< Thessalonicenses I 5 >

1 De temporibus autem, et momentis, fratres, non indigetis ut scribamus vobis.
Naye ku bikwata ku by’entuuko n’ebiro, abooluganda, ssetaaga kwongera kubawandiikira.
2 Ipsi enim diligenter scitis quia dies Domini, sicut fur in nocte, ita veniet:
Kubanga mmwe mwennyini mumanyi bulungi nti olunaku lwa Mukama waffe lulijja ng’omubbi bw’ajja ekiro.
3 cum enim dixerint: Pax et securitas: tunc repentinus eis superveniet interitus, sicut dolor in utero habenti, et non effugient.
Abantu balirowooza mu mitima gyabwe nti, “Tulina emirembe era tulina obukuumi,” amangwango okuzikirira ne kulyoka kubajjira, ng’okulumwa bwe kujjira omukazi agenda okuzaala omwana; ne batawona n’akatono.
4 Vos autem, fratres, non estis in tenebris, ut vos dies illa tamquam fur comprehendat:
Naye mmwe, abooluganda abaagalwa temuli mu kizikiza ku nsonga zino, era temugenda kwekanga lunaku olwo ng’abayingiriddwa omubbi;
5 omnes enim vos filii lucis estis, et filii diei: non sumus noctis, neque tenebrarum.
Kubanga mmwe mwenna muli baana ba musana era baana ba butangaavu. Tetuli ba kiro yadde ab’ekizikiza.
6 Igitur non dormiamus sicut et ceteri, sed vigilemus, et sobrii simus.
Noolwekyo tuleme kwebaka ng’abalala naye tutunulenga okwegomba kuleme okutufuga.
7 Qui enim dormiunt, nocte dormiunt: et qui ebrii sunt, nocte ebrii sunt.
Kubanga abeebaka beebaka kiro, n’abatamiira batamiira kiro.
8 Nos autem, qui diei sumus, sobrii simus, induti loricam fidei et caritatis, et galeam spem salutis:
Naye ffe, kubanga tuli ba musana, tulemenga okutamiira. Twambale okukkiriza n’okwagala ng’ekyomu kifuba, era tube n’essuubi ery’obulokozi nga ye nkufiira yaffe.
9 quoniam non posuit nos Deus in iram, sed in acquisitionem salutis per Dominum nostrum Jesum Christum,
Kubanga ffe Katonda teyatulondera kufukibwako kiruyi kya busungu, wabula okutulokola ng’ayita mu Mukama waffe Yesu Kristo,
10 qui mortuus est pro nobis: ut sive vigilemus, sive dormiamus, simul cum illo vivamus.
eyatufiirira ka tube nga tuli balamu oba nga tufudde, tulyoke tubeere balamu wamu naye.
11 Propter quod consolamini invicem, et ædificate alterutrum, sicut et facitis.
Kale mugumyaganenga era muzimbaganenga nga bwe mubadde mukola.
12 Rogamus autem vos, fratres, ut noveritis eos qui laborant inter vos, et præsunt vobis in Domino, et monent vos,
Kaakano tubeegayirira abooluganda, mumanye abafuba okukola emirimu mu mmwe era ababakulembera mu Mukama waffe era abababuulirira,
13 ut habeatis illos abundantius in caritate propter opus illorum: pacem habete cum eis.
mubassengamu nnyo ekitiibwa mu kwagala olw’omulimu gwabwe. Mubenga bantu ba mirembe.
14 Rogamus autem vos, fratres, corripite inquietos, consolamini pusillanimes, suscipite infirmos, patientes estote ad omnes.
Tubakuutira abooluganda, mubuulirirenga abagayaavu, mugumyenga abo abalimu okutya, muyambenga abatalina maanyi, mubenga bagumiikiriza eri abantu bonna.
15 Videte ne quis malum pro malo alicui reddat: sed semper quod bonum est sectamini in invicem, et in omnes.
Mulabenga nga mu mmwe temuli muntu asasula ekibi olw’ekibi, naye bulijjo mukolenga obulungi buli muntu ne munne, era n’eri abantu bonna.
16 Semper gaudete.
Musanyukenga ennaku zonna.
17 Sine intermissione orate.
Musabenga obutayosa.
18 In omnibus gratias agite: hæc est enim voluntas Dei in Christo Jesu in omnibus vobis.
Mwebazenga olwa buli kintu kyonna, kubanga ekyo Katonda ky’abaagaliza mmwe abali mu Kristo Yesu.
19 Spiritum nolite extinguere.
Temuzikizanga Mwoyo Mutukuvu,
20 Prophetias nolite spernere.
era temunyoomanga abo aboogera eby’obunnabbi,
21 Omnia autem probate: quod bonum est tenete.
naye mwekenneenyenga ebintu byonna, kale bwe bibanga ebirungi mubinywezenga.
22 Ab omni specie mala abstinete vos.
Mwewalenga buli ngeri ya kibi.
23 Ipse autem Deus pacis sanctificet vos per omnia: ut integer spiritus vester, et anima, et corpus sine querela in adventu Domini nostri Jesu Christi servetur.
Katonda ow’emirembe abatukulize ddala, era omwoyo gwammwe gwonna, n’emmeeme yammwe n’omubiri gwammwe, bikuumibwenga nga tebiriiko kya kunenyezebwa okutuusa ku lunaku olw’okujja kwa Mukama waffe Yesu Kristo.
24 Fidelis est, qui vocavit vos: qui etiam faciet.
Oyo eyabayita mwesigwa era alikituukiriza.
25 Fratres, orate pro nobis.
Abooluganda, naffe, mutusabirenga.
26 Salutate fratres omnes in osculo sancto.
Mulamuse abooluganda bonna mu kulamusa okutukuvu.
27 Adjuro vos per Dominum ut legatur epistola hæc omnibus sanctis fratribus.
Mbalagira mu linnya lya Mukama waffe ebbaluwa eno mugisomere abooluganda bonna.
28 Gratia Domini nostri Jesu Christi vobiscum. Amen.
Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga nammwe.

< Thessalonicenses I 5 >