< 열왕기하 13 >
1 유다 왕 아하시야의 아들 요아스의 이십 삼년에 예후의 아들 여호아하스가 사마리아에서 이스라엘 왕이 되어 십 칠년을 치리하며
Mu mwaka ogw’amakumi abiri mu esatu ogwa Yowaasi mutabani wa Akaziya kabaka wa Yuda, Yekoyakaazi n’afuuka kabaka wa Isirayiri mu Samaliya era n’afugira emyaka kkumi na musanvu.
2 여호와 보시기에 악을 행하여 이스라엘로 범죄케 한 느밧의 아들 여로보암의 죄를 좇고 떠나지 아니하였으므로
N’akola ebibi mu maaso ga Mukama ng’akola ebibi Yerobowaamu mutabani wa Nebati bye yayonoonyesa Isirayiri, ate n’atabirekaayo.
3 여호와께서 이스라엘을 향하여 노를 발하사 늘 아람 왕 하사엘의 손과 그 아들 벤하닷의 손에 붙이셨더니
Obusungu bwa Mukama ne bubuubuukira ku Isirayiri, n’abawaayo okubeera wansi ow’omukono gwa Kazayeeri kabaka w’e Busuuli ne Benikadadi mutabani we.
4 아람 왕이 이스라엘을 학대하므로 여호아하스가 여호와께 간구하매 여호와께서 들으셨으니 이는 저희의 학대 받음을 보셨음이라
Awo Yekoyakaazi ne yegayirira Mukama, Mukama n’amuwulira, era n’alaba okucocca, kabaka w’e Busuuli kwe yacoccanga Isirayiri.
5 여호와께서 이에 구원자를 이스라엘에게 주시매 이스라엘 자손이 아람 사람의 손에서 벗어나 전과 같이 자기 장막에 거하였으나
Mukama n’abaddiramu n’abawa omulokozi, ne bawona obufuzi bw’Abasuuli, n’oluvannyuma Abayisirayiri ne babeeranga mirembe mu nnyumba zaabwe nga bwe baali olubereberye.
6 저희가 이스라엘로 범죄케 한 여로보암 집의 죄에서 떠나지 아니하고 좇아 행하며 또 사마리아에 아세라 목상을 그저 두었더라
Naye ne batalekaayo kukola ebibi eby’ennyumba ya Yerobowaamu bye yayonoonyesa Isirayiri, wabula beeyongeranga bweyongezi okubikola. N’empagi ey’Asera n’esigalayo mu Samaliya.
7 아람 왕이 여호아하스의 백성을 진멸하여 타작마당의 티끌같이 되게 하고 마병 오십과 병거 십승과 보병 일만 외에는 여호아하스에게 남겨두지 아니하였더라
Mukama teyalekerawo ggye lya Yekoyakaazi kintu okuggyako abasajja abeebagala embalaasi amakumi ataano, n’amagaali kkumi, n’abaserikale ab’ebigere omutwalo gumu, kubanga kabaka w’e Busuuli yabizikiriza, n’abifuula ng’enfuufu ey’omu gguuliro.
8 여호아하스의 남은 사적과 모든 행한 것과 그 권력은 이스라엘 왕 역대지략에 기록되지 아니하였느냐
Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Yekoyakaazi, ne bye yakola byonna, n’ebyobuzira bwe byonna, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Isirayiri?
9 여호아하스가 그 열조와 함께 자매 사마리아에 장사되고 그 아들 요아스가 대신하여 왕이 되니라
Yekoyakaazi n’afa, n’aziikibwa mu Samaliya, Yowaasi mutabani we n’amusikira.
10 유다 왕 요아스의 삼십 칠년에 여호아하스의 아들 요아스가 사마리아에서 이스라엘 왕이 되어 십륙년을 치리하며
Awo mu mwaka ogw’amakumi asatu mu omusanvu ogwa Yowaasi kabaka wa Yuda, Yekoyaasi mutabani wa Yekoyakaazi n’afuuka kabaka wa Isirayiri mu Samaliya, era n’afugira emyaka kkumi na musanvu.
11 여호와 보시기에 악을 행하여 이스라엘로 범죄케 한 느밧의 아들 여로보암의 모든 죄에서 떠나지 아니하고 좇아 행하였더라
N’akola ebibi mu maaso ga Mukama, n’atalekaayo ebibi bya Yerobowaamu mutabani wa Nebati, bye yayonoonyesa Isirayiri, wabula ne yeeyongera bweyongezi okubikola.
12 요아스의 남은 사적과 무릇 행한 일과 유다 왕 아마샤와 싸운 권력은 이스라엘 왕 역대지략에 기록되지 아니하였느냐
Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Yekoyaasi, bye yakola byonna, n’amaanyi ge, nga kwe kuli n’olutalo lwe yalwana ne Amaziya kabaka wa Yuda, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Isirayiri?
13 요아스가 그 열조와 함께 자매 이스라엘 왕들과 함께 사마리아에 장사되고 여로보암이 그 위에 앉으니라
Yekoyaasi n’afa, n’aziikibwa mu Samaliya, Yerobowaamu n’amusikira okuba kabaka.
14 엘리사가 죽을 병이 들매 이스라엘 왕 요아스가 저에게로 내려가서 그 얼굴에 눈물을 흘리며 가로되 `내 아버지여 내 아버지여 이스라엘의 병거와 마병이여' 하매
Awo mu biro ebyo Erisa n’alwala nnyo, endwadde eyamutta, Yowaasi n’aserengeta gy’ali okumulaba, n’akaabira amaziga, mu maaso ge ng’agamba nti, “Kitange, Kitange, amagaali n’abeebagala embalaasi aba Isirayiri!”
15 엘리사가 저에게 이르되 `활과 살들을 취하소서' 활과 살들을 취하매
Erisa n’amuddamu nti, “Ffuna omutego n’obusaale,” era n’akola bw’atyo.
16 또 이스라엘 왕에게 이르되 `왕의 손으로 활을 잡으소서' 곧 손으로 잡으매 엘리사가 자기 손으로 왕의 손을 안찰하고
N’agamba kabaka wa Isirayiri nti, “Bikwate mu ngalo.” Bwe yamala okukola ekyo, Erisa n’ateeka emikono gye ku gya kabaka.
17 가로되 `동편 창을 여소서' 곧 열매 엘리사가 가로되 `쏘소서' 곧 쏘매 엘리사가 가로되 이는 여호와의 구원의 살 곧 아람에 대한 구원의 살이니 왕이 아람 사람을 진멸하도록 아벡에서 치리이다
Erisa n’amugamba nti, “Ggulawo eddirisa ery’ebuvanjuba,” n’aliggulawo. N’amulagira okulasa. Erisa n’ayogera nti, “Akasaale ka Mukama ak’obuwanguzi, akasaale ak’obuwanguzi eri Obusuuli, era ojja kusaanyizaawo ddala Abasuuli mu Afeki.”
18 또 가로되 `살들을 취하소서' 곧 취하매 엘리사가 또 이스라엘 왕에게 이르되 `땅을 치소서' 이에 세번 치고 그친지라
N’amugamba nti, “Kwata obusaale,” n’abukwata. N’agamba kabaka wa Isirayiri okulasa ettaka. N’alirasa emirundi esatu, n’akoma awo.
19 하나님의 사람이 노하여 가로되 `왕이 오륙번을 칠 것이니이다 그리하였더면 왕이 아람을 진멸하도록 쳤으리이다 그런즉 이제는 왕이 아람을 세번만 치리이다' 하니라
Omusajja wa Katonda n’amunyiigira, n’amugamba nti, “Wandirasizza emirundi etaano oba mukaaga, olwo n’olyoka owangulira ddala Abasuuli era n’obasaanyaawo. Naye kaakano olibawangula emirundi esatu gyokka.”
20 엘리사가 죽으매 장사하였더니 해가 바뀌매 모압 적당이 지경을 범한지라
Erisa n’afa, n’aziikibwa. Ebibinja by’Abamowaabu byateranga okulumba ensi ku ntandikwa ya buli mwaka.
21 마침 사람을 장사하는 자들이 그 적당을 보고 그 시체를 엘리사의 묘실에 들이던지매 시체가 엘리사의 뼈에 닿자 곧 회생하여 일어섰더라
Awo olwatuuka, Abayisirayiri abamu baali baziika omusajja, ne balengera ekibinja eky’abasajja nga kijja, ne basuula omulambo gwe mu ntaana ya Erisa ne badduka. Omulambo gwe bwe gw’akoma ku magumba ga Erisa omusajja n’alamuka, era n’ayimirira.
22 여호아하스 왕의 시대에 아람왕 하사엘이 항상 이스라엘을 학대하였으나
Mu kiseera kye kimu Kazayeeri kabaka w’e Busuuli n’ajooga Isirayiri ebbanga lyonna Yekoyakaazi we yabeerera kabaka.
23 여호와께서 아브라함과 이삭과 야곱으로 더불어 세우신 언약을 인하여 이스라엘에게 은혜를 베풀어 긍휼히 여기시며 권고하사 멸하기를 즐겨 아니하시고 이때까지 자기 앞에서 쫓아내지 아니하셨더라
Naye Mukama n’abakwatirwa ekisa n’abasaasira, era n’assaayo omwoyo gye bali olw’endagaano gye yakola ne Ibulayimu, ne Isaaka ne Yakobo nti talibazikiririza ddala. N’okutuusa ku lunaku olwa leero tayagalanga kubazikiriza okuva mu maaso ge.
24 아람 왕 하사엘이 죽고 그 아들 벤하닷이 대신하여 왕이 되매
Kazayeeri kabaka w’e Busuuli n’afa, Benikadadi mutabani we n’amusikira.
25 여호아하스의 아들 요아스가 하사엘의 아들 벤하닷의 손에서 두어 성읍을 회복하였으니 이 성읍들은 자기 부친 여호아하스가 전쟁 중에 빼앗겼던 것이라 요아스가 벤하닷을 세번 쳐서 파하고 이스라엘 성읍들을 회복하였더라
Awo Yekoyaasi mutabani wa Yekoyakaazi n’awamba nate ebibuga Benikadadi mutabani wa Kazayeeri bye yali awambye ku kitaawe Yekoyakaazi mu ntalo. Yowaasi ye n’amuwangula emirundi esatu, era n’akomyawo ebibuga bya Isirayiri ebyali biwambiddwa.