< 사무엘상 9 >

1 베냐민 지파에 기스라 이름하는 유력한 사람이 있으니 그는 아비엘의 아들이요 스롤의 손자요 베고랏의 증손이요 아비아의 현손이라 베냐민 사람이더라
Waaliwo omusajja Omubenyamini eyali omututumufu erinnya lye Kiisi, mutabani wa Abiyeeri, mutabani wa Zeroli, mutabani wa Bekolaasi, mutabani wa Afiya, Omubenyamini.
2 기스가 아들이 있으니 그 이름은 사울이요 준수한 소년이라 이스라엘 자손 중에 그보다 더 준수한 자가 없고 키는 모든 백성보다 어깨 위는 더하더라
Yalina mutabani we erinnya lye Sawulo, nga mulenzi alabika bulungi, era nga tewali amwenkana obulungi mu bantu ba Isirayiri, nga muwanvu okusinga abantu bonna.
3 사울의 아비 기스가 암나귀들을 잃고 그 아들 사울에게 이르되 너는 한 사환을 데리고 일어나 가서 암나귀들을 찾으라 하매
Endogoyi za Kiisi, kitaawe wa Sawulo zaali zibuze. Kiisi n’agamba mutabani we Sawulo nti, “Twala omu ku baweereza, mugende munoonye endogoyi.”
4 그가 에브라임 산지와 살리사 땅으로 두루 다니되 찾지 못하고 사알림 땅으로 두루 다니되 없고 베냐민 사람의 땅으로 두루 다니되 찾지 못하니라
Ne bayitira mu nsi ey’ensozi eya Efulayimu ne mu nsi ya Salisa, naye ne bataziraba. Ne bayita ne mu nsi ya Saalimu naye ne bataziraba. Ne bayita ne mu nsi ye Benyamini, naye ne zibabula.
5 그들이 숩 땅에 이른 때에 사울이 함께 하는 사환에게 이르되 돌아가자 내 부친이 암나귀 생각은 고사하고 우리를 위하여 걱정하실까 두려워하노라
Awo bwe baatuuka mu nsi ya Zufu, Sawulo n’agamba omuweereza eyali naye nti, “Jjangu tuddeyo, sikuba nga kitange ava ku b’endogoyi, n’atandika okweraliikirira ffe.”
6 대답하되 보소서 이 성에 하나님의 사람이 있는데 존중히 여김을 받는 사람이라 그가 말한 것은 반드시 다 응하나니 그리로 가사이다 그가 혹 우리의 갈 길을 가르칠까 하나이다
Naye omuweereza n’amuddamu nti, “Laba, mu kibuga muno mulimu omusajja wa Katonda, era assibwamu nnyo ekitiibwa, na buli ky’ayogera kituukirira. Tugendeyo, oboolyawo anaayinza okututegeeza ekkubo lye tuba tukwata.”
7 사울이 그 사환에게 이르되 우리가 가면 그 사람에게 무엇을 드리겠느냐 우리 그릇에 식물이 다하였으니 하나님의 사람에게 드릴 예물이 없도다 무엇이 있느냐
Sawulo n’agamba omuweereza we nti, “Naye bwe tugendayo, omusajja tunaamutwalira ki? Emmere eweddemu mu nsawo zaffe, ate tewali na kirabo kya kutwalira musajja wa Katonda. Tulinawo ki?”
8 사환이 사울에게 다시 대답하여 가로되 보소서 내 손에 은 한 세겔의 사분 일이 있으니 하나님의 사람에게 드려 우리 길을 가르치게 하겠나이다
Omuweereza n’addamu Sawulo nti, “Laba, wano nninawo gulaamu ssatu eza ffeeza, era ze nzija okuwa omusajja wa Katonda atutegeeze ekkubo lye tuba tukwata.”
9 (옛적 이스라엘에 사람이 하나님께 가서 물으려 하면 말하기를 선견자에게로 가자 하였으니 지금 선지자라 하는 자를 옛적에는 선견자라 일컬었더라)
(Edda mu Isirayiri, omuntu bwe yagendanga okwebuuza ku Katonda, yayogeranga nti, “Jjangu tugende ew’omulabi;” kubanga ayitibwa nnabbi mu nnaku zino, edda ye yayitibwanga omulabi).
10 사울이 그 사환에게 이르되 네 말이 옳다 가자 하고 그들이 하나님의 사람 있는 성으로 가니라
Sawulo n’amuddamu nti, “Oteesezza bulungi, jjangu tugende.” Ne basitula okugenda mu kibuga omusajja wa Katonda gye yali.
11 그들이 성을 향한 비탈길로 올라가다가 물 길러 나오는 소녀들을 만나 그들에게 묻되 선견자가 여기 있느냐
Awo bwe baali nga balinnyalinnya akasozi okugenda mu kibuga ne basisinkana abawala abaali bagenda okusena amazzi, ne bababuuza nti, “Omulabi gy’ali?”
12 그들이 대답하여 가로되 있나이다 보소서 그가 당신보다 앞섰으니 빨리 가소서 백성이 오늘 산당에서 제사를 드리므로 그가 오늘 성에 들어오셨나이다
Ne babaddamu nti, “Gy’ali. Ali mu maaso awo. Mwanguweeko, yaakatuuka kati mu kibuga, kubanga leero abantu balina ssaddaaka ey’okuweerayo mu kifo ekigulumivu.
13 당신들이 성으로 들어가면 그가 먹으러 산당에 올라가기 전에 곧 만나리이다 그가 오기 전에는 백성이 먹지 아니하나니 이는 그가 제물을 축사한 후에야 청함을 받은 자가 먹음이라 그러므로 지금 올라가소서 금시로 만나리이다 하는지라
Bwe munaaba nga mwakayingira mu kibuga, mujja kumusisinkana nga tannayambuka kuliira mu kifo ekigulumivu. Abantu tebajja kulya nga tannatuuka, kubanga alina okusabira ssaddaaka omukisa n’oluvannyuma abayitiddwa balyoke balye. Kaakano mwanguwe mugende, mujja kumusisinkana.”
14 그들이 성읍으로 올라가서 그리로 들어갈 때에 사무엘이 마침 산당으로 올라가려고 마주 나오더라
Awo ne bayambuka okugenda mu kibuga. Bwe baali bakiyingira ne balaba Samwiri ng’ajja gye bali, ng’ayolekedde ekifo ekigulumivu.
15 사울의 오기 전 날에 여호와께서 사무엘에게 알게 하여 가라사대
Kyokka bwe waali wakyabulayo olunaku lumu Sawulo ajje, Mukama yali abikkulidde Samwiri ekigambo ng’agamba nti,
16 내일 이맘 때에 내가 베냐민 땅에서 한 사람을 네게 보내리니 너는 그에게 기름을 부어 내 백성 이스라엘의 지도자를 삼으라 그가 내 백성을 블레셋 사람의 손에서 구원하리라 내 백성의 부르짖음이 내게 상달하였으므로 내가 그들을 돌아 보았노라 하시더니
“Enkya ku ssaawa nga zino nzija kukusindikira omusajja okuva mu nsi ya Benyamini. Mufukeeko amafuta okuba omukulembeze w’abantu bange, Isirayiri; oyo y’alirokola abantu bange okuva mu mukono gw’Abafirisuuti. Ntunuulidde abantu bange; okukaaba kwabwe kutuuse gye ndi.”
17 사무엘이 사울을 볼 때에 여호와께서 그에게 이르시되 보라 이는 내가 네게 말한 사람이니 이가 내 백성을 통할하리라 하시니라
Awo Samwiri olwalengera Sawulo, Mukama n’amugamba nti, “Omusajja gwe nakutegeezezzaako wuuyo. Oyo y’ajja okufuga abantu bange.”
18 사울이 성문 가운데 사무엘에게 나아가 가로되 선견자의 집이 어디인지 청컨대 내게 가르치소서
Sawulo n’asemberera Samwiri mu mulyango, n’amubuuza nti, “Ssebo oyinza okundagirira ennyumba y’omulabi w’eri?”
19 사무엘이 사울에게 대답하여 가로되 내가 선견자니라 너는 내 앞서 산당으로 올라가라 너희가 오늘날 나와 함께 먹을 것이요 아침에는 내가 너를 보내되 네 마음에 있는 것을 다 네게 말하리라
Samwiri n’amuddamu nti, “Nze mulabi, nkulemberaamu nga twambuka mu kifo ekigulumivu, kubanga leero onooliira wamu nange, enkya ku makya nzija kukuleka ogende era nzija kukubuulira ebyo byonna ebiri ku mutima gwo.
20 사흘 전에 잃은 네 암나귀들을 염려하지 말라 찾았느니라 온 이스라엘의 사모하는 자가 누구냐 너와 네 아비의 온 집이 아니냐
Naye ebifa ku ndogoyi zo ezimaze ennaku essatu nga zibuze, tobyeraliikirira, kubanga zaazuuliddwa. Okwegomba kwa Isirayiri yonna kunaaba kw’ani, bwe kutaabe ku ggwe n’ennyumba ya kitaawo yonna?”
21 사울이 대답하여 가로되 나는 이스라엘 지파의 가장 작은 지파 베냐민 사람이 아니오며 나의 가족은 베냐민 지파 모든 가족 중에 가장 미약하지 아니하니이까 당신이 어찌하여 내게 이같이 말씀하시나이까
Sawulo n’addamu nti, “Nze ndi Mubenyamini, era nva mu kika ekisingirayo ddala obutono, ate nga n’ennyumba yaffe y’esingira ddala okuba eya wansi mu nnyumba zonna ez’ekika kya Benyamini. Lwaki oyogera nange ebigambo ebifaanana ng’ebyo?”
22 사무엘이 사울과 그 사환을 인도하여 객실로 들어가서 청한 자 중 수석에 앉게 하였는데 객은 삼십 명 가량이었더라
Awo Samwiri n’atwala Sawulo n’omuweereza we mu kisenge ekinene, n’abatuuza mu bifo eby’oku mwanjo mu maaso g’abo bonna abaayitibwa abaali bawera ng’amakumi asatu.
23 사무엘이 요리인에게 이르되 내가 네게 주며 네게 두라고 말한 그 부분을 가져오라
Samwiri n’agamba omufumbi nti, “Leeta ekifi ky’ennyama, kye nakuteresezza, kye nakugambye oteeke wabbali.”
24 요리인이 넓적다리와 그것에 붙은 것을 가져다가 사울 앞에 놓는지라 사무엘이 가로되 보라 이는 두었던 것이니 네 앞에 놓고 먹으라 내가 백성을 청할 때부터 너를 위하여 이것을 두어서 이때를 기다리게 하였느니라 그 날에 사울이 사무엘과 함께 먹으니라
Awo omufumbi n’addira ekisambi, n’ebyakiriko n’akiteeka mu maaso ga Sawulo. Samwiri n’ayogera nti, “Laba kino kye kyakuterekeddwa. Kirye kubanga kyakuterekeddwa okutuusa ekiseera kino olw’omukolo guno, okuva ku kiseera kiri, bwe nagamba nti, ‘Nnina abagenyi abayite.’” Awo Sawulo n’aliira wamu ne Samwiri ku lunaku olwo.
25 그들이 산당에서 내려 성에 들어가서는 사무엘이 사울과 함께 지붕에서 담화하고
Bwe baava mu kifo ekigulumivu ne baserengeta mu kibuga, Samwiri n’atwala Sawulo waggulu ku nnyumba ye ne banyumyamu.
26 그들이 일찍이 일어날새 동틀 때 즈음이라 사무엘이 지붕에서 사울을 불러 가로되 일어나라 내가 너를 보내리라 하매 사울이 일어나고 그 두 사람 사울과 사무엘이 함께 밖으로 나가서
Awo enkeera Samwiri n’agolokoka mu makya n’akoowoola Sawulo nti, “Golokoka nkusibule odde ku lugendo lwo.” Sawulo ne yeteekateeka, ye ne Samwiri ne baserengeta okugenda mu kibuga.
27 성읍 끝에 이르매 사무엘이 사울에게 이르되 사환으로 우리를 앞서게 하라 사환이 앞서매 또 가로되 너는 이제 잠간 서 있으라 내가 하나님의 말씀을 네게 들리리라
Bwe baali baserengeta nga banaatera okutuuka ekibuga we kikoma, Samwiri n’agamba Sawulo nti, “Gamba omuweereza wo ayitewo, atukulemberemu, gwe osigaleko wano, nkutegeeze obubaka obuva eri Katonda.”

< 사무엘상 9 >