< 시편 118 >

1 여호와께 감사하라! 저는 선하시며 그 인자하심이 영원함이로다
Mwebaze Mukama, kubanga mulungi; okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
2 이제 이스라엘은 말하기를 그 인자하심이 영원하다 할지로다
Kale Isirayiri ayogere nti, “Okwagala kwa Mukama kubeerera emirembe gyonna.”
3 이제 아론의 집은 말하기를 그 인자하심이 영원하다 할지로다
N’ab’ennyumba ya Alooni boogere nti, “Okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.”
4 이제 여호와를 경외하는 자는 말하기를 그 인자하심이 영원하다 할지로다
Abo abatya Mukama boogere nti, “Okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.”
5 내가 고통 중에 여호와께 부르짖었더니 여호와께서 답하시고 나를 광활한 곳에 세우셨도다
Bwe nnali mu nnaku empitirivu, nakoowoola Mukama, n’annyanukula, n’agimponya.
6 여호와는 내 편이시라 내게 두려움이 없나니 내게 어찌할꼬
Mukama ali ku ludda lwange, siriiko kye ntya. Abantu bayinza kunkolako ki?
7 여호와께서 내 편이 되사 나를 돕는 자 중에 계시니 그러므로 나를 미워하는 자에게 보응하시는 것을 내가 보리로다
Mukama ali nange, ye anyamba. Abalabe bange nnaabatunuuliranga n’amaaso ag’obuwanguzi.
8 여호와께 피함이 사람을 신뢰함보다 나으며
Kirungi okwesiga Mukama okusinga okwesiga omuntu.
9 여호와께 피함이 방백들을 신뢰함보다 낫도다
Kirungi okuddukira eri Mukama okusinga okwesiga abalangira.
Ensi zonna zanzinda ne zinneebungulula, naye mu linnya lya Mukama naziwangula.
Banneebungulula enjuuyi zonna; naye mu linnya lya Mukama nabawangula.
Bankuŋŋaanirako ne banneebungulula ng’enjuki; naye ne basirikka ng’amaggwa agakutte omuliro; mu linnya lya Mukama nabawangula.
Bannumba n’amaanyi mangi, ne mbulako katono okugwa; naye Mukama n’annyamba.
Mukama ge maanyi gange, era lwe luyimba lwange, afuuse obulokozi bwange.
Muwulire ennyimba ez’essanyu ez’obuwanguzi, nga ziyimbirwa mu weema z’abatuukirivu nti, “Omukono gwa Mukama ogwa ddyo gutukoledde ebikulu!
Omukono gwa Mukama ogwa ddyo gugulumizibbwa; omukono gwa Mukama ogwa ddyo gutukoledde ebikulu!”
Sijja kufa, wabula nzija kuba mulamu, ndyoke ntegeeze ebyo byonna Mukama by’akoze.
Mukama ambonerezza nnyo, naye tandese kufa.
Munzigulirewo emiryango egy’obutuukirivu, nnyingire, neebaze Mukama.
Guno gwe mulyango omunene ogwa Mukama, abatuukirivu mmwe banaayingiriranga.
Nkwebaza kubanga onnyanukudde n’ofuuka obulokozi bwange.
Ejjinja abazimbi lye baagaana lye lifuuse ejjinja ekkulu ery’oku nsonda.
Kino Mukama ye yakikola; era ffe tukiraba nga kya kitalo mu maaso gaffe.
Luno lwe lunaku Mukama lw’akoze; tusanyuke tulujagulizeeko.
Ayi Mukama tukwegayiridde, tulokole, Ayi Mukama tukwegayiridde otuwe obuwanguzi.
Alina omukisa oyo ajja mu linnya lya Mukama. Tubasabidde omukisa nga tuli mu nnyumba ya Mukama.
Mukama ye Katonda, y’atwakiza omusana. Mukumbire wamu nga mukutte amatabi mu ngalo zammwe n’ekiweebwayo kyammwe kituukire ddala ku mayembe g’ekyoto.
Ggwe Katonda wange, nnaakwebazanga; ggwe Katonda wange, nange nnaakugulumizanga.
Mwebaze Mukama kubanga mulungi, n’okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

< 시편 118 >