< 詩篇 98 >
1 歌 新しき歌を主にむかってうたえ。主はくすしきみわざをなされたからである。その右の手と聖なる腕とは、おのれのために勝利を得られた。
Zabbuli. Muyimbire Mukama oluyimba oluggya, kubanga akoze eby’ekitalo. Omukono gwe ogwa ddyo, era omukono omutukuvu, gumuwadde obuwanguzi.
2 主はその勝利を知らせ、その義をもろもろの国民の前にあらわされた。
Mukama ayolesezza obulokozi bwe, era abikkulidde amawanga obutuukirivu bwe.
3 主はそのいつくしみと、まこととをイスラエルの家にむかって覚えられた。地のもろもろのはては、われらの神の勝利を見た。
Ajjukidde okwagala kwe okutakoma n’obwesigwa bwe eri ennyumba ya Isirayiri. Enkomerero z’ensi yonna zirabye obulokozi bwa Katonda waffe.
4 全地よ、主にむかって喜ばしき声をあげよ。声を放って喜び歌え、ほめうたえ。
Muyimbire Mukama n’essanyu lingi mwe ensi yonna; muyimbe ennyimba mu maloboozi ag’essanyu.
5 琴をもって主をほめうたえ。琴と歌の声をもってほめうたえ。
Mutendereze Mukama n’ennanga ez’enkoba; n’ennanga ez’enkoba n’amaloboozi ag’okuyimba,
6 ラッパと角笛の音をもって王なる主の前に喜ばしき声をあげよ。
n’amakondeere n’eddoboozi ly’eŋŋombe. Muyimbe n’essanyu mu maaso ga Mukama era Kabaka.
7 海とその中に満ちるもの、世界とそのうちに住む者とは鳴りどよめけ。
Ennyanja eyire ne byonna ebigirimu, n’ensi ne byonna ebigirimu bijaguze.
8 大水はその手を打ち、もろもろの山は共に主のみ前に喜び歌え。
Emigga gikube mu ngalo n’ensozi zonna ziyimbire wamu olw’essanyu;
9 主は地をさばくために来られるからである。主は義をもって世界をさばき、公平をもってもろもろの民をさばかれる。
byonna biyimbe mu maaso ga Mukama, kubanga ajja okulamula ensi. Aliramula ensi mu butuukirivu; aliramula amawanga mu bwenkanya.