< I Paralipomenon 28 >
1 Convocavit igitur David omnes principes Israel, duces tribuum, et præpositos turmarum, qui ministrabant regi: tribunos quoque et centuriones, et qui præerant substantiæ et possessionibus regis, filiosque suos cum eunuchis, et potentes, et robustissimos quosque in exercitu Ierusalem.
Dawudi n’akuŋŋaanya abakungu bonna aba Isirayiri e Yerusaalemi ng’omwo mwe muli abakulu b’ebika, n’abakulu b’ebitongole abaaweerezanga kabaka, n’abaduumizi ab’olukumi, n’abaduumizi ab’ekikumi, n’abakungu abaavunaanyizibwanga eby’obugagga n’amagana ebyali ebya kabaka ne batabani be, n’abakungu ab’omu lubiri, n’abasajja ab’amaanyi era n’abasajja bonna abazira.
2 Cumque surrexisset rex, et stetisset, ait: Audite me fratres mei, et populus meus: Cogitavi ut ædificarem domum, in qua requiesceret arca fœderis Domini, et scabellum pedum Dei nostri: et ad ædificandum, omnia præparavi.
Awo kabaka Dawudi n’ayimirira n’ayogera nti, “Mumpulirize baganda bange era abantu bange. Nnali nteseeteese mu mutima gwange okuzimbira essanduuko ey’endagaano ya Mukama n’entebe ey’ebigere bya Katonda, ennyumba, era nga nentegeka eyaayo ewedde okukolebwa.
3 Deus autem dixit mihi: Non ædificabis domum nomini meo, eo quod sis vir bellator, et sanguinem fuderis.
Naye Katonda n’aŋŋamba nti, ‘Tolinzimbira linnya lyange nnyumba, kubanga oli mutabaazi wa ntalo era wayiwa omusaayi.’
4 Sed elegit Dominus Deus Israel me de universa domo patris mei, ut essem rex super Israel in sempiternum: de Iuda enim elegit principes: porro de domo Iuda, domum patris mei: et de filiis patris mei, placuit ei ut me eligeret regem super cunctum Israel.
“Naye ate Mukama Katonda wa Isirayiri yannonda mu nnyumba ya kitange yonna okuba kabaka wa Isirayiri emirembe gyonna. Yalonda Yuda okuba omukulembeze, ne mu nnyumba ya Yuda n’alondamu ennyumba ya kitange, ne mu batabani ba kitange n’asiima okunfuula kabaka wa Isirayiri yenna.
5 Sed et de filiis meis (filios enim mihi multos dedit Dominus) elegit Salomonem filium meum, ut sederet in throno regni Domini super Israel,
Mu batabani bange bonna, kubanga Mukama ampadde bangi, Sulemaani mutabani wange gw’alonze okutuula ku ntebe ey’obwakabaka bwa Mukama mu Isirayiri.
6 dixitque mihi: Salomon filius tuus ædificabit domum meam, et atria mea: ipsum enim elegi mihi in filium, et ego ero ei in patrem.
Yaŋŋamba nti, ‘Sulemaani mutabani wo y’alizimba ennyumba yange n’empya zange, kubanga mmulonze okuba omwana wange, era nange n’abeeranga kitaawe.
7 Et firmabo regnum eius usque in æternum, si perseveraverit facere præcepta mea, et iudicia, sicut et hodie.
Ndinyweza obwakabaka bwe emirembe gyonna, bwatalirekayo okugondera ebiragiro byange n’amateeka gange nga bwe bigobelerwa mu nnaku zino.’
8 Nunc ergo coram universo cœtu Israel audiente Deo nostro, custodite, et perquirite cuncta mandata Domini Dei nostri: ut possideatis Terram bonam, et relinquatis eam filiis vestris post vos usque in sempiternum.
“Kaakano nkukuutira mu lujjudde lwonna olwa Isirayiri, ekuŋŋaaniro lya Mukama, ne Katonda waffe ng’awulira, nti weekuume okugondera ebiragiro ebya Mukama Katonda wo, olyoke olye ensi eno ennungi era (n’abazzukulu) n’abaana ab’obusika bwo bagisikirenga emirembe gyonna.
9 Tu autem Salomon fili mi, scito Deum patris tui, et servito ei corde perfecto, animo voluntario: omnia enim corda scrutatur Dominus, et universas mentium cogitationes intelligit. Si quæsieris eum, invenies: si autem dereliqueris eum, proiiciet te in æternum.
“Era Sulemaani mutabani wange tegeera Katonda wa kitaawo, omuweerezenga n’omutima gumu n’emmeeme yo yonna, kubanga Mukama akebera emitima, era ategeera okufumiitiriza okw’ebirowoozo. Bw’onoomunoonyanga, onoomulabanga, naye bw’onoomulekanga, anaakuvangako emirembe gyonna.
10 Nunc ergo quia elegit te Dominus ut ædificares domum Sanctuarii, confortare, et perfice.
Kaakano weekuume, kubanga Mukama akulonze okuzimba ennyumba ey’okusinzizangamu. Ba n’amaanyi, okole omulimu.”
11 Dedit autem David Salomoni filio suo descriptionem porticus, et templi, et cellariorum, et cœnaculi, et cubiculorum in adytis, et domus propitiationis,
Awo Dawudi n’akwasa Sulemaani mutabani we ekyokulabirako eky’ekisasi kya yeekaalu, n’ebizimbe byabyo, n’amawanika gaayo, n’ebisenge ebya waggulu, n’ebisenge eby’omunda, n’ekifo eky’entebe ey’okusaasira.
12 necnon et omnium quæ cogitaverat atriorum, et exedrarum per circuitum in thesauros domus Domini, et in thesauros sanctorum,
Yamuwa n’enteekateeka ya buli kintu nga eky’empya za yeekaalu ya Mukama, n’ebisenge, ebyali bigiriranye, n’amawanika ga yeekaalu ya Mukama, n’ebintu byonna ebyawongebwa, ng’Omwoyo bwe yali agitadde ku mutima gwe.
13 divisionumque Sacerdotalium et Leviticarum, in omnia opera domus Domini, et in universa vasa ministerii templi Domini.
Yamuwa n’ebiragiro eby’okugobereranga ku bibinja bya bakabona, n’Abaleevi, n’olw’omulimu gwonna ogw’okuweerezanga mu yeekaalu ya Mukama, n’olw’ebintu byonna ebyakozesebwanga mu kuweereza mu nnyumba ya Mukama.
14 Aurum in pondere per singula vasa ministerii. Argenti quoque pondus pro vasorum et operum diversitate.
Yawaayo ebipimo ebya zaabu olw’ebintu byonna ebya zaabu ebyasabwanga buli mulundi, n’ebipimo ebya ffeeza olw’ebintu byonna ebya ffeeza ebyakozesebwanga buli mulundi;
15 Sed et in candelabra aurea, et ad lucernas eorum, aurum pro mensura uniuscuiusque candelabri et lucernarum. Similiter et in candelabra argentea, et in lucernas eorum, pro diversitate mensuræ, pondus argenti tradidit.
n’ebipimo eby’ettabaaza eza zaabu, n’ettabaaza zaakwo, n’ebipimo ebya zaabu ebya buli kikondo n’ettabaaza yaakyo, n’ebipimo ebya buli kikondo ekya ffeeza n’ettabaaza yaakyo;
16 Aurum quoque dedit in mensas propositionis pro diversitate mensarum: similiter et argentum in alias mensas argenteas.
n’ebipimo ebya zaabu eby’emmeeza ez’emigaati emitukuze egy’okulaga, n’ebipimo ebya ffeeza eby’emmeeza eza ffeeza;
17 Ad fuscinulas quoque, et phialas, et thuribula ex auro purissimo, et leunculos aureos pro qualitate mensuræ pondus distribuit in leunculum, et leunculum. Similiter et in leones argenteos diversum argenti pondus separavit.
n’ebipimo ebya zaabu ennongoose eya wuuma, n’ebbakuli ezimasamasa, n’ekikopo, n’ebipimo ebya zaabu eby’ebbakuli eza zaabu, n’ebipimo ebya ffeeza eby’ebbakuli eza ffeeza;
18 Altari autem, in quo adoletur incensum, aurum purissimum dedit: ut ex ipso fieret similitudo quadrigæ Cherubim extendentium alas, et velantium arcam fœderis Domini.
n’ebipimo ebya zaabu ennongoose ey’ekyoto eky’obubaane. N’amuwa n’enteekateeka ey’eggaali, be bakerubi aba zaabu abanjala ebiwaawaatiro byabwe ne babikka ku ssanduuko ey’endagaano ya Mukama.
19 Omnia, inquit, venerunt scripta manu Domini ad me, ut intelligerem universa opera exemplaris.
Awo Dawudi n’ayogera nti, “Ebyo byonna biri mu buwandiike, kubanga omukono gwa Mukama gwali wamu nange, era yampa okukitegeerera ddala.”
20 Dixit quoque David Salomoni filio suo: Viriliter age, et confortare, et fac: ne timeas, et ne paveas: Dominus enim Deus meus tecum erit, et non dimittet te, nec derelinquet donec perficias omne opus ministerii domus Domini.
Dawudi n’ayongera n’agamba Sulemaani mutabani we nti, “Ba n’amaanyi era guma omwoyo, okole omulimu. Totya so totekemuka wadde okuggwamu omwoyo, kubanga Mukama Katonda, Katonda wange ali wamu naawe. Taakwabulirenga so taakulekenga okutuusa omulimu gwonna ogw’okuweereza ogwa yeekaalu ye Mukama nga guwedde.
21 Ecce divisiones Sacerdotum et Levitarum, in omne ministerium domus Domini assistunt tibi, et parati sunt, et noverunt tam principes quam populus facere omnia præcepta tua.
Era, laba, ebibiina bya bakabona n’Abaleevi beeteefuteefu okukola omulimu ku yeekaalu ya Katonda, na buli musajja omumanyirivu mu kuweesa okw’engeri zonna anaakuyamba mu mulimu gwonna. Era n’abakungu wamu n’abantu bonna banaagonderanga buli kiragiro kyo.”