< Mattheum 17 >

1 Et post dies sex assumit Jesus Petrum, et Jacobum, et Joannem fratrem ejus, et ducit illos in montem excelsum seorsum:
Oluvannyuma lw’ennaku mukaaga Yesu n’atwala Peetero, ne Yakobo ne Yokaana muganda we, n’abalinnyisa ku lusozi oluwanvu.
2 et transfiguratus est ante eos. Et resplenduit facies ejus sicut sol: vestimenta autem ejus facta sunt alba sicut nix.
N’afuusibwa nga balaba, amaaso ge ne gamasamasa ng’enjuba n’ebyambalo bye ne byeruka ne byakaayakana.
3 Et ecce apparuerunt illis Moyses et Elias cum eo loquentes.
Laba Musa ne Eriya ne balabika, ne boogera ne Yesu.
4 Respondens autem Petrus, dixit ad Jesum: Domine, bonum est nos hic esse: si vis, faciamus tria tabernacula, tibi unum, Moysi unum, et Eliæ unum.
Peetero n’agamba Yesu nti, “Mukama waffe, nga kya kitalo nnyo ffe okubeera wano! Bw’oba ng’osiimye, nzimbe wano ensiisira ssatu, emu yiyo endala ya Musa n’endala ya Eriya.”
5 Adhuc eo loquente, ecce nubes lucida obumbravit eos. Et ecce vox de nube, dicens: Hic est Filius meus dilectus, in quo mihi bene complacui: ipsum audite.
Bwe yali akyayogera ebyo ekire ekimasamasa ne kiva waggulu ne kibabuutikira eddoboozi ne liva mu kire ne ligamba nti, “Ono ye Mwana wange gwe njagala ennyo, era gwe nsanyukira ennyo. Mumuwulirenga.”
6 Et audientes discipuli ceciderunt in faciem suam, et timuerunt valde.
Abayigirizwa bwe baakiwulira ne bagwa wansi ne beevuunika nga batidde nnyo.
7 Et accessit Jesus, et tetigit eos: dixitque eis: Surgite, et nolite timere.
Yesu n’ajja gye bali n’abakwatako n’abagamba nti, “Mugolokoke temutya.”
8 Levantes autem oculos suos, neminem viderunt, nisi solum Jesum.
Bwe babbulula amaaso, baalabawo Yesu yekka!
9 Et descendentibus illis de monte, præcepit eis Jesus, dicens: Nemini dixeritis visionem, donec Filius hominis a mortuis resurgat.
Bwe baali baserengeta olusozi, Yesu n’abakuutira nti, “Ebyo bye mulabye temubibuulirako omuntu n’omu okutuusa Omwana w’Omuntu lw’alimala okuzuukira mu bafu.”
10 Et interrogaverunt eum discipuli, dicentes: Quid ergo scribæ dicunt, quod Eliam oporteat primum venire?
Abayigirizwa ne bamubuuza nti, “Kale lwaki abannyonnyozi b’amateeka bagamba nti, Eriya kimugwanira okumala okujja?”
11 At ille respondens, ait eis: Elias quidem venturus est, et restituet omnia.
Yesu n’abaddamu nti, “Weewaawo, Eriya alijja n’azzaawo ebintu byonna.
12 Dico autem vobis, quia Elias jam venit, et non cognoverunt eum, sed fecerunt in eo quæcumque voluerunt. Sic et Filius hominis passurus est ab eis.
Naye mbagamba nti, Eriya yajja dda, naye tebaamutegeera, era naye ne bamukola buli kye baayagala. Bw’atyo n’Omwana w’Omuntu anaatera okubonyaabonyezebwa.”
13 Tunc intellexerunt discipuli, quia de Joanne Baptista dixisset eis.
Awo abayigirizwa be ne bategeera nti yali ayogera ku Yokaana Omubatiza.
14 Et cum venisset ad turbam, accessit ad eum homo genibus provolutus ante eum, dicens:
Awo bwe yatuuka awaali ekibiina, omusajja n’ajja gy’ali n’afukamira we yali, n’amugamba nti,
15 Domine, miserere filio meo, quia lunaticus est, et male patitur: nam sæpe cadit in ignem, et crebro in aquam.
“Mukama wange, ssaasira mutabani wange, kubanga mulwadde agwa ensimbu, era zimubonyaabonya nnyo kubanga emirundi mingi zimusuula mu muliro ne mu mazzi.
16 Et obtuli eum discipulis tuis, et non potuerunt curare eum.
Bwe namuleese eri abayigirizwa bo tebasobodde kumuwonya.”
17 Respondens autem Jesus, ait: O generatio incredula, et perversa, quousque ero vobiscum? usquequo patiar vos? Afferte huc illum ad me.
Yesu n’addamu nti, “Mmwe omulembe ogutalina kukkiriza omubi. Ndituusa ddi okubeera nammwe? Ndibagumiikiriza kutuusa ddi? Kale mumundeetere wano.”
18 Et increpavit illum Jesus, et exiit ab eo dæmonium, et curatus est puer ex illa hora.
Yesu n’aboggolera dayimooni, n’ava ku mulenzi, omulenzi n’awona mu kiseera ekyo.
19 Tunc accesserunt discipuli ad Jesum secreto, et dixerunt: Quare nos non potuimus ejicere illum?
Awo oluvannyuma abayigirizwa ne bajja eri Yesu mu kyama ne bamubuuza nti, “Lwaki ffe tetwasobodde kugoba dayimooni oyo?”
20 Dixit illis Jesus: Propter incredulitatem vestram. Amen quippe dico vobis, si habueritis fidem sicut granum sinapis, dicetis monti huic: Transi hinc illuc, et transibit, et nihil impossibile erit vobis.
Yesu n’abaddamu nti, “Olw’okukkiriza kwammwe okutono. Kubanga ddala ddala mbagamba nti, bwe muba n’okukkiriza okufaanana ng’akaweke ka kaladaali, mwandiyinzizza okugamba olusozi luno nti, ‘Vvaawo wano,’ era ne luvaawo era tewandibaddewo kye mulemwa.
21 Hoc autem genus non ejicitur nisi per orationem et jejunium.
Naye kyokka dayimooni ow’engeri eno tagobeka awatali kusaba na kusiiba.”
22 Conversantibus autem eis in Galilæa, dixit illis Jesus: Filius hominis tradendus est in manus hominum:
Ne bakuŋŋaanira mu Ggaliraaya, Yesu n’abagamba nti, “Omwana w’Omuntu anaatera okuliibwamu olukwe aweebweyo mu mikono gy’abantu
23 et occident eum, et tertia die resurget. Et contristati sunt vehementer.
abalimutta, kyokka ku lunaku olwokusatu alizuukizibwa.” Abayigirizwa be ne banakuwala nnyo.
24 Et cum venissent Capharnaum, accesserunt qui didrachma accipiebant ad Petrum, et dixerunt ei: Magister vester non solvit didrachma?
Bwe baatuuka e Kaperunawumu abasolooza b’omusolo gwa Yeekaalu babiri ne bajja eri Peetero ne bamubuuza nti, “Mukama wammwe tawa musolo?”
25 Ait: Etiam. Et cum intrasset in domum, prævenit eum Jesus, dicens: Quid tibi videtur Simon? reges terræ a quibus accipiunt tributum vel censum? a filiis suis, an ab alienis?
Peetero n’abaddamu nti, “Awa!” Peetero n’ayingira mu nnyumba. Naye Yesu n’amwesooka n’amubuuza nti, “Olowooza otya Simooni, bakabaka b’ensi basolooza omusolo ku bantu baabwe abatuuze oba ku bannamawanga be baba bawangudde?”
26 Et ille dixit: Ab alienis. Dixit illi Jesus: Ergo liberi sunt filii.
Peetero n’addamu nti, “Basolooza ku bannamawanga.” Yesu n’amugamba nti, “Kale bannansi bo ba ddembe.”
27 Ut autem non scandalizemus eos, vade ad mare, et mitte hamum: et eum piscem, qui primus ascenderit, tolle: et aperto ore ejus, invenies staterem: illum sumens, da eis pro me et te.
“Naye obutabanyiiza, genda ku nnyanja osuulemu eddobo, ekyennyanja ky’onoosooka okukwasa okyasamye akamwa. Mu kamwa kaakyo onoolabamu esutateri, ozitwale oziweeyo osasule omusolo gwange n’ogugwo.”

< Mattheum 17 >