< 에스겔 11 >

1 때에 주의 신이 나를 들어 데리고 여호와의 전 동문 곧 동향한 문에 이르시기로 본즉 그 문에 이십 오인이 있는데 내가 그 중에서 앗술의 아들 야아사냐와 브나야의 아들 블라댜를 보았으니 그들은 백성의 방백이라
Awo Omwoyo n’ansitula n’antwala ku luggi olw’ebuvanjuba olw’ennyumba ya Mukama. Ku mulyango awo waaliwo abasajja amakumi abiri mu bataano wakati mu bo nga mwe muli Yaazaniya mutabani wa Azuli ne Peratiya mutabani wa Benaya, abakulembeze b’abantu.
2 그가 내게 이르시되 인자야! 이 사람들은 불의를 품고 이 성중에서 악한 꾀를 베푸는 자니라
Mukama n’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, bano be basajja abeekobaana okukola ebitali bya butuukirivu era abawabya ekibuga kino.
3 그들의 말이 집 건축할 때가 가깝지 아니한즉 이 성읍은 가마가 되고 우리는 고기가 된다 하나니
Boogera nti, ‘Ekiseera tekituuse tuzimbe amayumba? Ekibuga kino ye ntamu, ffe nnyama.’
4 그러므로 인자야 너는 그들을 쳐서 예언하고 예언할지니라
Kyonoova obawa obunnabbi; era yogera ggwe omwana w’omuntu.”
5 여호와의 신이 내게 임하여 가라사대 너는 말하기를 여호와의 말씀에 이스라엘 족속아 너희가 이렇게 말하였도다 너희 마음에서 일어나는 것을 내가 다 아노라
Awo Omwoyo wa Mukama n’anzikako, n’aŋŋamba nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Bwe mutyo bwe mwogera, ggwe ennyumba ya Isirayiri, naye mmanyi ebirowoozo byammwe.
6 너희가 이 성읍에서 많이 살륙하여 그 시체로 거리에 채웠도다
Musse abantu bangi mu kibuga kino, ne mujjuza enguudo zaakyo abafu.
7 그러므로 나 주 여호와가 말하노라 이 성읍 중에서 너희가 살륙한 시체는 그 고기요 이 성읍은 그 가마려니와 너희는 그 가운데서 끌려 나오리라
“Mukama Katonda kyava ayogera nti, Emirambo gye musuddemu ye nnyama, n’ekibuga kino ye ntamu, naye ndikibagobamu.
8 나 주 여호와가 말하노라 너희가 칼을 두려워하니 내가 칼로 너희에게 임하게 하고
Mutya ekitala, era ekitala kye ndibaleetako, bw’ayogera Mukama Katonda.
9 너희를 그 성읍 가운데서 끌어내어 타국인의 손에 붙여 너희에게 벌을 내리리니
Ndibagoba mu kibuga, ne mbawaayo mu mukono gwa bannamawanga ne bababonereza.
10 너희가 칼에 엎드러질 것이라 내가 이스라엘 변경에서 너희를 국문하리니 너희가 나를 여호와인 줄 알리라
Muligwa n’ekitala, era ndibasalira omusango ku nsalo ya Isirayiri, ne mumanya nga nze Mukama.
11 이 성읍은 너희 가마가 되지 아니하고 너희는 그 가운데 고기가 되지 아니할지라 내가 너희를 이스라엘 변경에서 국문하리니
Ekibuga kino tekiriba ntamu yammwe, era nammwe temuliba nnyama yaakyo. Ndibasalira omusango ku nsalo ya Isirayiri.
12 너희가 나를 여호와인 줄 알리라 너희가 내 율례를 행치 아니하며 규례를 지키지 아니하고 너희 사면에 있는 이방인의 규례대로 행하였느니라 하셨다 하라
Mulitegeera nga nze Mukama, kubanga temugoberedde biragiro byange newaakubadde amateeka gange, naye mukoze ng’amawanga amalala agabeetoolodde bwe gakola.”
13 이에 내가 예언할 때에 브나야의 아들 블라댜가 죽기로 내가 엎드리어 큰 소리로 부르짖어 가로되 오호라! 주 여호와여! 이스라엘의 남은 자를 다 멸절하고자 하시나이까? 하니라
Awo bwe nnali nkyayogera ebyobunnabbi, Peratiya mutabani wa Benaya n’afa. Ne ngwa bugazi wansi ne nkaaba n’eddoboozi ddene, nga njogera nti, “Ayi Mukama Katonda, olimalirawo ddala ekitundu kya Isirayiri ekyasigalawo?”
14 여호와의 말씀이 내게 임하여 가라사대
Ekigambo kya Mukama ne kinzijira n’aŋŋamba nti,
15 인자야! 예루살렘 거민이 너의 형제 곧 너의 형제와 친속과 이스라엘 온 족속을 향하여 이르기를 너희는 여호와에게서 멀리 떠나라 이 땅은 우리에게 주어 기업이 되게 하신 것이라 하였나니
“Omwana w’omuntu, baganda bo, baganda bo ab’enda yo n’ennyumba yonna eya Isirayiri, beebo abantu ab’omu Yerusaalemi be baayogerako nti, ‘Bali wala ne Mukama, era ensi eno yatuweebwa okuba omugabo gwaffe.’”
16 그런즉 너는 말하기를 주 여호와의 말씀에 내가 비록 그들을 멀리 이방인 가운데로 쫓고 열방에 흩었으나 그들이 이른 열방에서 내가 잠간 그들에게 성소가 되리라 하셨다 하고
“Kyonoova oyogera nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Newaakubadde nga nabasindika mu mawanga ne mbasaasaanya mu nsi nnyingi, naye mbalabiriridde mu nsi gye baagenda.’
17 너는 또 말하기를 주 여호와의 말씀에 내가 너희를 만민 가운데 모으며 너희를 흩은 열방 가운데서 모아 내고 이스라엘 땅으로 너희에게 주리라 하셨다 하라
Era kyonoova oyogera nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti: ndibakuŋŋaanya okuva mu mawanga ne mbaggya mu nsi gye mwasaasaanyizibwa, ne mbaddiza ensi ya Isirayiri.’
18 그들이 그리로 가서 그 가운데 모든 미운 물건과 가증한 것을 제하여 버릴지라
“Bwe balikomawo, baliggyamu ebitali bya butuukirivu byonna n’eby’emizizo ebirimu byonna.
19 내가 그들에게 일치한 마음을 주고 그 속에 새 신을 주며 그 몸에서 굳은 마음을 제하고 부드러운 마음을 주어서
Ndibawa omutima gumu ne mbateekamu omwoyo omuggya; ndibaggyamu omutima ogw’ejjinja, ne mbawa omutima ogw’ennyama.
20 내 율례를 좇으며 내 규례를 지켜 행하게 하리니 그들은 내 백성이 되고 나는 그들의 하나님이 되리라
Oluvannyuma baligoberera ebiragiro byange, ne bagenderera okukuuma amateeka gange, era baliba bantu bange, nange ndiba Katonda waabwe.
21 그러나 미운 것과 가증한 것을 마음으로 좇는 자는 내가 그 행위대로 그 머리에 갚으리라 나 주 여호와의 말이니라
Naye abo abanaagoberera ebitali bya butuukirivu n’eby’emizizo, ndibaleetako ebyo bye baakola ku mitwe gyabwe, bw’ayogera Mukama Katonda.”
22 때에 그룹들이 날개를 드는데 바퀴도 그 곁에 있고 이스라엘 하나님의 영광도 그 위에 덮였더니
Awo bakerubi, ne zinnamuziga nga ziri ku mabbali gaabwe ne bayimusa ebiwaawaatiro byabwe, ng’ekitiibwa kya Katonda wa Isirayiri kibali waggulu.
23 여호와의 영광이 성읍 중에서부터 올라가서 성읍 동편 산에 머물고
Ekitiibwa kya Mukama ne kiva wakati mu kibuga ne kiyimirira waggulu w’olusozi oluli ku luuyi olw’ebuvanjuba w’ekibuga.
24 주의 신이 나를 들어 하나님의 신의 이상 중에 데리고 갈대아에 있는 사로잡힌 자중에 이르시더니 내가 보는 이상이 나를 떠난지라
Omwoyo n’ansitula mu kwolesebwa okw’Omwoyo wa Katonda n’antwala mu Bukaludaaya eri abaawaŋŋangusibwa.
25 내가 사로잡힌 자들에게 여호와께서 내게 보이신 모든 일로 고하니라
Awo okwolesebwa kwe nafuna ne nkuvaako, ne ntegeeza abaawaŋŋangusibwa byonna Mukama bye yali andaze.

< 에스겔 11 >