< 잠언 1 >

1 다윗의 아들 이스라엘 왕 솔로몬의 잠언이라
Engero za Sulemaani, mutabani wa Dawudi, kabaka wa Isirayiri.
2 이는 지혜와 훈계를 알게 하며 명철의 말씀을 깨닫게 하며
Yaziwandiika okuyigiriza abantu okuba n’amagezi n’okuyiga, era n’okutegeera ebigambo eby’obulabufu; eby’obulamu eby’amagezi n’empisa.
3 지혜롭게, 의롭게, 공평하게, 정직하게 행할 일에 대하여 훈계를 받게 하며
Sulemaani yayagala abantu okuba n’empisa, n’obulamu obw’amagezi, okukolanga ebituufu, n’okubeera abenkanya n’okugobereranga ensonga;
4 어리석은 자로 슬기롭게 하며 젊은 자에게 지식과 근신함을 주기 위한 것이니
okuyigiriza amagezi abatalina bumanyirivu, n’abavubuka okufuna okumanya n’okutegeera.
5 지혜있는 자는 듣고 학식이 더할 것이요 명철한 자는 모략을 얻을 것이라
N’abantu ab’amagezi nabo bwe bawulira beeyongere okuyiga n’abategeevu beeyongere okubangulwa.
6 잠언과 비유와 지혜있는 자의 말과 그 오묘한 말을 깨달으리라
Era engero zino zaawandiikibwa okutegeera engero, enjogera n’ebikokyo.
7 여호와를 경외하는 것이 지식의 근본이어늘 미련한 자는 지혜와 훈계를 멸시하느니라
Kale mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera, naye abasirusiru banyooma amagezi n’okulagirirwa.
8 내 아들아 네 아비의 훈계를 들으며 네 어미의 법을 떠나지 말라
Mwana wange ossangayo omwoyo eri ebiragiro bya kitaawo, era tolekanga kukuutira kwa maama wo;
9 이는 네 머리의 아름다운 관이요 네 목의 금사슬이니라
bijja kuba ngule eneeweesanga omutwe gwo ekitiibwa, n’emikuufu mu bulago bwo.
10 내 아들아 악한 자가 너를 꾈지라도 좇지 말라
Mwana wange abakozi b’ebibi bwe bakusendasendanga, tokkirizanga.
11 그들이 네게 말하기를 우리와 함께 가자 우리가 가만히 엎드렸다가 사람의 피를 흘리자 죄없는 자를 까닭없이 숨어 기다리다가
Bwe bakugambanga nti, “Tugende ffenna twesanyuse, tunyage, tubbe n’okutta; tokkirizanga;
12 음부 같이 그들을 산 채로 삼키며 무덤에 내려가는 자 같게 통으로 삼키자 (Sheol h7585)
ng’entaana bw’emira abantu, naffe tubamire tutyo nga bakyali balamu, era nga balamba, ng’abagenda mu bunnya obuwanvu; (Sheol h7585)
13 우리가 온갖 보화를 얻으며 빼앗은 것으로 우리 집에 채우리니
nga twefunira eby’obugagga bye tutakoleredde, ne tujjuza amayumba gaffe obugagga obubbe;
14 너는 우리와 함께 제비를 뽑고 우리가 함께 전대 하나만 두자 할지라도
ng’ababi batuyita tubeegatteko, tugabane kyenkanyi ebibbe n’ebinyage.”
15 내 아들아 그들과 함께 길에 다니지 말라 네 발을 금하여 그 길을 밟지 말라
Mwana wange totambuliranga wamu nabo, era ekigere kyo kiziyize okukwatanga ekkubo lyabwe:
16 대저 그 발은 악으로 달려가며 피를 흘리는 데 빠름이니라
Kubanga ebigere byabwe bidduka bunnambiro okukola ebibi, era kibanguyira okuyiwa omusaayi.
17 무릇 새가 그물 치는 것을 보면 헛 일이겠거늘
Nga kuba kumala biseera okutega omutego, ng’ekinyonyi ky’oyagala okukwata kikulaba,
18 그들의 가만히 엎드림은 자기의 피를 흘릴 뿐이요 숨어 기다림은 자기의 생명을 해할 뿐이니
naye abantu ng’abo baba beetega bokka, baba beetega omutego ogunaabakwasa bo bennyini.
19 무릇 이를 탐하는 자의 길은 다 이러하여 자기의 생명을 잃게 하느니라
Bwe lityo bwe libeera ekkubo lya buli muntu anoonya okugaggawalira mu bukyamu. Obugagga obw’engeri eyo busaanyaawo obulamu bw’abo ababufuna.
20 지혜가 길거리에서 부르며 광장에서 소리를 높이며
Amagezi galeekaanira waggulu mu nguudo; gayimusa amaloboozi gaago, mu bifo ebigazi eby’omu bibuga.
21 훤화하는 길 머리에서 소리를 지르며 성문 어귀와 성중에서 그 소리를 발하여 가로되
Ne galeekaanira waggulu, mu kifo enguudo ennene we zisisinkanira, era gasinzira mu miryango gy’ekibuga ne googera:
22 너희 어리석은 자들은 어리석음을 좋아하며 거만한 자들은 거만을 기뻐하며 미련한 자들은 지식을 미워하니 어느 때까지 하겠느냐
Mulituusa ddi mmwe ab’amagezi amatono obutayagala kweyongera kuyiga by’amagezi, nammwe ab’amalala okunyoomanga eby’amagezi n’abasirusiru okukyawanga okumanya?
23 나의 책망을 듣고 돌이키라 보라 내가 나의 신을 너희에게 부어주며 나의 말을 너희에게 보이리라
Kale singa muwuliriza okunenya kwange, laba, ndifuka omutima gwange n’ebirowoozo byange mu mmwe.
24 내가 부를지라도 너희가 듣기 싫어 하였고 내가 손을 펼지라도 돌아보는 자가 없었고
Kubanga na bayita ne mugaana okuwuliriza, ne ngolola omukono ne wataba n’omu afaayo,
25 도리어 나의 모든 교훈을 멸시하며 나의 책망을 받지 아니하였은즉
era ne mutafaayo ku magezi ge nabawa, era ne mugaana okubuulirira kwange kwonna,
26 너희가 재앙을 만날 때에 내가 웃을 것이며 너희에게 두려움이 임할 때에 내가 비웃으리라
kale nange ndibasekerera nga muli mu nnaku, era mbakudaalire ng’entiisa ebagwiridde.
27 너희의 두려움이 광풍 같이 임하겠고 너희의 재앙이 폭풍 같이 임하리니
Entiisa bw’eribajjira ng’omuyaga omungi, ennaku n’okubonaabona, okulumwa n’obubalagaze,
28 그 때에 너희가 나를 부르리라 그래도 내가 대답지 아니하겠고 부지런히 나를 찾으리라 그래도 나를 만나지 못하리니
kale balinkoowoola, naye siriyitaba; balinnoonya obutaweera naye ne batandaba.
29 대저 너희가 지식을 미워하며 여호와 경외하기를 즐거워하지 아니하며
Kubanga baakyawa okuyigirizibwa, n’okumanya, era ne bamalirira obutatya Mukama.
30 나의 교훈을 받지 아니하고 나의 모든 책망을 업신여겼음이라
Ne bagaana okuwuliriza amagezi gange; ne banyooma okunenya kwange kwonna.
31 그러므로 자기 행위의 열매를 먹으며 자기 꾀에 배부르리라
Kyebaliva balya ebibala eby’ekkubo lyabwe ebbi, era ne bajjula ebibala eby’enkwe zaabwe.
32 어리석은 자의 퇴보는 자기를 죽이며 미련한 자의 안일은 자기를 멸망시키려니와
Obusirusiru bulitta ab’amagezi amatono n’obutafaayo bulizikiriza abasirusiru,
33 오직 나를 듣는 자는 안연히 살며 재앙의 두려움이 없이 평안하리라
naye buli ampuliriza anaabeeranga mirembe, ng’agumye nga talina kutya kwonna.

< 잠언 1 >