< 出エジプト記 15 >

1 そこでモーセとイスラエルの人々は、この歌を主にむかって歌った。彼らは歌って言った、「主にむかってわたしは歌おう、彼は輝かしくも勝ちを得られた、彼は馬と乗り手を海に投げ込まれた。
Awo Musa n’abaana ba Isirayiri ne bayimbira Mukama oluyimba luno nga bagamba nti, “Nnaayimbiranga Mukama, kubanga awangudde n’ekitiibwa kingi. Asudde mu nnyanja embalaasi n’omwebagazi waayo.
2 主はわたしの力また歌、わたしの救となられた、彼こそわたしの神、わたしは彼をたたえる、彼はわたしの父の神、わたしは彼をあがめる。
Mukama ge maanyi gange era lwe luyimba lwange, era afuuse obulokozi bwange. Ye Katonda wange, nange nnaamutenderezanga, ye Katonda wa kitange, nange nnaamugulumizanga.
3 主はいくさびと、その名は主。
Mukama mulwanyi; Mukama, ly’erinnya lye.
4 彼はパロの戦車とその軍勢とを海に投げ込まれた、そのすぐれた指揮者たちは紅海に沈んだ。
Amagaali ga Falaawo n’eggye lye abisudde mu nnyanja; n’abaduumizi b’amaggye ge abalondemu basaanyeewo mu Nnyanja Emyufu.
5 大水は彼らをおおい、彼らは石のように淵に下った。
Obuziba bubasaanikidde; basse okutuuka ku ntobo ng’ejjinja.
6 主よ、あなたの右の手は力をもって栄光にかがやく、主よ、あなたの右の手は敵を打ち砕く。
“Omukono gwo ogwa ddyo, Ayi Mukama, gwalina amaanyi n’ekitiibwa; omukono gwo ogwa ddyo, Ayi Mukama, gwasesebbula omulabe.
7 あなたは大いなる威光をもって、あなたに立ちむかう者を打ち破られた。あなたが怒りを発せられると、彼らは、わらのように焼きつくされた。
Mu bukulu obw’ekitiibwa kyo, wamegga abalabe bo, wabalaga obusungu bwo, ne bubasiriiza ng’ebisasiro.
8 あなたの鼻の息によって水は積みかさなり、流れは堤となって立ち、大水は海のもなかに凝り固まった。
Omukka bwe gwava mu nnyindo zo, amazzi ne geetuuma; amazzi g’ebuziba ne geekwata ng’ekisenge wakati mu nnyanja.
9 敵は言った、『わたしは追い行き、追い着いて、分捕物を分かち取ろう、わたしの欲望を彼らによって満たそう、つるぎを抜こう、わたしの手は彼らを滅ぼそう』。
“Omulabe n’ayogera nti, ‘Ka mbagobe, mbakwate. Nnaagabana omunyago; mbeemalireko eggoga. Nnaasowolayo ekitala kyange, ndyoke mbazikirize.’
10 あなたが息を吹かれると、海は彼らをおおい、彼らは鉛のように、大水の中に沈んだ。
Naye wakunsa embuyaga zo, ennyanja n’ebasaanikira. Bakka ng’ekyuma, ne basaanawo mu mazzi amangi ag’amaanyi.
11 主よ、神々のうち、だれがあなたに比べられようか、だれがあなたのように、聖にして栄えあるもの、ほむべくして恐るべきもの、くすしきわざを行うものであろうか。
Ani akufaanana, Ayi Mukama, mu bakatonda bonna? Ani akufaanana, ggwe, Omutukuvu Oweekitiibwa, atiibwa era atenderezebwa, akola ebyamagero?
12 あなたが右の手を伸べられると、地は彼らをのんだ。
“Wagolola omukono gwo ogwa ddyo, ensi n’ebamira.
13 あなたは、あがなわれた民を恵みをもって導き、み力をもって、あなたの聖なるすまいに伴われた。
Mu kwagala kwo okutaggwaawo, abantu be wanunula olibakulembera. Mu maanyi go, olibatuusa mu kifo kyo ekitukuvu.
14 もろもろの民は聞いて震え、ペリシテの住民は苦しみに襲われた。
Amawanga galikiwulira ne gakankana, ababeera mu Bufirisuuti balijjula ennaku.
15 エドムの族長らは、おどろき、モアブの首長らは、わななき、カナンの住民は、みな溶け去った。
Abakungu b’omu Edomu balitangaalirira nga batidde; abakulembeze ab’amaanyi aba Mowaabu balikankana; abatuuze b’omu Kanani baliggwaamu endasi.
16 恐れと、おののきとは彼らに臨み、み腕の大いなるゆえに、彼らは石のように黙した、主よ、あなたの民の通りすぎるまで、あなたが買いとられた民の通りすぎるまで。
Okwesisiwala n’entiisa biribajjira. Olw’omukono gwo ogw’amaanyi tebalinyega, balisirika ng’ejjinja okutuusa abantu bo lwe baliyitawo, Ayi Mukama, okutuusa abantu bo, be wanunula, lwe baliyitawo.
17 あなたは彼らを導いて、あなたの嗣業の山に植えられる。主よ、これこそあなたのすまいとして、みずから造られた所、主よ、み手によって建てられた聖所。
Olibayingiza n’obassa ku lusozi lwo lwe weerondera, kye kifo, Ayi Mukama kye weekolera mw’onoobeeranga, ekifo kyo Ekitukuvu, kye weekolera, Ayi Mukama, n’emikono gyo.
18 主は永遠に統べ治められる」。
Mukama anaafuganga emirembe n’emirembe.”
19 パロの馬が、その戦車および騎兵と共に海にはいると、主は海の水を彼らの上に流れ返らされたが、イスラエルの人々は海の中のかわいた地を行った。
Embalaasi za Falaawo, n’amagaali ge, ne basajja be abeebagadde embalaasi bwe baayingira mu nnyanja, Mukama n’akomyawo amazzi ag’ennyanja ne gabasaanikira; naye nga bo abaana ba Isirayiri batambulira ku ttaka kkalu wakati mu nnyanja.
20 そのとき、アロンの姉、女預言者ミリアムはタンバリンを手に取り、女たちも皆タンバリンを取って、踊りながら、そのあとに従って出てきた。
Awo Miryamu, nnabbi omukazi era mwannyina wa Alooni, n’akwata ekitaasa; n’abakazi abalala ne bamugoberera nga balina ebitaasa era nga bwe bazina.
21 そこでミリアムは彼らに和して歌った、「主にむかって歌え、彼は輝かしくも勝ちを得られた、彼は馬と乗り手を海に投げ込まれた」。
Miryamu n’abayimbira bw’ati nti, “Muyimbire Mukama, kubanga awangudde n’ekitiibwa kingi. Asudde mu nnyanja embalaasi n’agyebagadde.”
22 さて、モーセはイスラエルを紅海から旅立たせた。彼らはシュルの荒野に入り、三日のあいだ荒野を歩いたが、水を得なかった。
Awo Musa n’akulembera Isirayiri, n’abaggya ku Nnyanja Emyufu, ne bayingirira eddungu ly’e Ssuuli. Ne batambulira ennaku ssatu mu ddungu nga tebalabye ku mazzi.
23 彼らはメラに着いたが、メラの水は苦くて飲むことができなかった。それで、その所の名はメラと呼ばれた。
Bwe baatuuka e Mala, ne batasobola kunywa ku mazzi gaawo, kubanga gaali gakaawa: era eyo y’ensonga eyatuumisa ekifo ekyo Mala.
24 ときに、民はモーセにつぶやいて言った、「わたしたちは何を飲むのですか」。
Abantu ne beemulugunyiza Musa, ne bamubuuza nti, “Tunywe ki?”
25 モーセは主に叫んだ。主は彼に一本の木を示されたので、それを水に投げ入れると、水は甘くなった。その所で主は民のために定めと、おきてを立てられ、彼らを試みて、
Musa ne yeegayirira Mukama; Mukama n’amulaga ekitundu ky’omuti. Bwe yakisuula mu mazzi, amazzi ne gaba malungi okunywa. Mu kifo kino Mukama we yabaweera ekiragiro kino n’etteeka, era n’abagezesa
26 言われた、「あなたが、もしあなたの神、主の声に良く聞き従い、その目に正しいと見られることを行い、その戒めに耳を傾け、すべての定めを守るならば、わたしは、かつてエジプトびとに下した病を一つもあなたに下さないであろう。わたしは主であって、あなたをいやすものである」。
ng’agamba nti, “Singa muwuliriza eddoboozi lya Mukama Katonda wammwe n’obwegendereza, ne mukola ebyo by’alaba nga bituufu, ne mussaayo omwoyo ku biragiro bye, era ne mugondera amateeka ge, sigenda kubaleetako ndwadde n’emu, ng’ezo ze naleetera Abamisiri, kubanga nze Mukama, nze mbawonya endwadde zammwe.”
27 こうして彼らはエリムに着いた。そこには水の泉十二と、なつめやしの木七十本があった。その所で彼らは水のほとりに宿営した。
Awo ne batuuka mu Erimu, awaali ensulo ekkumi n’ebbiri, n’enkindu ensanvu; ne bakuba awo eweema zaabwe okumpi n’amazzi.

< 出エジプト記 15 >