< 레위기 27 >

1 여호와께서 모세에게 일러 가라사대
Awo Mukama n’agamba Musa nti,
2 이스라엘 자손에게 고하여 이르라 사람을 여호와께 드리기로 서원하였으면 너는 그 값을 정할지니
“Yogera eri abaana ba Isirayiri obagambe nti: Omuntu bw’anaakolanga obweyamo obw’enjawulo obw’okuwaayo abantu eri Mukama naye ng’asasulayo miwendo egibagyamu, onoobasaliranga bw’oti:
3 너의 정한 값은 이십세로 육십세까지는 남자이면 성소의 세겔대로 은 오십 세겔로 하고
omusajja aweza emyaka egy’obukulu egiri wakati w’amakumi abiri n’enkaaga anaaleetanga sekeri za ffeeza amakumi ataano, nga sekeri z’omu watukuvu bwe ziba,
4 여자이면 그 값을 삼십 세겔로 하며
naye bw’anaabanga omukazi onoomusaliranga sekeri amakumi asatu.
5 오세로 이십세까지는 남자이면 그 값을 이십 세겔로 하고 여자이면 십 세겔로 하며
Omuntu aweza emyaka egy’obukulu egiri wakati w’ettaano n’amakumi abiri, bw’anaabanga omusajja onoomusaliranga sekeri amakumi abiri naye omukazi sekeri kkumi.
6 일개월로 오세까지는 남자이면 그 값을 은 오 세겔로 하고 여자이면 그 값을 은 삼 세겔로 하며
Bw’anaabanga omwana ng’ali wakati w’omwezi gumu n’emyaka etaano, onoomusaliranga sekeri ttaano eza ffeeza nga mulenzi, naye omuwala sekeri za ffeeza ssatu.
7 육십세 이상은 남자이면 그 값을 십 오 세겔로 하고 여자는 십 세겔로 하라
Omuntu bw’anaabanga ow’emyaka egy’obukulu nkaaga n’okusingawo, omusajja onoomusaliranga sekeri kkumi na ttaano n’omukazi sekeri kkumi.
8 그러나 서원자가 가난하여 너의 정가를 감당치 못하겠으면 그를 제사장의 앞으로 데리고 갈 것이요 제사장은 그 값을 정하되 그 서원자의 형세대로 값을 정할지니라
Omuntu eyakola obweyamo bw’anaabanga omwavu ennyo atasobola kuleeta miwendo egyo gye wamusalira, anaayanjulwanga eri kabona; kale kabona anaamusaliranga omuwendo ogumugyamu ng’ageraageranya obusobozi bw’oyo eyeeyama nga bwe bunaabanga.
9 사람이 예물로 여호와께 드리는 것이 생축이면 서원물로 여호와께 드릴 때는 다 거룩하니
“Obweyamo bw’omuntu bwe bunaabeeranga obw’ekisolo ekikkirizibwa ng’ekiweebwayo eri Mukama Katonda, ekisolo ng’ekyo ekiweebwayo eri Mukama Katonda kinaabanga kitukuvu.
10 그것을 변개하여 우열간 바꾸지 못할 것이요 혹 생축으로 생축을 바꾸면 둘 다 거룩할 것이며
Tasaaniranga kukikyusaamu oba kukiwaanyisaamu ekibi mu kirungi wadde ekirungi mu kibi; bw’anaabanga awaanyisizza ekisolo ekimu mu kirala, byombi kino na kiri ky’awanyisizzaamu binaafuukanga bitukuvu.
11 부정하여 여호와께 예물로 드리지 못할 생축이면 그 생축을 제사장 앞으로 끌어 갈 것이요
Ensolo omuntu gy’anaabanga yeeyamye bw’eneebanga etali nnongoofu, etakkirizibwa ng’ekiweebwayo eri Mukama Katonda, ensolo eyo esaanira okuleetebwanga eri kabona,
12 제사장은 그 우열간에 정가할지니 그 값이 제사장의 정한 대로 될것이며
ye alyokenga asalewo nga bw’eri, oba nnungi oba mbi. Omuwendo kabona gw’anaabaliriranga ku nsolo eyo, gwe gunaawebwangayo.
13 그가 그것을 무르려면 정가에 그 오분 일을 더할지니라
Nannyini nsolo bw’anaabanga ayagala okuginunulayo, anaasaniranga okugattako ekitundu ekimu ekyokutaano ku muwendo gwayo.
14 사람이 자기 집을 구별하여 여호와께 드리려면 제사장이 그 우열간에 정가할지니 그 값이 제사장의 정한 대로 될 것이며
“Omusajja bw’anaawangayo ennyumba ye okubeera entukuvu eri Mukama Katonda kabona anaagirabiranga omuwendo ogugigyamu, oba nnungi oba mbi. Omuwendo ogwo kabona gw’anaasalanga gwe gunaakolanga.
15 그 사람이 자기 집을 무르려면 정가한 돈에 그 오분 일을 더할지니 그리하면 자기 소유가 되리라
Oyo anaawangayo ennyumba ye eri Mukama bw’anaabanga ayagala okuginunula, anaayongerangako ekitundu kimu kyakutaano ku muwendo gwayo, olwo ng’ennyumba emuddira.
16 사람이 자기 기업된 밭 얼마를 구별하여 여호와께 드리려면 두락수대로 정가하되 보리 한 호멜지기에는 은 오십 세겔로 계산할지며
“Omusajja bw’anaawangayo ekitundu ky’ettaka lye, lye yasikira, eri Mukama Katonda, omuwendo oguligyamu gunaabalirirwanga nga gwesigamizibwa ku bungi bw’ensigo ezeetaagibwa okusiga ku ttaka eryo ne ziggweerako; ensigo za sayiri ezipimibwamu oma zinaabalirirwangamu sekeri za ffeeza amakumi ataano.
17 그가 그 밭을 희년부터 구별하여 드렸으면 그 값을 네가 정한대로 할 것이요
Singa ennimiro ye, agiwaayo mu biseera by’Omwaka gwa Jjubiri, omuwendo ogubaliriddwa gunaasigalanga nga bwe guli.
18 그 밭을 희년 후에 구별하여 드렸으면 제사장이 다음 희년까지 남은 연수를 따라 그 값을 계산하고 정가에서 그 값에 상당하게 감할 것이며
Naye bw’anaawangayo ennimiro ye nga Jjubiri eweddeko, kabona anagibalirirangamu omuwendo ng’agwesigamya ku myaka eginaabanga gibulayo Omwaka gwa Jjubiri eddirira gulyoke gutandike, n’omuwendo ogwali gubaliriddwa gunaakendeezebwangako.
19 밭을 구별하여 드린 자가 그것을 무르려면 정가한 돈에 그 오분일을 더할지니 그리하면 그것이 자기 소유가 될 것이요
Era oyo anaabanga awaddeyo ennimiro ye bw’anaayagalanga okuginunula, kale anaagattangako ekitundu kimu kyakutaano ku muwendo gwayo, olwo ennimiro n’emuddira.
20 그가 그 밭을 무르지 아니하려거나 타인에게 팔았으면 다시는 무르지 못하고
Naye bw’anaabanga tayagala kununula nnimiro eyo, oba bw’anaabanga agiguzizza omuntu omulala, kale ng’olwo tekyanunulibwa n’akamu.
21 희년이 되어서 그 밭이 돌아오게 될 때에는 여호와께 바친 성물이 되어 영영히 드린 땅과 같이 제사장의 기업이 될 것이며
Naye mu Mwaka gwa Jjubiri ennimiro eyo bw’eneeteebwanga, eneebanga ntukuvu, ng’ennimiro eyawongebwa ewa Mukama; eneebanga ya kabona.
22 사람에게 샀고 자기 기업이 아닌 밭을 여호와께 구별하여 드렸으면
“Omusajja bw’anaawangayo eri Mukama Katonda ennimiro gye yagula, etali ku ttaka lye ery’obwannannyini,
23 너는 정가하고 제사장은 그를 위하여 희년까지 계산하고 그는 너의 정가한 돈을 그 날에 여호와께 드려 성물을 삼을지며
kabona anaabaliriranga omuwendo ogugigyamu okutuuka ku mwaka gwa Jjubiri, omusajja anaasasulanga omuwendo ogwo ku lunaku olwo ng’ekintu ekitukuvu eri Mukama Katonda.
24 그 밭은 희년에 판 사람 곧 그 기업의 본주에게로 돌아 갈지니라
Mu mwaka gwa Jjubiri, ennimiro eneddizibwanga oyo gwe yagigulako, nga y’oyo eyali nannyini ttaka.
25 너의 모든 정가를 성소의 세겔대로 하되 이십 게라를 한 세겔로 할지니라
Buli muwendo ogubalirirwa guneesigamizibwanga ku sekeri z’Awatukuvu, nga gera amakumi abiri zivaamu sekeri emu.
26 오직 생축의 첫새끼는 여호와께 돌릴 첫새끼라 우양을 물론하고 여호와의 것이니 누구든지 그것으로는 구별하여 드리지 못할 것이며
“Tewabanga awaayo omwana gw’ensolo omubereberye eri Mukama, kubanga abaana b’ensolo ababereberye bonna ba Mukama, oba nte oba ndiga zonna za Mukama Katonda.
27 부정한 짐승이면 너의 정가에 그 오분 일을 더하여 속할 것이요 만일 속하지 아니하거든 너의 정가대로 팔지니라
Bw’anaabanga awaddeyo emu ku nsolo ezitali nnongoofu, anagisasuliranga omuwendo gwayo ogwagibalirirwamu, ng’agattako ekitundu kimu kyakutaano eky’omuwendo gwayo. Bw’ataaginunulengayo eneetundwanga omuwendo ogwagibalirirwamu.
28 오직 여호와께 아주 바친 그 물건은 사람이든지 생축이든지 기업의 밭이든지 팔지도 못하고 속하지도 못하나니 바친 것은 다 여호와께 지극히 거룩함이며
“Naye omuntu yenna bw’anaamalanga okuwongera Mukama Katonda ku bintu bye by’anaabanga nabyo, gamba oba muntu oba kisolo oba ennimiro ye gye yasikira, tewaabengawo ku bintu ebyo bitundibwa oba okununulibwa; buli kintu ekiwongere ddala mu ngeri eyo kinaabanga kitukuvu nnyo eri Mukama Katonda.
29 아주 바친 그 사람은 다시 속하지 못하나니 반드시 죽일지니라!
Omuntu eyawongebwa nga wa kuttibwa, taanunulibwenga kinaamusaaniranga kuttibwa.
30 땅의 십분 일 곧 땅의 곡식이나 나무의 과실이나 그 십분 일은 여호와의 것이니 여호와께 성물이라
“Buli kitundu eky’ekkumi ekiva mu nsi, gamba ku mmere ey’empeke eva mu ttaka, oba ku bibala ebiva ku miti, kya Mukama Katonda, era kitukuvu eri Mukama Katonda.
31 사람이 그 십분 일을 속하려면 그것에 그 오분 일을 더할 것이요
Omuntu anaayagalanga okununula ku bitundu bye eby’ekkumi, anaagatangako ekitundu kimu kyakutaano ku muwendo gwakyo.
32 소나 양의 십분 일은 막대기 아래로 통과하는 것의 열째마다 여호와의 거룩한 것이 되리니
Ebitundu eby’ekkumi byonna ebyamagana g’ente n’eby’ebisibo by’endiga, kwe kugamba nti buli nsolo omusumba gy’anaabalanga nga ya kkumi, eneebanga ntukuvu eri Mukama Katonda.
33 그 우열을 교계하거나 바꾸거나 하지 말라 바꾸면 둘 다 거룩하리니 속하지 못하리라
Tasaaniranga kulondamu nnungi ng’alekawo embi, oba okuwaanyisa. Bw’anaawaanyisanga ng’olwo ensolo zombi, eri n’eno ewanyisizibbwa zinaafuukanga ntukuvu teziinunulibwenga.”
34 이상은 여호와께서 시내산에서 이스라엘 자손을 위하여 모세에게 명하신 계명이니라
Ago ge mateeka Mukama Katonda ge yawa Musa ku lusozi Sinaayi agategeeze abaana ba Isirayiri.

< 레위기 27 >