< ホセア書 9 >

1 イスラエルよ、もろもろの民のように喜びおどるな。あなたは淫行をなして、あなたの神を離れ、すべての穀物の打ち場で受ける淫行の価を愛した。
Tosanyuka ggwe Isirayiri; tojaguza ng’amawanga amalala, kubanga tobadde mwesigwa eri Katonda wo, weegomba empeera eya malaaya ku buli gguuliro.
2 打ち場と酒ぶねとは彼らを養わない。また新しい酒もむなしくなる。
Egguuliro n’essogolero tebiribaliisa, ne wayini omusu alibaggwaako.
3 彼らは主の地に住むことなく、エフライムはエジプトに帰り、アッスリヤで汚れた物を食べる。
Tebalisigala mu nsi ya Mukama; Efulayimu aliddayo e Misiri n’alya emmere etali nnongoofu mu Bwasuli.
4 彼らは主に向かって酒を注がず、また犠牲をもって主を喜ばせず、彼らのパンは喪におる者のパンのようで、すべてこれを食べる者は汚される。彼らのパンはただ自分の飢えを満たすためで、主の家に、はいることはできない。
Tebaliwaayo biweebwayo ebya wayini eri Mukama, so ne ssaddaaka zaabwe tezirimusanyusa. Ssaddaaka zaabwe ziriba ng’emmere ey’abakungubazi, ne bonna abaliziryako balifuuka abatali balongoofu. Emmere eyo eriba yaabwe bo, so teriyingizibwa mu yeekaalu ya Mukama.
5 あなたがたは祝の日と、主の祭の日に、何をしようとするのか。
Kiki ky’olikola ku lunaku olw’embaga ezaalondebwa, ku lunaku olw’embaga ya Mukama?
6 見よ、彼らはアッスリヤへ行く。エジプトは彼らを集め、メンピスは彼らを葬る。あざみは彼らの銀の宝物を所有し、いばらは彼らの天幕にはびこる。
Ne bwe baliwona okuzikirira, Misiri alibakuŋŋaanya, ne Menfisi alibaziika. Eby’obugagga byabwe ebya ffeeza birizika, n’eweema zaabwe zirimeramu amaggwa.
7 刑罰の日は来た。報いの日は来た。イスラエルはこれを知る。預言者は愚かな者、霊に感じた人は狂った者だ。これはあなたがたの不義が多く、恨みが大きいためである。
Ennaku ez’okubonerezebwa zijja, ennaku ez’okusasulirwamu ziri kumpi. Ekyo Isirayiri akimanye. Olw’ebibi byammwe okuba ebingi ennyo, n’obukambwe bwammwe obungi, nnabbi ayitibwa musirusiru, n’oyo eyabikkulirwa mumuyita mugu wa ddalu.
8 預言者はわが神の民エフライムの見張人である。しかし預言者のすべての道には鳥をとる者のわながあり、恨みはその神の家にある。
Nnabbi awamu ne Katonda wange ye mukuumi wa Efulayimu, newaakubadde nga waliwo emitego mu kkubo lye, n’obukambwe mu nnyumba ya Katonda we.
9 彼らはギベアの日のように、深くおのれを腐らせた。主はその不義を覚え、その罪を罰せられる。
Boonoonye nnyo nnyini nga mu nnaku ez’e Gibea. Katonda alijjukira obutali butuukirivu bwabwe, n’ababonereza olw’ebibi byabwe.
10 わたしはイスラエルを荒野のぶどうのように見、あなたがたの先祖たちを、いちじくの木の初めに結んだ初なりのように見た。ところが彼らはバアル・ペオルへ行き、身をバアルにゆだね、彼らが愛した物と同じように憎むべき者となった。
We nasangira Isirayiri, kyali nga kulaba zabbibu mu ddungu. Bwe nalaba bajjajjammwe, kyali nga kulaba ebibala ebisooka ku mutiini. Naye bwe bajja e Baalipyoli, beewonga eri ekifaananyi eky’ensonyi, ne bafuuka ekyenyinnyalwa ng’ekifaananyi kye baayagala.
11 エフライムの栄光は、鳥のようにとび去る。すなわち産むことも、はらむことも、みごもることもなくなる。
Ekitiibwa kya Efulayimu kiribuuka ne kigenda ng’ekinyonyi nga tewali kuzaala, newaakubadde okuba olubuto newaakubadde okufuna olubuto.
12 たとい彼らが子を育てても、わたしはその子を奪って、残る者のないようにする。わたしが彼らを離れるとき、彼らはわざわいだ。
Ne bwe balikuza abaana baabwe, ndibabaggyako bonna. Ziribasanga bwe ndibavaako.
13 わたしが見たように、エフライムの子らはえじきに定められた。エフライムはその子らを、人を殺す者に渡さなければならない。
Nalaba Efulayimu ng’asimbiddwa mu kifo ekirungi, nga Ttuulo bw’ali. Naye Efulayimu alifulumya abaana be ne battibwa.
14 主よ、彼らに与えてください。あなたは何を与えられますか。流産の胎と、かわいた乳ぶさを彼らに与えてください。
Bawe Ayi Mukama Katonda. Olibawa ki? Leetera embuto zaabwe okuvaamu obawe n’amabeere amakalu.
15 彼らのすべての悪はギルガルにある。わたしはかしこで彼らを憎んだ。彼らのおこないの悪しきがゆえに、彼らをわが家から追いだし、重ねて愛することをしない。その君たちはみな、反逆者である。
Olw’ebibi byabwe byonna mu Girugaali, kyennava mbakyayira eyo. Olw’ebikolwa byabwe ebitali bya butuukirivu, kyendiva mbagoba mu nnyumba yange. Siribaagala nate; abakulembeze baabwe bonna bajeemu.
16 エフライムは撃たれ、その根は枯れて、実を結ばない。たとい彼らが子を産んでも、わたしはそのいつくしむ子らを殺す。
Efulayimu balwadde, emirandira gyabwe gikaze, tebakyabala bibala. Ne bwe balizaala abaana baabwe, nditta ezzadde lyabwe lye baagala ennyo.
17 彼らは聞き従わないので、わが神はこれを捨てられる。彼らはもろもろの国民のうちに、さすらい人となる。
Katonda wange alibavaako kubanga tebamugondedde; baliba momboze mu mawanga.

< ホセア書 9 >