< 箴言 知恵の泉 11 >
1 偽りのはかりは主に憎まれ、正しいふんどうは彼に喜ばれる。
Minzaani eteri ya mazima ya muzizo eri Mukama, naye ebipimo ebituufu bye bimusanyusa.
2 高ぶりが来れば、恥もまた来る、へりくだる者には知恵がある。
Amalala bwe gajja, ng’obuswavu butuuse, naye obwetoowaze buleeta amagezi.
3 正しい者の誠実はその人を導き、不信実な者のよこしまはその人を滅ぼす。
Obwesimbu bw’abatuukirivu bubaluŋŋamya, naye enkwe z’abatali beesigwa zibazikirizisa.
4 宝は怒りの日に益なく、正義は人を救い出して、死を免れさせる。
Obugagga tebugasa ku lunaku olw’okusalirwako omusango, naye obutuukirivu buwonya okufa.
5 誠実な者は、その正義によって、その道をまっすぐにせられ、悪しき者は、その悪によって倒れる。
Obutuukirivu bw’abalongoofu bubatambuliza mu kkubo eggolokofu naye abakozi b’ebibi bagwa olw’ebikolwa byabwe ebibi.
6 正しい者はその正義によって救われ、不信実な者は自分の欲によって捕えられる。
Obutuukirivu bw’abagolokofu bubawonya, naye abatali beesigwa bagwa mu mutego olw’okwegomba ebibi.
7 悪しき者は死ぬとき、その望みは絶え、不信心な者の望みもまた絶える。
Omukozi w’ebibi bw’afa, essuubi lye libula, ne byonna bye yasuubira mu maanyi bikoma.
8 正しい者は、悩みから救われ、悪しき者は代ってそれに陥る。
Omutuukirivu aggyibwa mu mitawaana, naye jjijjira omukozi w’ebibi.
9 不信心な者はその口をもって隣り人を滅ぼす、正しい者は知識によって救われる。
Akamwa k’oyo atatya Katonda, kazikiriza muliraanwa, naye olw’okumanya, abatuukirivu bawona.
10 正しい者が、しあわせになれば、その町は喜び、悪しき者が滅びると、喜びの声がおこる。
Abatuukirivu bwe bakulaakulana ekibuga kijaguza; abakozi b’ebibi bwe bazikirira wawulirwawo amaloboozi ag’essanyu.
11 町は正しい者の祝福によって、高くあげられ、悪しき者の口によって、滅ぼされる。
Omukisa gw’abatuukirivu gukulaakulanya ekibuga: naye olw’akamwa k’abakozi b’ebibi, ekibuga kizikirizibwa.
12 隣り人を侮る者は知恵がない、さとき人は口をつぐむ。
Omuntu atalina magezi anyooma muliraanwa we, naye omuntu ategeera akuuma olulimi lwe.
13 人のよしあしを言いあるく者は秘密をもらす、心の忠信なる者は事を隠す。
Aseetula olugambo atta obwesigwa, naye omuntu omwesigwa akuuma ekyama.
14 指導者がなければ民は倒れ、助言者が多ければ安全である。
Awatali kuluŋŋamizibwa eggwanga lidobonkana, naye abawi b’amagezi abangi baleeta obuwanguzi.
15 他人のために保証をする者は苦しみをうけ、保証をきらう者は安全である。
Eyeeyimirira omuntu gw’atamanyiko alibonaabona, naye oyo akyawa okweyimirira aliba bulungi.
16 しとやかな女は、誉を得、強暴な男は富を得る。
Omukazi ow’ekisa aweebwa ekitiibwa, naye abasajja ab’amawaggali bakoma ku bugagga bwokka.
17 いつくしみある者はおのれ自身に益を得、残忍な者はおのれの身をそこなう。
Omusajja alina ekisa aganyulwa, naye alina ettima yeereetako akabi.
18 悪しき者の得る報いはむなしく、正義を播く者は確かな報いを得る。
Omukozi w’ebibi afuna empeera ey’obukuusa, naye oyo asiga eby’obutuukirivu akungula empeera eya nnama ddala.
19 正義を堅く保つ者は命に至り、悪を追い求める者は死を招く。
Omuntu omutuukirivu ddala alifuna obulamu, naye oyo akola ebitali bya butuukirivu alifa.
20 心のねじけた者は主に憎まれ、まっすぐに道を歩む者は彼に喜ばれる。
Mukama akyawa abantu abalina emitima emikyamu, naye ab’amakubo amagolokofu be bamusanyusa.
21 確かに、悪人は罰を免れない、しかし正しい人は救を得る。
Mutegeerere ddala ng’abakozi b’ebibi tebalirema kubonerezebwa, naye bazzukulu b’abatuukirivu tebalibaako musango.
22 美しい女の慎みがないのは、金の輪の、ぶたの鼻にあるようだ。
Ng’empeta ya zaabu mu nnyindo y’embizzi, bw’atyo bw’abeera omukazi omulungi atalaba njawulo wakati w’ekirungi n’ekibi.
23 正しい者の願いは、すべて良い結果を得、悪しき者の望みは怒りに至る。
Abatuukirivu bye beegomba bivaamu birungi byereere, naye abakozi b’ebibi bye bakola bisunguwaza.
24 施し散らして、なお富を増す人があり、与えるべきものを惜しんで、かえって貧しくなる者がある。
Omuntu agaba obuteerekereza, yeeyongera bweyongezi kugaggawala; naye akwatirira kye yandigabye, yeeyongera kwavuwala.
25 物惜しみしない者は富み、人を潤す者は自分も潤される。
Omuntu agaba anagaggawalanga, n’oyo ayamba talibulako amuyamba.
26 穀物を、しまい込んで売らない者は民にのろわれる、それを売る者のこうべには祝福がある。
Abantu bakolimira oyo akweka eŋŋaano mu kiseera eky’obwetaavu, naye oyo agitunda mu kiseera ekyo afuna emikisa.
27 善を求める者は恵みを得る、悪を求める者には悪が来る。
Oyo anyiikira okukola obulungi afuna okuganja, naye oyo anoonya ekibi, kimujjira.
28 自分の富を頼む者は衰える、正しい者は木の青葉のように栄える。
Oyo eyeesiga obugagga bwe aligwa, naye abatuukirivu banaakulaakulananga ne baba ng’amalagala amalamu.
29 自分の家族を苦しめる者は風を所有とする、愚かな者は心のさとき者のしもべとなる。
Omuntu aleeta emitawaana mu maka g’ewaabwe, alisikira mpewo; era n’omusirusiru aliba muddu w’oyo alina omutima ogw’amagezi.
30 正しい者の結ぶ実は命の木である、不法な者は人の命をとる。
Ekibala ky’omutuukirivu muti gwa bulamu, era n’oyo asikiriza emyoyo gy’abantu ne balokoka wa magezi.
31 もし正しい者がこの世で罰せられるならば、悪しき者と罪びととは、なおさらである。
Obanga omutuukirivu alifuna ekimusaanidde ku nsi kuno, oyo atatya Katonda n’omwonoonyi balirema obutafuna ekibasaanidde?