< Psalmorum 68 >

1 In finem. Psalmus cantici ipsi David. [Exsurgat Deus, et dissipentur inimici ejus; et fugiant qui oderunt eum a facie ejus.
Ya Mukulu wa Bayimbi. Oluyimba lwa Dawudi. Katonda agolokoke, abalabe be basaasaane, n’abo abamukyawa bamudduke.
2 Sicut deficit fumus, deficiant; sicut fluit cera a facie ignis, sic pereant peccatores a facie Dei.
Ng’empewo bw’efuumuula omukka, naawe bafuumuule bw’otyo; envumbo nga bw’esaanuuka mu muliro, n’abakola ebibi bazikirire bwe batyo mu maaso ga Katonda!
3 Et justi epulentur, et exsultent in conspectu Dei, et delectentur in lætitia.
Naye abatuukirivu basanyuke bajagulize mu maaso ga Katonda, nga bajjudde essanyu.
4 Cantate Deo; psalmum dicite nomini ejus: iter facite ei qui ascendit super occasum. Dominus nomen illi; exsultate in conspectu ejus. Turbabuntur a facie ejus,
Muyimbire Katonda, muyimbe nga mutendereza erinnya lye; mumuyimusize amaloboozi gammwe oyo atambulira mu bire. Erinnya lye ye Mukama, mujagulize mu maaso ge.
5 patris orphanorum, et judicis viduarum; Deus in loco sancto suo.
Ye Kitaawe w’abataliiko bakitaabwe, ye mukuumi wa bannamwandu; ye Katonda abeera mu kifo kye ekitukuvu.
6 Deus qui inhabitare facit unius moris in domo; qui educit vinctos in fortitudine, similiter eos qui exasperant, qui habitant in sepulchris.
Katonda afunira abatalina we babeera ekifo eky’okubeeramu, aggya abasibe mu kkomera n’abagaggawaza; naye abajeemu babeera mu bifo bikalu ddala.
7 Deus, cum egredereris in conspectu populi tui, cum pertransires in deserto,
Ayi Katonda, bwe wakulembera abantu bo, n’obayisa mu ddungu,
8 terra mota est, etenim cæli distillaverunt, a facie Dei Sinai, a facie Dei Israël.
ensi yakankana, eggulu ne lifukumula enkuba mu maaso ga Katonda; n’olusozi Sinaayi ne lukankana awali Katonda, Katonda wa Isirayiri!
9 Pluviam voluntariam segregabis, Deus, hæreditati tuæ; et infirmata est, tu vero perfecisti eam.
Watonnyesa enkuba nnyingi ku nsi, Ayi Katonda; ensi y’obusika bwo n’ogizzaamu obugimu bwe bwali nga buggweerera;
10 Animalia tua habitabunt in ea; parasti in dulcedine tua pauperi, Deus.
abantu bo ne babeera omwo; era olw’ekisa kyo ekingi, Ayi Katonda, abaavu ne bafuna bye beetaaga okuva ku bugagga bwo.
11 Dominus dabit verbum evangelizantibus, virtute multa.
Mukama yalangirira; ne babunyisa ekigambo kye; baali bangi ne boogera nti:
12 Rex virtutum dilecti, dilecti; et speciei domus dividere spolia.
“Bakabaka badduse n’amaggye gaabwe; abantu ne bagabana omunyago.
13 Si dormiatis inter medios cleros, pennæ columbæ deargentatæ, et posteriora dorsi ejus in pallore auri.
Balabe bwe banyirira n’obugagga bwa ffeeza ne zaabu! Babikkiddwa ng’ejjuba bwe libikkibwa ebiwaawaatiro byalyo.”
14 Dum discernit cælestis reges super eam, nive dealbabuntur in Selmon.
Ayinzabyonna yasaasaanya bakabaka, ne baba ng’omuzira bwe gugwa ku Zalumoni.
15 Mons Dei, mons pinguis: mons coagulatus, mons pinguis.
Ggwe olusozi olw’ekitiibwa, olusozi lwa Basani; ggwe olusozi olw’emitwe emingi, olusozi lwa Basani!
16 Ut quid suspicamini, montes coagulatos? mons in quo beneplacitum est Deo habitare in eo; etenim Dominus habitabit in finem.
Lwaki otunuza obuggya ggwe olusozi olw’emitwe emingi? Lwaki okwatirwa obuggya olusozi Katonda lwe yalonda okufugirako? Ddala okwo Mukama kw’anaabeeranga ennaku zonna.
17 Currus Dei decem millibus multiplex, millia lætantium; Dominus in eis in Sina, in sancto.
Mukama ava ku lusozi Sinaayi nga yeetooloddwa amagaali enkumi n’enkumi n’ajja mu kifo kye ekitukuvu.
18 Ascendisti in altum, cepisti captivitatem, accepisti dona in hominibus; etenim non credentes inhabitare Dominum Deum.
Bwe walinnyalinnya olusozi, ng’abanyage bakugoberera; abantu ne bakuwa ebirabo nga ne bakyewaggula mwebali; bw’atyo Mukama Katonda n’abeeranga wamu nabo.
19 Benedictus Dominus die quotidie: prosperum iter faciet nobis Deus salutarium nostrorum.
Atenderezebwe Mukama, Katonda omulokozi waffe, eyeetikka emigugu gyaffe egya buli lunaku.
20 Deus noster, Deus salvos faciendi; et Domini, Domini exitus mortis.
Katonda waffe ye Katonda alokola; era tuddukira eri Mukama Katonda okuwona okufa.
21 Verumtamen Deus confringet capita inimicorum suorum, verticem capilli perambulantium in delictis suis.
Ddala, Katonda alibetenta emitwe gy’abalabe be, kubanga ne mu bukadde bwabwe balemera mu bibi byabwe.
22 Dixit Dominus: Ex Basan convertam, convertam in profundum maris:
Mukama agamba nti, “Ndibakomyawo nga mbaggya mu Basani, ndibazza nga mbaggya mu buziba bw’ennyanja,
23 ut intingatur pes tuus in sanguine; lingua canum tuorum ex inimicis, ab ipso.
mulyoke munaabe ebigere byammwe mu musaayi gw’abalabe bammwe, n’embwa zammwe zeefunire ebyokulya.”
24 Viderunt ingressus tuos, Deus, ingressus Dei mei, regis mei, qui est in sancto.
Ekibiina kyo ky’okulembedde bakirabye, Ayi Katonda, balabye abali ne Katonda wange, era Kabaka wange, ng’otambula okugenda mu watukuvu;
25 Prævenerunt principes conjuncti psallentibus, in medio juvencularum tympanistriarum.
abayimbi nga bakulembedde, ab’ebivuga nga bavaako emabega ne wakati waabwe nga waliwo abawala abakuba ebitaasa.
26 In ecclesiis benedicite Deo Domino de fontibus Israël.
Mutendereze Katonda mu kibiina ekinene; mumutendereze Mukama, mmwe abakuŋŋaanye abangi Abayisirayiri.
27 Ibi Benjamin adolescentulus, in mentis excessu; principes Juda, duces eorum; principes Zabulon, principes Nephthali.
Waliwo ekika kya Benyamini asinga obuto kye kikulembedde, ne kuddako ekibinja ekinene eky’abalangira ba Yuda, n’abalangira ba Zebbulooni n’abalangira ba Nafutaali.
28 Manda, Deus, virtuti tuæ; confirma hoc, Deus, quod operatus es in nobis.
Laga obuyinza bwo, Ayi Katonda, otulage amaanyi go, Ayi Katonda onyweze ebyo by’otukoledde.
29 A templo tuo in Jerusalem, tibi offerent reges munera.
Bakabaka balikuleetera ebirabo olwa Yeekaalu yo eri mu Yerusaalemi.
30 Increpa feras arundinis; congregatio taurorum in vaccis populorum: ut excludant eos qui probati sunt argento. Dissipa gentes quæ bella volunt.
Nenya ensolo enkambwe ey’omu bisaalu, eggana lya ziseddume eriri mu nnyana z’amawanga. Gikkakkanye ereete omusolo ogwa ffeeza. Osaasaanye amawanga agasanyukira entalo.
31 Venient legati ex Ægypto; Æthiopia præveniet manus ejus Deo.
Ababaka baliva e Misiri, ne Kuusi aligondera Katonda.
32 Regna terræ, cantate Deo; psallite Domino; psallite Deo.
Muyimbire Katonda mmwe obwakabaka obw’ensi zonna. Mutendereze Mukama.
33 Qui ascendit super cælum cæli, ad orientem: ecce dabit voci suæ vocem virtutis.
Oyo eyeebagala eggulu erya waggulu ery’edda, eddoboozi lye ery’amaanyi liwuluguma okuva mu ggulu.
34 Date gloriam Deo super Israël; magnificentia ejus et virtus ejus in nubibus.
Mulangirire obuyinza bwa Katonda, ekitiibwa kye kibuutikidde Isirayiri; obuyinza bwe buli mu bire.
35 Mirabilis Deus in sanctis suis; Deus Israël ipse dabit virtutem et fortitudinem plebi suæ. Benedictus Deus!]
Oli wa ntiisa, Ayi Katonda, mu kifo kyo ekitukuvu. Katonda wa Isirayiri, yawa abantu obuyinza n’amaanyi. Katonda atenderezebwe.

< Psalmorum 68 >