnafa.”
5 Quod cum audisset Rebecca, et ille abiisset in agrum ut iussionem patris impleret,
Ne Lebbeeka yali awo ng’awuliriza, Isaaka ng’agamba mutabani we omukulu Esawu. Awo Esawu bwe yagenda mu nsiko okuyigga omuyiggo aguleete,
6 dixit filio suo Iacob: Audivi patrem tuum loquentem cum Esau fratre tuo, et dicentem ei:
Lebbeeka n’agamba mutabani we Yakobo owookubiri nti, “Mpulidde kitaawo ng’agamba muganda wo Esawu nti,
7 Affer mihi de venatione tua, et fac cibos ut comedam, et benedicam tibi coram Domino antequam moriar.
‘Ndeetera omuyiggo onteekereteekere ekyokulya ekiwooma obulungi, nkirye, ndyoke nkusabire omukisa eri Mukama nga sinnafa.’
8 Nunc ergo fili mi, acquiesce consiliis meis:
Kale nno kaakano mwana wange wulira kye nkugamba.
9 et pergens ad gregem, affer mihi duos hœdos optimos, ut faciam ex eis escas patri tuo, quibus libenter vescitur:
Genda eri ekisibo ondeeteremu embuzi bbiri ennungi, nfumbire kitaawo ekyokulya ekiwooma, nga bw’ayagala,
10 quas cum intuleris, et comederit, benedicat tibi priusquam moriatur.
okitwalire kitaawo akirye, alyoke akusabire omukisa nga tannafa.”
11 Cui ille respondit: Nosti quod Esau frater meus homo pilosus sit, et ego lenis:
Naye Yakobo n’agamba Lebbeeka nnyina nti, “Muganda wange Esawu musajja wa byoya, so nga nze ndi muweweevu.
12 si attrectaverit me pater meus, et senserit, timeo ne putet me sibi voluisse illudere, et inducam super me maledictionem pro benedictione.
Singa kitange anampeeweetako, siifuuke mulimba gy’ali, ne nfuna ekikolimo mu kifo ky’okufuna omukisa?”
13 Ad quem mater: In me sit, ait, ista maledictio, fili mi: tantum audi vocem meam, et pergens affer quæ dixi.
Nnyina n’amuddamu nti, “Ekikolimo kyo kibe ku nze mwana wange; wulira ekigambo kyange ogende ozindeetere.”
14 Abiit, et attulit, deditque matri. Paravit illa cibos, sicut velle noverat patrem illius.
Awo Yakobo n’agenda, n’azikwata n’azireeteera nnyina, n’ateekerateekera Isaaka ekyokulya ekiwooma nga bwe yayagala.
15 Et vestibus Esau valde bonis, quas apud se habebat domi, induit eum:
Lebbeeka n’addira ebyambalo ebisinga obulungi ebya Esawu, mutabani we omukulu, ebyali mu nnyumba; n’abyambaza Yakobo mutabani we omuto,
16 pelliculasque hœdorum circumdedit manibus, et colli nuda protexit.
era n’addira n’amaliba g’embuzi n’agamwambaza ku mikono ne ku bitundu ebyobulago ebiweweera.
17 Deditque pulmentum, et panes, quos coxerat, tradidit.
N’alyoka addira ekyokulya ekiwooma n’omugaati bye yafumba, n’abikwasa Yakobo mutabani we.
18 Quibus illatis, dixit: Pater mi? At ille respondit: Audio. Quis es tu fili mi?
Awo Yakobo n’agenda eri kitaawe, n’amugamba nti, “Kitange nzuuno.” Ye n’amuddamu nti, “Ggwe ani mwana wange?”
19 Dixitque Iacob: Ego sum primogenitus tuus Esau: feci sicut præcepisti mihi: surge, sede, et comede de venatione mea, ut benedicat mihi anima tua.
Yakobo n’agamba kitaawe nti, “Nze Esawu omwana wo omubereberye, nkoze nga bw’oŋŋambye. Kale kaakano tuula olye ku muyiggo gwange olyoke onsabire omukisa.”
20 Rursumque Isaac ad filium suum: Quo modo, inquit, tam cito invenire potuisti, fili mi? Qui respondit: Voluntas Dei fuit ut cito occurreret mihi quod volebam:
Naye Isaaka n’abuuza mutabani we nti, “Ogufunye otya amangu bw’otyo?” N’amuddamu nti, “Mukama Katonda wo ampadde omukisa.”
21 Dixitque Isaac: Accede huc, ut tangam te fili mi, et probem utrum tu sis filius meus Esau, an non.
Awo Isaaka n’agamba mutabani we nti, “Sembera wendi mutabani, nkukwateko, ntegeerere ddala nga ggwe mutabani wange Esawu.”
22 Accessit ille ad patrem, et palpato eo, dixit Isaac: Vox quidem, vox Iacob est: sed manus, manus sunt Esau.
Yakobo kwe kusembera awali Isaaka kitaawe. Bwe yamuwulira n’agamba nti, “Eddoboozi lya Yakobo naye emikono gya Esawu.”
23 Et non cognovit eum, quia pilosæ manus similitudinem maioris expresserant. Benedicens ergo illi,
N’atamutegeera kubanga emikono gye gyaliko obwoya ng’egya Esawu muganda we, kwe kumuwa omukisa.
24 ait: Tu es filius meus Esau? Respondit: Ego sum.
Isaaka n’amubuuza nti, “Ddala gwe mwana wange Esawu?” N’amuddamu nti, “Ye nze.”
25 At ille: Affer mihi, inquit, cibos de venatione tua, fili mi, ut benedicat tibi anima mea. Quos cum oblatos comedisset, obtulit ei etiam vinum. Quo hausto,
N’alyoka amugamba nti, “Kale gundeetere, ndye ku muyiggo gwa mutabani wange, nkusabire omukisa.” N’alyoka agumuleetera, n’alya era n’amuleetera n’envinnyo n’anywa.
26 dixit ad eum: Accede ad me, et da mihi osculum, fili mi.
Awo kitaawe Isaaka n’amugamba nti, “Sembera onnywegere mwana wange.”
27 Accessit, et osculatus est eum. Statimque ut sensit vestimentorum illius fragrantiam, benedicens illi, ait: Ecce odor filii mei sicut odor agri pleni, cui benedixit Dominus.
N’amusemberera n’amunywegera, kitaawe n’awulira akaloosa ke ngoye ze n’amuwa omukisa ng’agamba nti, “Wulira akaloosa k’omwana wange, kali ng’akaloosa k’ennimiro Mukama gy’awadde omukisa.
28 Det tibi Deus de rore cæli, et de pinguedine terræ abundantiam frumenti et vini.
Katonda akuwe omusulo ogw’omu ggulu, n’obugimu bw’ensi, era akuwe emmere ey’empeke nnyingi n’envinnyo.
29 Et serviant tibi populi, et adorent te tribus: esto dominus fratrum tuorum, et incurventur ante te filii matris tuæ. Qui maledixerit tibi, sit ille maledictus: et qui benedixerit tibi, benedictionibus repleatur.
Abantu bakuweerezenga, n’amawanga gakuvuunamirenga. Fuganga baganda bo, ne batabani ba nnyoko bakuvuunamirenga. Akolimirwe oyo anaakukolimiranga era aweebwenga omukisa oyo anaakusabiranga omukisa.”
30 Vix Isaac sermonem impleverat: et egresso Iacob foras, venit Esau,
Amangu ddala nga Isaaka yakamala okuwa Yakobo omukisa, era nga Yakobo tannava wali Isaaka kitaabwe, Esawu n’atuuka ng’ava okuyigga.
31 coctosque de venatione cibos intulit patri, dicens: Surge pater mi, et comede de venatione filii tui: ut benedicat mihi anima tua.
Era naye n’ateekateeka emmere ey’akawoowo n’agireetera kitaawe. N’agamba kitaawe nti, “Kitange golokoka olye ku muyiggo gw’omwana wo olyoke onsabire omukisa.”
32 Dixitque illi Isaac: Quis enim es tu? Qui respondit: Ego sum filius tuus primogenitus Esau.
Kitaawe Isaaka n’amubuuza nti, “Gwe ani?” Kwe kumuddamu nti, “Nze omwana wo omubereberye Esawu.”
33 Expavit Isaac stupore vehementi: et ultra quam credi potest, admirans, ait: Quis igitur ille est qui dudum captam venationem attulit mihi, et comedi ex omnibus priusquam tu venires? benedixique ei, et erit benedictus.
Olwo Isaaka n’akankana nnyo n’abuuza nti, “Ani oyo ayizze omuyiggo n’agundeetera ne ngulya ne ngumalawo nga tonnajja ne mmusabira omukisa? Era ddala ajja kuweebwa omukisa.”
34 Auditis Esau sermonibus patris, irrugiit clamore magno: et consternatus, ait: Benedic etiam et mihi, pater mi.
Awo Esawu bwe yawulira ebigambo bya kitaawe ebyo, n’atulika n’akaaba nnyo nnyini, n’agamba kitaawe nti, “Nange mpa omukisa, ayi kitange.”
35 Qui ait: Venit germanus tuus fraudulenter, et accepit benedictionem tuam.
Naye n’amuddamu nti, “Muganda wo azze n’annimba era akututteko omukisa gwo.”
36 At ille subiunxit: Iuste vocatum est nomen eius Iacob: supplantavit enim me en altera vice: primogenita mea ante tulit, et nunc secundo surripuit benedictionem meam. Rursumque ad patrem: Numquid non reservasti, ait, et mihi benedictionem?
Esawu n’ayogera nti, “Teyatuumibwa linnya lye Yakobo? Laba, anyingiridde emirundi gino gyombi; yanziggyako eby’obukulu bwange, ate kaakano antutteko n’omukisa gwange.” Kwe kubuuza kitaawe nti, “Tondekeddeewo mukisa n’akatono?”
37 Respondit Isaac: Illum constitui dominum tuum, et omnes fratres eius servituti illius subiugavi: frumento et vino stabilivi eum, et tibi post hæc, fili mi, ultra quid faciam?
Isaaka n’addamu Esawu nti, “Laba, mmufudde mukama wo, era mmuwadde baganda be bonna babe baweereza be, era mmusabidde abe n’emmere ey’empeke wamu n’envinnyo nga bingi ddala. Kale nnaakukolera ki mwana wange?”
38 Cui Esau: Num unam, inquit, tantum benedictionem habes, pater? mihi quoque obsecro ut benedicas. Cumque eiulatu magno fleret,
Esawu n’abuuza kitaawe nti, “Tolinaawo mukisa na gumu kitange? Nange mpa omukisa, ayi kitange.” Bw’atyo Esawu n’ayimusa eddoboozi lye n’akaaba.
39 motus Isaac, dixit ad eum: In pinguedine terræ, et in rore cæli desuper
Awo Isaaka kitaawe n’amuddamu nti, “Laba, onooberanga mu nsi enkalu, era toofunenga musulo guva waggulu mu ggulu.
40 erit benedictio tua. Vives in gladio, et fratri tuo servies: tempusque veniet, cum excutias, et solvas iugum eius de cervicibus tuis.
Ekitala kyo kye kinaakukuumanga, era onooweerezanga muganda wo. Naye bw’olimwesimattulako, oliba weefunidde eddembe.”
41 Oderat ergo semper Esau Iacob pro benedictione qua benedixerat ei pater: dixitque in corde suo: Venient dies luctus patris mei, et occidam Iacob fratrem meum.
Awo Esawu n’akyawa muganda we Yakobo ng’amulanga omukisa kitaabwe gwe yamuwa. Esawu n’alyoka ayogera nti, “Ennaku ez’okukungubagira kitange zinaatera okutuuka. Bwe zirituuka, muganda wange Yakobo nga mutta.”
42 Nunciata sunt hæc Rebeccæ: quæ mittens et vocans Iacob filium suum, dixit ad eum: Ecce Esau frater tuus minatur ut occidat te.
Kyokka Lebbeeka n’atuusibwako ebigambo bya Esawu mutabani we omukulu; kwe kutumya Yakobo mutabani we omuto, n’amugamba nti, “Laba, Esawu muganda wo ateekateeka okukutta.
43 Nunc ergo, fili mi, audi vocem meam, et consurgens fuge ad Laban fratrem meum in Haran:
Kale nno kaakano mwana wange, okole nga bwe nkugamba: Golokoka oddukire ewa, mwannyinaze Labbaani ali mu Kalani,
44 habitabisque cum eo dies paucos, donec requiescat furor fratris tui,
obeereko eyo, okutuusa obusungu bwa muganda wo nga bukkakkanye.
45 et cesset indignatio eius, obliviscaturque eorum quæ fecisti in eum: postea mittam, et adducam te inde huc. Cur utroque orbabor filio in uno die?
Obusungu bwe buliba bumuweddeko, nga yeerabidde ky’omukoze, ne ndyoka ntuma ne bakunona. Kale lwaki mbafiirwa mwembi ku lunaku olumu?”
46 Dixitque Rebecca ad Isaac: Tædet me vitæ meæ propter filias Heth: si acceperit Iacob uxorem de stirpe huius terræ, nolo vivere.
Lebbeeka n’alyoka ategeeza Isaaka nti, “Obulamu bwange bwetamiddwa olw’abakazi bano Abakiiti. Singa Yakobo awasa omu ku bakazi Abakiiti, nga bano, omu ku bakazi aba muno, obulamu bwange buliba tebukyangasa.”