< 사무엘하 6 >

1 다윗이 이스라엘에서 뺀 무리 삼만을 다시 모으고
Dawudi n’akuŋŋaanya nate abasajja abaawera emitwalo esatu be yalonda mu Isirayiri.
2 일어나서 그 함께 있는 모든 사람으로 더불어 바알레유다로 가서 거기서 하나님의 궤를 메어 오려 하니 그 궤는 그룹들 사이에 좌정하신 만군의 여호와의 이름으로 이름하는 것이라
N’agolokoka n’agenda n’abantu bonna abaali naye, okuva e Baale, Yuda, okuggyayo essanduuko ya Katonda eyitibwa Erinnya lya Mukama ow’Eggye atuula ku ntebe ye ey’obwakabaka wakati wa bakerubi.
3 저희가 하나님의 궤를 새 수레에 싣고 산에 있는 아비나답의 집에서 나오는데 아비나답의 아들 웃사와 아효가 그 새 수레를 모니라
Ne bateeka essanduuko ya Katonda ku ggaali empya ne bagiggya mu nnyumba ya Abinadaabu eyali ku lusozi, Uzza ne Akiyo batabani be ne bagikulembera
4 저희가 산에 있는 아비나답의 집에서 하나님의 궤를 싣고 나올때에 아효는 궤 앞에서 행하고
ng’essanduuko ya Katonda kweri, Akiyo ng’agikulembeddemu.
5 다윗과 이스라엘 온 족속이 잣나무로 만든 여러 가지 악기와, 수금과, 비파와, 소고와, 양금과, 제금으로 여호와 앞에서 주악하더라
Dawudi n’ennyumba yonna eya Isirayiri ne bajaguliza mu maaso ga Mukama n’amaanyi gaabwe gonna, nga bayimba ennyimba nga bakuba ennanga, n’entongooli, n’ebitaasa, n’ensaasi, n’ebirala.
6 저희가 나곤의 타작 마당에 이르러서는 소들이 뛰므로 웃사가 손을 들어 하나님의 궤를 붙들었더니
Awo bwe baatuuka mu gguuliro lya Nakoni, ente bwe zeesittala, Uzza n’agolola omukono gwe n’akwata ku ssanduuko ya Katonda.
7 여호와 하나님이 웃사의 잘못함을 인하여 진노하사 저를 그곳에서 치시니 저가 거기 하나님의 궤 곁에서 죽으니라
Obusungu bwa Mukama ne bubuubuukira ku Uzza olw’ekikolwa ekyo, Katonda n’amuttira awo okumpi n’essanduuko ya Katonda.
8 여호와께서 웃사를 충돌하시므로 다윗이 분하여 그곳을 베레스웃사라 칭하니 그 이름이 오늘까지 이르니라
Awo Dawudi n’anyiiga kubanga obusungu bwa Mukama bwagwa ku Uzza, n’atuuma ekifo ekyo Peruzuzza, ne leero.
9 다윗이 그 날에 여호와를 두려워하여 가로되 `여호와의 궤가 어찌 내게로 오리요' 하고
Olunaku olwo Dawudi n’atya Mukama, n’ayogera nti, “Essanduuko ya Mukama eyinza etya okuleetebwa gye ndi?”
10 여호와의 궤를 옮겨 다윗성 자기에게로 메어 가기를 즐겨하지 아니하고 치우쳐 가드 사람 오벧에돔의 집으로 메어 간지라
Dawudi n’atayagala kutwala ssanduuko ya Mukama mu kibuga kya Dawudi, era n’asalawo okugitwala mu nnyumba ya Obededomu Omugitti.
11 여호와의 궤가 가드 사람 오벧에돔의 집에 석달을 있었는데 그 온 집에 복을 주시니라
Essanduuko ya Mukama n’ebeera mu nnyumba ya Obededomu Omugitti emyezi esatu, era Mukama n’amuwa omukisa ye n’ennyumba ye yonna.
12 혹이 다윗 왕에게 고하여 가로되 `여호와께서 하나님의 궤를 인하여 오벧에돔의 집과 그 모든 소유에 복을 주셨다' 한지라 다윗이 가서 하나님의 궤를 기쁨으로 메고 오벧에돔의 집에서 다윗 성으로 올라갈새
Awo Dawudi n’ategeezebwa nti, “Ennyumba ya Obededomu n’ebintu bye byonna biweereddwa omukisa olw’essanduuko ya Katonda.” Dawudi n’agenda n’aggyayo essanduuko ya Katonda mu nnyumba ya Obededomu n’agireeta mu kibuga kya Dawudi ng’ajaguza.
13 여호와의 궤를 멘 사람들이 여섯 걸음을 행하매 다윗이 소와 살진 것으로 제사를 드리고
Abaasitula essanduuko ya Mukama bwe baatambula ebigere mukaaga n’awaayo ente ennume n’ennyana ensava nga ssaddaaka.
14 여호와 앞에서 힘을 다하여 춤을 추는데 때에 베 에봇을 입었더라
Dawudi ng’ayambadde olugoye olwa linena, n’azinira mu maaso ga Mukama n’amaanyi ge gonna.
15 다윗과 온 이스라엘 족속이 즐거이 부르며 나팔을 불고 여호와의 궤를 메어 오니라
Dawudi n’ennyumba ya Isirayiri yonna ne baleeta essanduuko ya Mukama nga boogerera waggulu, era nga bafuuwa n’amakondeere.
16 여호와의 궤가 다윗성으로 들어올 때에 사울의 딸 미갈이 창으로 내다보다가 다윗왕이 여호와 앞에서 뛰놀며 춤추는 것을 보고 심중에 저를 업신여기니라
Awo essanduuko ya Mukama bwe yali ng’ereetebwa mu kibuga kya Dawudi, Mikali muwala wa Sawulo, ng’ali mu ddirisa, n’alengera kabaka Dawudi ng’abuuka, ng’azinira mu maaso ga Mukama, n’amunyooma.
17 여호와의 궤를 메고 들어가서 다윗이 위하여 친 장막 가운데 그 예비한 자리에 두매 다윗이 번제와 화목제를 여호와 앞에 드리니라
Ne baleeta essanduuko ya Mukama ne bagiteeka mu kifo kyayo mu weema Dawudi gye yali agisimbidde, Dawudi n’awaayo ebiweebwayo ebyokebwa, n’ebiweebwayo olw’emirembe, mu maaso ga Mukama.
18 다윗이 번제와 화목제 드리기를 마치고 만군의 여호와의 이름으로 백성에게 축복하고
Awo Dawudi bwe yamala okuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo olw’emirembe, n’asabira abantu omukisa mu linnya lya Mukama ow’eggye,
19 모든 백성 곧 온 이스라엘 무리의 무론 남녀하고 떡 한개와 고기 한 조각과 건포도 떡 한덩이씩 나눠주매 모든 백성이 각기 집으로 돌아가니라
buli muntu n’amugabula omugaati, n’ekiyungula ky’ennyama, n’ekitole eky’ezabbibu enkalu, abasajja n’abakyala. N’oluvannyuma abantu bonna ne baddayo ewaabwe.
20 다윗이 자기의 가족에게 축복하러 돌아오매 사울의 딸 미갈이 나와서 다윗을 맞으며 가로되 `이스라엘 왕이 오늘날 어떻게 영화로우신지 방탕한 자가 염치 없이 자기의 몸을 드러내는 것처럼 오늘날 그 신복의 계집종의 눈 앞에서 몸을 드러내셨도다'
Dawudi n’addayo ewuwe okusabira ab’omu nnyumba ye omukisa, Mikali muwala wa Sawulo n’agenda okumusisinkana n’ayogera nti, “Kabaka wa Isirayiri ayinza atya okweswaza bw’atyo, ne yeyambulira mu maaso g’abawala abaweereza n’abaddu ng’omuntu atalina nsonyi?”
21 다윗이 미갈에게 이르되 `이는 여호와 앞에서 한 것이니라 저가 네 아비와 그 온 집을 버리시고 나를 택하사 나로 여호와의 백성 이스라엘의 주권자를 삼으셨으니 내가 여호와 앞에서 뛰놀리라
Awo Dawudi n’agamba Mikali nti, “Nakikoledde mu maaso ga Mukama eyannonda okusinga kitaawo, n’ennyumba ye yonna okuba omukulembeze w’abantu ba Mukama, Isirayiri, era nzija kujagulizanga mu maaso ga Mukama.
22 내가 이보다 더 낮아져서 스스로 천하게 보일지라도 네가 말한 바 계집종에게는 내가 높임을 받으리라'한지라
Nzija kweyongerera ddala okweswaza, era sijja kuswala mu maaso gange, naye mu maaso g’abawala abaweereza b’oyogeddeko, nnaasibwangamu ekitiibwa.”
23 그러므로 사울의 딸 미갈이 죽는 날까지 자식이 없으니라
Awo muwala wa Sawulo Mikali, n’abeera mugumba okutuusa olunaku lwe yafa.

< 사무엘하 6 >