< 歴代誌Ⅱ 31 >

1 この事がすべて終った時、そこにいたイスラエルびとは皆、ユダの町々に出て行って、石柱を砕き、アシラ像を切り倒し、ユダとベニヤミンの全地、およびエフライムとマナセにある高き所と祭壇とを取りこわし、ついにこれをことごとく破壊した。そしてイスラエルの人々はおのおのその町々、その所領に帰った。
Ebyo byonna bwe byaggwa, Abayisirayiri bonna abaaliyo ne bagenda mu bibuga bya Yuda, ne baasaayasa amayinja agaasinzibwanga, ne bamenyaamenya n’empagi za Baasera. Ne basaanyizaawo ddala ebifo ebigulumivu n’ebyoto ebyali mu Yuda, ne mu Benyamini, ne mu Efulayimu ne mu Manase. Awo Abayisirayiri bwe baamala okubisaanyaawo byonna, ne baddayo mu bibuga byabwe, ku butaka bwabwe.
2 ヒゼキヤは祭司およびレビびとの班を定め、班ごとにおのおのその勤めに従って、祭司とレビびとに燔祭と酬恩祭をささげさせ、主の営の門で勤めをし、感謝をし、さんびをさせた。
Keezeekiya n’addira bakabona n’Abaleevi n’abassa mu bibinja, buli omu ng’obuweereza bwe bwali, oba kabona oba muleevi, okuwangayo ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo olw’emirembe okuweerezanga, n’okwebazanga, n’okutenderezanga ku nzigi eza yeekaalu ya Mukama.
3 また燔祭のために自分の財産のうちから王の分を出した。すなわち朝夕の燔祭および安息日、新月、定めの祭などの燔祭のために出して、主の律法にしるされているとおりにした。
Kabaka n’awaayo ku byobugagga bwe ebiweebwayo ebyokebwa eby’enkya n’eby’akawungeezi, n’ebiweebwayo ebyokebwa ebya ssabbiiti, n’eby’emyezi egyakaboneka, n’assaawo n’embaga ezaalagirwa nga bwe kyawandiikibwa mu tteeka lya Mukama.
4 またエルサレムに住む民に、祭司とレビびとにその分を与えることを命じた。これは彼らをして主の律法に身をゆだねさせるためである。
N’alagira abantu abaabeeranga mu Yerusaalemi okuwangayo omugabo nga bwe kyali kibagwanira eri bakabona n’Abaleevi, nabo beeweerengayo ddala nga bwe kyalagirwa mu tteeka lya Mukama.
5 その命令が伝わるやいなや、イスラエルの人々は穀物、酒、油、蜜ならびに畑のもろもろの産物の初物を多くささげ、またすべての物の十分の一をおびただしく携えて来た。
Awo ekiragiro ekyo bwe kyabuna wonna, amangwago Abayisirayiri ne bawaayo ku bibala byabwe ebibereberye bingi eby’eŋŋaano, n’ebya wayini omusu, n’eby’amafuta, n’eby’omubisi gw’enjuki ne ku ebyo byonna ebyava mu nnimiro. Ne baleeta bingi nnyo, ekitundu eky’ekkumi ku buli kintu.
6 ユダの町々に住んでいたイスラエルとユダの人々もまた牛、羊の十分の一ならびにその神、主にささげられた奉納物を携えて来て、これを積み重ねた。
Abantu ba Isirayiri ne Yuda abaabeeranga mu bibuga bya Yuda, nabo ne baleeta ekimu eky’ekkumi ku nte n’endiga, n’ekimu eky’ekkumi eky’ebintu ebyatukuzibwa ebyayawulirwa Mukama Katonda waabwe, ne babituuma entuumo.
7 三月にこれを積み重ねることを始め、七月にこれを終った。
Baatandika okutuuma ebintu ebyo entuumo mu mwezi ogwokusatu ne bamaliriza mu mwezi ogw’omusanvu.
8 ヒゼキヤおよびつかさたちは来て、その積み重ねた物を見、主とその民イスラエルを祝福した。
Awo Keezeekiya n’abakungu be, bwe bajja ne balaba entuumo ne beebaza Mukama, ne basabira n’abantu be, Isirayiri, omukisa.
9 そしてヒゼキヤがその積み重ねた物について祭司およびレビびとに問い尋ねた時、
Keezeekiya n’abuuza bakabona n’Abaleevi ebikwata ku ntuumu.
10 ザドクの家から出た祭司の長アザリヤは彼に答えて言った、「民が主の宮に供え物を携えて来ることを始めてからこのかた、われわれは飽きるほど食べたが、たくさん残りました。主がその民を恵まれたからです。それでわれわれは、このように多くの残った物をもっているのです」。
Azaliya kabona asinga obukulu ow’omu nnyumba ya Zadooki n’amuddamu nti, “Okuva abantu lwe baatandika okuleeta ebirabo byabwe mu yeekaalu ya Mukama, tubadde n’ebyokulya ebiwera n’ebirala ne bifikkawo, kubanga Mukama awadde abantu be omukisa, n’ebifisseewo bye bino obungi.”
11 そこでヒゼキヤは主の宮のうちに室を設けることを命じたので、彼らはこれを設け、
Awo Keezeekiya n’alagira bateeketeeke amaterekero mu yeekaalu ya Mukama, ne bagateekateeka.
12 その供え物の十分の一および奉納物を忠実に携え入れた。これをつかさどる者のかしらはレビびとコナニヤで、その兄弟シメイは彼に次ぐ者となり、
Ne balyoka baleeta ebirabo, ebintu eby’ekimu eky’ekkumi, n’ebintu ebyatukuzibwa. Konaniya Omuleevi ye yavunaanyizibwanga ebintu ebyo, ate nga Simeeyi muganda we ye mumyuka we.
13 エヒエル、アザジヤ、ナハテ、アサヘル、エレモテ、ヨザバデ、エリエル、イスマキヤ、マハテ、ベナヤらは、ヒゼキヤ王および神の宮のつかさアザリヤの任命によって、コナニヤおよびその兄弟シメイを助けて、その監督者となった。
Yekyeri, ne Azaziya, ne Nakasi, ne Asakeri, ne Yerimosi, Yozabadi, ne Eryeri, ne Isumakiya, ne Makasi ne Benaya be baabayambangako. Konaniya ne Simeeyi muganda we, baalondebwa Kabaka Keezeekiya ne Azaliya omukungu omukulu eyavunaanyizibwanga yeekaalu ya Katonda.
14 東の門を守る者レビびとイムナの子コレは、神にささげる自発のささげ物をつかさどり、主の供え物および最も聖なる物を分配した。
Kole mutabani wa Imuna Omuleevi, omuggazi w’omulyango ogw’ebuvanjuba, ye yavunaanyizibwanga ebyo bye baawangayo eri Katonda ku bwabwe awatali kuwalirizibwa, ng’agabanyamu ebyatonebwanga eri Mukama, n’ebirabo ebyayawulibwanga.
15 彼を助ける者はエデン、ミニヤミン、エシュア、シマヤ、アマリヤおよびシカニヤで、皆祭司の町々でその兄弟たちに、班によって、老若ひとしく忠実に分配した。
Edene, ne Miniyamini, ne Yesuwa, ne Semaaya, ne Amaliya ne Sekaniya, be baamuyambangako n’obwesigwa mu bibuga bya bakabona okugabiranga bakabona bannaabwe ng’ebibinja byabwe bwe byali, abakulu n’abato.
16 ただしすべて登録された三歳以上の男子で主の宮に入り、その班に従って日々の職分をつくし、その受持の勤めをなす者は除かれた。
Ate era baagabiranga n’abalenzi ab’emyaka esatu n’okukirawo abaali babalibbwa ng’okuzaalibwa kwe mbala bwe kwalinga, abo bonna abayingiranga mu yeekaalu ya Mukama okutuukirizanga emirimu gyabwe nga bwe kyabagwaniranga, mu bibinja byabwe.
17 祭司の登録はその氏族によってなされ、二十歳以上のレビびとの登録はその班により、その受持にしたがってなされた。
Ne bagabiranga ne bakabona abaabalibwa ng’enzaalwa mu kubala okw’okuzaalibwa kwabwe bwe kwali, n’Abaleevi abaali ab’emyaka amakumi abiri n’okukirawo ne babagabira ng’eby’obuvunaanyizibwa bwabwe mu bibinja byabwe bwe byali.
18 また祭司はその幼な子、その妻、そのむすこ、その娘、全会衆と共に登録した。彼らは忠実に身を聖なる事にささげたからである。
Omwo mwe mwali abaana abato, n’abakyala, ne batabani baabwe, ne bawala baabwe ng’ebitundu byabwe bwe byali biwandiikiddwa mu byafaayo eby’okuzaalibwa. Ne babeera beesigwa mu kwekuuma nga batukuvu.
19 また町々の放牧地におるアロンの子孫である祭司たちのためには、町ごとに人を名ざし選んで、祭司のうちのすべての男およびレビびとのうちの登録されたすべての者に、その分を与えさせた。
Bazzukulu ba Alooni, bakabona abaabeeranga ku ttaka okwalimibwanga, eryabanga ery’ebibuga byabwe, mu buli kibuga, buli musajja mu bo yaweebwa omugabo, n’abo bonna abaali bawandiikiddwa mu byafaayo eby’okuzaalibwa kw’Abaleevi, nabo ne bagabana.
20 ヒゼキヤはユダ全国にこのようにし、良い事、正しい事、忠実な事をその神、主の前に行った。
Bw’atyo Keezeekiya bwe yakola ne mu Yuda yonna, n’akola ebirungi era ebituufu n’obwesigwa mu maaso ga Mukama Katonda we.
21 彼がその神を求めるために神の宮の務につき、律法につき、戒めについて始めたわざは、ことごとく心をつくして行い、これをなし遂げた。
Buli mulimu gwe yatandika mu buweereza mu yeekaalu ya Katonda, ng’agoberera amateeka n’ebiragiro, yanoonyanga Katonda we, era n’akolanga n’omutima gwe gwonna, n’alaba omukisa.

< 歴代誌Ⅱ 31 >