< エレミヤ書 31 >
1 「主は言われる、その時わたしはイスラエルの全部族の神となり、彼らはわたしの民となる」。
“Mu kiseera ekijja, ndiba Katonda w’ebika byonna ebya Isirayiri, era balibeera bantu bange,” bw’ayogera Mukama.
2 主はこう言われる、「つるぎをのがれて生き残った民は、荒野で恵みを得た。イスラエルが安息を求めた時、
Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Abantu abawona ekitala baliraba ekisa mu ddungu. Ndijja n’empa Isirayiri ekiwummulo.”
3 主は遠くから彼に現れた。わたしは限りなき愛をもってあなたを愛している。それゆえ、わたしは絶えずあなたに真実をつくしてきた。
Mukama yatulabikira edda ng’agamba nti, “Nkwagadde n’okwagala okutaliggwaawo, kyenvudde nkusembeza gye ndi n’ekisa ekijjudde okwagala.
4 イスラエルのおとめよ、再びわたしはあなたを建てる、あなたは建てられる。あなたは再び鼓をもって身を飾り、出て行って、喜び楽しむ者と共に踊る。
Ndikuzimba nate, era olizimbibwa, ggwe Omuwala Isirayiri. Era oliddamu okuyonjebwa okwate ebitaasa byo ofulume ozine n’abo abasanyuka.
5 またあなたはぶどうの木をサマリヤの山に植える。植える者は、植えてその実を食べることができる。
Oliddamu okusimba emizabbibu ku lusozi Samaliya, abalimi baligisimba balye ebibala byakwo.
6 見守る者がエフライムの山の上に立って呼ばわる日が来る。『立って、シオンに上り、われわれの神、主に、もうでよう』と」。
Walibeerawo olunaku abakuumi lwe balikoowoola ku busozi bwa Efulayimu nti, ‘Mujje, tugende ku Sayuuni, eri Mukama Katonda waffe.’”
7 主はこう仰せられる、「ヤコブのために喜んで声高く歌い、万国のかしらのために叫び声をあげよ。告げ示し、ほめたたえて言え、『主はその民イスラエルの残りの者を救われた』と。
Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Muyimbe n’essanyu olwa Yakobo Muleekaanire waggulu olw’ensi esinga zonna.” Ettendo lyammwe liwulikike, era mugambe nti, “Ayi Mukama, lokola abantu bo, abaasigalawo ku Isirayiri.”
8 見よ、わたしは彼らを北の国から連れ帰り、彼らを地の果から集める。彼らのうちには、盲人やあしなえ、妊婦、産婦も共にいる。彼らは大きな群れとなって、ここに帰ってくる。
Laba, ndibakomyawo okuva mu nsi ey’obukiikakkono, ne mbakuŋŋaanya okuva ku nkomerero y’ensi. Mu bo mulibaamu abazibe b’amaaso, n’abalema, n’abakyala ab’embuto, n’abalumwa okuzaala, era abantu bangi balikomawo.
9 彼らは泣き悲しんで帰ってくる。わたしは慰めながら彼らを導き帰る。彼らがつまずかないように、まっすぐな道により、水の流れのそばを通らせる。それは、わたしがイスラエルの父であり、エフライムはわたしの長子だからである。
Balikomawo nga bakaaba, balisaba nga mbakomyawo. Ndibakulembera ku mabbali g’emigga, mu kkubo eggolokofu mwe batalyesittalira kubanga nze Kitaawe wa Isirayiri, era Efulayimu ye mutabani wange omubereberye.
10 万国の民よ、あなたがたは主の言葉を聞き、これを遠い、海沿いの地に示して言いなさい、『イスラエルを散らした者がこれを集められる。牧者がその群れを守るようにこれを守られる』と。
“Muwulire ekigambo kya Mukama mmwe amawanga, mukyogere mu nsi ezeewala. ‘Oyo eyasaasaanya Isirayiri alibakuŋŋaanya era alirabirira ekisibo kye ng’omusumba w’endiga.’
11 すなわち主はヤコブをあがない、彼らよりも強い者の手から彼を救いだされた。
Kubanga Mukama aligula Yakobo era abanunule okuva mu mukono gw’oyo abasinga amaanyi.
12 彼らは来てシオンの山で声高く歌い、主から賜わった良い物のために、穀物と酒と油および若き羊と牛のために、喜びに輝く。その魂は潤う園のようになり、彼らは重ねて憂えることがない。
Balijja baleekaana olw’essanyu ku nsozi za Sayuuni; balisanyukira okugabula kwa Mukama: emmere ey’empeke, ne wayini omusu, n’omuzigo, n’abaana b’endiga era n’ebisibo. Balibeera ng’ennimiro efukiririddwa obulungi, era tebalyongera kulaba nnaku.
13 その時おとめたちは舞って楽しみ、若い者も老いた者も共に楽しむ。わたしは彼らの悲しみを喜びにかえ、彼らを慰め、憂いの代りに喜びを与える。
Abawala balizina beesiime, n’abavubuka, n’abakadde. Okukaaba kwabwe ndikufuula essanyu; ndibawa emirembe n’essanyu okusinga ennaku.
14 わたしは多くのささげ物で、祭司の心を飽かせ、わたしの良き物で、わたしの民を満ち足らせると主は言われる」。
Ndikkusa bakabona ebintu ebingi, n’abantu bange mbajjuze ebintu,” bw’ayogera Mukama.
15 主はこう仰せられる、「嘆き悲しみ、いたく泣く声がラマで聞える。ラケルがその子らのために嘆くのである。子らがもはやいないので、彼女はその子らのことで慰められるのを願わない」。
Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Eddoboozi liwulirwa mu Laama, nga likungubaga n’okukaaba okungi. Laakeeri akaabira abaana be era agaanye okusirisibwa, kubanga abaana be baweddewo.”
16 主はこう仰せられる、「あなたは泣く声をとどめ、目から涙をながすことをやめよ。あなたのわざに報いがある。彼らは敵の地から帰ってくると主は言われる。
Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Ziyiza eddoboozi lyo lireme okuwulikika ng’okaaba n’amaaso go galeme okujja amaziga, kubanga omulimu gwo gulisasulibwa,” bw’ayogera Mukama. Balikomawo okuva mu nsi y’omulabe.
17 あなたの将来には希望があり、あなたの子供たちは自分の国に帰ってくると主は言われる。
Waliwo essuubi, bw’ayogera Mukama. Abaana bo baliddayo mu nsi yaabwe.
18 わたしは確かに、エフライムがこう言って嘆くの聞いた、『あなたはわたしを懲しめられた、わたしはくびきに慣れない子牛のように懲しめをうけた。主よ、あなたはわたしの神、主でいらせられる、わたしを連れ帰って、もとにかえしてください。
“Ddala mpulidde Efulayimu ng’akungubaga nti, ‘Wankangavvula ng’ennyana endalu era kaakano nkangavvuddwa. Nziza, n’akomawo gy’oli kubanga ggwe Mukama Katonda wange.
19 わたしはそむき去った後、悔い、教をうけた後、ももを打った。若い時のはずかしめが身にあるので、わたしは恥じ、 うろたえた』。
Nga mmaze okubula, neenenya, nga nzizeemu amagezi agategeera ne neekuba mu kifuba. Nakwatibwa ensonyi era ne nswala, kubanga naliko ekivume ky’obuvubuka bwange.’
20 主は言われる、エフライムはわたしの愛する子、わたしの喜ぶ子であろうか。わたしは彼について語るごとに、なお彼を忘れることができない。それゆえ、わたしの心は彼をしたっている。わたしは必ず彼をあわれむ。
Efulayimu si mwana wange omwagalwa, omwana gwe nsanyukira? Wadde nga ntera okumunenya naye nkyamujjukira. Noolwekyo omutima gwange gumuyaayaanira; nnina ekisa kingi gy’ali,” bw’ayogera Mukama.
21 みずからのために道しるべを置き、みずからのために標柱を立てよ。大路に、あなたの通って行った道に心を留めよ。イスラエルのおとめよ、帰れ、これらの、あなたの町々に帰れ。
“Muteeke ebipande ku nguudo; muteekeeko ebipande. Mwetegereze ekkubo eddene, ekkubo mwe muyita. Komawo ggwe Omuwala Isirayiri, komawo mu bibuga byo.
22 不信の娘よ、いつまでさまようのか。主は地の上に新しい事を創造されたのだ、女が男を保護する事である」。
Olituusa ddi okudda eno n’eri, ggwe omuwala atali mwesigwa? Mukama alikola ekintu ekiggya ku nsi, omukazi aliwa omusajja obukuumi.”
23 万軍の主、イスラエルの神はこう言われる、「わたしが彼らを再び栄えさせる時、人々はまたユダの地とその町々でこの言葉を言う、『正義のすみかよ、聖なる山よ、どうか主がおまえを祝福してくださるように』。
Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, “Bwe ndibakomyawo okubaggya mu busibe, abantu b’omu nsi ye Yuda ne mu bibuga byamu bajja kuddamu okukozesa ebigambo bino nti, ‘Mukama akuwe omukisa, ggwe ekifo ekitukuvu, ggwe olusozi olutukuvu.’
24 ユダとそのすべての町の人、および農夫と群れを飼って歩き回る者は共にそこに住む。
Abantu balibeera wamu mu Yuda ne mu bibuga byakyo byonna, abalimi n’abo abatambula n’amagana gaabwe.
25 わたしが疲れた魂を飽き足らせ、すべて悩んでいる魂を慰めるからである」。
Abalumwa ennyonta ndibanywesa, nzizeemu amaanyi abazirika.”
26 ここでわたしは目をさましたが、わたしの眠りは、ここちよかった。
Awo we nazuukukira ne ntunulatunula. Otulo twange twali tunnyumidde.
27 「主は言われる、見よ、わたしが人の種と獣の種とをイスラエルの家とユダの家とにまく日が来る。
“Ennaku zijja,” bwayogera Mukama, “lwe ndisimba ennyumba ya Isirayiri ne nnyumba ya Yuda n’ezzadde ly’abantu n’ery’ensolo.
28 わたしは彼らを抜き、砕き、倒し、滅ぼし、悩まそうと待ちかまえていたように、また彼らを建て、植えようと待ちかまえていると主は言われる。
Nga bwe nabalabirira nga bakuulibwa era nga bayuzibwayuzibwa, nga babetentebwa, era nga bazikirizibwa ne beeleetako ekikangabwa, bwe ntyo bwe ndibalabirira nga bazimbibwa era nga basimbibwa,” bw’ayogera Mukama.
29 その時、彼らはもはや、『父がすっぱいぶどうを食べたので、子どもの歯がうく』とは言わない。
“Mu nnaku ezo abantu banaaba tebakyagamba nti, “‘Bakitaabwe balidde emizabbibu egikaawa, n’amannyo g’abaana ne ganyenyeera.’”
30 人はめいめい自分の罪によって死ぬ。すっぱいぶどうを食べる人はみな、その歯がうく。
Wabula buli muntu alifa olw’obutali butuukirivu bwe ye, buli muntu alya ezabbibu erinyenyeeza amannyo, amannyo ge galinyenyeera.
31 主は言われる、見よ、わたしがイスラエルの家とユダの家とに新しい契約を立てる日が来る。
Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Ekiseera kijja, lwe ndikola endagaano empya n’ennyumba ya Isirayiri era n’ennyumba ya Yuda.
32 この契約はわたしが彼らの先祖をその手をとってエジプトの地から導き出した日に立てたようなものではない。わたしは彼らの夫であったのだが、彼らはそのわたしの契約を破ったと主は言われる。
Teribeera ng’endagaano eri gye nakola ne bajjajjaabwe bwe nabakwata ku mukono okubakulembera okubaggya mu nsi y’e Misiri, kubanga baamenya endagaano yange nabo wadde nga nze nnali nga omwami waabwe,” bw’ayogera Mukama.
33 しかし、それらの日の後にわたしがイスラエルの家に立てる契約はこれである。すなわちわたしは、わたしの律法を彼らのうちに置き、その心にしるす。わたしは彼らの神となり、彼らはわたしの民となると主は言われる。
“Eno y’endagaano gye nnaakola n’ennyumba ya Isirayiri mu kiseera ekyo,” bw’ayogera Mukama. “Nditeeka amateeka gange mu birowoozo byabwe, ne ngawandiika ku mitima gyabwe. Ndibeera Katonda waabwe, nabo balibeera bantu bange.
34 人はもはや、おのおのその隣とその兄弟に教えて、『あなたは主を知りなさい』とは言わない。それは、彼らが小より大に至るまで皆、わたしを知るようになるからであると主は言われる。わたしは彼らの不義をゆるし、もはやその罪を思わない」。
Omuntu taliddayo kuyigiriza muliraanwa we, oba omusajja muganda we ng’agamba nti, ‘Manya Mukama,’ Kubanga bonna balimmanya, okuva ku asokerwako wansi okutuuka ku akomererayo waggulu,” bw’ayogera Mukama. “Kubanga ndisonyiwa obutali butuukirivu bwabwe, n’ekibi kyabwe ne siddamu kukijjukira.”
35 主はこう言われる、すなわち太陽を与えて昼の光とし、月と星とを定めて夜の光とし、海をかき立てて、その波を鳴りとどろかせる者その名は万軍の主という。
Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Oyo ateekawo enjuba okwaka emisana, n’alagira omwezi n’emmunyeenye okwaka ekiro, asiikuula ennyanja amayengo gaayo ne gawuluguma; Mukama Katonda ow’Eggye lye linnya lye.
36 主は言われる、「もしこの定めがわたしの前ですたれてしまうなら、イスラエルの子孫もすたって、永久にわたしの前で民であることはできない」。
“Amateeka gano nga bwe gavudde mu maaso gange, n’ezzadde lya Isirayiri we linaakoma okubeera eggwanga olw’ebyo byonna bye bakoze,” bw’ayogera Mukama Katonda.
37 主はこう言われる、「もし上の天を量ることができ、下の地の基を探ることができるなら、そのとき、わたしはイスラエルのすべての子孫をそのもろもろの行いのために捨て去ると主は言われる」。
Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, “Okuggyako ng’eggulu lisobola okupimibwa n’emisingi gy’ensi wansi okunoonyezebwa, olwo lw’endigoba ezzadde lya Isirayiri olw’ebyo bye bakoze,” bw’ayogera Mukama.
38 主は言われる、「見よ、この町が、ハナネルの塔から隅の門まで、主のために再建される時が来る。
“Ennaku zijja,” bw’ayogera Mukama, “ekibuga lwe kinaazimbibwa okuva ku Munaala gwe Kananeri okutuuka ku Mulyango gw’oku Nsonda.
39 測りなわはそれよりも遠くまっすぐに延びて、ガレブの丘に達し、ゴアのほうに向かう。
Omuguwa ogupima gujja kupima okuva eyo okutuuka ku lusozi lw’e Galebu n’oluvannyuma gupime okuva eyo okutuuka e Gowa.
40 死体と灰との谷の全部、またキデロンの谷に行くまでと、東のほうの馬の門のすみに行くまでとのすべての畑はみな主の聖なる所となり、永遠にわたって、ふたたび抜かれ、また倒されることはない」。
Ekiwonvu kyonna emirambo n’evvu gye bisuuliddwa, era n’ennimiro zonna okutuuka ku kagga Kidulooni ku bukiikakkono n’okutuuka ku nsonda eyitibwa Omulyango gw’Embalaasi, kinaaba kitukuvu eri Katonda. Ekibuga tekigenda kuddayo kusimbulwa wadde okusaanyizibwawo.”