< 예레미야 14 >
1 가뭄에 대하여 예레미야에게 임한 여호와의 말씀이라
Ekigambo kya Mukama ekyajjira Yerusaalemi ekikwata ku kyeya.
2 유다가 슬퍼하며 성문의 무리가 곤비하여 땅에 앉아 애통하니 예루살렘의 부르짖음이 위에 오르도다
“Yuda ekungubaga n’ebibuga byayo bifaafaaganye, bakaabira ensi, era omulanga gusimbuse mu Yerusaalemi.
3 귀인들은 자기 사환들을 보내어 물을 길으라 하나 그들이 우물에 갔어도 물을 얻지 못하여 빈 그릇으로 돌아오니 부끄럽고 근심하여 그 머리를 가리우며
Abakungu batuma abaddu baabwe okuleeta amazzi; bagenda mu ttanka ez’omu ttaka nga temuli kantu, bakomawo n’ebintu ebikalu; ensonyi nga zibakutte n’essuubi nga libaweddemu; babikka amaaso gaabwe.
4 땅에 비가 없어 지면이 갈라지니 밭가는 자가 부끄러워서 그 머리를 가리는도다
Ettaka lyatise kubanga enkuba tekyatonnya, abalimi baweddemu amaanyi, babikka ku mitwe gyabwe.
5 들의 암사슴은 새끼를 낳아도 풀이 없으므로 내어버리며
N’empeewo ku ttale ezaala n’ereka awo omwana gwayo kubanga tewali muddo.
6 들 나귀들은 자산 위에 서서 시랑 같이 헐떡이며 풀이 없으므로 눈이 아득하여 하는도다
N’ennyumbu ez’omu nsiko ziyimirira ku busozi obukalu nga ziwejjawejja ng’ebibe, amaaso gaazo nga tegalaba bulungi kubanga tezirina kye zirya.”
7 여호와여, 우리의 죄악이 우리에게 대하여 증거할지라도 주는 주의 이름을 위하여 일하소서 우리의 타락함이 많으니이다 우리가 주께 범죄하였나이다
Wadde obutali butuukirivu bwaffe butulumiriza, Ayi Mukama, baako ky’okola olw’erinnya lyo. Kubanga tuzze ennyuma emirundi mingi, tukwonoonye nnyo.
8 이스라엘의 소망이시요, 곤란한 때의 구원자시여, 어찌하여 이 땅에서 거류하는 자 같이, 하룻밤을 유숙하는 행인같이 하시나이까?
Ayi ggwe essuubi lya Isirayiri, Omulokozi waalyo mu biseera eby’okulabiramu ennaku, lwaki oli ng’omuyise mu nsi, ng’omutambuze asula ekiro ekimu?
9 어찌하여 놀라 벙벙하는 자 같으시며 구원치 못하는 용사 같으시니이까? 여호와여 주는 오히려 우리 중에 계시고 우리는 주의 이름으로 일컬음을 받는 자이오니 우리를 버리지 마옵소서
Lwaki oli ng’omuntu gwe baguddeko obugwi, ng’omulwanyi ataliimu maanyi ganunula? Ggwe, Ayi Mukama Katonda, oli wakati mu ffe, era tuyitibwa linnya lyo. Totuleka.
10 여호와께서 이 백성에 대하여 말씀하시되 그들이 어그러진 길을 사랑하여 그 발을 금하지 아니하므로 나 여호와가 그들을 받지 아니하고 이제 그들의 죄를 기억하고 그 죄를 벌하리라 하시고
Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ku bantu be nti, “Baagala nnyo okubula, tebaziyiza bigere byabwe. Noolwekyo Mukama tabakkiriza era kaakano wakujjukira obutali butuukirivu bwabwe era ababonereze olw’ebibi byabwe.”
11 여호와께서 또 내게 이르시되 너는 이 백성을 위하여 복을 구하지 말라
Awo Mukama Katonda n’aŋŋamba nti, “Tosabira bantu bano kubeera bulungi.
12 그들이 금식할지라도 내가 그 부르짖음을 듣지 아니하겠고 번제와 소제를 드릴지라도 내가 그것을 받지 아니할 뿐 아니라 칼과 기근과 염병으로 그들을 멸하리라
Newaakubadde nga basiiba, sijja kuwulira kukaaba kwabwe, era wadde bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo eby’empeke, sijja kubikkiriza. Naye nnaabazikiriza n’ekitala, n’enjala ne kawumpuli.”
13 이에 내가 가로되 슬프도소이다 주 여호와여, 보시옵소서 선지자들이 그들에게 이르기를 너희가 칼을 보지 아니하겠고 기근은 너희에게 이르지 아니할 것이라 여호와께서 이 곳에서 너희에게 확실한 평강을 주시리라 하나이다
Naye ne njogera nti, “Woowe, Mukama Katonda, bannabbi abalala babagamba nti, ‘Tewajja kubaawo lutalo wadde okulumwa enjala. Naye nzija kuleeta mirembe egitakoma mu kifo kino.’”
14 여호와께서 내게 이르시되 선지자들이 내 이름으로 거짓 예언을 하도다 나는 그들을 보내지 아니하였고 그들에게 명하거나 이르지 아니하였거늘 그들이 거짓 계시와 복술과 허탄한 것과 자기 마음의 속임으로 너희에게 예언하도다
Awo Mukama n’alyoka aŋŋamba nti, “Bannabbi bawa obunnabbi obw’obulimba mu linnya lyange, sibatumanga wadde okubalagira okwogera nabo. Babategeeza okwolesebwa okw’obulimba n’obunnabbi obutaliimu, n’obutaliimu bw’emitima gyabwe.
15 그러므로 내가 보내지 아니하였어도 내 이름으로 예언하여 이르기를 칼과 기근이 이 땅에 이르지 아니하리라 하는 선지자들에 대하여 나 여호와가 이같이 이르노라 그 선지자들은 칼과 기근에 멸망할 것이요
Noolwekyo, bw’atyo bw’ayogera Mukama, ebikwata ku bannabbi abategeeza ebyobunnabbi mu linnya lyange wadde nga sibatumanga, era abagamba nti, ‘Ekitala n’enjala tebijja kujja mu nsi eno.’ Bannabbi abo bennyini bajja kuzikirizibwa ekitala n’enjala.
16 그들의 예언을 받은 백성은 기근과 칼로 인하여 예루살렘 거리에 던짐을 입을 것인즉 그들을 장사할 자가 없을 것이요 그 아내와 그 아들과 그 딸도 그렇게 되리니 이는 내가 그들의 악을 그 위에 부음이니라
N’abantu be bategeezezza obunnabbi balifa enjala n’ekitala ne bakasukibwa mu nguudo babulweko abaziika, bo ne bakazi baabwe, ne batabani baabwe, n’abawala. Kubanga ndibayiwako obusungu obubasaanira.
17 너는 이 말로 그들에게 이르라 내 눈이 밤낮으로 끊치지 아니하고 눈물을 흘리리니 이는 처녀 딸 내 백성이 큰 파멸, 중한 창상을 인하여 망함이라
“Kino ky’oba obagamba nti, “‘Leka amaaso gange gakulukute amaziga emisana n’ekiro awatali kukoma; kubanga muwala wange embeerera, abantu bange, bafunye ekiwundu ekinene, ekintu eky’amaanyi.
18 내가 들에 나간즉 칼에 죽은 자요 내가 성에 들어간즉 기근으로 병든 자며 선지자나 제사장이나 다 땅에 두루 다니며 어찌할 바를 알지 못하는도다
Bwe ŋŋenda mu byalo ndaba abafumitiddwa n’ekitala! Bwe ŋŋenda mu kibuga ndaba okutaagulwataagulwa okw’enjala. Naye nnabbi ne kabona beeyongera okukola emirimu gyabwe mu ggwanga kyokka nga bye boogera bya bulimba.’”
19 주께서 유다를 온전히 버리시나이까? 주의 심령이 시온을 싫어하시나이까? 어찌하여 우리를 치시고 치료하지 아니하시나이까 우리가 평강을 바라도 좋은 것이 없고 치료 받기를 기다려도 놀람을 보나이다
Yuda ogigaanidde ddala? Sayuuni ogyetamiriddwa ddala? Otufumitidde ddala awatali kuwonyezebwa? Twasuubira emirembe naye tewali kalungi ke tufunye, ekiseera eky’okuwonyezebwa naye laba tufunye bulabe bwereere.
20 여호와여, 우리가 우리의 악과 우리 조상의 죄악을 인정하나이다 우리가 주께 범죄하였나이다
Ayi Mukama tukkiriza ebibi byaffe era n’obutali butuukirivu bwa bajjajjaffe, kubanga ddala twayonoona gy’oli.
21 주의 이름을 위하여 우리를 미워하지 마옵소서 주의 영광의 위를 욕되게 마옵소서 우리와 세우신 주의 언약을 기억하시고 폐하지 마옵소서
Olw’erinnya lyo totugoba, tovumaganyisa ntebe yo ey’obwakabaka ey’ekitiibwa. Jjukira endagaano gye wakola naffe, togimenya, gituukirize.
22 열방의 허무한 것 중에 능히 비를 내리게 할 자가 있나이까 하늘이 능히 소나기를 내릴 수 있으리이까? 우리 하나님 여호와여, 그리하는 자가 주가 아니시니이까 그러므로 우리가 주를 앙망하옵는 것은 주께서 이 모든 것을 만드셨음이니이다
Waliwo ku bakatonda ababajje bannaggwanga asobola okutonnyesa enkuba? Eggulu ku bw’alyo lisobola okuleeta enkuba? Nedda, wabula ggwe, Ayi Mukama Katonda waffe. Noolwekyo essuubi lyaffe liri mu ggwe, kubanga ggwe okola bino byonna.