< 히브리서 5 >
1 대제사장마다 사람 가운데서 취한 자이므로 하나님께 속한 일에 사람을 위하여 예물과 속죄하는 제사를 드리게 하나니
Buli Kabona Asinga Obukulu alondebwa mu bantu n’ateekebwawo okuweereza Katonda ku lwabwe, alyoke awengayo ebirabo n’essaddaaka olw’ebibi byabwe.
2 저가 무식하고 미혹한 자를 능히 용납할 수 있는 것은 자기도 연약에 싸여 있음이니라
Asobola okukwata empola abantu abatamanyi era n’abo abakyama, kubanga naye yennyini muntu eyeetooloddwa obunafu.
3 이러므로 백성을 위하여 속죄제를 드림과 같이 또한 자기를 위하여 드리는 것이 마땅하니라
Olw’obunafu obwo, kimugwanira okuwangayo ssaddaaka ku lulwe yennyini ne ku lw’abantu.
4 이 존귀는 아무나 스스로 취하지 못하고 오직 아론과 같이 하나님의 부르심을 입은 자라야 할 것이니라
Tewali muntu yenna ayinza okwefuula kabona wabula ng’ayitiddwa Katonda okukola omulimu, nga bwe yayita Alooni.
5 또한 이와 같이 그리스도께서 대제사장 되심도 스스로 영광을 취하심이 아니요 오직 말씀하신 이가 저더러 이르시되 너는 내 아들이니 오늘날 내가 너를 낳았다 하셨고
Ne Kristo bw’atyo teyeegulumiza yekka, okufuuka Kabona Asinga Obukulu. Katonda yamwogerako nti, “Ggwe oli Mwana wange, leero nkuzadde ggwe.”
6 또한 이와 같이 다른 데 말씀하시되 네가 영원히 멜기세덱의 반차를 좇는 제사장이라 하셨으니 (aiōn )
Era n’awalala agamba nti, “Ggwe walondebwa okuba Kabona emirembe n’emirembe, ng’olubu lwa Merukizeddeeki bwe luli.” (aiōn )
7 그는 육체에 계실 때에 자기를 죽음에서 능히 구원하실 이에게 심한 통곡과 눈물로 간구와 소원을 올렸고 그의 경외하심을 인하여 들으심을 얻었느니라
Mu kiseera Yesu kye yabeerera ku nsi mu mubiri ogw’obuntu, yasaba ne yeegayirira oyo ayinza okumulokola mu kufa nga bw’akaaba amaziga mu ddoboozi ery’omwanguka. Yesu yasinza Katonda mu mazima, Katonda n’awulira okusaba kwe.
8 그가 아들이시라도 받으신 고난으로 순종함을 배워서
Newaakubadde yali Mwana wa Katonda, yayiga okumugondera ne bwe kwamutuusanga mu kubonaabona.
9 온전하게 되었은즉 자기를 순종하는 모든 자에게 영원한 구원의 근원이 되시고 (aiōnios )
Era bwe yamala okutuukirizibwa, n’afuuka obulokozi obutaggwaawo eri abo bonna abagondera Katonda. (aiōnios )
10 하나님께 멜기세덱의 반차를 좇은 대제사장이라 칭하심을 받았느니라
Katonda yamuyita okuba Kabona Asinga Obukulu ng’olubu lwa Merukizeddeeki bwe luli.
11 멜기세덱에 관하여는 우리가 할 말이 많으나 너희의 듣는 것이 둔하므로 해석하기 어려우니라
Waliwo bingi bye twandiyagadde okumwogerako, naye ate nga kizibu okubinyonnyola, kubanga temuyiga mangu.
12 때가 오래므로 너희가 마땅히 선생이 될 터인데 너희가 다시 하나님의 말씀의 초보가 무엇인지 누구에게 가르침을 받아야 할 것이니 젖이나 먹고 단단한 식물을 못 먹을 자가 되었도다
Newaakubadde nga kaakano mwandibadde musobola okuyigiriza abalala, kyetaaga okuddamu okubayigiriza, ebintu ebya bulijjo eby’amazima ebikwata ku kigambo kya Katonda. Mwetaaga mata so si mmere enkalubo ey’abakulu.
13 대저 젖을 먹는 자마다 어린아이니 의의 말씀을 경험하지 못한 자요
Kubanga omuntu bw’aba ng’akyanywa mata, aba akyali mwana muto. Aba tannategeera kigambo kikwata ku by’obutuukirivu.
14 단단한 식물은 장성한 자의 것이니 저희는 지각을 사용하므로 연단을 받아 선악을 분변하는 자들이니라
Naye emmere enkalubo ya bakulu, abeeyigirizza okwawulanga ekirungi n’ekibi.