< 시편 104 >

1 내 영혼아 여호와를 송축하라 여호와 나의 하나님이여 주는 심히 광대하시며 존귀와 권위를 입으셨나이다
Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange. Ayi Mukama Katonda wange, oli mukulu nnyo; ojjudde obukulu n’ekitiibwa.
2 주께서 옷을 입음 같이 빛을 입으시며 하늘을 휘장 같이 치시며
Yeebika ekitangaala ng’ayeebikka ekyambalo n’abamba eggulu ng’eweema,
3 물에 자기 누각의 들보를 얹으시며 구름으로 자기 수레를 삼으시고 바람 날개로 다니시며
n’ateeka akasolya k’ebisulo bye eby’oku ntikko kungulu ku mazzi; ebire abifuula amagaali ge, ne yeebagala ebiwaawaatiro by’empewo.
4 바람으로 자기 사자를 삼으시며 화염으로 자기 사역자를 삼으시며
Afuula empewo ababaka be, n’ennimi z’omuliro ogwaka abaweereza be.
5 땅의 기초를 두사 영원히 요동치 않게 하셨나이다
Yassaawo ensi ku misingi gyayo; teyinza kunyeenyezebwa.
6 옷으로 덮음 같이 땅을 바다로 덮으시매 물이 산들 위에 섰더니
Wagibikkako obuziba ng’ekyambalo; amazzi ne gatumbiira okuyisa ensozi ennene.
7 주의 견책을 인하여 도망하여 주의 우뢰 소리를 인하여 빨리 가서
Bwe wagaboggolera ne gadduka; bwe gaawulira okubwatuka kwo ne gaddukira ddala;
8 주의 정하신 처소에 이르렀고 산은 오르고 골짜기는 내려갔나이다
gaakulukutira ku nsozi ennene, ne gakkirira wansi mu biwonvu mu bifo bye wagategekera.
9 주께서 물의 경계를 정하여 넘치지 못하게 하시며 다시 돌아와 땅을 덮지 못하게 하셨나이다
Wagassizaawo ensalo ze gatasaana kusukka, na kuddayo kubuutikira nsi.
10 여호와께서 샘으로 골짜기에서 솟아나게 하시고 산 사이에 흐르게 하사
Alagira ensulo ne zisindika amazzi mu biwonvu; ne gakulukutira wakati w’ensozi.
11 들의 각 짐승에게 마시우시니 들나귀들도 해갈하며
Ne ganywesa ebisolo byonna eby’omu nsiko; n’endogoyi ne gazimalako ennyonta.
12 공중의 새들이 그 가에서 깃들이며 나무가지 사이에서 소리를 발하는도다
Ebinyonyi eby’omu bbanga bizimba ebisu byabyo ku mabbali g’amazzi, ne biyimbira mu matabi.
13 저가 그 누각에서 산에 물을 주시니 주의 행사의 결과가 땅에 풍족하도다
Afukirira ensozi ennene ng’osinziira waggulu gy’obeera; ensi n’ekkuta ebibala by’emirimu gyo.
14 저가 가축을 위한 풀과 사람의 소용을 위한 채소를 자라게 하시며 땅에서 식물이 나게 하시고
Olagira omuddo ne gukula okuliisa ente, n’ebirime abantu bye balima, balyoke bafune ebyokulya okuva mu ttaka.
15 사람의 마음을 기쁘게 하는 포도주와 사람의 얼굴을 윤택케 하는 기름과 사람의 마음을 힘있게 하는 양식을 주셨도다
Ne wayini okusanyusa omutima gwe, n’ebizigo okwesiiga awoomye endabika ye, n’emmere okumuwa obulamu.
16 여호와의 나무가 우택에 흡족함이여 곧 그의 심으신 레바논 백향목이로다
Emiti gya Mukama gifuna amazzi mangi; gy’emivule gy’e Lebanooni gye yasimba.
17 새들이 그 속에 깃을 들임이여 학은 잣나무로 집을 삼는도다
Omwo ebinyonyi mwe bizimba ebisu byabyo; ne ssekanyolya asula mu miti omwo.
18 높은 산들은 산양을 위함이여 바위는 너구리의 피난처로다
Ku nsozi empanvu eyo embulabuzi ez’omu nsiko gye zibeera; n’enjazi kye kiddukiro ky’obumyu.
19 여호와께서 달로 절기를 정하심이여 해는 그 지는 것을 알도다
Wakola omwezi okutegeeza ebiro; n’enjuba bw’egwa n’eraga olunaku.
20 주께서 흑암을 지어 밤이 되게 하시니 삼림의 모든 짐승이 기어 나오나이다
Oleeta ekizikiza, ne buba ekiro; olwo ebisolo byonna eby’omu bibira ne biryoka bivaayo.
21 젊은 사자가 그 잡을 것을 쫓아 부르짖으며 그 식물을 하나님께 구하다가
Empologoma ento zikaabira emmere gye zinaalya; nga zinoonya ebyokulya okuva eri Katonda.
22 해가 돋으면 물러가서 그 굴혈에 눕고
Enjuba bw’evaayo ne zigenda, n’oluvannyuma ne zikomawo ne zigalamira mu mpuku zaazo.
23 사람은 나와서 노동하며 저녁까지 수고하는도다
Abantu ne bagenda ku mirimu gyabwe, ne bakola okutuusa akawungeezi.
24 여호와여 주의 하신 일이 어찌 그리 많은지요 주께서 지혜로 저희를 다 지으셨으니 주의 부요가 땅에 가득하니이다
Ayi Mukama, ebintu bye wakola nga bingi nnyo! Byonna wabikola n’amagezi ag’ekitalo; ensi ejjudde ebitonde byo.
25 저기 크고 넓은 바다가 있고 그 속에 동물 곧 대소 생물이 무수하니이다
Waliwo ennyanja, nnene era ngazi, ejjudde ebitonde ebitabalika, ebintu ebirina obulamu ebinene era n’ebitono.
26 선척이 거기 다니며 주의 지으신 악어가 그 속에서 노나이다
Okwo amaato kwe gaseeyeeyera nga galaga eno n’eri; ne galukwata ge wakola mwe gabeera okuzannyiranga omwo.
27 이것들이 다 주께서 때를 따라 식물 주시기를 바라나이다
Ebyo byonna bitunuulira ggwe okubiwa emmere yaabyo ng’ekiseera kituuse.
28 주께서 주신즉 저희가 취하며 주께서 손을 펴신즉 저희가 좋은 것으로 만족하다가
Bw’ogibiwa, nga bigikuŋŋaanya; bw’oyanjuluza engalo zo n’obigabira ebintu ebirungi ne bikkusibwa.
29 주께서 낯을 숨기신즉 저희가 떨고 주께서 저희 호흡을 취하신즉 저희가 죽어 본 흙으로 돌아가나이다
Bw’okweka amaaso go ne byeraliikirira nnyo; bw’obiggyamu omukka nga bifa, nga biddayo mu nfuufu.
30 주의 영을 보내어 저희를 창조하사 지면을 새롭게 하시나이다
Bw’oweereza Omwoyo wo, ne bifuna obulamu obuggya; olwo ensi n’ogizza buggya.
31 여호와의 영광이 영원히 계속할지며 여호와는 자기 행사로 인하여 즐거워하실지로다
Ekitiibwa kya Katonda kibeerengawo emirembe gyonna; era Mukama asanyukirenga ebyo bye yakola.
32 저가 땅을 보신즉 땅이 진동하며 산들에 접촉하신즉 연기가 발하도다
Atunuulira ensi, n’ekankana; bw’akwata ku nsozi ennene, ne zinyooka omukka.
33 나의 평생에 여호와께 노래하며 나의 생존한 동안 내 하나님을 찬양하리로다
Nnaayimbiranga Mukama obulamu bwange bwonna; nnaayimbanga nga ntendereza Katonda wange ennaku zonna ze ndimala nga nkyali mulamu.
34 나의 묵상을 가상히 여기시기를 바라나니 나는 여호와로 인하여 즐거워하리로다
Ebirowoozo byange, nga nfumiitiriza, bimusanyusenga; kubanga mu Mukama mwe neeyagalira.
35 죄인을 땅에서 소멸하시며 악인을 다시 있지 못하게 하실지로다 내 영혼아 여호와를 송축하라 할렐루야
Naye abakola ebibi baggweewo ku nsi; aboonoonyi baleme kulabikirako ddala. Weebaze Mukama, gwe emmeeme yange. Mumutenderezenga Mukama.

< 시편 104 >