< 士師記 17 >

1 ここにエフライムの山地の人で、名をミカと呼ぶものがあった。
Waaliwo omusajja eyabeeranga mu nsi ey’ensozi Efulayimu, erinnya lye Mikka.
2 彼は母に言った、「あなたはかつて銀千百枚を取られたので、それをのろい、わたしにも話されましたが、その銀はわたしが持っています。わたしがそれを取ったのです」。母は言った、「どうぞ主がわが子を祝福されますように」。
N’agamba nnyina nti, “Ebitundu bya ffeeza olukumi mu ekikumi ebyakubulako, n’okukolima n’okolima, nga mpulira, laba, effeeza eyo nze njirina. Nze nagitwala.” Awo nnyina n’amugamba nti, “Mwana wange, Mukama Katonda akuwe omukisa.”
3 そして彼が銀千百枚を母に返したので、母は言った、「わたしはわたしの子のために一つの刻んだ像と、一つの鋳た像を造るためにその銀をわたしの手から主に献納します。それで今それをあなたに返しましょう」。
Awo bwe yakomyawo ebitundu bya ffeeza ebyo olukumi mu ekikumi, eri nnyina, nnyina n’amugamba nti, “Mpaayo effeeza eno eri Mukama Katonda, okuva mu mukono gwange ku lw’omwana wange, ekolebwemu ekifaananyi ekyole n’ekifaananyi ekisaanuuse, era ndimuzza gy’oli.”
4 ミカがその銀を母に返したので、母はその銀二百枚をとって、それを銀細工人に与え、一つの刻んだ像と、一つの鋳た像を造らせた。その像はミカの家にあった。
Awo bwe yazza effeeza, nnyina n’addira ebitundu ebikumi bibiri ebya ffeeza, n’abiwa omuweesi wa ffeeza, n’abikolamu ekifaananyi ekyole n’ekifaananyi ekisaanuuse. Ne biteekebwa mu nnyumba ya Mikka.
5 このミカという人は神の宮をもち、エポデとテラピムを造り、その子のひとりを立てて、自分の祭司とした。
Omusajja oyo Mikka yalina essabo. N’akola efodi, n’ebifaananyi ebyole n’ayawula omu ku batabani be okuba kabona we.
6 そのころイスラエルには王がなかったので、人々はおのおの自分たちの目に正しいと思うことを行った。
Mu biro ebyo tewaaliwo kabaka mu Isirayiri, era buli muntu yakolanga nga bw’alaba.
7 さてここにユダの氏族のもので、ユダのベツレヘムからきたひとりの若者があった。彼はレビびとであって、そこに寄留していたのである。
Ne wabaawo omuvubuka ow’omu kika kya Yuda nga Muleevi, eyabeeranga mu Besirekemuyuda.
8 この人は自分の住むべきところを尋ねて、ユダのベツレヘムの町を去り、旅してエフライムの山地のミカの家にきた。
N’ava mu kibuga kya Besirekemuyuda n’atandika okunoonya gy’anaabera, n’atuuka mu nsi ey’ensozi eya Efulayimu mu nnyumba ya Mikka. Wabula yali akyali ku lugendo ng’akyanoonya aw’okubeera.
9 ミカは彼に言った、「あなたはどこからおいでになりましたか」。彼は言った、「わたしはユダのベツレヘムのレビびとですが、住むべきところを尋ねて旅をしているのです」。
Mikka n’amubuuza nti, “Ova wa?” Omuleevi n’amuddamu nti, “Nva mu Besirekemuyuda, era nnoonya we nnyinza okubeera.”
10 ミカは言った、「わたしと一緒にいて、わたしのために父とも祭司ともなってください。そうすれば年に銀十枚と衣服ひとそろいと食物とをさしあげましょう」。
Mikka n’amugamba nti, “Beera nange, obeere kitange era kabona, nange ndikuwa ebitundu bya ffeeza kkumi ng’empeera, era ne nkuwa n’engoye n’emmere.” Omuleevi n’abeera naye.
11 レビびとはついにその人と一緒に住むことを承諾した。そしてその若者は彼の子のひとりのようになった。
Awo Omuleevi n’akkiriza okubeera n’omusajja oyo, era omuvubuka n’aba gy’ali ng’omu ku batabani be.
12 ミカはレビびとであるこの若者を立てて自分の祭司としたので、彼はミカの家にいた。
Awo Mikka n’ayawula Omuleevi, era omuvubuka oyo n’abeera kabona we n’abeera mu nnyumba ya Mikka.
13 それでミカは言った、「今わたしはレビびとを祭司に持つようになったので、主がわたしをお恵みくださることがわかりました」。
Mikka n’ayogera nti, “Kaakano mmanyi nga Mukama Katonda anankoleranga ebirungi, kubanga nnina Omuleevi nga kabona wange.”

< 士師記 17 >