< Sofonias Propheta 2 >
1 [Convenite, congregamini, gens non amabilis,
Mukuŋŋaane, weewaawo, mukuŋŋaane, mmwe eggwanga eritalina nsonyi,
2 priusquam pariat jussio quasi pulverem transeuntem diem, antequam veniat super vos ira furoris Domini, antequam veniat super vos dies indignationis Domini.
ekiseera ekyategekebwa nga tekinnatuuka, olunaku ne luba ng’ebisusunku ebifuumulibwa, obusungu bwa Mukama nga tebunnabatuukako, ng’olunaku olw’obusungu bwa Mukama terunnabatuukako.
3 Quærite Dominum, omnes mansueti terræ, qui judicium ejus estis operati; quærite justum, quærite mansuetum, si quomodo abscondamini in die furoris Domini.
Munoonye Mukama, mmwe mwenna abawombeefu ab’omu nsi, abakola by’alagira; munoonye obutuukirivu n’obuwombeefu; mpozzi mulikwekebwa ku lunaku olw’obusungu bwe.
4 Quia Gaza destructa erit, et Ascalon in desertum: Azotum in meridie ejicient, et Accaron eradicabitur.
Gaza kirirekebwawo, ne Asukulooni kiriba matongo: abantu ba Asudodi baligobebwamu mu ttuntu, ne Ekuloni kirisimbulibwa.
5 Væ qui habitatis funiculum maris, gens perditorum! verbum Domini super vos, Chanaan, terra Philisthinorum; et disperdam te, ita ut non sit inhabitator.
Zibasanze mmwe ababeera ku lubalama lw’ennyanja, eggwanga ery’Abakeresi! Ekigambo kya Mukama kikwolekedde, ggwe Kanani, ensi ey’Abafirisuuti. Ndikuzikiriza so tewaliba asigalawo.
6 Et erit funiculus maris requies pastorum, et caulæ pecorum;
Olubalama lw’ennyanja ab’Akeresi gye babeera luliba malundiro g’abasumba n’ebisulo by’endiga.
7 et erit funiculus ejus qui remanserit de domo Juda: ibi pascentur, in domibus Ascalonis ad vesperam requiescent, quia visitabit eos Dominus Deus eorum, et avertet captivitatem eorum.
Olubalama lw’ennyanja luliba lwa kitundu ky’ennyumba ya Yuda ekyasigalawo era we banaalundiranga, ne mu nnyumba za Asukulooni mwe banaagalamiranga akawungeezi. Mukama Katonda waabwe alibalabirira, n’akomyawo obugagga bwabwe.
8 Audivi opprobrium Moab, et blasphemias filiorum Ammon, quæ exprobraverunt populo meo, et magnificati sunt super terminos eorum.
Mpulidde okuvuma kwa Mowaabu n’okusekerera kw’Abamoni kwe bavumye abantu bange ne batiisatiisa ensi yaabwe.
9 Propterea vivo ego, dicit Dominus exercituum, Deus Israël, quia Moab ut Sodoma erit, et filii Ammon quasi Gomorrha: siccitas spinarum, et acervi salis, et desertum usque in æternum: reliquiæ populi mei diripient eos, et residui gentis meæ possidebunt illos.
Kale nga bwe ndi omulamu, bw’ayogera Mukama Ayinzabyonna, Katonda wa Isirayiri, ddala Mowaabu aliba nga Sodomu, n’abaana ba Amoni nga Ggomola, ekifo emyennyango kye gyemala, n’ebirombe by’omunnyo, amatongo agolubeerera. Balinyagibwa abantu bange abaliba basigaddewo, n’ekitundu ky’eggwanga lyange ekifisseewo kiritwala ensi yaabwe.
10 Hoc eis eveniet pro superbia sua, quia blasphemaverunt et magnificati sunt super populum Domini exercituum.
Eno y’eriba empeera yaabwe olw’amalala gaabwe, kubanga bavumye ne banyooma abantu ba Mukama Ayinzabyonna.
11 Horribilis Dominus super eos, et attenuabit omnes deos terræ: et adorabunt eum viri de loco suo, omnes insulæ gentium.
Mukama aliba wa ntiisa gye bali bw’alizikiriza bakatonda bonna ab’ensi. Amawanga gonna ag’oku mbalama zonna galimusinza, buli muntu ng’asinziira mu nsi ye.
12 Sed et vos, Æthiopes, interfecti gladio meo eritis.
Nammwe Abaesiyopiya, mulittibwa n’ekitala kyange.
13 Et extendet manum suam super aquilonem, et perdet Assur, et ponet speciosam in solitudinem, et in invium, et quasi desertum.
Aligololera omukono gwe ku bukiikakkono n’azikiriza Obwasuli; n’afuula Nineeve amatongo era ekikalu ng’eddungu.
14 Et accubabunt in medio ejus greges, omnes bestiæ gentium; et onocrotalus et ericius in liminibus ejus morabuntur: vox cantantis in fenestra, corvus in superliminari, quoniam attenuabo robur ejus.
Ente n’endiga zinaagalamiranga wakati mu kyo, n’ensolo zonna eza buli kika: ekiwuugulu era ne nnamunnungu banaasulanga ku mpagi zaakyo. Amaloboozi gaabyo ganaawulikikanga mu madirisa; kafakalimbo ajjudde mu miryango, n’emikiikiro egy’emivule giryelulwa.
15 Hæc est civitas gloriosa habitans in confidentia, quæ dicebat in corde suo: Ego sum, et extra me non est alia amplius: quomodo facta est in desertum cubile bestiæ? omnis qui transit per eam sibilabit, et movebit manum suam.]
Kino kye kibuga ekya kyetwala, ekyayogeranga mu mutima gwakyo nti, Nze we ndi, tewali mulala wabula nze: nga kifuuse bifulukwa, ekifo ensolo ez’omu nsiko we zigalamira! Buli muntu akiyitako aneesoozanga n’akinyoomoola.