< 요한복음 16 >
1 내가 이것을 너희에게 이름은 너희로 실족지 않게 하려 함이니
“Ebyo mbibategeezezza muleme kwesittala.
2 사람들이 너희를 출회 할 뿐 아니라 때가 이르면 무릇 너희를 죽이는 자가 생각하기를 이것이 하나님을 섬기는 예라 하리라
Banaabagobanga mu makuŋŋaaniro, era ekiseera kijja buli anaabattanga n’alowooza nti aweereza Katonda.
3 저희가 이런 일을 할 것은 아버지와 나를 알지 못함이라
Ebyo balibibakola kubanga Kitange tebaamumanya, era nange tebammanyi.
4 오직 너희에게 이 말을 이른 것은 너희로 그 때를 당하면 내가 너희에게 이 말 한 것을 기억나게 하려 함이요 처음부터 이 말을 하지 아니한 것은 내가 너희와 함께 있었음이니라
Kale bino mbibabuulidde nga tebinnabaawo, ekiseera bwe kirituuka ne bibaawo mulyoke mujjukire nti nabagamba. Ebyo saabibategeerezaawo ku lubereberye kubanga nnali nkyali nammwe.
5 지금 내가 나를 보내신 이에게로 가는데 너희 중에서 나더러 어디로 가느냐 묻는 자가 없고
Kaakano ŋŋenda eri eyantuma. Naye tewali n’omu ku mmwe ambuuza nti, ‘Ogenda wa?’
6 도리어 내가 이 말을 하므로 너희 마음에 근심이 가득하였도다
Naye kubanga mbategeezezza ebyo emitima gyammwe gijjudde ennaku.
7 그러하나 내가 너희에게 실상을 말하노니 내가 떠나가는 것이 너희에게 유익이라 내가 떠나가지 아니하면 보혜사가 너희에게로 오시지 아니할 것이요 가면 내가 그를 너희에게로 보내리니
Naye mbategeereza ddala nti ekisinga obulungi gye muli Nze kwe kugenda. Kubanga bwe sigenda Omubeezi tagenda kujja, kyokka bwe ŋŋenda, ndimutuma gye muli.
8 그가 와서 죄에 대하여 의에 대하여 심판에 대하여 세상을 책망하시리라
Ye bw’alijja, alirumiriza ensi olw’ekibi, n’olw’obutuukirivu n’olw’omusango,
9 죄에 대하여라 함은 저희가 나를 믿지 아니함이요
kubanga tebanzikkiriza,
10 의에 대하여라 함은 내가 아버지께로 가니 너희가 다시 나를 보지 못함이요
olw’obutuukirivu kubanga ŋŋenda eri Kitange era temukyandaba,
11 심판에 대하여라 함은 이 세상 임금이 심판을 받았음이니라
n’olw’omusango, kubanga omufuzi w’ensi eno asaliddwa omusango.
12 내가 아직도 너희에게 이를 것이 많으나 지금은 너희가 감당치 못하리라
“Nkyalina bingi eby’okubategeeza naye kaakano temusobola kubitegeera.
13 그러하나 진리의 성령이 오시면 그가 너희를 모든 진리 가운데로 인도하시리니 그가 자의로 말하지 않고 오직 듣는 것을 말하시며 장래 일을 너희에게 알리시리라
Naye Omwoyo ow’amazima, bw’alijja alibaluŋŋamya mu mazima gonna, kubanga, taliyogera ku bubwe, wabula anaabategeezanga ebyo by’awulira. Anaababuuliranga ebigenda okubaawo.
14 그가 내 영광을 나타내리니 내 것을 가지고 너희에게 알리겠음이니라
Oyo agenda kungulumiza, kubanga agenda kubategeeza bye nnaamubuuliranga.
15 무릇 아버지께 있는 것은 다 내 것이라 그러므로 내가 말하기를 그가 내 것을 가지고 너희에게 알리리라 하였노라
Byonna Kitange by’alina byange, kyenvudde ŋŋamba nti Mwoyo Mutukuvu anaabategeezanga bye nnaamubuuliranga.
16 조금 있으면 너희가 나를 보지 못하겠고 또 조금 있으면 나를 보리라' 하신대
Mu bbanga ttono munaaba temukyandaba, ate wanaayitawo ebbanga ttono ne mundaba!”
17 제자 중에서 서로 말하되 `우리에게 말씀하신바 조금 있으면 나를 보지 못하겠고 또 조금 있으면 나를 보리라' 하시며 또 내가 아버지께로 감이라 하신 것이 무슨 말씀이뇨 하고
Abamu ku bayigirizwa be ne beebuzaganya nti, “Kiki ekyo ky’agamba nti, ‘Mu bbanga ttono temuliddayo kundaba, ate mu bbanga ttono munandaba,’ era nti, ‘Kubanga ŋŋenda eri Kitange?’”
18 또 말하되 `조금 있으면이라 한 말씀이 무슨 말씀이뇨? 무엇을 말씀하시는지 알지 못하노라' 하거늘
Ne beeyongera okwebuuza nti, “Kiki ekyo ky’agamba nti, ‘Ebbanga ttono?’ Tetutegeera ky’agamba.”
19 예수께서 그 묻고자 함을 아시고 가라사대 `내 말이 조금 있으면 나를 보지 못하겠고 또 조금 있으면 나를 보리라 하므로 서로 문의하느냐?
Yesu bwe yamanya nga baagala okumubuuza n’abagamba nti, “Mwebuuzaganya ku kye ŋŋambye nti mu bbanga ttono munaaba temukyandaba ate wanaayitawo ebbanga ttono ne mundaba?
20 내가 진실로 진실로 너희에게 이르노니 너희는 곡하고 애통하겠으나 세상은 기뻐하리라 너희는 근심하겠으나 너희 근심이 도리어 기쁨이 되리라
Ddala ddala mbagamba nti mmwe mulikaaba, mulikuba ebiwoobe, naye ensi yo erisanyuka. Mmwe mulinakuwala naye okunakuwala kwammwe kulifuuka essanyu eritagambika bwe mulindabako nate.
21 여자가 해산하게 되면 그 때가 이르렀으므로 근심하나 아이를 낳으면 세상에 사람 난 기쁨을 인하여 그 고통을 다시 기억지 아니하느니라
Omukazi ng’azaala aba mu bulumi buyitirivu, kubanga ekiseera kye kituuse. Naye omwana bw’amala okuzaalibwa olwo omukazi aba takyajjukira bulumi buli olw’essanyu ery’okuzaala omuntu mu nsi.
22 지금은 너희가 근심하나 내가 다시 너희를 보리니 너희 마음이 기쁠 것이요 너희 기쁨을 빼앗을 자가 없느니라
Kale nammwe kaakano munakuwadde, naye ndiddamu okubalaba ne musanyuka, era essanyu lyammwe tewali n’omu aliribaggyako.
23 그 날에는 너희가 아무 것도 내게 묻지 아니하리라 내가 진실로 진실로 너희에게 이르노니 너희가 무엇이든지 아버지께 구하는 것을 내 이름으로 주시리라
Mu kiseera ekyo nga temukyansaba kintu na kimu, mmwe bennyini munaasabanga Kitange mu linnya lyange.
24 지금까지는 너희가 내 이름으로 아무 것도 구하지 아니하였으나 구하라 그리하면 받으리니 너희 기쁨이 충만하리라
Kino mubadde temukikola, naye kaakano mukitandike. Musabe mu linnya lyange, mujja kuweebwa ekyo kye musaba, essanyu lyammwe liryoke lituukirire.
25 이것을 비사로 너희에게 일렀거니와 때가 이르면 다시 비사로 너희에게 이르지 않고 아버지에 대한 것을 밝히 이르리라
Ebyo mbibabuulidde mu ngero. Naye ekiseera kijja kutuuka nneme kwogera nammwe mu ngero, wabula mbabuulire lwatu ebifa ku Kitange.
26 그 날에 너희가 내 이름으로 구할 것이요 내가 너희를 위하여 아버지께 구하겠다 하는 말이 아니니
Mu kiseera ekyo mulisaba mu linnya lyange, so si Nze okubasabira eri Kitange.
27 이는 너희가 나를 사랑하고 또 나를 하나님께로서 온 줄 믿은 고로 아버지께서 친히 너희를 사랑하심이니라
Kitange abaagala nnyo kubanga nammwe munjagala nnyo era mukkiriza nti nava eri Katonda.
28 내가 아버지께로 나와서 세상에 왔고 다시 세상을 떠나 아버지께로 가노라' 하시니
Nava eri Kitange ne nzija mu nsi era nzija kuva mu nsi nzireyo eri Kitange.”
29 제자들이 말하되 지금은 밝히 말씀하시고 아무 비사도 하지 아니하시니
Awo abayigirizwa be ne bamugamba nti, “Kaakano oyogera lwatu, so si mu ngero.
30 우리가 지금에야 주께서 모든 것을 아시고 또 사람의 물음을 기다리시지 않는 줄 아나이다 이로써 하나님께로서 나오심을 우리가 믿삽나이다
Kaakano tutegedde ng’omanyi byonna, era nga tewali kyetaagisa kukubuuza. Kyetuva tukkiriza nga wava eri Katonda.”
31 예수께서 대답하시되 `이제는 너희가 믿느냐?
Yesu n’abaddamu nti, “Kaakano mukkirizza?
32 보라 너희가 다 각각 제 곳으로 흩어지고 나를 혼자 둘 때가 오나니 벌써 왔도다 그러나 내가 혼자 있는 것이 아니라 아버지께서 나와 함께 계시느니라
Laba, ekiseera kijja, era kituuse mwenna lwe munaasaasaana buli omu n’addayo ku bibye, ne mundeka nzekka. Kyokka sijja kuba nzekka, kubanga Kitange ali wamu nange.
33 이것을 너희에게 이름은 너희로 내 안에서 평안을 누리게 하려 함이라 세상에서는 너희가 환난을 당하나 담대하라! 내가 세상을 이기었노라!' 하시니라
“Mbategeezezza ebyo byonna mulyoke mube n’emirembe mu nze. Mu nsi muno mujja kubonaabona, naye mugume, kubanga Nze mpangudde ensi.”