< 고린도후서 10 >

1 너희를 대하여 대면하면 겸비하고 떠나 있으면 담대한 나 바울은 이제 그리스도의 온유와 관용으로 친히 너희를 권하고
Kaakano nze kennyini, Pawulo, mbeegayirira mu buwombeefu n’obukkakkamu bwa Kristo bwe mba nabwo nga neetoowazizza nga ndi nammwe, naye bwe mba nga siri nammwe ne mba muvumu gye muli;
2 또한 우리를 육체대로 행하는 자로 여기는 자들을 대하여 내가 담대히 대하려는 것같이 너희와 함께 있을 때에 나로 하여금 이 담대한 태도로 대하지 않게 하기를 구하노라
mbegayirira wadde ssiriiwo, bwe ndijja nneme kwogeza maanyi nga bwe nkola eri abantu abamu abatulowooleza okuba nga tugoberera bya mubiri.
3 우리가 육체에 있어 행하나 육체대로 싸우지 아니하노니
Newaakubadde nga tutambulira mu mubiri, tetulwana ng’ab’omubiri,
4 우리의 싸우는 병기는 육체에 속한 것이 아니요 오직 하나님 앞에서 견고한 진을 파하는 강력이라
kubanga ebyokulwanyisa byaffe eby’olutalo, si bya mubiri wabula bya maanyi mu Katonda olw’okuwangula ebigo, n’olw’okuwangula endowooza,
5 모든 이론을 파하며 하나님 아는 것을 대적하여 높아진 것을 다 파하고 모든 생각을 사로잡아 그리스도에게 복종케 하니
na buli kintu ekigulumivu ekyekuluntaza okusinga amagezi ga Katonda, era nga tujeemulula buli kirowoozo, kigondere Kristo,
6 너희의 복종이 온전히 될 때에 모든 복종치 않는 것을 벌하려고 예비하는 중에 있노라
era nga tweteeseteese okuwalana eggwanga ku bujeemu bwonna, bwe munaagonderanga ddala.
7 너희는 외모만 보는도다 만일 사람이 자기가 그리스도에게 속한 줄을 믿을진대 자기가 그리스도에게 속한 것같이 우리도 그러한 줄을 자기 속으로 다시 생각할 것이라
Mutunuulira ebintu nga bwe birabika kungulu. Omuntu yenna bw’alowooza munda mu ye okuba owa Kristo, ekyo akirowooza ku ye yekka, nti nga naffe tuli ba Kristo nga ye.
8 주께서 주신 권세는 너희를 파하려고 하신 것이 아니요 세우려고 하신 것이니 내가 이에 대하여 지나치게 자랑하여도 부끄럽지 아니하리라
Kubanga ne bwe ndisukkirira okwenyumiriza olw’obuyinza bwe tulina, Mukama bwe yatuwa olw’okubazimba so si lwa kubassa wansi, sirikwatibwa nsonyi,
9 이는 내가 편지들로 너희를 놀라게 하려는 것같이 생각지 않게 함이니
nneme kufaanana ng’abatiisa mu bbaluwa zange.
10 저희 말이 그 편지들은 중하고 힘이 있으나 그 몸으로 대할 때는 약하고 말이 시원치 않다 하니
Kubanga agamba nti, “Ebbaluwa ze ddala nzito era z’amaanyi, naye okubaawo kwe mu mubiri kunafu, n’okwogera kwe kunyoomebwa.”
11 이런 사람은 우리가 떠나 있을 때에 편지들로 말하는 자가 어떠한 자이면 함께 있을 때에 행하는 자도 그와 같은 자인줄 알라
Alowooza bw’atyo ategeere nga bye twogerako mu bbaluwa nga tetuli nammwe, era bye tukola nga tuli nammwe.
12 우리가 어떤 자기를 칭찬하는 자로 더불어 감히 짝하며 비교할 수 없노라 그러나 저희가 자기로서 자기를 헤아리고 자기로서 자기를 비교하니 지혜가 없도다
Ffe tetwaŋŋanga kwebalira wadde okwegeraageranya n’abamu ku abo abeetendereza, naye bo bwe beepimamu bokka na bokka, ne beegeraageranya bokka na bokka tebaba na kutegeera.
13 그러나 우리는 분량밖의 자랑을 하지 않고 오직 하나님이 우리에게 분량으로 나눠 주신 그 분량의 한계를 따라 하노니 곧 너희에게까지 이른 것이라
Naye ffe tetujja kwenyumiriza kusukka ku kigera kyaffe, naye tujja kwenyumiriza ng’ekigera ekyo ekyatuweebwa Katonda bwe kiri, ne tusobola n’okubatuukako mmwe.
14 우리가 너희에게 미치지 못할 자로서 스스로 지나쳐 나아간 것이 아니요 그리스도의 복음으로 너희에게까지 이른 것이라
Kubanga tetukununkiriza kusinga kigera kye tulina, kubanga nammwe twabatuusaako Enjiri ya Kristo,
15 우리는 남의 수고를 가지고 분량밖의 자랑하는 것이 아니라 오직 너희 믿음이 더 할수록 우리의 한계를 따라 너희 가운데서 더욱 위대하여지기를 바라노라
nga tetwenyumiriza kusinga omulimu abalala gwe baakola, naye nga tulina essuubi nti ng’okukkiriza kwammwe bwe kugenda kweyongera, n’omulimu gwaffe gugenda gweyongera,
16 이는 남의 한계 안에 예비한 것으로 자랑하지 아니하고 너희 지경을 넘어 복음을 전하려 함이라
era nga tubuulira Enjiri ne mu bitundu ebibali ewala, naye so si mu kitundu eky’omulala omwakolebwa edda omulimu waleme okubaawo eyeenyumiriza.
17 자랑하는 자는 주 안에서 자랑할지니라!
Naye eyeenyumiriza yeenyumirizenga mu Mukama waffe;
18 옳다 인정함을 받는 자는 자기를 칭찬하는 자가 아니요 오직 주께서 칭찬하시는 자니라
kubanga eyeetenda yekka, oyo si ye asiimibwa, wabula oyo Mukama gw’atenda.

< 고린도후서 10 >