< レビ記 9 >

1 八日目になって、モーセはアロンとその子たち、およびイスラエルの長老たちを呼び寄せ、
Ku lunaku olw’omunaana Musa n’ayita Alooni ne batabani be n’abakulembeze ba Isirayiri.
2 アロンに言った、「あなたは雄の子牛の全きものを罪祭のために取り、また雄羊の全きものを燔祭のために取って、主の前にささげなさい。
N’agamba Alooni nti, “Ddira ennyana eya sseddume eweebwayo olw’ekibi, n’endiga ennume olw’ekiweebwayo ekyokebwa, nga zombi teziriiko kamogo, oziweeyo ng’ekiweebwayo eri Mukama Katonda.
3 あなたはまたイスラエルの人々に言いなさい、『あなたがたは雄やぎを罪祭のために取り、また一歳の全き子牛と小羊とを燔祭のために取りなさい、
Ogambe abaana ba Isirayiri nti, ‘Muddire embuzi ennume eweebwayo olw’ekibi, n’ennyana n’omwana gw’endiga, nga zino zombi zaakamala omwaka gumu obukulu era nga teziriiko kamogo, nga za kiweebwayo ekyokebwa;
4 また主の前にささげる酬恩祭のために雄牛と雄羊とを取り、また油を混ぜた素祭を取りなさい。主がきょうあなたがたに現れたもうからである』」。
era n’ente eya sseddume n’endiga ennume eby’ebiweebwayo olw’emirembe, n’ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke nga mulimu amafuta ag’omuzeeyituuni, byonna mubiweeyo nga kye kiweebwayo eri Mukama Katonda; kubanga ku lunaku lwa leero Mukama Katonda ajja kubalabikira.’”
5 彼らはモーセが命じたものを会見の幕屋の前に携えてきた。会衆がみな近づいて主の前に立ったので、
Bwe batyo ne baleeta byonna Musa bye yabalagira okuleeta mu maaso ga Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu. Abantu bonna, kye kibiina ekinene, ne basembera ne bayimirira awali Mukama Katonda.
6 モーセは言った、「これは主があなたがたに、せよと命じられたことである。こうして主の栄光はあなたがたに現れるであろう」。
Musa n’alyoka abagamba nti, “Kino kye kyo Mukama Katonda kye yabagambye okukola, era ekitiibwa kya Mukama kijja kubalabikira.”
7 モーセはまたアロンに言った、「あなたは祭壇に近づき、あなたの罪祭と燔祭をささげて、あなたのため、また民のためにあがないをし、また民の供え物をささげて、彼らのためにあがないをし、すべて主がお命じになったようにしなさい」。
Awo Musa n’agamba Alooni nti, “Sembera ku kyoto oweeyo ekiweebwayo kyo olw’ebyonoono byo, n’ekiweebwayo kyo ekyokebwa, olyoke weetangiririre awamu n’abantu era oleete ekiweebwayo eky’abantu; obatangiririre; nga Mukama Katonda bwe yalagidde.”
8 そこでアロンは祭壇に近づき、自分のための罪祭の子牛をほふった。
Awo Alooni n’asembera ku kyoto, n’atta ennyana ey’ekiweebwayo kye olw’ebyonoono bye.
9 そしてアロンの子たちは、その血を彼のもとに携えてきたので、彼は指をその血に浸し、それを祭壇の角につけ、残りの血を祭壇のもとに注ぎ、
Batabani ba Alooni ne bamuleetera omusaayi, n’annyika olunwe lwe mu musaayi n’agusiiga ku mayembe ag’oku kyoto, n’afuka omusaayi ku ntobo y’ekyoto.
10 また罪祭の脂肪と腎臓と肝臓の小葉とを祭壇の上で焼いた。主がモーセに命じられたとおりである。
N’addira amasavu n’ensigo n’ebibikka ku kibumba eby’omu kiweebwayo olw’ekibi, n’abyokera ku kyoto, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.
11 またその肉と皮とは宿営の外で火をもって焼き捨てた。
Ennyama n’eddiba n’abyokera mu muliro ebweru w’olusiisira.
12 彼はまた燔祭の獣をほふり、アロンの子たちがその血を彼に渡したので、これを祭壇の周囲に注ぎかけた。
Alooni n’atta ekiweebwayo ekyokebwa; batabani be ne bamuleetera omusaayi, n’agumansira ku kyoto okukyebungulula.
13 彼らがまた燔祭のもの、すなわち、その切り分けたものと頭とを彼に渡したので、彼はこれを祭壇の上で焼いた。
Ne bamuleetera ebifi eby’ekiweebwayo ekyokebwa nga n’omutwe kweguli; byonna n’abyokera ku kyoto.
14 またその内臓と足とを洗い、祭壇の上で燔祭と共にこれを焼いた。
N’ayoza ebyenda n’amagulu, n’abyokera wamu n’ekiweebwayo ekyokebwa ku kyoto.
15 彼はまた民の供え物をささげた。すなわち、民のための罪祭のやぎを取ってこれをほふり、前のようにこれを罪のためにささげた。
Awo Alooni n’aleeta ekiweebwayo olw’abantu. Yaddira embuzi ey’ekiweebwayo olw’ebibi by’abantu n’agitta, n’agiwaayo ng’ekiweebwayo kye olw’ekibi, kye yasooka olw’ebibi bye.
16 また燔祭をささげた。すなわち、これを定めのようにささげた。
N’aleeta ekiweebwayo ekyokebwa n’akiwaayo ng’etteeka bwe liragira.
17 また素祭をささげ、そのうちから一握りを取り、朝の燔祭に加えて、これを祭壇の上で焼いた。
N’aleeta ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke, n’ayoolamu olubatu, n’akyokya ku kyoto okuliraana n’ekiweebwayo ekyokebwa eky’omu makya.
18 彼はまた民のためにささげる酬恩祭の犠牲の雄牛と雄羊とをほふり、アロンの子たちが、その血を彼に渡したので、彼はこれを祭壇の周囲に注ぎかけた。
Ente ya sseddume n’endiga ennume nazo n’azitta, nga bye biweebwayo olw’emirembe eby’abantu; batabani ba Alooni ne bamuleetera omusaayi, n’agumansira ku kyoto okukyebungulula enjuuyi zonna.
19 またその雄牛と雄羊との脂肪、すなわち、脂尾、内臓をおおうもの、腎臓、肝臓の小葉。
Naye amasavu ag’ente eya sseddume n’ago ag’endiga ennume, n’amasavu ag’oku mukira, n’ago agabikka ku byenda, n’ensigo, n’agabikka ku kibumba,
20 これらの脂肪を彼らはその胸の上に載せて携えてきたので、彼はその脂肪を祭壇の上で焼いた。
ne bateeka amasavu gaabyo ku bifuba by’ensolo ezo, n’ayokya amasavu ago ku kyoto;
21 その胸と右のももとは、アロンが主の前に揺り動かして揺祭とした。モーセが命じたとおりである。
naye ebifuba n’ekisambi ekya ddyo, Alooni n’abiwuubawuuba mu maaso ga Mukama Katonda nga kye kiweebwayo ekiwuubibwa, nga Musa bwe yalagira.
22 アロンは民にむかって手をあげて、彼らを祝福し、罪祭、燔祭、酬恩祭をささげ終って降りた。
Awo Alooni n’awanikira abantu emikono gye, n’abasabira omukisa. Bw’atyo Alooni ng’amaze okuwaayo ekiweebwayo olw’ekibi, n’ekiweebwayo ekyokebwa, n’ekiweebwayo olw’emirembe, n’avaayo ku kyoto.
23 モーセとアロンは会見の幕屋に入り、また出てきて民を祝福した。そして主の栄光はすべての民に現れ、
Musa ne Alooni ne bayingira mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu. Bwe baafuluma ne basabira abantu omukisa, era ekitiibwa kya Mukama Katonda ne kirabikira abantu bonna.
24 主の前から火が出て、祭壇の上の燔祭と脂肪とを焼きつくした。民はみな、これを見て喜びよばわり、そしてひれ伏した。
Omuliro ne gujja nga guva eri Mukama Katonda ne gumalirawo ddala ekiweebwayo ekyokebwa n’amasavu ebyali ku kyoto. Awo abantu bonna bwe baakiraba ne baleekaana ne bagalamira wansi ng’amaaso gaabwe gali ku ttaka.

< レビ記 9 >