< 욥기 29 >

1 욥이 또 비사를 들어 가로되
Yobu n’ayongera okwogera nti,
2 내가 이전 달과 하나님이 나를 보호하시던 날에 지내던것 같이 되었으면
“Nga nneegomba emyezi egyayita, ennaku Katonda mwe yali nga y’andabirira,
3 그 때는 그의 등불이 내 머리에 비취었고 내가 그 광명을 힘입어 흑암에 행하였었느니라
ettaala ye bwe yayakiranga omutwe gwange, n’ekitangaala kye bwe kyanjakiranga nga ntambulira mu kizikiza.
4 나의 강장하던 날과 같이 지내었으면 그 때는 하나님의 우정이 내 장막 위에 있었으며
Mu biro we nabeerera ow’amaanyi, omukwano gwa Katonda omuyitirivu nga gukuuma amaka gange,
5 그 때는 전능자가 오히려 나와 함께 계셨으며 나의 자녀들이 나를 둘러 있었으며
Ayinzabyonna bwe yali ng’akyali nange n’abaana bange nga bakyanneetoolodde,
6 뻐터가 내 발자취를 씻기며 반석이 나를 위하여 기름 시내를 흘러 내었으며
n’ekkubo lyange nga lisiigiddwa omuzigo n’olwazi nga lunfukirira omugga ogw’amafuta.
7 그 때는 내가 나가서 성문에 이르기도 하며 내 자리를 거리에 베풀기도 하였었느니라
“Bwe nalaganga ku mulyango gw’ekibuga ne ntuula ku ntebe mu kifo we baakubiranga enkiiko,
8 나를 보고 소년들은 숨으며 노인들은 일어나서 서며
abavubuka abato bandabanga ne badda ebbali, abakadde ne basituka ne bayimirira;
9 방백들은 말을 참고 손으로 입을 가리우며
abakungu ab’oku ntikko ne balekeraawo okwogera, ne bakwata ne ku mimwa;
10 귀인들은 소리를 금하니 그 혀가 입 천장에 붙었었느니라
ab’ebitiibwa ne balekeraawo okwogera, ennimi zaabwe ne zeesibira waggulu mu kamwa.
11 귀가 들은즉 나를 위하여 축복하고 눈이 본즉 나를 위하여 증거 하였었나니
Buli kutu okwampuliranga nga kwesiima, era n’abo abandabanga nga basiima
12 이는 내가 부르짖는 빈민과 도와줄 자 없는 고아를 건졌음이라
kubanga nawonyanga abaavu abaakaabiranga obuyambi, n’abatalina bakitaabwe abatalina abayamba.
13 망하게 된 자도 나를 위하여 복을 빌었으며 과부의 마음이 나로 인하여 기뻐 노래하였었느니라
Omusajja ng’afa, y’ansabira omukisa, ne ndeetera omutima gwa nnamwandu okuyimba.
14 내가 의로 옷을 삼아 입었으며 나의 공의는 도포와 면류관 같았었느니라
Ne nnyambala obutuukirivu ng’engoye zange, obwenkanya bwe bwali omunagiro gwange era ekitambala kye neesiba ku mutwe.
15 나는 소경의 눈도 되고 절뚝발이의 발도 되고
Nnali maaso g’abamuzibe era ebigere by’abalema.
16 빈궁한 자의 아비도 되며 생소한 자의 일을 사실하여 주었으며
Nnali kitaawe w’abanaku, ne nneyama okuwolereza besimanyiiko.
17 불의한 자의 어금니를 꺽고 그 잇사이에서 겁탈한 물건을 빼어 내었었느니라
Namenyanga amannyo g’abakozi b’ebibi, ne nziggya mu kamwa kaabwe, be baali bakutte.
18 내가 스스로 말하기를 나는 내 보금자리에서 선종하리라 나의 날은 모래 같이 많을 것이라
“Nalowooza nti, ‘Ndifiira mu nnyumba yange nga mpezezza ennaku zange nga nnyingi ng’omusenyu ogw’oku nnyanja.
19 내 뿌리는 물로 뻗어나가고 내 가지는 밤이 맞도록 이슬에 젖으 며
Omulandira gwange gulituuka mu mazzi, era n’omusulo gulibeera ku ttabi lyange okukeesa obudde.
20 내 영광은 내게 새로와지고 내 활은 내 손에서 날로 강하여지느니라 하였었노라
Ekitiibwa kyange tekirikaddiwa mu nze, n’omutego gwange ogw’akasaale gusigale nga tegukaddiye mu mukono gwange.’
21 무리는 내 말을 들으며 나의 가르치기를 잠잠히 기다리다가
“Abantu beesunganga okumpuliriza, nga balindirira mu kasirise amagezi gange.
22 내가 말한 후에 그들이 말을 내지 못하였었나니 나의 말이 그들에게 이슬같이 됨이니라
Bwe namalanga okwogera, nga tewaba addayo kwogera, ebigambo byange byagwanga mpola mpola mu matu gaabwe.
23 그들이 나 바라기를 비 같이 하였으며 입을 벌리기를 늦은 비 기다리듯 하였으므로
Bannindiriranga ng’enkuba ne banywa ebigambo byange ng’enkuba eya ttoggo.
24 그들이 의지 없을 때에 내가 함소하여 동정하면 그들이 나의 얼굴 빛을 무색하게 아니하였었느니라
Bwe nabamwenyeranga nga tebakikkiriza; ekitangaala ky’oku maaso gange kyali kya muwendo gye bali.
25 내가 그들의 길을 택하고 으뜸으로 앉았었나니 왕이 군중에 거함도 같았고 애곡하는 자를 위로하는 사람도 같았었느니라
Nabasalirangawo eky’okukola, ne ntuula nga kabaka n’amaggye ge; nnali ng’abo ababeesabeesa abakungubazi.”

< 욥기 29 >