< イザヤ書 5 >
1 わたしはわが愛する者のために、そのぶどう畑についてのわが愛の歌をうたおう。わが愛する者は土肥えた小山の上に、一つのぶどう畑をもっていた。
Ka nnyimbire omwagalwa wange oluyimba olukwata ku nnimiro ye ey’emizabbibu. Omwagalwa wange yalina nnimiro ey’emizabbibu ku lusozi olugimu.
2 彼はそれを掘りおこし、石を除き、それに良いぶどうを植え、その中に物見やぐらを建て、またその中に酒ぶねを掘り、良いぶどうの結ぶのを待ち望んだ。ところが結んだものは野ぶどうであった。
Era n’agirima n’agiggyamu amayinja gonna, n’agisimbamu emizabbibu egisinga obulungi. Era wakati mu yo n’azimbamu ebigulumu okulengererwa. N’agisimamu n’essogolero n’agisuubira okubala emizabbibu emirungi naye n’ebala emizabbibu nga si mirungi n’akatono.
3 それで、エルサレムに住む者とユダの人々よ、どうか、わたしとぶどう畑との間をさばけ。
“Era kaakano abatuuze b’omu Yerusaalemi n’abasajja b’omu Yuda, munsalirewo nze n’ennimiro yange ey’emizabbibu.”
4 わたしが、ぶどう畑になした事のほかに、何かなすべきことがあるか。わたしは良いぶどうの結ぶのを待ち望んだのに、どうして野ぶどうを結んだのか。
Ate kiki kye nandikoledde ennimiro yange eno, kye ssaagikolera? Bwe naginoonyamu emizabbibu emirungi, lwaki saalabamu mirungi?
5 それで、わたしが、ぶどう畑になそうとすることを、あなたがたに告げる。わたしはそのまがきを取り去って、食い荒されるにまかせ、そのかきをとりこわして、踏み荒されるにまかせる。
Kaakano muleke mbabuulire kye nnaakola ennimiro yange ey’emizabbibu. Nzija kugiggyako olukomera eyonooneke. Ndimenya ekisenge kyayo yonna erinnyirirwe.
6 わたしはこれを荒して、刈り込むことも、耕すこともせず、おどろと、いばらとを生えさせ、また雲に命じて、その上に雨を降らさない。
Era ndigireka n’ezika, sirigirima wadde okugisalira. Naye ndigireka n’emeramu emyeeramannyo n’amaggwa. Ndiragira n’ebire obutatonnyesaamu nkuba.
7 万軍の主のぶどう畑はイスラエルの家であり、主が喜んでそこに植えられた物は、ユダの人々である。主はこれに公平を望まれたのに、見よ、流血。正義を望まれたのに、見よ、叫び。
Ennyumba ya Isirayiri y’ennimiro ya Mukama Katonda Ayinzabyonna ey’emizabbibu. Abantu ba Yuda y’ennimiro gye yasiima. Yali abasuubiramu bwenkanya naye yabalabamu kuyiwa musaayi. Yabasuubiramu butuukirivu naye nawulira kukaaba na kulaajana.
8 わざわいなるかな、彼らは家に家を建て連ね、田畑に田畑をまし加えて、余地をあまさず、自分ひとり、国のうちに住まおうとする。
Zibasanze mmwe aboongera amayumba ku ge mulina, n’ennimiro ne muzongerako endala ne wataba kafo konna kasigadde, ne mubeera mwekka wakati mu nsi!
9 万軍の主はわたしの耳に誓って言われた、「必ずや多くの家は荒れすたれ、大きな麗しい家も住む者がないようになる。
Mukama Katonda alayidde nga mpulira nti, “Mu mazima ennyumba nnyingi zirifuuka bifulukkwa, n’ezo ennene ez’ebbeeyi zibulemu abantu.
10 十反のぶどう畑もわずかに一バテの実を結び、一ホメルの種もわずかに一エパの実を結ぶ」。
Kubanga yika kkumi ez’ennimiro y’emizabbibu zinaavangamu ekibbo kimu, n’ogusero ogw’ensigo, kabbo bubbo ak’amakungula.”
11 わざわいなるかな、彼らは朝早く起きて、濃き酒をおい求め、夜のふけるまで飲みつづけて、酒にその身を焼かれている。
Zibasanze abo abakeera enkya ku makya banoonye ekitamiiza, abalwawo nga banywa omwenge ettumbi ly’obudde, okutuusa omwenge lwe gubalalusa!
12 彼らの酒宴には琴あり、立琴あり、鼓あり笛あり、ぶどう酒がある。しかし彼らは主のみわざを顧みず、み手のなされる事に目をとめない。
Ababeera n’ennanga n’entongooli, ebitaasa n’endere, n’omwenge ku mbaga zaabwe; naye ne batalowooza ku mulimu gwa Mukama Katonda, wadde okussa ekitiibwa mu ebyo bye yatonda.
13 それゆえ、わが民は無知のために、とりこにせられ、その尊き者は飢えて死に、そのもろもろの民は、かわきによって衰えはてる。
Abantu bange kyebavudde bagenda mu buwaŋŋanguse kubanga tebalina kutegeera. Abantu baabwe ab’ekitiibwa bafe enjala, n’abantu aba bulijjo bafe ennyonta.
14 また陰府はその欲望を大きくし、その口を限りなく開き、エルサレムの貴族、そのもろもろの民、その群集およびそのうちの喜びたのしめる者はみなその中に落ちこむ。 (Sheol )
Amagombe kyegavudde gagaziya omumiro gwago, era ne gaasamya akamwa kaago awatali kkomo. Mu ko mwe munaagenda abakungu baabwe n’abantu baabwe abaabulijjo, n’ab’effujjo n’abatamiivu. (Sheol )
15 人はかがめられ、人々は低くせられ、高ぶる者の目は低くされる。
Buli muntu alitoowazibwa, abantu bonna balikkakkanyizibwa era amaaso g’abo abeemanyi nago gakkakkanyizibwe.
16 しかし万軍の主は公平によってあがめられ、聖なる神は正義によって、おのれを聖なる者として示される。
Naye Mukama Katonda ow’Eggye aligulumizibwa olw’obwenkanya, era Katonda Omutukuvu yeerage nga bw’ali omutukuvu mu butuukirivu bwe.
17 こうして小羊は自分の牧場におるように草をはみ、肥えた家畜および子やぎは荒れ跡の中で食を得る。
Endiga ento ziryoke zirye ng’eziri mu malundiro gaazo, n’ensolo engenyi ziriire mu bifo ebyalekebwa awo, ebyalundirwangamu eza ssava.
18 わざわいなるかな、彼らは偽りのなわをもって悪を引きよせ、車の綱をもってするように罪を引きよせる。
Zibasanze abo abasikaasikanya ebibi byabwe ng’embalaasi bw’esika ekigaali.
19 彼らは言う、「彼を急がせ、そのわざをすみやかにさせよ、それを見せてもらおう。イスラエルの聖者の定める事を近づききたらせよ、それを見せてもらおう」と。
Aboogera nti, “Ayanguyeeko, ayite mu bwangu tulabe ky’anaakola. Entegeka z’omutukuvu wa Isirayiri nazo zijje, zituuke nazo tuzimanye.”
20 わざわいなるかな、彼らは悪を呼んで善といい、善を呼んで悪といい、暗きを光とし、光を暗しとし、苦きを甘しとし、甘きを苦しとする。
Zibasanze abo abayita ekibi ekirungi n’ekirungi ekibi, abafuula ekizikiza okuba ekitangaala, n’ekitangaala okuba ekizikiza, abafuula ekikaawa okuba ekiwoomerera n’ekiwoomerera okuba ekikaawa.
21 わざわいなるかな、彼らはおのれを見て、賢しとし、みずから顧みて、さとしとする。
Zibasanze abo abeeraba ng’abalina amagezi, era abagezigezi bo nga bwe balaba.
22 わざわいなるかな、彼らはぶどう酒を飲むことの英雄であり、濃き酒をまぜ合わせることの勇士である。
Zibasanze abo abazira mu kunywa omwenge era mu kutabula ekitamiiza,
23 彼らはまいないによって悪しき者を義とし、義人からその義を奪う。
abejjeereza abatemu olw’enguzi era abamma abatuukirivu obwenkanya obubagwanidde.
24 それゆえ、火の舌が刈り株を食い尽すように、枯れ草が炎の中に消えうせるように、彼らの根は朽ちたものとなり、彼らの花はちりのように飛び去る。彼らは万軍の主の律法を捨て、イスラエルの聖者の言葉を侮ったからである。
Kale ng’olulimi lw’omuliro bwe lwokya ekisagazi ekikalu, era ng’omuddo omukalu bwe guggweerera mu muliro, bwe gityo n’emirandira gyabwe bwe girivunda, era n’ebimuli byabwe bifuumuuke ng’enfuufu; kubanga baajeemera etteeka lya Mukama Katonda ow’Eggye, era ne banyooma ekigambo ky’Omutukuvu wa Isirayiri.
25 それゆえ、主はその民にむかって怒りを発し、み手を伸べて彼らを撃たれた。山は震い動き、彼らのしかばねは、ちまたの中で、あくたのようになった。それにもかかわらず、み怒りはやまず、なお、み手を伸ばされる。
Noolwekyo obusungu bwa Mukama Katonda bubuubuukira ku bantu be, n’agolola omukono gwe n’abasanjaga, ensozi ne zikankana era n’emirambo gyabwe ne gibeera ng’ebisasiro wakati mu nguudo. Naye wadde nga biri bwe bityo, obusungu bwa Mukama Katonda tebunnakakkana era omukono gwe gukyagoloddwa.
26 主は旗をあげて遠くから一つの国民を招き、地の果から彼らを呼ばれる。見よ、彼らは走って、すみやかに来る。
Era aliyimusiza eggwanga eriri ewala bbendera, alibakoowoola ng’asinziira ku nkomerero y’ensi, era laba, balyanguwako okujja.
27 その中には疲れる者も、つまずく者もなく、まどろむ者も、眠る者もない。その腰の帯はとけず、そのくつのひもは切れていない。
Tewali n’omu akooye, tewali n’omu yeesittala. Tewali n’omu asumagira wadde okwebaka. Tewali aliba yeesibye lukoba olutanywedde mu kiwato kye, wadde aliba n’olukoba lw’engatto olulikutuka.
28 その矢は鋭く、その弓はことごとく張り、その馬のひずめは火打石のように、その車の輪はつむじ風のように思われる。
Obusaale bwabwe bwogi, n’emitego gyabwe gyonna mireege. Ebinuulo by’embalaasi zaabwe biriba ng’amayinja ag’embaalebaale, Ne nnamuziga w’amagaali gaabwe ng’adduka ng’embuyaga y’akazimu.
29 そのほえることは、ししのように、若いししのようにほえ、うなって獲物を捕え、かすめ去っても救う者がない。
Okuwuluguma kwabwe kuliba nga okw’empologoma, balikaaba ng’empologoma ento: weewaawo baliwuluguma bakwate omuyiggo gwabwe bagutwalire ddala awatali adduukirira.
30 その日、その鳴りどよめくことは、海の鳴りどよめくようだ。もし地をのぞむならば、見よ、暗きと悩みとがあり、光は雲によって暗くなる。
Era ku lunaku olwo baliwuumira ku munyago gwabwe ng’ennyanja eyira. Omuntu yenna bw’alitunuulira ensi, aliraba ekizikiza n’ennaku; n’ekitangaala kiribuutikirwa ebire ebikutte.