< 레위기 7 >

1 속건제의 규례는 이러하니라 이는 지극히 거룩하니
“‘Bino bye biragiro eby’ekiweebwayo olw’omusango; kinaabanga kitukuvu nnyo.
2 번제 희생을 잡는 곳에서 속건제의 희생을 잡을 것이요 제사장은 그 피를 단 사면에 뿌릴 것이며
Ekiweebwayo olw’omusango kinattirwanga awo wennyini ekiweebwayo ekyokebwa we kittirwa, era omusaayi gwakyo gunaamansirwanga ku njuyi zonna ez’ekyoto okukyebungulula.
3 그 모든 기름을 드리되 곧 그 기름진 꼬리와, 내장에 덮인 기름과,
Amasavu gaakyo gonna ganaawebwangayo: omukira ogwa ssava, amasavu agabikka ku byenda,
4 두 콩팥과, 그 위의 기름 곧 허리 근방에 있는 것과, 간에 덮인 꺼풀을 콩팥과 함께 취하고
ensigo zombi awamu n’amasavu agaziriko okuliraana ekiwato, n’ekibikka ku kibumba nga biggyibwako wamu n’ensigo.
5 제사장은 그것을 다 단 위에 불살라 여호와께 화제로 드릴 것이니라 이는 속건제요
Kabona anaabyokeranga ku kyoto nga kye kiweebwayo eri Mukama ekyokeddwa mu muliro. Ekyo kye kiweebwayo olw’omusango.
6 지극히 거룩하니 이것을 제사장의 남자마다 먹되 거룩한 곳에서 먹을지며
Buli kabona omusajja anaayinzanga okukiryako; kyokka kinaalirwanga mu kifo ekitukuvu. Kiweebwayo kitukuvu nnyo.
7 속건제나 속죄제는 일례니 그 제육은 속하는 제사장에게로 돌아갈 것이요
Ebiragiro ebikwata ku kiweebwayo olw’omusango bye bimu n’ebikwata ku kiweebwayo olw’ekibi. Kabona anaakozesanga ebiweebwayo ebyo olw’okutangiririra, y’anaabitwalanga.
8 사람의 번제를 드리는 제사장 곧 그 제사장은 그 드린 번제물의 가죽을 자기가 얻을 것이며
Kabona anaaweerangayo omuntu yenna ekiweebwayo kye ekyokebwa, y’aneesigalizanga eddiba ly’ekiweebwayo ekyo.
9 무릇 화덕에 구운 소제물과 솥에나 번철에 만든 소제물은 그 드린 제사장에게로 돌아갈 것이니
Era buli kiweebwayo eky’emmere ey’empeke ekinaafumbibwanga mu oveni n’ekyo kyonna ekinaateekerwateekerwanga ku fulampeni oba ku lukalango, kabona oyo akiwaddeyo y’anaakitwalanga.
10 무릇 소제물은 기름 섞은 것이나 마른 것이나 아론의 모든 자손이 평균히 분배할 것이니라
Era na buli kiweebwayo eky’empeke ekya buli ngeri, nga kitabuddwa mu mafuta ag’omuzeeyituuni oba nga kikalu kyereere, batabani ba Alooni be banaakitwalanga nga bakigabana kyenkanyi buli omu.
11 여호와께 드릴 화목제 희생의 규례는 이러하니라
“‘Bino by’ebiragiro eby’ekiweebwayo olw’emirembe omuntu ky’anaawangayo eri Mukama.
12 만일 그것을 감사하므로 드리거든 기름 섞은 무교병과 기름 바른 무교병과 고운 가루에 기름 섞어 구운 과자를 그 감사 희생과 함께 드리고
“‘Bw’anaakiwangayo olw’okwebaza, ekiweebwayo ekyo anaakigattirangako zikkeeke ezitabuliddwamu amafuta ag’omuzeeyituuni kyokka nga temuli kizimbulukusa, n’obusukuuti obw’oluwewere nga busiigiddwako amafuta ag’omuzeeyituuni, ne zikkeeke ez’obuwunga obulungi ennyo nga zigoyeddwa bulungi mu mafuta.
13 또 유교병을 화목제의 감사 희생과 함께 그 예물에 드리되
Awamu n’ebiweebwayo bye olw’emirembe n’olw’okwebaza, anaaleeterangako emigaati emifumbe n’ekizimbulukusa.
14 그 전체의 예물 중에서 하나씩 여호와께 거제로 드리고 그것을 화목제의 피를 뿌린 제사장들에게로 돌릴지니라!
Ku buli kimu ku biweebwayo ebyo anaggyangako omugaati gumu n’aguwaayo ng’ekiweebwayo eri Mukama; kabona anaamansiranga omusaayi ogw’ekiweebwayo olw’emirembe y’anaatwalanga ekiweebwayo ekyo.
15 감사함으로 드리는 화목제 희생의 고기는 드리는 그 날에 먹을 것이요, 조금이라도 이튿날 아침까지 두지 말 것이니라
Ennyama y’ebiweebwayo by’omuntu oyo by’aleese olw’emirembe olw’okwebaza eneeriibwanga ku lunaku olwo lwennyini olw’ebiweebwayo bye ebyo; tekubangako gy’asuzaawo.
16 그러나 그 희생의 예물이 서원이나 자원의 예물이면 그 희생을 드린 날에 먹을 것이요, 그 남은 것은 이튿날에도 먹되
“‘Naye omuntu bw’anaawangayo ekiweebwayo olw’okutuukiriza obweyamo, oba olw’okweyagalira, kinaaliibwanga ku lunaku olwo lwennyini lw’akiwaddeyo; ekinaasigalangawo ku kiweebwayo ekyo kinaaliibwanga enkeera.
17 그 희생의 고기가 제 삼일까지 남았으면 불사를지니
Ennyama ey’ekiweebwayo eneefikkangawo n’etuusa ku lunaku olwokusatu eneeyokebwanga mu muliro.
18 만일 그 화목제 희생의 고기를 제 삼일에 조금이라도 먹으면 그 제사는 열납되지 않을 것이라 드린 자에게도 예물답게 못되고 도리어 가증한 것이 될 것이며 그것을 먹는 자는 죄를 당하리라
Ennyama y’ekiweebwayo ky’omuntu oyo olw’emirembe bw’eneeriibwanga ku lunaku olwokusatu, ekiweebwayo ekyo Mukama taakikkirizenga, n’oyo akiwaddeyo tekiimubalirwengako kubanga tekiibenga kirongoofu, ne buli anaakiryangako anaabanga azzizza omusango.
19 그 고기가 부정한 물건에 접촉되었으면 먹지 말고 불사를 것이라 그 고기는 깨끗한 자만 먹을 것이니
“‘Ennyama eneekoonanga ku kintu kyonna ekitali kirongoofu teeriibwenga, wabula eneeyokebwanga mu muliro; naye ku nnyama endala omuntu yenna omulongoofu anaayinzanga okulyako.
20 만일 몸이 부정한 자가 여호와께 속한 화목제 희생의 고기를 먹으면 그 사람은 자기 백성 중에서 끊쳐질 것이요
Naye omuntu atali mulongoofu bw’anaalyanga ku nnyama ey’ekiweebwayo eri Mukama olw’emirembe, anaaboolebwanga nga takyabalirwa mu bantu be.
21 만일 누구든지 부정한 것 곧 사람의 부정이나 부정한 짐승이나 부정하고 가증한 아무 물건이든지 만지고 여호와께 속한 화목제 희생의 고기를 먹으면 그 사람도 자기 백성 중에서 끊쳐지리라!
Era omuntu yenna bw’anaakwatanga ku kintu ekitali kirongoofu, obanga kivudde mu muntu oba mu nsolo, oba ekintu kyonna ekikyayibwa ekitali kirongoofu, ate n’alya ku nnyama y’ekiweebwayo eri Mukama olw’emirembe, omuntu oyo anaaboolebwanga, nga takyabalirwa mu bantu be.’”
22 여호와께서 모세에게 일러 가라사대
Mukama n’agamba Musa nti,
23 이스라엘 자손에게 고하여 이르라 너희는 소나 양이나 염소의 기름을 먹지 말 것이요
“Tegeeza abaana ba Isirayiri nti, ‘Temulyanga ku masavu ga nte, oba ag’endiga, oba ag’embuzi.
24 스스로 죽은 것의 기름이나 짐승에게 찢긴 것의 기름은 달리는 쓰려니와 결단코 먹지 말지니라
Amasavu g’ensolo efudde obufi yokka, n’amasavu g’eyo etaaguddwataaguddwa ensolo endala munaagakozesanga ku bintu ebirala byonna eby’omugaso, naye tekabatandanga ne mugalyako.
25 사람이 여호와께 화제로 드리는 희생의 기름을 먹으면 그 먹는 자는 자기 백성 중에서 끊쳐지리라!
Kubanga buli muntu anaalyanga ku masavu ag’ensolo eneevangako ekiweebwayo eri Mukama ekyokeddwa mu muliro, anaaboolebwanga, nga takyabalirwa mu bantu ba Mukama.
26 너희의 사는 모든 곳에서 무슨 피든지 새나 짐승의 피를 먹지 말라!
Era buli kifo kyonna gye munaabeeranga, temuulyenga ku musaayi n’akatono, ne bwe gunaabanga ogw’ebinyonyi oba ogw’ensolo.
27 무슨 피든지 먹는 사람이 있으면 그 사람은 다 자기 백성 중에서 끊쳐지리라!
Omuntu yenna anaalyanga ku musaayi, omuntu oyo anaaboolebwanga, nga takyabalirwa mu bantu be.’”
28 여호와께서 모세에게 일러 가라사대
Mukama n’agamba Musa nti,
29 이스라엘 자손에게 고하여 이르라 화목제의 희생을 여호와께 드리려는 자는 그 화목제 희생 중에서 그 예물을 취하여 여호와께 가져오되
“Tegeeza abaana ba Isirayiri nti, Omuntu anaaleetanga ekiweebwayo kye olw’emirembe eri Mukama, anaawangayo eri Mukama Katonda ekitundu kyakyo.
30 여호와의 화제는 그 사람이 자기 손으로 가져올지니 곧 그 제물의 기름과 가슴을 가져올 것이요 제사장은 그 가슴을 여호와 앞에 흔들어 요제를 삼고
Anaakisitulanga n’engalo ze n’akireeta eri Mukama Katonda nga kye kiweebwayo kye ekyokeddwa mu muliro. Amasavu n’ekifuba nabyo anaabireetanga, n’awuubawuuba ekifuba mu maaso ga Mukama, ng’ekyo kye kiweebwayo ekiwuubibwa.
31 그 기름은 단 위에 불사를 것이며 가슴은 아론과 그 자손들에게 돌릴 것이며
Amasavu kabona anaagokyanga ku kyoto, naye ekifuba kinaabanga kya Alooni ne batabani be.
32 또 너희는 그 화목제 희생의 우편 뒷다리를 제사장에게 주어 거제를 삼을지니
Ekisambi ekya ddyo kinaawebwanga kabona nga gwe mugabo gwe oguvudde ku kiweebwayo ky’omuntu oyo olw’emirembe.
33 아론의 자손 중 화목제 희생의 피와 기름을 드리는 자가 그 우편 뒷다리를 자기의 소득으로 삼을 것이라
Mutabani wa Alooni anaabanga awaddeyo omusaayi n’amasavu eby’ekiweebwayo olw’emirembe, y’anaafunanga ekisambi ekya ddyo nga gwe mugabo gwe.
34 내가 이스라엘 자손의 화목제 중에서 그 흔든 가슴과 든 뒷다리를 취하여 제사장 아론과 그 자손에게 주었나니 이는 이스라엘 자손에게 받을 영원한 소득이니라
Ku kiweebwayo olw’emirembe eky’abaana ba Isirayiri, nzigyeko ekifuba ekiwuubibwawuubibwa n’ekisambi, ne mbiwa kabona Alooni ne batabani be, nga gwe gunaabanga omugabo gwabwe ogunaavanga mu baana ba Isirayiri emirembe gyonna.”
35 이는 여호와의 화제 중에서 아론에게 돌릴 것과 그 자손에게 돌릴 것이니 그들을 세워 여호와의 제사장의 직분을 행하게 한 날
Guno gwe mugabo nga guva ku biweebwayo eri Mukama Katonda ebyokeddwa mu muliro, ogwagerekerwa Alooni ne batabani be ku lunaku lwe baaleetebwa eri Mukama okumuweereza nga bakabona be.
36 곧 그들에게 기름 부은 날에 여호와께서 명하사 이스라엘 자손 중에서 그들에게 돌리게 하신 것이라 대대로 영원히 받을 소득이니라
Ku lunaku lwe baafukibwako amafuta ag’omuzeeyituuni, Mukama Katonda yalagira nti abaana ba Isirayiri babibawenga okubeeranga omugabo gwabwe, ogw’enkalakkalira emirembe gyonna.
37 이는 번제와, 소제와, 속죄제와, 속건제와, 위임제와, 화목제의 규례라
Eryo lye tteeka n’ebiragiro ebifuga ebiweebwayo ebyokebwa, ebiweebwayo eby’emmere ey’empeke, n’ebiweebwayo olw’ekibi, n’ebiweebwayo olw’omusango, n’ebiweebwayo olw’okwawulibwa, n’ebiweebwayo olw’emirembe,
38 여호와께서 시내 광야에서 이스라엘 자손에게 그 예물을 여호와께 드리라 명하신 날에 시내산에서 이같이 모세에게 명하셨더라
Mukama Katonda bye yawa Musa ku lusozi Sinaayi ku lunaku lwe yalagirirako abaana ba Isirayiri okuleeta ebiweebwayo byabwe eri Mukama Katonda, mu ddungu lya Sinaayi.

< 레위기 7 >