< 申命記 17 >
1 すべて傷があり、欠けた所のある牛または羊はあなたの神、主にささげてはならない。そのようなものはあなたの神、主の忌みきらわれるものだからである。
Toleetanga kiweebwayo eri Mukama Katonda wo eky’ente oba eky’endiga ng’eriko akamogo oba ekikyamu kyonna, kubanga ebiri ng’ebyo Katonda wo abikyayira ddala.
2 あなたの神、主が賜わる町で、あなたがたのうちに、もし男子または女子があなたの神、主の前に悪事をおこなって、契約にそむき、
Omuntu yenna omusajja oba omukazi abeera mu mmwe, mu kimu ku bibuga Mukama Katonda wo by’akuwa, bw’anaakwatibwanga ng’akoze ebibi mu maaso ga Mukama Katonda wo, ng’amenye endagaano ya Mukama,
3 行って他の神々に仕え、それを拝み、わたしの禁じる、日や月やその他の天の万象を拝むことがあり、
era ng’ajeemedde ekiragiro kyange n’asinza bakatonda abalala, ng’enjuba, oba omwezi, oba emmunyeenye ez’oku ggulu, bye siragiranga okubisinzanga,
4 その事を知らせる者があって、あなたがそれを聞くならば、あなたはそれをよく調べなければならない。そしてその事が真実であり、そのような憎むべき事が確かにイスラエルのうちに行われていたならば、
ekikolwa ekyo ne kikutegeezebwangako; kale onookinoonyerezangako n’obwegendereza. Bwe kinaakakasibwanga nga kya mazima, ng’ekibi ekyo kikoleddwa mu Isirayiri,
5 あなたはその悪事をおこなった男子または女子を町の門にひき出し、その男子または女子を石で撃ち殺さなければならない。
onoofulumyanga omusajja oyo, oba omukazi oyo, akoze ekibi ekyo, wabweru wa wankaaki w’ekibuga n’omukuba amayinja, n’afa.
6 ふたりの証人または三人の証人の証言によって殺すべき者を殺さなければならない。ただひとりの証人の証言によって殺してはならない。
Omuntu anattibwanga nga wamaze kulabikawo obujulizi bw’abantu babiri oba basatu, naye omuntu tattibwenga ku bujulizi bw’omuntu omu yekka.
7 そのような者を殺すには、証人がまず手を下し、それから民が皆、手を下さなければならない。こうしてあなたのうちから悪を除き去らなければならない。
Abajulizi be banaasookanga okukasuukirira omuntu oyo amayinja, n’abalala ne bagoberera. Kinaakusaaniranga okwemalangako ebibi ebinaabeeranga wakati mu mmwe.
8 町の内に訴え事が起り、その事件がもし血を流す事、または権利を争う事、または人を撃った事などであって、あなたが、さばきかねるものである時は、立ってあなたの神、主が選ばれる場所にのぼり、
Bwe wanaabangawo emisango egireeteddwa mu mbuga yo nga mizibu gikukaluubiridde okusala, oba nga gya kuyiwa musaayi, oba gya kuwozaŋŋanya, oba kukubagana, oba ensonga endala zonna ezinaabangamu enkaayana mu bibuga byo, ensonga ezo zonna onoozitwalanga mu kifo Mukama Katonda wo ky’anaabanga yeerondedde.
9 レビびとである祭司と、その時の裁判人とに行って尋ねなければならない。彼らはあなたに判決の言葉を告げるであろう。
Bw’onootuukanga eyo oneebuuzanga ku bakabona, be Baleevi, ne ku mulamuzi anaabanga akola omulimu ogwo mu kiseera ekyo. Banaakutegeezanga ensala yaabwe.
10 あなたは、主が選ばれるその場所で、彼らが告げる言葉に従っておこない、すべて彼らが教えるように守り行わなければならない。
Onookoleranga ku nsala yaabwe eyo gye banaakuwanga mu kifo ekyo Mukama ky’anaabanga yeerondedde. Weegenderezanga nnyo n’okola ebyo bye banaabanga bakulagidde.
11 すなわち彼らが教える律法と、彼らが告げる判決とに従って行わなければならない。彼らが告げる言葉にそむいて、右にも左にもかたよってはならない。
Kinaakugwaniranga okukola ng’amateeka ge banaabanga bakunnyonnyodde bwe gagamba, n’ensala yaabwe nga bw’eneebanga gye banaakutegeezanga. Bye banaakutegeezanga tobivangako kulaga ku mukono ogwa ddyo oba ku gwa kkono.
12 もし人がほしいままにふるまい、あなたの神、主の前に立って仕える祭司または裁判人に聞き従わないならば、その人を殺して、イスラエルのうちから悪を除かなければならない。
Omuntu yenna anaanyoomanga omulamuzi oba kabona eyateekebwawo okuweereza Mukama Katonda wo, omuntu oyo wa kufa. Bw’otyo bw’onoomalangamu ekibi mu Isirayiri.
13 そうすれば民は皆、聞いて恐れ、重ねてほしいままにふるまうことをしないであろう。
Abantu bonna banaabiwuliranga ne batya, ne bataddayo nate kukola bya kyejo.
14 あなたの神、主が賜わる地に行き、それを獲てそこに住むようになる時、もしあなたが『わたしも周囲のすべての国びとのように、わたしの上に王を立てよう』と言うならば、
Bw’olimala okuyingira mu nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa, n’ogirya, n’obeera omwo, oliyinza okugamba nti, “Leka neeteekerewo kabaka ananfuganga okufaanana ng’amawanga amalala gonna aganneebunguludde;”
15 必ずあなたの神、主が選ばれる者を、あなたの上に立てて王としなければならない。同胞のひとりを、あなたの上に立てて王としなければならない。同胞でない外国人をあなたの上に立ててはならない。
Weegenderezanga n’ossaawo kabaka oyo Mukama Katonda wo gw’anaakulonderanga. Kikugwanira okumuggyanga mu bantu bo bennyini. Tokkirizibwenga kwessizangawo kabaka omunnaggwanga anaabanga tavudde mu baganda bo bennyini, okukufuganga.
16 王となる人は自分のために馬を多く獲ようとしてはならない。また馬を多く獲るために民をエジプトに帰らせてはならない。主はあなたがたにむかって、『この後かさねてこの道に帰ってはならない』と仰せられたからである。
Kabaka oyo tateekwa kwefuniranga mbalaasi nnyingi, wadde okutumanga abantu mu Misiri bamufunirengayo embalaasi endala okwongeranga ku z’alina obungi; kubanga Mukama yagamba nti, “Temuddangayo kukwata kkubo eryo,”
17 また妻を多く持って心を、迷わしてはならない。また自分のために金銀を多くたくわえてはならない。
Tawasanga bakazi bangi kubanga bagenda kumukyamyanga. So tekimugwanira kwetuumangako zaabu n’effeeza ennyingi ennyo.
18 彼が国の王位につくようになったら、レビびとである祭司の保管する書物から、この律法の写しを一つの書物に書きしるさせ、
Bw’anaamalanga okutebenkera ku ntebe ey’obwakabaka bwe, anaakoppololeranga amateeka gano mu kitabo ng’agaggyanga ku ga bakabona, Abaleevi.
19 世に生きながらえる日の間、常にそれを自分のもとに置いて読み、こうしてその神、主を恐れることを学び、この律法のすべての言葉と、これらの定めとを守って行わなければならない。
Ekitabo ekyo anaabeeranga nakyo bulijjo, era anaakisomanga ennaku zonna ez’obulamu bwe, alyokenga ayige okutyanga Mukama Katonda we, ng’agobereranga n’obwegendereza ebigambo byonna ebiri mu mateeka gano, ne mu biragiro,
20 そうすれば彼の心が同胞を見くだして、高ぶることなく、また戒めを離れて、右にも左にも曲ることなく、その子孫と共にイスラエルにおいて、長くその位にとどまることができるであろう。
nga teyeekulumbaza kusukkirira ku bannansi banne, era nga takyama kuva ku mateeka gano okulaga ku mukono ogwa ddyo oba ku gwa kkono. Bw’anaakolanga bw’atyo, ye, n’ezzadde lye banaafuganga mu bwakabaka bwe, mu Isirayiri, okumala ennaku nnyingi.