< Actuum Apostolorum 23 >

1 Intendens autem in concilium Paulus ait: Viri fratres, ego omni conscientia bona conversatus sum ante Deum usque in hodiernum diem.
Awo Pawulo n’atunuulira Olukiiko enkaliriza, n’agamba nti, “Baganda bange, obulamu bwange bwonna mbadde ntambulira mu makubo ga Katonda okutuusiza ddala ne ku lunaku lwa leero.”
2 Princeps autem sacerdotum Ananias præcepit astantibus sibi percutere os eius.
Bwe yayogera atyo, Ananiya, Kabona Asinga Obukulu, n’alagira abo abayimiridde okumpi ne Pawulo bamukubemu oluyi ku mimwa.
3 Tunc Paulus dixit ad eum: Percutiet te Deus, paries dealbate. Et tu sedens iudicas me secundum legem, et contra legem iubes me percuti?
Pawulo n’amugamba nti, “Naawe Katonda agenda kukukuba oluyi, oli ng’ekisenge ekiva okusiigibwa ennoni! Oli mulamuzi ki ggwe amenya amateeka ng’olagira bankube mu ngeri eyo, so ng’osuubirwa okugagoberera ng’onsalira omusango?”
4 Et qui astabant dixerunt: Summum sacerdotem Dei maledicis.
Abo abaali bayimiridde okumpi ne Pawulo ne bamugamba nti, “Bw’otyo bw’oyogera ne Kabona Asinga Obukulu owa Katonda?”
5 Dixit autem Paulus: Nesciebam fratres quia princeps est sacerdotum. Scriptum est enim: Principem populi tui non maledices.
Pawulo n’addamu nti, “Baganda bange, sitegedde nga ye Kabona Asinga Obukulu, kubanga Ebyawandiikibwa bigamba nti, ‘Toyogeranga bubi ku bafuzi bammwe.’”
6 Sciens autem Paulus quia una pars esset Sadducæorum, et altera Pharisæorum, exclamavit in concilio: Viri fratres, ego Pharisæus sum, filius Pharisæorum, de spe et resurrectione mortuorum ego iudicor.
Awo Pawulo bwe yalaba ng’abamu abali mu Lukiiko Basaddukaayo n’abalala nga Bafalisaayo, n’ayogerera mu ddoboozi ery’omwanguka eri olukiiko nti, “Baganda bange, nze ndi Mufalisaayo, ne bakadde bange Bafalisaayo! Kaakano mpozesebwa lwa kubanga nzikiriza nga waliwo okuzuukira kw’abafu!”
7 Et cum hæc dixisset, facta est dissensio inter Pharisæos, et Sadducæos, et soluta est multitudo.
Bwe baawulira ebyo, Olukiiko ne lwawukanamu wabiri ne wabaawo empaka za maanyi wakati w’Abafalisaayo n’Abasaddukaayo,
8 Sadducæi enim dicunt, non esse resurrectionem, neque Angelum, neque spiritum: Pharisæi autem utraque confitentur.
kubanga Abasaddukaayo bagamba nti tewali kuzuukira wadde bamalayika, wadde omwoyo ogutafa, naye bo Abafalisaayo ebyo byonna babikkiriza.
9 Factus est autem clamor magnus. Et surgentes quidam Pharisæorum, pugnabant, dicentes: Nihil mali invenimus in homine isto: quid si spiritus locutus est ei, aut angelus?
Awo empaka ne zikwata wansi ne waggulu, abamu ku bannyonnyozi b’amateeka, nga ba mu kibiina kya Bafalisaayo, ne beekubira ku ludda lwa Pawulo nga bagamba nti, “Ffe tetulaba kisobyo kyonna omusajja ono ky’akoze. Obanga malayika yayogera naye, oba Mwoyo, ogwo nagwo guba musango?”
10 Et cum magna dissensio facta esset, timens Tribunus ne discerperetur Paulus ab ipsis, iussit milities descendere, et rapere eum de medio eorum, ac deducere eum in castra.
Ne beeyongera nnyo okuwakana ng’abamu Pawulo bamusika bamulaza eno, ng’abalala bamulaza eri. Okutuusa omuduumizi w’abaserikale lwe yatandika okutya ng’alaba Pawulo baagala kumuyuzaamu wabiri, n’alagira abaserikale be bagende bamubaggyeko n’amaanyi bamuzzeeyo munda mu nkambi yaabwe.
11 Sequenti autem nocte assistens ei Dominus, ait: Constans esto: sicut enim testificatus es de me in Ierusalem, sic te oportet et Romæ testificari.
Ekiro ekyo Mukama waffe n’ayimirira awali Pawulo, n’amugamba nti, “Guma omwoyo, kubanga nga bw’onjulidde n’obuvumu wano mu Yerusaalemi, era bw’otyo bw’onookola ne mu Ruumi.”
12 Facta autem die collegerunt se quidam ex Iudæis, et devoverunt se dicentes, neque manducaturos, neque bibaturos donec occiderent Paulum.
Enkeera Abayudaaya ne bakuŋŋaana ne bakola olukwe. Ne beeyama nti tebajja kulya ku kintu kyonna oba okunywa, wabula nga bamaze okutta Pawulo!
13 Erant autem plus quam quadraginta viri, qui hanc coniurationem fecerant:
Omuwendo gw’abantu abaali mu lukwe luno gwasinga ku makumi ana.
14 qui accesserunt ad principes sacerdotum, et seniores, et dixerunt: Devotione devovimus nos nihil gustaturos, donec occidamus Paulum.
Awo ne bagenda eri bakabona abakulu n’abakulembeze baabwe ne babategeeza nti, “Twerayiridde obutalya kintu kyonna okutuusa nga tusse Pawulo.
15 Nunc ergo vos notum facite Tribuno cum concilio, ut producat illum ad vos, tamquam aliquid certius cognituri de eo. Nos vero prius quam appropiet, parati sumus interficere illum.
Noolwekyo mugambe omuduumizi w’abaserikale akomyewo Pawulo mu Lukiiko. Mumugamba nti waliwo ebibuuzo bitonotono bye mwagala okwongera okumubuuza. Ffe tulyoke tumuttire mu kkubo nga bamuleeta.”
16 Quod cum audisset filius sororis Pauli insidias, venit, et intravit in castra, nunciavitque Paulo.
Naye mutabani wa mwannyina Pawulo bwe yategeera olukwe olwo n’agenda mu nkambi y’abaserikale n’ategeeza Pawulo.
17 Vocans autem Paulus ad se unum ex Centurionibus, ait: Adolescentem hunc perduc ad Tribunum, habet enim aliquid indicare illi.
Awo Pawulo n’ayita omuserikale atwala banne n’amugamba nti, “Twala omulenzi ono eri omuduumizi wammwe, kubanga alina ekintu ekikulu ky’ayagala okumutegeeza.”
18 Et ille quidem assumens eum duxit ad Tribunum, et ait: Vinctus Paulus rogavit me hunc adolescentem perducere ad te, habentem aliquid loqui tibi.
Omuserikale n’atwala omulenzi eri omuduumizi waabwe n’amugamba nti, “Omusibe Pawulo ampise n’antuma ndeete omulenzi ono gy’oli ng’alina ky’ayagala okukutegeeza.”
19 Apprehendens autem Tribunus manum illius, secessit cum eo seorsum, et interrogavit illum: Quid est, quod habes indicare mihi?
Omuduumizi w’abaserikale n’akwata omulenzi ku mukono n’amuzza wabbali n’amubuuza nti, “Kiki ky’oyagala okuntegeeza?”
20 Ille autem dixit: Iudæis convenit rogare te, ut crastina die producas Paulum in concilium, quasi aliquid certius inquisituri sint de illo:
Omulenzi n’amubuulira nti, “Enkya Abayudaaya bajja kukusaba ozzeeyo Pawulo mu Lukiiko lwabwe, nga beekwasiza ku kwagala abeeko ky’ayongera okwennyonnyolako.
21 tu vero ne credideris illis, insidiantur enim ei ex eis viri amplius quam quadraginta, qui se devoverunt non manducare, neque bibere donec interficiant eum: et nunc parati sunt, exspectantes promissum tuum.
Tokkiriza! Kubanga waliwo abasajja amakumi ana abajja okwekwekerera abaserikale bo abanaaba bamutwala, bamufubutukireko bamutte. Kubanga beerayiridde obutalya n’obutanywa okutuusa nga bamaze okumutta. Kaakano bali eyo nga basuubira nti onokkiriza.”
22 Tribunus igitur dimisit adolescentem, præcipiens ne cui loqueretur quoniam hæc nota sibi fecisset.
Omuduumizi w’abaserikale bwe yali asiibula omulenzi n’amukuutira nti, “Tobuulirako muntu yenna nti ontegeezezza ebintu bino.”
23 Et vocatis duobus Centurionibus, dixit illis: Parate milites ducentos ut eant usque Cæsaream, et equites septuaginta, et lancearios ducentos a tertia hora noctis:
Awo omuduumizi w’abaserikale n’ayita abamyuka be babiri n’abalagira nti, “Mutegeke ekibinja ky’abaserikale ebikumi bibiri, n’abeebagala embalaasi abaserikale nsanvu, n’ab’amafumu ebikumi bibiri, bagende e Kayisaliya ekiro kya leero ku ssaawa ssatu.
24 et iumenta præparate ut imponentes Paulum, salvum perducerent ad Felicem præsidem.
Mutegekeewo n’embalaasi Pawulo z’ajja okweyambisa mu lugendo alyoke atwalibwe bulungi atuusibwe mirembe ewa Gavana Ferikisi.”
25 Timuit enim ne forte raperent eum Iudæi, et occiderent, et ipse postea calumniam sustineret, tamquam accepturus pecuniam,
Awo n’awandiikira gavana ebbaluwa eno nti:
26 scribens epistolam continentem hæc: CLAUDIUS Lysias optimo Præsidi, Felici salutem.
Nze Kulawudiyo Lusiya, nkulamusa Oweekitiibwa Gavana Ferikisi.
27 Virum hunc comprehensum a Iudæis, et incipientem interfici ab eis, superveniens cum exercitu eripui, cognito quia Romanus est:
Omusajja ono Abayudaaya baamukwata, naye baali bagenda okumutta, nze kwe kuweerezaayo abaserikale bange ne bamutaasa, kubanga nnali ntegedde nga Muruumi.
28 Volensque scire causam, quam obiiciebant illi, deduxi eum in concilium eorum.
Awo ne mmutwala mu Lukiiko lwabwe ntegeere ekisobyo kye yali akoze.
29 Quem inveni accusari de quæstionibus legis ipsorum, nihil vero dignum morte aut vinculis habentem criminis.
Ne nvumbula ng’ensonga ze baali bamuvunaana zaali zifa ku bya kukkiriza kwabwe na by’amateeka gaabwe naye nga tezisaanyiza kussa muntu wadde okumusibya mu kkomera.
30 Et cum mihi perlatum esset de insidiis, quas paraverant illi, misi eum ad te: denuncians et accusatoribus ut dicant apud te, Vale.
Naye bwe nategeezebwa nti waliwo olukwe olw’okumutta, kwe kusalawo okukumuweereza, era nzija kulagira baleete ensonga zaabwe gy’oli.
31 Milites ergo secundum præceptum sibi, assumentes Paulum, duxerunt per noctem in Antipatridem.
Awo abaserikale ne basitula ekiro ekyo, nga bwe baalagirwa, ne batwala Pawulo ne batuuka mu Antipatuli.
32 Et postera die dimissis equitibus ut cum eo irent, reversi sunt ad castra.
Enkeera ekibinja eky’oku mbalaasi ne kitwala Pawulo e Kayisaliya, abaserikale abalala bo ne baddayo mu nkambi yaabwe.
33 Qui cum venissent Cæsaream, et tradidissent epistolam præsidi, statuerunt ante illum et Paulum.
Abaserikale ab’omu kibinja eky’oku mbalaasi bwe baatuuka e Kayisaliya ne batwala Pawulo ewa gavana n’ebbaluwa ne bagiwaayo.
34 Cum legisset autem, et interrogasset de qua provincia esset: et cognoscens quia de Cilicia,
Gavana bwe yamala okugisoma, n’abuuza Pawulo essaza mw’ava. Pawulo n’addamu nti, “Nva mu Kirukiya.”
35 Audiam te, inquit, cum accusatores tui venerint. Iussitque in prætorio Herodis custodiri eum.
Awo gavana n’amugamba nti, “Abakuvunaana bwe banaatuuka ne ndyoka mpulira ensonga zo mu bujjuvu.” N’alagira bagira bamukuumira mu kkomera eriri mu lubiri lwa Kerode.

< Actuum Apostolorum 23 >