< ヨシュア記 13 >
1 さてヨシュアは年が進んで老いたが、主は彼に言われた、「あなたは年が進んで老いたが、取るべき地は、なお多く残っている。
Awo Yoswa bwe yali ng’akaddiye ng’amaze emyaka mingi. Mukama n’amugamba nti, “Okaddiye omaze emyaka mingi naye, wakyaliwo ensi nnyingi nnyo ez’okuwangula.
2 その残っている地は、次のとおりである。ペリシテびとの全地域、ゲシュルびとの全土、
“Zino z’ensi ezikyaliwo: “ensi yonna ey’Abafirisuuti n’Abaseguli
3 エジプトの東のシホルから北にのびて、カナンびとに属するといわれるエクロンの境までの地、ペリシテびとの五人の君たちの地、すなわち、ガザ、アシドド、アシケロン、ガテ、およびエクロン。
okuva ku mugga Sikoli oguli ebuvanjuba wa Misiri, n’okwambukira ddala ku nsalo y’e Ekuloni emanyiddwa nga ey’Abakanani, eriyo abafuzi bataano ab’Abafirisuuti, ow’e Gaza, n’ow’e Asudodi, n’ow’e Asukulooni, n’ow’e Gaasi n’ow’e Ekuloni awamu n’Abavi.
4 南のアビびとの地、カナンびとの全地、シドンびとに属するメアラからアモリびとの境にあるアペクまでの部分。
Okuva mu bukiikaddyo ensi yonna ey’Abakanani, ne Meyala ekya Basidoni, okutuuka ku Afiki, ku nsalo ey’Abamoli,
5 またヘルモン山のふもとのバアルガデからハマテの入口に至るゲバルびとの地、およびレバノンの東の全土。
n’ensi y’Abagebali, ne Lebanooni yonna, ne ku luuyi olw’ebuvanjuba, n’okuva ku Baalugadi wansi w’olusozi Kerumooni okutuuka w’oyingirira e Kamasi.
6 レバノンからミスレポテ・マイムまでの山地のすべての民、すなわちシドンびとの全土。わたしはみずから彼らをイスラエルの人々の前から追い払うであろう。わたしが命じたように、あなたはその地をイスラエルに分け与えて、嗣業とさせなければならない。
“N’abantu bonna ab’omu nsozi za Lebanooni okutuuka ku Misurefosumayima, be Basidoni bonna; nze kennyini ndibagoba mbaggye mu maaso g’abaana ba Isirayiri. Kakasa nti ensi eno ogigabira abaana ba Isirayiri nga bwe nakulagira.
7 すなわち、その地を九つの部族と、マナセの半部族とに分け与えて、嗣業とさせなければならない」。
Noolwekyo ojja kugigabanya ng’omugabo eri ebika omwenda era n’ekitundu ky’ekika kya Manase.”
8 マナセの他の半部族と共に、ルベンびとと、ガドびととは、ヨルダンの向こう側、東の方で、その嗣業をモーセから受けた。主のしもべモーセが、彼らに与えたのは、
Ekitundu ekirala ekya Manase, n’Abalewubeeni n’Abagaadi ne baweebwa omugabo gwabwe, Musa bwe yabawa emitala wa Yoludaani ku luuyi olw’ebuvanjuba nga Musa omuweereza wa Mukama bwe yabagabira.
9 アルノンの谷のほとりにあるアロエル、および谷の中にある町から、デボンとメデバの間にある高原のすべての地。
Okuva ku Aloweri ekiri ku mabbali g’ekiwonvu ekya Alunoni, n’ekibuga ekiri wakati mu kiwonvu, n’olusenyi lwonna olwa Medeba okutuuka ku Diboni;
10 ヘシボンで世を治めた、アモリびとの王シホンのすべての町々を含めて、アンモンの人々の境までの地。
n’ebibuga byonna ebya Sikoni kabaka w’Abamoli, eyafuga mu Kesuboni, okutuuka ku nsalo y’abaana ba Amoni.
11 ギレアデと、ゲシュルびと、ならびにマアカびとの領地、ヘルモン山の全土、サルカまでのバシャン全体。
Era kyatwaliramu Gireyaadi, n’ekitundu ky’Abagesuli, n’Abamaakasi, n’olusozi lwonna Kerumooni ne Basani yonna okutuukira ddala ku Saleka.
12 アシタロテとエデレイで世を治めたバシャンの王オグの全国。オグはレパイムの生き残りであった。モーセはこれらを撃って、追い払った。
Obwakabaka bwonna obwa Ogi mu Basani, eyali afuga mu Asutaloosi ne mu Ederei, ye yali asigaddewo yekka ku Balefa, bwawangulwa Musa n’atwala ensi yaabwe.
13 ただし、イスラエルの人々は、ゲシュルびとと、マアカびとを追い払わなかった。ゲシュルびとと、マアカびとは、今日までイスラエルのうちに住んでいる。
Naye abaana ba Isirayiri tebaawangula Bagesuli wadde Abamaakasi, bwe kityo Abagesuli n’Abamaakasi ne babeera wakati mu bo ne leero.
14 ただレビの部族には、ヨシュアはなんの嗣業をも与えなかった。イスラエルの神、主の火祭が彼らの嗣業であるからである。主がヨシュアに言われたとおりである。
Ekika kya Leevi kyokka Musa ky’ataawa mugabo, ebiweebwayo ebyokebwa n’omuliro eri Mukama Katonda wa Isirayiri, gwe mugabo gwe nga bwe yamugamba.
15 モーセはルベンびとの部族に、その家族にしたがって嗣業を与えたが、
Musa yagabira ekika ky’abaana ba Lewubeeni ng’enju zaabwe bwe zaali:
16 その領域はアルノンの谷のほとりにあるアロエル、および谷の中にある町からメデバのほとりのすべての高原、
Ensalo yaabwe ng’eva ku Aloweri, ekiri ku mabbali g’ekiwonvu eky’Alunoni, n’ekibuga ekiri wakati mu kiwonvu, n’olusenyi lwonna oluliraanye Medeba,
17 ヘシボンおよびその高原のすべての町々、デボン、バモテ・バアル、ベテ・バアル・メオン、
ne Kesuboni, n’ebibuga byakyo byonna ebiri mu lusenyi, ne Diboni ne Bamosi Baali, ne Besubaalumyoni;
ne Yakazi, ne Kedemosi, ne Mefaasi;
19 キリアタイム、シブマ、谷の中の山にあるゼレテ・シャハル、
ne Kiriyasayimu, ne Sibuma, ne Zeresusakali ku lusozi olw’Ekiwonvu,
ne Besupyoli ne Pisuga awayambukirwa ku lusozi, ne Besu Yesimosi,
21 すなわち高原のすべての町々と、ヘシボンで世を治めたアモリびとの王シホンの全国に及んだ。モーセはシホンを、ミデアンのつかさたちエビ、レケム、ツル、ホルおよびレバと共に撃ち殺した。これらはみなシホンの諸侯であって、その地に住んでいた者である。
n’ebibuga byonna eby’omu lusenyi, n’obwakabaka bwonna obwa Sikoni kabaka w’Abamoli, eyafugira mu Kesuboni, Musa gwe yawangula awamu n’abaami abaali bafuga ab’e Midiyaani, eri ne Lekemu, ne Zuuli, ne Kuli ne Leba, n’abalangira ba Sikoni abaabeeranga mu nsi.
22 イスラエルの人々はまたベオルの子、占い師バラムをもつるぎにかけて、そのほかに殺した者どもと共に殺した。
Era ne mu abo be batta n’ekitala, abaana ba Isirayiri battiramu n’omulaguzi Balamu omwana wa Byoli.
23 ルベンびとの領域はヨルダンを境とした。これはルベンびとが、その家族にしたがって獲た嗣業であって、その町々と村々とを含む。
Era n’ensalo y’abaana ba Lewubeeni yali omugga Yoludaani. Ebibuga n’ebyalo byamu Musa yabiwa abaana ba Lewubeeni okuba omugabo gwabwe.
24 モーセはまたガドの部族、ガドの子孫にも、その家族にしたがって、嗣業を与えたが、
Musa yagabira ekika kya Gaadi omugabo ng’enju zaabwe bwe zaali:
25 その領域はヤゼル、ギレアデのすべての町々、アンモンびとの地の半ばで、ラバの東のアロエルまでの地。
Ettaka lyabwe lyali Yazeri, n’ebibuga byonna ebya Gireyaadi, n’ekitundu ky’ensi y’abaana ba Amoni, okutuuka ku Aloweri okumpi ne Labba,
26 ヘシボンからラマテ・ミゾパまでの地、およびベトニム、マハナイムからデビルの境までの地。
n’okuva e Kesuboni okutuuka ku Lamasumizupe, ne Betonimu, era n’okuva ku Makanayimu okutuuka mu nsi y’e Debiri,
27 谷の中ではベテハラム、ベテニムラ、スコテ、およびザポンなど、ヘシボンの王シホンの国の残りの部分。ヨルダンを境として、ヨルダンの東側、キンネレテの湖の南の端までの地。
ne mu kiwonvu, Besukalamu, ne Besu Nimira, ne Sukkosi, ne Zafoni, n’ekitundu ekyasigalawo ekyobwakabaka bwa Sikoni kabaka ow’e Kesuboni, Yoludaani n’ensalo yaagwo, okutuuka ku lubalama lw’ennyanja ey’e Kinneresi emitala wa Yoludaani ku luuyi olw’ebuvanjuba.
28 これはガドびとが、その家族にしたがって獲た嗣業であって、その町々と村々とを含む。
Eyo y’ensi eyafuuka omugabo gw’abaana ba Gaadi ng’enju zaabwe bwe zaali, ebibuga n’ebyalo byamu.
29 モーセはまたマナセの半部族にも、嗣業を与えたが、それはマナセの半部族が、その家族にしたがって与えられたものである。
Musa n’awa ekitundu ky’ekika kya Manase omugabo gwabwe, abaana ba Manase ne bagabirwa omugabo ng’enju zaabwe bwe zaali.
30 その領域はマハナイムからバシャンの全土に及び、バシャンの王オグの全国、バシャンにあるヤイルのすべての町々、すなわちその六十の町。
N’ensalo yaabwe ng’eya Makanayimu, n’eyita mu Basani n’obwakabaka bwonna obwa Ogi kabaka w’e Basani, n’ebibuga ebya Yayiri, ebiri mu Basani ebibuga nkaaga;
31 またギレアデの半ば、バシャンのオグの国の町であるアシタロテとエデレイ。これらはマナセの子マキルの子孫に与えられた。すなわちマキルの子孫の半ばが、その家族にしたがって、それを獲た。
n’ekitundu ekimu ekya Gireyaadi ne Asutaloosi, ne Ederei, ebibuga eby’obwakabaka bwa Ogi mu Basani byali b’abaana ba Makiri omwana wa Manase, ekitundu eky’abaana ba Makiri ng’enju zaabwe bwe zaali.
32 これらはヨルダンの向こう側、エリコの東のモアブの平野で、モーセが分け与えた嗣業である。
Ogwo gwe mugabo Musa gwe yagaba mu nsenyi eza Mowaabu, emitala wa Yoludaani ebuvanjuba bwa Yeriko.
33 ただし、レビの部族には、モーセはなんの嗣業をも与えなかった。イスラエルの神、主がその嗣業だからである。主がモーセに言われたとおりである。
Naye ekika kya Leevi Musa teyakiwa mugabo. Mukama Katonda wa Isirayiri, ye mugabo gwabwe gwe yabawa, nga Mukama bwe yabasuubiza.