< 마가복음 6 >
1 예수께서 거기를 떠나사 고향으로 가시니 제자들도 좇으니라
Yesu n’ava mu kitundu ekyo n’abayigirizwa be n’addayo mu kibuga ky’ewaabwe.
2 안식일이 되어 회당에서 가르치시니 많은 사람이 듣고 놀라 가로되 `이 사람이 어디서 이런 것을 얻었느뇨 이 사람의 받은 지혜와 그 손으로 이루어지는 이런 권능이 어찌 됨이뇨
Olunaku lwa Ssabbiiti bwe lwatuuka n’agenda mu kkuŋŋaaniro okuyigiriza, abantu bangi abaaliwo ne beewuunya nnyo bwe baawulira bw’ayigiriza, ne bawuniikirira ne beebuuza nti, “Bino byonna yabiyigira wa era magezi ga ngeri ki ono ge yaweebwa n’eby’amagero ebyenkanidde wano by’akola?”
3 이 사람이 마리아의 아들 목수가 아니냐? 야고보와 요셉과 유다와 시몬의 형제가 아니냐? 그 누이들이 우리와 함께 여기 있지 아니하냐?' 하고 예수를 배척한지라
Ne beebuuza nti, “Ono si ye mwana w’omubazzi? Maliyamu si ye nnyina, ne baganda be si be ba Yakobo, ne Yose, ne Yuda ne Simooni? Ne bannyina tetubeera nabo kuno?” Ekyo ne kibatawanya mu mutima.
4 예수께서 저희에게 이르시되 `선지자가 자기 고향과 자기 친척과 자기집 외에서는 존경을 받지 않음이 없느니라' 하시며
Yesu n’abagamba nti, “Nnabbi aweebwa ekitiibwa buli wantu okuggyako mu nsi y’ewaabwe ne mu bantu be ne mu maka ge waabwe.”
5 거기서는 아무 권능도 행하실 수 없어 다만 소수의 병인에게 안수하여 고치실 뿐이었고
Naye teyakolerayo byamagero bingi okuggyako abalwadde abatonotono be yakwatako n’abawonya.
6 저희의 믿지 않음을 이상히 여기셨더라 이에 모든 촌에 두루 다니시며 가르치시더라
N’awuniikirira nnyo okulaba nga tebamukkirizza. Awo n’agenda ng’ayigiriza mu byalo ebiriraanyeewo.
7 열 두 제자를 부르사 둘씩 둘씩 보내시며 더러운 귀신을 제어하는 권세를 주시고
Awo Yesu n’ayita abayigirizwa be ekkumi n’ababiri n’abatuma babiri babiri era n’abawa obuyinza okugoba emyoyo emibi ku bantu.
8 명하시되 `여행을 위하여 지팡이 외에는 양식이나 주머니나 전대의 돈이나 아무 것도 가지지 말며
N’abakuutira obutatwala kantu konna okuggyako omuggo ogw’okutambuza gwokka nti, “Temutwala mmere wadde akagugu newaakubadde ensimbi mu lukoba.
9 신만 신고 두 벌 옷도 입지 말라' 하시고
Mwambale engatto naye temutwala kkanzu yakubiri.”
10 또 가라사대 `어디서든 뉘 집에 들어가거든 그 곳을 떠나기까지 거기 유하라
N’abagamba nti, “Era buli nnyumba gye munaayingirangamu musulanga omwo okutuusa lwe muliva mu kibuga ekyo.
11 어느 곳에서든지 너희를 영접지 아니하고 너희 말을 듣지도 아니하거든 거기서 나갈 때에 발 아래 먼지를 떨어버려 저희에게 증거를 삼으라' 하시니
Era bwe mutuukanga mu kifo ne batabaaniriza yadde okubawuliriza, bwe mubanga muvaayo mukunkumuliranga mu kifo omwo enfuufu ey’omu bigere byammwe, okuba akabonero gye bali.”
Awo abayigirizwa ne bagenda nga babuulira buli muntu nti, “Mwenenye.”
13 많은 귀신을 쫓아내며 많은 병인에게 기름을 발라 고치더라
Ne bagoba baddayimooni bangi ku bantu, ne basiiga abalwadde amafuta ne babawonya.
14 이에 예수의 이름이 드러난지라 헤롯 왕이 듣고 가로되 `이는 세례 요한이 죽은 자 가운데서 살아났도다 그러므로 이런 능력이 그 속에서 운동하느니라' 하고
Awo Kabaka Kerode n’awulira ettutumu lya Yesu, kubanga yali ayogerwako wonna olw’ebyamagero bye yakolanga. Naye Kerode n’alowooza nti Yokaana Omubatiza y’azuukidde, kubanga abantu baayogeranga nti, “Tewali muntu mulala ayinza kukola byamagero nga bino.”
15 어떤 이는 이가 엘리야라 하고 또 어떤이는 이가 선지자니 옛 선지자 중의 하나와 같다 하되
Naye abalala ne balowooza nti, “Eriya.” N’abalala ne bagamba nti, “Nnabbi ng’omu ku bannabbi ab’edda.”
16 헤롯은 듣고 가로되 `내가 목베인 요한 그가 살아났다' 하더라
Kerode bwe yabiwulira ye n’agamba nti, “Oyo Yokaana, omusajja gwe natemako omutwe, y’azuukide mu bafu.”
17 전에 헤롯이 자기가 동생 빌립의 아내 헤로디아에게 장가 든고로 이 여자를 위하여 사람을 보내어 요한을 잡아 옥에 가두었으니
Kubanga Kerode yennyini ye yatuma abaserikale be ne bakwata Yokaana Omubatiza ne bamuggalira mu kkomera, olwa Kerudiya muka muganda we Firipo, Kerode gwe yali awasizza.
18 이는 요한이 헤롯에게 말하되 `동생의 아내를 취한 것이 옳지 않다' 하였음이라
Yokaana yagamba Kerode nti, “Si kituufu okutwala Kerudiya muka muganda wo Firipo.”
19 헤로디아가 요한을 원수로 여겨 죽이고자 하였으되 하지 못한것은
Kerudiya n’ayagala okutta Yokaana yeesasuze, naye nga tayinza.
20 헤롯이 요한을 의롭고 거룩한 사람으로 알고 두려워하여 보호하며 또 그의 말을 들을 때에 크게 번민을 느끼면서도 달게 들음이러라
Kubanga Kerode yatyanga Yokaana Omubatiza, ng’amuwa ekitiibwa ng’omuntu wa Katonda ow’amazima era omutukuvu, era ng’amukuuma. Era Kerode bwe yayogeranga ne Yokaana ng’emmeeme ye tetereera, so nga yali ayagala nnyo okuwuliriza by’amugamba.
21 마침 기회 좋은 날이 왔으니 곧 헤롯이 자기 생일에 대신들과 천부장들과 갈릴리의 귀인들로 더불어 잔치할새
Naye olwali olwo, Kabaka Kerode n’afumba embaga ku lunaku lw’amazaalibwa ge, n’ayita abakungu be n’abakulu b’abaserikale n’abaami bonna abatutumufu mu Ggaliraaya.
22 헤로디아의 딸이 친히 들어와 춤을 추어 헤롯과 및 함께 앉은 자들을 기쁘게 한지라 왕이 그 여아에게 이르되 `무엇이든지 너 원하는 것을 내게 구하라 내가 주리라' 하고
Awo muwala wa Kerudiya yennyini n’ajja n’azina nnyo, n’asanyusa Kerode n’abagenyi be yali atudde nabo ku mbaga. Awo Kabaka Kerode n’agamba omuwala nti, “Nsaba kyonna ky’oyagala nange nnaakikuwa.”
23 또 맹세하되 `무엇이든지 네가 내게 구하면 내 나라의 절반까지라도 주리라' 하거늘
Era n’ayongera okumulayirira nti, “Kyonna kyonna ky’ononsaba yadde ekitundu ky’obwakabaka bwange nnaakikuwa!”
24 저가 나가서 그 어미에게 말하되 `내가 무엇을 구하리이까?' 그 어미가 가로되 `세례 요한의 머리를 구하라' 하니
Awo omuwala n’afuluma ne yeebuuza ku nnyina. Nnyina n’amugamba nti, “Saba omutwe gwa Yokaana Omubatiza!”
25 저가 곧 왕에게 급히 들어가 구하여 가로되 `세례 요한의 머리를 소반에 담아 곧 내게 주기를 원하옵나이다' 한대
Omuwala n’addayo mangu eri kabaka n’amusaba nti, “Njagala ompe kaakano, ku ssowaani, omutwe gwa Yokaana Omubatiza!”
26 왕이 심히 근심하나 자기의 맹세한 것과 그 앉은 자들을 인하여 저를 거절할 수 없는지라
Kino ne kinakuwaza nnyo kabaka, n’anyiikaala nnyo, kyokka olwokubanga yali amaze okulayira n’okweyama ng’abagenyi be bawulira, n’atya okumenya obweyamo bwe.
27 왕이 곧 시위병 하나를 보내어 `요한의 머리를 가져오라' 명하니 그 사람이 나가 옥에서 요한을 목 베어
Bw’atyo n’ayita omuserikale we, n’amulagira agende aleete omutwe gwa Yokaana. Omuserikale n’agenda mu kkomera, n’atemako Yokaana omutwe,
28 그 머리를 소반에 담아다가 여아에게 주니 여아가 이것을 그 어미에게 주니라
n’aguleeteera ku lutiba, n’aguwa omuwala n’omuwala n’agutwalira nnyina.
29 요한의 제자들이 듣고 와서 시체를 가져다가 장사하니라
Abayigirizwa ba Yokaana bwe baategeera ne bajja ne baggyawo omulambo gwe, ne bagutwala ne baguziika.
30 사도들이 예수께 모여 자기들의 행한 것과 가르친 것을 낱낱이 고하니
Awo abatume ne bakomawo awali Yesu ne bamunnyonnyola byonna bye baakola ne bye baayigiriza.
31 이르시되 `너희는 따로 한적한 곳에 와서 잠간 쉬어라' 하시니 이는 오고 가는 사람이 많아 음식 먹을 겨를도 없음이라
N’abagamba nti, “Mujje tugende mu kifo eteri bantu tuwummuleko.” Kubanga baali babuliddwa n’akaseera ak’okuliiramu ku mmere olw’abantu abangi abajjanga gye bali; bano baabanga baakavaawo ate ng’abalala bajja.
Bwe batyo ne balinnya mu lyato ne bagenda mu kifo ekiwolerevu eteri bantu.
33 그 가는 것을 보고 많은 사람이 저희인 줄 안지라 모든 고을로부터 도보로 그 곳에 달려와 저희보다 먼저 갔더라
Naye abantu bangi abaava mu bibuga bingi ne babalaba nga bagenda ne bategeera gye baali bagenda ne badduka okwetooloola ku lukalu ne babeesookayo.
34 예수께서 나오사 큰 무리를 보시고 그 목자 없는 양 같음을 인하여 불쌍히 여기사 이에 여러 가지로 가르치시더라
Yesu bwe yava mu lyato n’alaba ekibiina ky’abantu bangi abaali bakuŋŋaanye n’abasaasira nga bali ng’endiga ezitalina musumba. Awo n’atandika okubayigiriza ebintu bingi.
35 때가 저물어가매 제자들이 예수께 나아와 여짜오되 `이곳은 빈 들이요 때도 저물어가니
Awo obudde bwe bwawungeera abayigirizwa ne bajja awali Yesu ne bamugamba nti, “Ekifo kino kya ddungu ate n’obudde buwungedde.
36 무리를 보내어 두루 촌과 마을로 가서 무엇을 사 먹게 하옵소서'
Abantu basiibule bagende beegulire emmere mu byalo ne mu bibuga ebiriraanye wano.”
37 대답하여 가라사대 `너희가 먹을 것을 주라' 하시니 여짜오되 `우리가 가서 이백 데나리온의 떡을 사다 먹이리이까?'
Naye Yesu n’abaddamu nti, “Mmwe mubawe ekyokulya.” Ne bamubuuza nti, “Tugende tubagulire emmere nga ya dinaali ebikumi bibiri, tugibawe balye?”
38 이르시되 `너희에게 떡 몇 개나 있느냐? 가서 보라' 하시니 알아보고 가로되 `떡 다섯 개와 물고기 두 마리가 있더이다' 하거늘
Yesu n’ababuuza nti, “Mulina emigaati emeka? Mugende mulabe.” Bwe baamala okwetegereza ne bamugamba nti, “Waliwo emigaati etaano n’ebyennyanja bibiri.”
39 제자들을 명하사 그 모든 사람으로 떼를 지어 푸른 잔디 위에 앉게 하시니
Awo Yesu n’alagira abantu bonna batuule wansi ku muddo mu bibinja.
Awo ne batuula mu bibinja, eby’abantu ataano ataano, awalala kikumi kikumi.
41 예수께서 떡 다섯개와 물고기 두 마리를 가지사 하늘을 우러러 축사하시고 떡을 떼어 제자들에게 주어 사람들 앞에 놓게 하시고 또 물고기 두 마리도 모든 사람에게 나누어 주시매
Yesu n’atoola emigaati etaano n’ebyennyanja ebibiri n’ayimusa amaaso ge eri eggulu ne yeebaza Katonda. N’amenyaamenya emigaati n’ebyennyanja ebibiri, n’abiwa abayigirizwa be ne bagabula abantu bonna ne babuna.
Bonna ne balya ne bakkuta.
43 남은 떡 조각과 물고기를 열 두 바구니에 차게 거두었으며
Ne bakuŋŋaanya obukunkumuka bw’emigaati n’obw’ebyennyanja ebisero kkumi na bibiri.
Abasajja abaalya emigaati baali enkumi ttaano.
45 예수께서 즉시 제자들을 재촉하사 자기가 무리를 보내는 동안에 배타고 앞서 건너편 벳새다로 가게 하시고
Amangwago Yesu n’alagira abayigirizwa be basaabale mu lyato bawunguke bagende emitala w’ennyanja e Besusayida abasange eyo, ng’amaze okusiibula ebibiina by’abantu.
46 무리를 작별하신 후에 기도하러 산으로 가시다
Bwe yamala okubasiibula n’alinnya ku lusozi okusaba.
47 저물매 배는 바다 가운데 있고 예수는 홀로 뭍에 계시다가
Awo obudde bwe bwawungeera, Yesu ng’asigadde yekka ku lukalu,
48 바람이 거스리므로 제자들의 괴로이 노 젓는 것을 보시고 밤 사경 즈음에 바다 위로 걸어서 저희에게 오사 지나가려고 하시매
n’abalengera nga bategana n’eryato kubanga waaliwo omuyaga mungi n’amayengo amagulumivu ebyabafuluma mu maaso gye baali balaga. Awo obudde bwali bunaatera okukya nga ku ssaawa mwenda ez’ekiro, n’ajja gye bali ng’atambulira ku mazzi, n’aba ng’ayagala okubayitako.
49 제자들이 그의 바다 위로 걸어 오심을 보고 유령인가 하여 소리 지르니
Naye bwe baamulaba ng’atambulira ku nnyanja ne baleekaana nnyo, bonna, nga batidde, kubanga baalowooza nti muzimu,
50 저희가 다 예수를 보고 놀람이라 이에 예수께서 곧 더불어 말씀하여 가라사대 `안심하라! 내니 두려워 말라!' 하시고
kubanga bonna baamulaba ne batya. Naye n’ayanguwa okwogera nabo, n’abagamba nti, “Mugume omwoyo. Ye Nze, temutya.”
51 배에 올라 저희에게 가시니 바람이 그치는지라 제자들이 마음에 심히 놀라니
Awo n’alinnya mu lyato, omuyaga ne gulekeraawo okukunta! Abayigirizwa be ne bawuniikirira nnyo.
52 이는 저희가 그 떡 떼시던 일을 깨닫지 못하고 도리어 그 마음이 둔하여졌음이러라
Tebategeera kyamagero eky’emigaati kubanga emitima gyabwe gyali mikakanyavu.
Awo eryato lyabwe bwe lyagoba ku lubalama lw’ennyanja Genesaleeti,
54 배에서 내리니 사람들이 곧 예수신 줄을 알고
ne bavaamu. Abantu bwe balaba Yesu, amangwago ne bamutegeererawo.
55 그 온 지방으로 달려 돌아 다니며 예수께서 어디 계시단 말을 듣는대로 병든 자를 침상채로 메고 나아오니
Ne babuna mu bitundu ebyali biriraanyeewo nga bamuleetera abalwadde nga basituliddwa ku butanda.
56 아무데나 예수께서 들어가시는 마을이나 도시나 촌에서 병자를 시장에 두고 예수의 옷가에라도 손을 대게 하시기를 간구하니 손을 대는 자는 다 성함을 얻으니라
Wonna wonna gye yagendanga, mu byalo, mu bibuga, mu butale ne ku nguudo ne baleeta abalwadde ne bamwegayirira waakiri bakwateko bukwasi ku lukugiro lw’ekyambalo kye. Era bonna abaakikwatako ne bawona.