< 申命記 22 >

1 あなたの兄弟の牛、または羊の迷っているのを見て、それを見捨てておいてはならない。必ずそれを兄弟のところへ連れて帰らなければならない。
Bw’olabanga ente ya munno, oba endiga ye, ng’ebula okuva ewaabayo, togirekanga bulesi ne weesuulirayo ogwa nnaggamba naye ogikwatanga n’ogizzaayo ewa nnyiniyo.
2 もしその兄弟が近くの者でなく、知らない人であるならば、それを自分の家にひいてきて、あなたのところにおき、その兄弟が尋ねてきた時に、それを彼に返さなければならない。
Nannyini yo bw’abanga tasula kumpi naawe, obanga nannyini yo tomumanyi, ogireetanga mu maka go n’obeeranga nayo okutuusa nannyini yo lw’alijja ng’aginoonya; olwo nno n’olyoka ogimuddiza.
3 あなたの兄弟のろばの場合も、そうしなければならない。着物の場合も、そうしなければならない。またすべてあなたの兄弟の失った物を見つけた場合も、そうしなければならない。それを見捨てておくことはできない。
Okolanga bw’otyo ng’osanze endogoyi ya munno, obanga olonze ekyambalo kya munno, oba ekintu kyonna ekirala munno ky’anaabanga abuliddwa kyokka ggwe n’okironda. Tolemanga kuyamba munno ng’ali mu buzibu, ate nga wandisobodde okumuyamba. Obusobozi bw’onoobanga nabwo okuyamba munno tobumukwekanga.
4 あなたの兄弟のろばまたは牛が道に倒れているのを見て、見捨てておいてはならない。必ずそれを助け起さなければならない。
Bw’onoolabanga endogoyi ya munno, oba ente ye, ng’egudde ku kkubo, togiyitangako buyisi, wabula omuyambanga okugiyimusa.
5 女は男の着物を着てはならない。また男は女の着物を着てはならない。あなたの神、主はそのような事をする者を忌みきらわれるからである。
Omukazi taayambalenga ngoye za kisajja, so n’omusajja taayambalenga ngoye za kikazi; kubanga abakola ebyo Mukama Katonda wammwe abakyayira ddala.
6 もしあなたが道で、木の上、または地面に鳥の巣のあるのを見つけ、その中に雛または卵があって、母鳥がその雛または卵を抱いているならば、母鳥を雛と一緒に取ってはならない。
Temutwalanga Nnyonyi Nzadde. Bwe munaalabanga ekisu ky’ennyonyi ku muti, oba ku mabbali g’ekkubo, nga kirimu amagi oba obwana obuto, nga ne nnyina waabwo abumaamidde, oba atudde ku magi, bwe munaatwalanga obwana obuto, nnyina waabwo temumutwalirangako.
7 必ず母鳥を去らせ、ただ雛だけを取らなければならない。そうすればあなたはさいわいを得、長く生きながらえることができるであろう。
Obwana obuto munaayinzanga okubutwala, kyokka nnyina waabwo mumulekanga n’agenda, mulyoke mufunenga emirembe mu mutima awamu n’obuwangaazi.
8 新しい家を建てる時は、屋根に欄干を設けなければならない。それは人が屋根から落ちて、血のとがをあなたの家に帰することのないようにするためである。
Bwe muneezimbiranga enju empya ey’akasolya akatereevu akatali keesulifu, mukolangako akasenge waggulu okwebungulula akasolya ako, kalyoke kaziyizenga omuntu okuva eyo waggulu n’agwa wansi, n’aleeteranga ennyumba eyo omusango olw’omusaayi ogunaabanga guyiise.
9 ぶどう畑に二種の種を混ぜてまいてはならない。そうすればあなたがまいた種から産する物も、ぶどう畑から出る物も、みな忌むべき物となるであろう。
Wakati w’ennyiriri z’emizabbibu temusimbangamu mmere ya ngeri ndala, bwe munaakikolanga, ebibala by’emizabbibu n’eby’emmere gye munaabanga musimbyemu, byombi munaabifiirwanga.
10 牛と、ろばとを組み合わせて耕してはならない。
Ente n’endogoyi temuzigattanga wamu ne muzisibanga ku kikoligo kye kimu eky’ekyuma kye munaabanga mulimisa.
11 羊毛と亜麻糸を混ぜて織った着物を着てはならない。
Temwambalanga ngoye ezinaabanga zirukiddwa n’ewuzi z’ebyoya by’endiga nga zigattiddwa wamu n’ewuzi eza linena.
12 身にまとう上着の四すみに、ふさをつけなければならない。
Mutunganga emijunga ku buli nsonda ennya ez’eminagiro gyammwe gye munaayambalanga.
13 もし人が妻をめとり、妻のところにはいって後、その女をきらい、
Omusajja bw’aneewasizanga omukazi, kyokka oluvannyuma lw’okusula naye, n’amukyawa,
14 『わたしはこの女をめとって近づいた時、彼女に処女の証拠を見なかった』と言って虚偽の非難をもって、その女に悪名を負わせるならば、
n’amuwaayiriza ng’amukonjera ng’agamba nti, “Nawasa omukazi ono, naye bwe nasula naye saamusanga nga mbeerera,”
15 その女の父と母は、彼女の処女の証拠を取って、門におる町の長老たちに差し出し、
Kitaawe w’omuwala oyo ne nnyina banaaleeteranga abakulembeze abakulu ab’ekibuga ekyo, nga bali ku wankaaki waakyo, obujulizi obunaalaganga ng’omuwala waabwe yali mbeerera.
16 そして彼女の父は長老たちに言わなければならない。『わたしはこの人に娘を与えて妻にさせましたが、この人は娘をきらい、
Kitaawe w’omuwala anaategeezanga abakulembeze abakulu nti, “Nagabira omusajja ono omwana wange omuwala amuwase, naye omusajja amukyaye.
17 虚偽の非難をもって、「わたしはあなたの娘に処女の証拠を見なかった」と言います。しかし、これがわたしの娘の処女の証拠です』と言って、その父母はかの布を町の長老たちの前にひろげなければならない。
Kaakano wuuno amuwaayiriza ng’amukonjera ng’amwogerako nti, Muwala wo namusanga nga si mbeerera.” Naye obujulizi buubuno obulaga ng’omwana wange ono omuwala yali mbeerera. Abazadde b’omuwala banaayanjululizanga essuuka y’obuliri mu maaso g’abakulembeze abakulu ab’ekibuga ekyo.
18 その時、町の長老たちは、その人を捕えて撃ち懲らし、
Abakulembeze abakulu b’ekibuga ekyo banaatwalanga bba w’omuwala, banaasookanga okumukubamu.
19 また銀百シケルの罰金を課し、それを女の父に与えなければならない。彼はイスラエルの処女に悪名を負わせたからである。彼はその女を妻とし、一生その女を出すことはできない。
Ate ne bamusalira omutango gwa sekeri za ffeeza kikumi; banaaziwanga kitaawe w’omuwala; kubanga omusajja oyo anaabanga aleese erinnya ebbi ku muwala wa Isirayiri embeerera. Omuwala oyo anaabeeranga mu maka g’omusajja oyo ebbanga lyonna, era omusajja takkirizibwenga kugoba mukazi we oyo ebiro byonna omusajja oyo by’alimala nga mulamu.
20 しかし、この非難が真実であって、その女に処女の証拠が見られない時は、
Naye singa omusajja nga by’anaabanga ayogedde bya mazima, nga n’obujulizi obukakasa ng’omuwala yali mbeerera bunaabanga bubuze,
21 その女を父の家の入口にひき出し、町の人々は彼女を石で撃ち殺さなければならない。彼女は父の家で、みだらな事をおこない、イスラエルのうちに愚かな事をしたからである。あなたはこうしてあなたがたのうちから悪を除き去らなければならない。
kale nno omuwala oyo anaaleetebwanga ku muzigo gw’ennyumba ya kitaawe, era abasajja ab’omu kibuga ky’omuwala oyo banaamukubiranga awo amayinja n’afa. Kubanga anaabanga akoze ekikolwa kya bugwenyufu nnyo eky’okumanya abasajja ng’akyali mu luggya lwa kitaawe. Ekibi musaananga mukimalemu mu Isirayiri.
22 もし夫のある女と寝ている男を見つけたならば、その女と寝た男およびその女を一緒に殺し、こうしてイスラエルのうちから悪を除き去らなければならない。
Omusajja bw’anaakwatibwanga nga yeebase n’omukyala w’omusajja omulala, kale, omusajja akwatiddwa n’omukyala gw’anaabanga yeebase naye, bombi baakuttibwanga. Ekibi musaana mukimalengamu mu Isirayiri.
23 もし処女である女が、人と婚約した後、他の男が町の内でその女に会い、これを犯したならば、
Bwe wanaabangawo omuwala embeerera ayogerezebwa afumbirwe, omusajja n’amusanga mu kibuga ne yeebaka naye,
24 あなたがたはそのふたりを町の門にひき出して、石で撃ち殺さなければならない。これはその女が町の内におりながら叫ばなかったからであり、またその男は隣人の妻をはずかしめたからである。あなたはこうしてあなたがたのうちから悪を除き去らなければならない。
munaabaleetanga bombi ku wankaaki w’ekibuga ekyo ne mubakuba amayinja ne bafa; omuwala, bwe kibanga nga yali munda mu kibuga naye n’atakuba nduulu kufuna buyambi; omusajja, kubanga yayonoona omuwala ajja okufumbirwa omusajja we. Bwe mutyo bwe munaamalangamu ekibi mu mmwe.
25 しかし、男が、人と婚約した女に野で会い、その女を捕えてこれを犯したならば、その男だけを殺さなければならない。
Naye omusajja bw’anaasanganga omuwala ayogerezebwa ku ttale n’amukwata ne yeebaka naye olw’empaka, kale nno omusajja anaabanga yeebase n’omuwala oyo y’anattibwanga.
26 その女には何もしてはならない。女には死にあたる罪がない。人がその隣人に立ちむかって、それを殺したと同じ事件だからである。
Omuwala oyo temumukolangako kintu kyonna, kubanga anaabanga talina kibi kyonna ky’akoze ekinaamusaanyizanga okufa. Ensonga ezo zifaanana ng’ez’omuntu anaabanga alumbaganye muliraanwa we n’amutemula.
27 これは男が野で女に会ったので、人と婚約したその女が叫んだけれども、救う者がなかったのである。
Olwokubanga omuwala ono anaabanga ayogerezebwa okufumbirwa yasangibwa omusajja ku ttale etali bantu, anaayinzanga okuba nga yeekubira enduulu naye ne watabaawo amudduukirira okumuyamba.
28 まだ人と婚約しない処女である女に、男が会い、これを捕えて犯し、ふたりが見つけられたならば、
Omusajja bw’anasisinkananga omuwala embeerera naye nga taliiko amwogereza, n’amukwata ne yeebaka naye, ne bakwatibwa nga bali mu kikolwa ekyo,
29 女を犯した男は女の父に銀五十シケルを与えて、女を自分の妻としなければならない。彼はその女をはずかしめたゆえに、一生その女を出すことはできない。
omusajja anaabanga yeebase n’omuwala oyo anaasasulanga kitaawe w’omuwala sekeri eza ffeeza amakumi ataano. Omusajja anaawasanga omuwala oyo okuba mukazi we, kubanga anaabanga amaze okumusobyako. Era taamugobenga okumala ebbanga lyonna omusajja oyo nga mulamu.
30 だれも父の妻をめとってはならない。父の妻と寝てはならない。
Omusajja taawasenga mukyala wa kitaawe aleme kuweebuulanga kitiibwa kya buliri bwa kitaawe.

< 申命記 22 >