< 고린도후서 11 >

1 원컨대 너희는 나의 좀 어리석은 것을 용납하라 청컨대 나를 용납하라
Mbasaba mungumiikirizeeko mu busirusiru bwange obutono, weewaawo mungumiikirize.
2 내가 하나님의 열심으로 너희를 위하여 열심 내노니 내가 너희를 정결한 처녀로 한 남편인 그리스도께 드리려고 중매함이로다
Mbakwatirwa obuggya, obuggya bwa Katonda, kubanga naboogereza omusajja omu, nga muli mbeerera zennyini, ne mbawaayo eri Kristo;
3 뱀이 그 간계로 이와를 미혹케 한 것같이 너희 마음이 그리스도를 향하는 진실함과 깨끗함에서 떠나 부패할까 두려워하노라
kyokka neeraliikirira nnyo nga ntya nti si kulwa nga mulimbibwa nga Kaawa bwe yalimbibwa omusota ne muwaba mu birowoozo byammwe okuva mu bwetoowaze n’obutukuvu obuli mu Kristo.
4 만일 누가 가서 우리의 전파하지 아니한 다른 예수를 전파하거나 혹 너희의 받지 아니한 다른 영을 받게 하거나 혹 너희의 받지 아니한 다른 복음을 받게할 때에는 너희가 잘 용납하는구나
Bwe wabaawo omuntu ajja n’ababuulira Yesu omulala gwe tutabuulira, oba ne mufuna omwoyo omulala, gwe mutafunanga, oba ne mubuulirwa Enjiri endala gye mutabuulirwanga, mubigumiikiriza.
5 내가 지극히 큰 사도들보다 부족한 것이 조금도 없는 줄 생각하노라
Kubanga ndowooza ng’abatume abakulu ennyo tebalina kye bansinza.
6 내가 비록 말에는 졸(拙)하나 지식에는 그렇지 아니하니 이것을 우리가 모든 사람 가운데서 모든 일로 너희에게 나타내었노라
Kubanga newaakubadde nga siri mumanyirivu mu kwogera, naye si mu kutegeera, wabula mu ngeri yonna twaboolesa ebintu byonna.
7 내가 너희를 높이려고 나를 낮추어 하나님의 복음을 값 없이 너희에게 전함으로 죄를 지었느냐
Oba nasobya bwe netoowaza mulyoke mugulumizibwe, bwe nabuulira Enjiri ya Katonda ey’obwereere?
8 내가 너희를 섬기기 위하여 다른 여러 교회에서 요(料)를 받은 것이 탈취한 것이라
Nanyaga ekkanisa endala, kubanga zampeerezanga ensimbi ne nzikozesa nga ndi nammwe ndyoke mbaweereze,
9 또 내가 너희에게 있어 용도가 부족하되 아무에게도 누를 끼치지 아니함은 마게도냐에서 온 형제들이 나의 부족한 것을 보충하였음이라 내가 모든 일에 너희에게 폐를 끼치지 않기 위하여 스스로 조심하였거니와 또 조심하리라
era bwe nnali nammwe ne mbaako bye neetaaga, ssaazitoowerera muntu yenna kubanga abooluganda abaava e Makedoniya bampanga byonna bye nnali neetaaga, ne neekuuma nnyo obutabazitoowerera mu buli kintu, era nzija kwongera okwekuuma bwe ntyo.
10 그리스도의 진리가 내 속에 있으니 아가야 지방에서 나의 이 자랑이 막히지 아니하리라
Ng’amazirna ga Kristo bwe gali mu nze, okwenyumiriza kuno tekujja kuziyizibwa mu nze mu bitundu bya Akaya.
11 어떠한 연고뇨 내가 너희를 사랑하지 아니함이냐 하나님이 아시느니라
Lwaki? Olw’okubanga sibaagala? Katonda amanyi nga mbaagala.
12 내가 하는 것을 또 하리니 기회를 찾는 자들의 그 기회를 끊어 저희로 하여금 그 자랑하는 일에 대하여 우리와 같이 되게 하려 함이로라
Naye nzija kweyongera okukola nga bwe nkola ndyoke nziggyewo omukisa eri abo abaagala okukozesa omukisa ogwo abaagala okulabika nga ffe mu kwenyumiriza kwabwe.
13 저런 사람들은 거짓 사도요 궤휼의 역군(役軍)이니 자기를 그리스도의 사도로 가장하는 자들이니라
Abantu ng’abo batume baabulimba, era bakozi baabukuusa, nga beefuula abatume ba Kristo.
14 이것이 이상한 일이 아니라 사단도 자기를 광명의 천사로 가장하나니
Naye ekyo tekyewuunyisa, kubanga Setaani yeefuula nga malayika ow’omusana.
15 그러므로 사단의 일군들도 자기를 의의 일군으로 가장하는 것이 또한 큰 일이 아니라 저희의 결국은 그 행위대로 되리라
Noolwekyo abamuweereza bwe beefuula ng’abaweereza b’obutuukirivu tekitwewuunyisa. Ku nkomerero bagenda kubonerezebwa ng’ebikolwa byabwe biri.
16 내가 다시 말하노니 누구든지 나를 어리석은 자로 여기지 말라 만일 그러하더라도 나로 조금 자랑하게 어리석은 자로 받으라
Nziramu okubagamba nti omuntu yenna aleme kundowooza kuba musirusiru; kyokka ne bwe mundowooza okuba omusirusiru, munsembeze, nange neenyumirizeeko katono.
17 내가 말하는 것은 주를 따라 하는 말이 아니요 오직 어리석은 자와 같이 기탄 없이 자랑하노라
Kaakano bye njogera Mukama si yandagidde okubyogera, wabula neeyisa ng’omusirusiru mu buvumu buno obw’okwenyumiriza.
18 여러 사람이 육체를 따라 자랑하니 나도 자랑하겠노라
Naye obanga bano beenyumiriza mu by’omubiri nange ka nneenyumirize.
19 너희는 지혜로운 자로서 어리석은 자들을 기쁘게 용납하는구나
Mmwe muli bagezi, kyemuva mugumiikiriza abasirusiru.
20 누가 너희로 종을 삼거나 잡아 먹거나 사로잡거나 자고하다 하거나 뺨을 칠지라도 너희가 용납하는도다
Omuntu yenna bw’abafuula abaddu, oba n’abanyaga, oba n’abalyazaamanya, oba ne yeegulumiza, oba n’abakuba empi, mukigumiikiriza.
21 우리가 약한 것같이 내가 욕되게 말하노라 그러나 누가 무슨 일에 담대하면 어리석은 말이나마 나도 담대하리라
Ekyo kinswaza okukyogera kubanga tubadde banafu mu ekyo. Naye omuntu yenna kye yeewaayo okukola, nga njogera mu busirusiru, nange neewaayo okukikola.
22 저희가 히브리인이냐 나도 그러하며 저희가 이스라엘인이냐? 나도 그러하며 저희가 아브라함의 씨냐? 나도 그러하며
Bo Baebbulaniya? Nange bwe ndi. Bagamba nti Bayisirayiri? Nange bwe ntyo. Bazzukulu ba Ibulayimu? Nange bwe ndi.
23 저희가 그리스도의 일군이냐 정신 없는 말을 하거니와 나도 더욱 그러하도다 내가 수고를 넘치도록 하고 옥에 갇히기도 더 많이 하고, 매도 수없이 맞고, 여러 번 죽을 뻔하였으니
Bagamba nti baweereza ba Kristo? Nga njogera ng’agudde eddalu, nze mbasinga; Mbasinga okukola ennyo, era nsibiddwa mu kkomera emirundi mingi okubasinga, n’emirundi gye nkubiddwa mingi okusingawo, era emirundi mingi ne mba kumpi n’okufa.
24 유대인들에게 사십에 하나 감한 매를 다섯 번 맞았으며
Abayudaaya bankuba embooko amakumi asatu mu mwenda ku mirundi egy’enjawulo etaano.
25 세 번 태장으로 맞고 한 번 돌로 맞고 세 번 파선하는데 일주야를 깊음에서 지냈으며
Nakubwa emiggo emirundi esatu. Omulundi gumu nakubwa amayinja. Emirundi esatu ekyombo kye nalingamu kyamenyeka. Olulala ne nsula era ne nsiiba mu buziba.
26 여러 번 여행에 강의 위험과, 강도의 위험과, 동족의 위험과, 이방인의 위험과, 시내의 위험과, 광야의 위험과, 바다의 위험과, 거짓 형제 중의 위험을 당하고
Ntambudde nnyo, era emirundi mingi ne mpona akabi k’omujjuzo gw’emigga, ne mpona n’akabi ak’abanyazi, n’empona ab’eggwanga lyange, era n’Abamawanga abalala. Nayolekera obubenje obw’omu kibuga, ne mpona n’okufiira mu ddungu ne mu muyaga ogw’oku nnyanja, ne mpona n’akabi ak’abantu abeeyita abooluganda;
27 또 수고하며 애쓰고 여러 번 자지 못하고 주리며 목마르고 여러번 굶고 춥고 헐벗었노라
mu kukola ennyo ne mu kufuba nga seebaka, mu kulumwa enjala ne mu kufuuyibwa empewo ne mu kubeera obwereere.
28 이 외의 일은 고사하고 오히려 날마다 내 속에 눌리는 일이 있으니 곧 모든 교회를 위하여 염려하는 것이라
Ebirala bye simenye nga nabyo bikyali awo, neeraliikirira buli lunaku nga ndowooza ku Kkanisa zonna nga bwe ziri.
29 누가 약하면 내가 약하지 아니하며 누가 실족하게 되면 내가 애타하지 않더냐
Bwe wabaawo anafuye, nange nzigwamu amaanyi, omulala bw’agwa mu kibi, nange njaka munda yange.
30 내가 부득불 자랑할진대 나의 약한 것을 자랑하리라!
Naye obanga kiŋŋwanidde okwenyumiriza, ka neenyumirize olw’ebyo ebiraga obunafu bwange!
31 주 예수의 아버지 영원히 찬송할 하나님이 나의 거짓말 아니하는 줄을 아시느니라 (aiōn g165)
Katonda, era Kitaawe wa Mukama waffe Yesu, atenderezebwa emirembe n’emirembe, amanyi nga ssirimba. (aiōn g165)
32 다메섹에서 아레다 왕의 방백이 나를 잡으려고 다메섹 성을 지킬새
Bwe nnali mu Damasiko, Kabaka Aleta yalagira gavana alagire abakuumi b’ekibuga, nkwatibwe,
33 내가 광주리를 타고 들창문으로 성벽을 내려가 그 손에서 벗어났노라
naye ne mpisibwa mu ddirisa, eryali mu kisenge kya bbugwe w’ekibuga, nga ndi mu kisero kye baaleebeesa ku miguwa okuntuusa ebweru wansi, bwe ntyo abo ne mbawona.

< 고린도후서 11 >