< 詩篇 128 >

1 都もうでの歌 すべて主をおそれ、主の道に歩む者はさいわいである。
Oluyimba nga balinnya amadaala. Balina omukisa abatya Katonda; era abatambulira mu makubo ge.
2 あなたは自分の手の勤労の実を食べ、幸福で、かつ安らかであろう。
Olirya ebibala ebiriva mu kutegana kwo; oliweebwa emikisa era olifuna ebirungi.
3 あなたの妻は家の奥にいて多くの実を結ぶぶどうの木のようであり、あなたの子供たちは食卓を囲んでオリブの若木のようである。
Mu nnyumba yo, mukyala wo aliba ng’omuzabbibu ogubala ennyo; abaana bo aboobulenzi baliba ng’amatabi g’emizeeyituuni nga beetoolodde emmeeza yo.
4 見よ、主をおそれる人は、このように祝福を得る。
Bw’atyo bw’aweebwa emikisa omuntu atya Mukama.
5 主はシオンからあなたを祝福されるように。あなたは世にあるかぎりエルサレムの繁栄を見、
Mukama akuwenga omukisa ng’asinziira mu Sayuuni, era olabe Yerusaalemi nga kijjudde ebirungi ennaku zonna ez’obulamu bwo.
6 またあなたの子らの子を見るであろう。どうぞ、イスラエルの上に平安があるように。
Owangaale olabe abaana b’abaana bo! Emirembe gibeere mu Isirayiri.

< 詩篇 128 >