< 列王記Ⅰ 6 >

1 イスラエルの人々がエジプトの地を出て後四百八十年、ソロモンがイスラエルの王となって第四年のジフの月すなわち二月に、ソロモンは主のために宮を建てることを始めた。
Mu mwaka ogw’ebina mu kinaana, abaana ba Isirayiri kasookedde bava mu nsi y’e Misiri, mu mwaka ogwokuna ogw’obufuzi bwa Sulemaani, mu mwezi ogwokubiri ogwa Zivu, Sulemaani n’atandika okuzimba yeekaalu ya Mukama.
2 ソロモン王が主のために建てた宮は長さ六十キュビト、幅二十キュビト、高さ三十キュビトであった。
Eyeekaalu kabaka Sulemaani gye yazimbira Mukama yali obuwanvu mita amakumi abiri mu musanvu, n’obugazi mita mwenda, n’obuwanvu mita kkumi na ssatu n’ekitundu.
3 宮の拝殿の前の廊は宮の幅にしたがって長さ二十キュビト、その幅は宮の前で十キュビトであった。
Awayingirirwa mu maaso g’ekisenge ekinene ekya yeekaalu, waali mita mwenda, ng’obugazi bwa yeekaalu bwe bwali, ate ng’obugazi bwakyo mu maaso kiri mita nnya n’ekitundu okuva mu maaso ga yeekaalu.
4 彼は宮に、内側の広い枠の窓を造った。
N’akola amadirisa amafunda mu kisenge kya yeekaalu.
5 また宮の壁につけて周囲に脇屋を設け、宮の壁すなわち拝殿と本殿の壁の周囲に建てめぐらし、宮の周囲に脇間があるようにした。
Wakati w’ebisenge eby’ekisenge ekinene, n’ekifo aw’okwogerera, n’azimba obusenge obw’okubbalibbali okwetooloola wo.
6 下の脇間は広さ五キュビト、中の広さ六キュビト、第三のは広さ七キュビトであった。宮の外側には壁に段を造って、梁を宮の壁の中に差し込まないようにした。
Ekisenge ekya wansi kyali mita bbiri ne desimoolo ssatu obugazi, n’ekisenge eky’essa erya wakati kyali mita bbiri ne desimoolo musanvu, n’ekisenge eky’essa eryokusatu kyali mita ssatu ne desimoolo bbiri. N’asalako emiti okwetooloola eyeekaalu gireme okukomererwa mu bisenge bya yeekaalu.
7 宮は建てる時に、石切り場で切り整えた石をもって造ったので、建てている間は宮のうちには、つちも、おのも、その他の鉄器もその音が聞えなかった。
Bwe baali nga bazimba yeekaalu, baakozesanga amayinja agaali galongosereddwa gye bagatemeranga, era tewaawulirwa kuvuga okw’engeri yonna okw’ennyondo newaakubadde embazzi wadde ekyuma eky’engeri yonna mu kifo awaali wazimbirwa yeekaalu.
8 下の脇間の入口は宮の右側にあり、回り階段によって中の脇間に、中の脇間から第三の脇間にのぼった。
Omulyango ogw’ekisenge ekya wakati gwali ku luuyi olw’obukiikaddyo obwa yeekaalu; waabangawo amadaala agaakozesebwanga okugenda mu kisenge ekya wakati, n’okweyongerayo mu kisenge ekyokusatu ekya waggulu.
9 こうして彼は宮を建て終り、香柏のたるきと板をもって宮の天井を造った。
Awo n’azimba yeekaalu n’agimala, n’agisereka n’emiti n’embaawo ez’emivule.
10 また宮につけて、おのおの高さ五キュビトの脇間のある脇屋を建てめぐらし、香柏の材木をもって宮に接続させた。
N’azimba n’ebisenge ebitono okwetooloola yeekaalu, n’obugulumivu bwa buli kimu bwali mita emu n’ekitundu, nga byesigamizibbwa ku kisenge kya yeekaalu n’emiti gy’emivule.
11 そこで主の言葉がソロモンに臨んだ、
Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira Sulemaani nti,
12 「あなたが建てるこの宮については、もしあなたがわたしの定めに歩み、おきてを行い、すべての戒めを守り、それに従って歩むならば、わたしはあなたの父ダビデに約束したことを成就する。
“Bino bye bikwata ku yeekaalu eno gy’ozimba; bw’onootambuliranga mu mateeka gange, n’ogondera ebiragiro byange, n’okwatanga n’amateeka gange gonna ng’ogatambuliramu, kale ndituukiriza ekigambo kye nayogera eri Dawudi kitaawo.
13 そしてわたしはイスラエルの人々のうちに住み、わたしの民イスラエルを捨てることはない」。
Era nnaabeeranga wamu n’abaana ba Isirayiri, so siryabuulira bantu bange Isirayiri.”
14 こうしてソロモンは宮を建て終った。
Sulemaani n’azimba yeekaalu n’agimala.
15 彼は香柏の板をもって宮の壁の内側を張った。すなわち宮の床から天井のたるきまで香柏の板で張った。また、いとすぎの板をもって宮の床を張った。
Ku bisenge eby’omunda n’assaako embaawo ez’emivule n’azikomelera okuva wansi wa yeekaalu okutuukira ddala ku kasolya, era ne wansi wa yeekaalu n’ayaliirirawo embaawo ez’emiberosi.
16 また宮の奥に二十キュビトの室を床から天井のたるきまで香柏の板をもって造った。すなわち宮の内に至聖所としての本堂を造った。
N’ayawuzaamu emabega wa yeekaalu, n’akolawo ekifo mu yeekaalu ekyenkana mita mwenda, nga ky’ekisenge awaayimirirwanga okwogera, eky’awatukuvu ennyo, ng’akozesa embaawo ez’emivule okuva wansi okutuuka ku kasolya.
17 宮すなわち本殿の前にある拝殿は長さ四十キュビトであった。
Ekisenge ekinene ddala ekyali mu maaso g’ekisenge, awaayimirirwanga okwogera waali obuwanvu mita kkumi na munaana.
18 宮の内側の香柏の板は、ひさごの形と、咲いた花を浮彫りにしたもので、みな香柏の板で、石は見えなかった。
Ne munda wa yeekaalu mwali mwaliriddwamu emivule egyayolebwako entaabwa n’ebimuli ebyanjulukuse. Byonna byali bya mivule; tewaali jjinja eryalabika.
19 そして主の契約の箱を置くために、宮の内の奥に本殿を設けた。
N’ateekateeka ekisenge eky’omunda ddala okumpi n’awaayimirirwanga okwogera mu yeekaalu, okuteekamu essanduuko ey’endagaano ya Mukama.
20 本殿は長さ二十キュビト、幅二十キュビト、高さ二十キュビトであって、純金でこれをおおった。また香柏の祭壇を造った。
Era munda awaayimirirwanga okwogera mwalimu ebbanga erya mita mwenda obuwanvu, ne mita mwenda obugazi, ne mita mwenda obugulumivu. Munda mwonna n’asiigamu zaabu ennongoose, era n’akola n’ekyoto n’akisabika n’emivule.
21 ソロモンは純金をもって宮の内側をおおい、本殿の前に金の鎖をもって隔てを造り、金をもってこれをおおった。
Sulemaani n’asabika munda wa yeekaalu ne zaabu ennongoose, n’ayongerako n’enjegere eza zaabu mu maaso g’omu kisenge eky’omunda ekyali kibikiddwako zaabu.
22 また金をもって残らず宮をおおい、ついに宮を飾ることをことごとく終えた。また本殿に属する祭壇をことごとく金でおおった。
Munda wa yeekaalu mwonna, n’assaamu zaabu, ne ku kyoto eky’omu kisenge awaayimirirwanga okwogera n’asiigako zaabu.
23 本殿のうちにオリブの木をもって二つのケルビムを造った。その高さはおのおの十キュビト。
Mu kisenge awaayimirirwanga okwogera n’akolawo bakerubi babiri ab’emiti egy’emizeeyituuni, buli kerubi obugulumivu bwe mita nnya n’ekitundu.
24 そのケルブの一つの翼の長さは五キュビト、またそのケルブの他の翼の長さも五キュビトであった。一つの翼の端から他の翼の端までは十キュビトあった。
Obuwanvu bw’ekiwaawaatiro ekimu ekya kerubi omu bwali mita bbiri n’obutundu busatu, n’ekiwaawaatiro ekyokubiri mita bbiri n’obutundu busatu, ze mita nnya n’ekitundu okuva ku luuyi olumu olw’ekiwaawaatiro ekimu okutuuka ku luuyi olw’ekiwaawaatiro ekyokubiri.
25 他のケルブも十キュビトであって、二つのケルビムは同じ寸法、同じ形であった。
Kerubi owookubiri naye yali mita nnya n’ekitundu, era bakerubi bombi baali ekigero kye kimu n’endabika yaabwe nga y’emu.
26 このケルブの高さは十キュビト、かのケルブの高さも同じであった。
Obugulumivu bwa buli kerubi bwali mita nnya n’ekitundu.
27 ソロモンは宮のうちの奥にケルビムをすえた。ケルビムの翼を伸ばしたところ、このケルブの翼はこの壁に達し、かのケルブの翼はかの壁に達し、他の二つの翼は宮の中で互に触れ合った。
N’ateeka bakerubi mu kisenge eky’omunda ddala mu yeekaalu, ng’ebiwaawaatiro byabwe byanjuluzibbwa. Ekiwaawaatiro ekya kerubi omu ne kikwata ku kisenge eruuyi, n’ekiwaawaatiro ekya kerubi omulala ne kikwata ku kisenge ekirala eruuyi, ebiwaawaatiro byabwe ne bikwatagana wakati wa yeekaalu.
28 彼は金をもってそのケルビムをおおった。
Bakerubi n’abasiigako zaabu.
29 彼は宮の周囲の壁に、内外の室とも皆ケルビムと、しゅろの木と、咲いた花の形の彫り物を刻み、
Ku bisenge byonna ebya yeekaalu okwetooloola, mu bisenge eby’omunda, ne mu bisenge eby’ebweru, n’akola ebifaananyi ebyole ebya bakerubi, n’enkindu, n’ebimuli ebyanjulukuse.
30 宮の床は、内外の室とも金でおおった。
Ne wansi mu bisenge eby’omunda n’eby’ebweru ebya yeekaalu n’assaamu zaabu.
31 本殿の入口にはオリブの木のとびらを造った。そのとびらの上のかまちと脇柱とで五辺形をなしていた。
Awayingirirwa mu kifo awaayimirirwanga okwogera, waali wawaniriddwa emifuubeeto n’empagi ez’enzigi, omulyango nga gwa nsonda ttaano.
32 その二つのとびらもオリブの木であって、ソロモンはその上にケルビムと、しゅろの木と、咲いた花の形を刻み、金をもっておおった。すなわちケルビムと、しゅろの木の上に金を着せた。
Ku nzigi zombi ez’emiti egy’emizeeyituuni n’akubako ebifaananyi ebyole ebya bakerubi, n’enkindu, n’ebimuli ebyanjulukuse, bakerubi n’enkindu n’abisiiga zaabu.
33 こうしてソロモンはまた拝殿の入口のためにオリブの木で四角の形に脇柱を造った。
Mu ngeri y’emu n’akola omulyango oguyingira mu kisenge ekinene ddala, n’ateekawo emifuubeeto egy’emizeeyituuni, omulyango nga gwa nsonda nnya.
34 その二つのとびらはいとすぎであって、一つのとびらは二つにたたむ折り戸であり、他のとびらも二つにたたむ折り戸であった。
N’akola n’enzigi bbiri za miberosi, buli luggi nga lulina embaawo bbiri ezakyukiranga mu myango.
35 ソロモンはその上にケルビムと、しゅろの木と、咲いた花を刻み、金をもって彫り物の上を形どおりにおおった。
Ku zo n’ayolako ebifaananyi ebya bakerubi, n’enkindu n’ebimuli ebyanjulukuse, n’abisiiga zaabu ensanuuse.
36 また切り石三かさねと、香柏の角材ひとかさねとをもって内庭を造った。
N’azimba oluggya olw’omunda n’embu ssatu ez’amayinja amateme obulungi, n’olubu olw’emiti egy’emivule.
37 第四年のジフの月に主の宮の基をすえ、
Awo mu mwaka ogwokuna, mu mwezi Zivu omusingi gwa yeekaalu ya Mukama ne gumalirizibwa.
38 第十一年のブルの月すなわち八月に、宮のすべての部分が設計どおりに完成した。ソロモンはこれを建てるのに七年を要した。
Mu mwaka ogw’ekkumi n’ogumu mu mwezi Buli, gwe mwezi ogw’omunaana, ebitundu byonna ebya yeekaalu ne bimalirizibwa ng’ebigero byabyo bwe byali. Yamala emyaka musanvu ng’agizimba.

< 列王記Ⅰ 6 >