< イザヤ書 56 >
1 主はこう言われる、「あなたがたは公平を守って正義を行え。わが救の来るのは近く、わが助けのあらわれるのが近いからだ。
Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Mukolenga obwenkanya era ebituufu, kubanga obulokozi bwange bunaatera okujja, n’obutuukirivu bwange bunatera okubikkulibwa.
2 安息日を守って、これを汚さず、その手をおさえて、悪しき事をせず、このように行う人、これを堅く守る人の子はさいわいである」。
Alina omukisa omuntu akola ekyo, n’omwana w’omuntu akinyweererako. Akwata ssabbiiti obutagyonoona, n’akuuma omukono gwe obutakola kibi na kimu.”
3 主に連なっている異邦人は言ってはならない、「主は必ずわたしをその民から分かたれる」と。宦官もまた言ってはならない、「見よ、わたしは枯れ木だ」と。
Era ne munnaggwanga eyeegatta ku Mukama tayogeranga nti, “Mukama, oboolyawo alinjawula ku bantu be,” so n’omulaawe okugamba nti, “Ndi muti mukalu.”
4 主はこう言われる、「わが安息日を守り、わが喜ぶことを選んで、わが契約を堅く守る宦官には、
Kubanga bw’atyo bw’ayogera Mukama nti, “Eri abalaawe abakwata ssabbiiti zange ne basalawo okugoberera ebyo ebinsanyusa, ne bakuuma endagaano yange,
5 わが家のうちで、わが垣のうちで、むすこにも娘にもまさる記念のしるしと名を与え、絶えることのない、とこしえの名を与える。
amannya gaabwe galijjukirwa mu yeekaalu yange mu bisenge byamu, ng’ekijjukizo n’okusinga bwe mwandibadde n’abaana aboobulenzi n’aboobuwala. Ndibawa erinnya eritaliggwaawo ery’emirembe n’emirembe.
6 また主に連なり、主に仕え、主の名を愛し、そのしもべとなり、すべて安息日を守って、これを汚さず、わが契約を堅く守る異邦人は
N’abo bannaggwanga abasalawo okwegatta ku Mukama, okumuweereza era n’okwagala erinnya lya Mukama era n’okubeera abaweereza be, abakwata ssabbiiti ne batagyonoona era ne banyweza endagaano yange,
7 わたしはこれをわが聖なる山にこさせ、わが祈の家のうちで楽しませる、彼らの燔祭と犠牲とは、わが祭壇の上に受けいれられる。わが家はすべての民の祈の家ととなえられるからである」。
bano ndibaleeta ku lusozi lwange olutukuvu era ne mbawa essanyu mu nnyumba yange ey’okusabiramu. Ebiweebwayo byabwe ebyokebwa ne ssaddaaka zaabwe birikkirizibwa ku kyoto kyange. Kubanga ennyumba yange eriyitibwa nnyumba ya kusabiramu eri amawanga gonna.”
8 イスラエルの追いやられた者を集められる主なる神はこう言われる、「わたしはさらに人を集めて、すでに集められた者に加えよう」と。
Bw’ati bw’ayogera Mukama Ayinzabyonna, akuŋŋaanya Abayisirayiri abaawaŋŋangusibwa nti, “Ndikuŋŋaanyaayo abantu abalala ng’oggyeko abantu bange aba Isirayiri be nkuŋŋaanyizza.”
9 野のすべての獣よ、林におるすべての獣よ、来て食らえ。
Mukama agamba amawanga amalala okujja ng’ensolo ez’omu nsiko, galye abantu be.
10 見張人らはみな目しいで、知ることがなく、みな、おしの犬で、ほえることができない。みな夢みる者、伏している者、まどろむことを好む者だ。
Kubanga abakulembeze ba Isirayiri bazibe ba maaso, bonna tebalina magezi, bonna mbwa ezitasobola kuboggola, zibeera mu kuloota nakugalaamirira ezaagala okwebaka obwebasi.
11 この犬どもは強欲で、飽くことを知らない。彼らはまた悟ることのできない牧者で、皆おのが道にむかいゆき、おのおのみな、おのれの利を求める。
Embwa ezirina omululu omuyitirivu ezitakkuta. Basumba abatayinza kutegeera, bonna abakyamye mu makubo gaabwe; buli muntu ng’afa ku kwenoonyeza ky’anaalya.
12 彼らは互に言う、「さあ、われわれは酒を手に入れ、濃い酒をあびるほど飲もう。あすも、きょうのようであるだろう、すばらしい日だ」と。
Bagambagana nti, “Mujje, leka tukime omwenge tunywe tutamiire. N’olw’enkya lunaku ng’olwa leero, oba n’okusingawo.”