< 列王記Ⅰ 15 >
1 ネバテの子ヤラベアム王の第十八年にアビヤムがユダの王となり、
Awo mu mwaka ogw’ekkumi n’omunaana ogw’obufuzi bwa Yerobowaamu mutabani wa Nebati, Abiyaamu n’atandika okufuga Yuda.
2 エルサレムで三年世を治めた。その母の名はマアカといって、アブサロムの娘であった。
Yafugira mu Yerusaalemi emyaka esatu. Nnyina ye yali Maaka muwala wa Abusaalomu.
3 彼はその父が先に行ったもろもろの罪をおこない、その心は父ダビデの心のようにその神、主に対して全く真実ではなかった。
N’akola ebibi byonna kitaawe bye yakolanga, omutima gwe ne gutatuukirira mu maaso ga Mukama Katonda we ng’omutima gwa jjajjaawe Dawudi bwe gwali.
4 それにもかかわらず、その神、主はダビデのために、エルサレムにおいて彼に一つのともしびを与え、その子を彼のあとに立てて、エルサレムを固められた。
Naye ku lwa Dawudi, Mukama Katonda we n’amuteerawo ettabaaza mu Yerusaalemi era n’ayimusa ne mutabani we okumusikira, era n’okunyweza Yerusaalemi.
5 それはダビデがヘテびとウリヤの事のほか、一生の間、主の目にかなう事を行い、主が命じられたすべての事に、そむかなかったからである。
Dawudi yakola ebirungi mu maaso ga Mukama, n’agondera ebiragiro bya Mukama ennaku zonna ez’obulamu bwe, okuggyako ensonga ya Uliya Omukiiti.
6 レハベアムとヤラベアムの間には一生の間、戦争があった。
Ne wabangawo entalo wakati w’ennyumba ya Lekobowaamu n’ennyumba ya Yerobowaamu ennaku zonna ez’obulamu bwa Abiyaamu.
7 アビヤムのその他の行為と、彼がしたすべての事は、ユダの王の歴代志の書にしるされているではないか。アビヤムとヤラベアムの間にも戦争があった。
N’ebyafaayo ebirala byonna eby’okufuga kwa Abiyaamu, ne bye yakola, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Yuda? Ne wabangawo entalo wakati wa Abiyaamu ne Yerobowaamu.
8 アビヤムはその先祖と共に眠って、ダビデの町に葬られ、その子アサが代って王となった。
Awo Abiyaamu ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe era n’aziikibwa mu kibuga kya Dawudi. Asa mutabani we n’amusikira, n’alya obwakabaka.
9 イスラエルの王ヤラベアムの第二十年にアサはユダの王となり、
Awo mu mwaka ogw’amakumi abiri ogw’obufuzi bwa Yerobowaamu kabaka wa Isirayiri, Asa n’alya obwakabaka bwa Yuda.
10 エルサレムで四十一年世を治めた。その母の名はマアカといってアブサロムの娘であった。
Yafugira mu Yerusaalemi emyaka amakumi ana mu gumu. Jjajjaawe omukazi nga ye Maaka muwala wa Abusaalomu.
11 アサはその父ダビデがしたように主の目にかなう事をし、
Asa n’akola ebirungi mu maaso ga Mukama, nga jjajjaawe Dawudi bwe yakola.
12 神殿男娼を国から追い出し、先祖たちの造ったもろもろの偶像を除いた。
N’agoba mu nsi abaalyanga ebisiyaga, era n’aggyawo n’ebifaananyi ebyakolebwa n’emikono byonna bajjajjaabe bye baakola.
13 彼はまたその母マアカが、アシラのために憎むべき像を造らせたので、彼女を太后の位から退けた。そしてアサはその憎むべき像を切り倒してキデロンの谷で焼き捨てた。
Era n’agoba ne jjajjaawe Maaka ku bwa namasole kubanga yali akoze empagi ya Asera. Asa n’agitema era n’agyokera ku kagga Kidulooni.
14 ただし高き所は除かなかった。けれどもアサの心は一生の間、主に対して全く真実であった。
Newaakubadde nga teyaggyawo bifo bigulumivu, omutima gwe gwali ku Mukama ennaku ze zonna.
15 彼は父の献納した物と自分の献納した物、金銀および器物を主の宮に携え入れた。
N’ayingiza mu yeekaalu ya Mukama effeeza, ne zaabu n’ebintu ebirala kitaawe bye yawaayo ne Asa yennyini bye yawaayo.
16 アサとイスラエルの王バアシャの間には一生の間、戦争があった。
Ne wabangawo entalo wakati wa Asa ne Baasa kabaka wa Isirayiri ennaku zonna ez’okufuga kwabwe.
17 イスラエルの王バアシャはユダに攻め上り、ユダの王アサの所に、だれをも出入りさせないためにラマを築いた。
Baasa kabaka wa Isirayiri n’alumba Yuda n’azingiza Laama obutaganya muntu n’omu okufuluma wadde okuyingira mu kitundu kya Asa kabaka wa Yuda.
18 そこでアサは主の宮の宝蔵と、王の宮殿の宝蔵に残っている金銀をことごとく取って、これを家来たちの手にわたし、そしてアサ王は彼らをダマスコに住んでいるスリヤの王、ヘジョンの子タブリモンの子であるベネハダデにつかわして言わせた、
Awo Asa n’addira effeeza ne zaabu yonna eyali esigadde mu ggwanika lya yeekaalu ya Mukama n’ey’olubiri lwe, n’abikwasa abakungu be, n’abiweereza Benikadadi mutabani wa Tabulimmoni, muzzukulu wa Keziyoni, eyali kabaka wa Busuuli ng’afugira e Ddamasiko.
19 「わたしの父とあなたの父との間に結ばれていたように、わたしとあなたの間に同盟を結びましょう。わたしはあなたに金銀の贈り物をさしあげます。行って、あなたとイスラエルの王バアシャとの同盟を破棄し、彼をわたしの所から撤退させてください」。
N’ayogera nti, “Wabeewo endagaano wakati wo nange, ng’eyaliwo wakati wa kitaawo ne kitange. Laba nkuweereza ekirabo ekya ffeeza ne zaabu, omenyewo kaakano endagaano yo ne Baasa kabaka wa Isirayiri, anveeko.”
20 ベネハダデはアサ王の言うことを聞き、自分の軍勢の長たちをつかわしてイスラエルの町々を攻め、イヨンとダンとアベル・ベテ・マアカおよびキンネレテの全地と、ナフタリの全地を撃った。
Benikadadi n’akkiriziganya ne kabaka Asa era n’aweereza abaduumizi b’eggye lye okulumba ebibuga bya Isirayiri. N’akuba Iyoni, ne Ddaani, ne Aberubesumaaka ne Kinnerosi yonna ng’okwo kw’otadde Nafutaali.
21 バアシャはこれを聞き、ラマを築くことをやめて、テルザにとどまった。
Awo Baasa bwe yakiwulira n’alekeraawo okuzimba Laama, n’addukira e Tiruza.
22 そこでアサ王はユダ全国に布告を発した。ひとりも免れる者はなかった。すなわちバアシャがラマを築くために用いた石と材木を運びこさせ、アサ王はそれを用いて、ベニヤミンのゲバとミヅパを築いた。
Kabaka Asa n’awa ekiragiro mu Yuda yonna nga kikwata ku buli muntu. Ne batwala amayinja ag’e Laama n’embaawo Baasa bye yazimbisanga, kabaka Asa n’abizimbisa Geba ekya Benyamini, ne Mizupa.
23 アサのその他の事績とそのすべての勲功と、彼がしたすべての事および彼が建てた町々は、ユダの王の歴代志の書にしるされているではないか。彼は老年になって足を病んだ。
Ebyafaayo ebirala byonna eby’omu mirembe gya Asa, n’obuwanguzi bwe era n’ebibuga bye yazimba, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Yuda? Kyokka mu bukadde bwe, n’alwala ebigere.
24 アサはその先祖と共に眠って、父ダビデの町に先祖と共に葬られ、その子ヨシャパテが代って王となった。
Awo Asa ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe n’aziikibwa mu kibuga kya jjajjaawe Dawudi. Yekosafaati, mutabani we n’amusikira, n’alya obwakabaka.
25 ユダの王アサの第二年にヤラベアムの子ナダブがイスラエルの王となって、二年イスラエルを治めた。
Nadabu mutabani wa Yerobowaamu n’alya obwakabaka bwa Isirayiri mu mwaka ogwokubiri ogw’obufuzi bwa Asa kabaka wa Yuda. Yafugira Isirayiri emyaka ebiri.
26 彼は主の目の前に悪を行い、その父の道に歩み、父がイスラエルに犯させた罪をおこなった。
N’akola ebibi mu maaso ga Mukama, ng’atambulira mu ngeri za kitaawe ne mu kibi kye, ebyaleetera Isirayiri okwonoona.
27 イッサカルの家のアヒヤの子バアシャは彼に対してむほんを企て、ペリシテびとに属するギベトンで彼を撃った。これはナダブとイスラエルが皆ギベトンを囲んでいたからである。
Awo Baasa mutabani wa Akiya ow’omu nnyumba ya Isakaali n’amukolera olukwe, n’amuttira e Gibbesoni ekibuga ky’Abafirisuuti, Nadabu ne Isirayiri yenna bwe baali bakitaayizza.
28 こうしてユダの王アサの第三年にバアシャは彼を殺し、彼に代って王となった。
Baasa n’atta Nadabu mu mwaka ogwokusatu ogw’obufuzi bwa Asa kabaka wa Yuda, ye n’alya obwakabaka bwa Isirayiri.
29 彼は王となるとすぐヤラベアムの全家を撃ち、息のある者をひとりもヤラベアムの家に残さず、ことごとく滅ぼした。主がそのしもべシロびとアヒヤによって言われた言葉のとおりであって、
Amangwago nga kyajje alye obwakabaka, n’atta ennyumba ya Yerobowaamu yonna n’atalekaawo muntu n’omu omulamu. Yabazikiriza bonna ng’ekigambo kya Mukama kye yayogerera mu muddu we Akiya Omusiiro,
30 これはヤラベアムがみずから犯し、またイスラエルに犯させた罪のため、また彼がイスラエルの神、主を怒らせたその怒りによるのであった。
olw’ebibi bya Yerobowaamu bye yakola, era bye yayonoonyesa Isirayiri, n’okusunguwaza ne bisunguwaza Mukama Katonda wa Isirayiri.
31 ナダブのその他の事績と、彼がしたすべての事は、イスラエルの王の歴代志の書にしるされているではないか。
Ebyafaayo ebirala eby’omu mirembe gya Nadabu, ne bye yakola, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Isirayiri?
32 アサとイスラエルの王バアシャの間には一生の間戦争があった。
Ne wabangawo entalo wakati wa Asa ne Baasa kabaka wa Isirayiri, ennaku zonna ez’okufuga kwabwe.
33 ユダの王アサの第三年にアヒヤの子バアシャはテルザでイスラエルの全地の王となって、二十四年世を治めた。
Awo mu mwaka ogwokusatu ogw’obufuzi bwa Asa kabaka wa Yuda, Baasa mutabani wa Akiya n’afuuka kabaka wa Isirayiri yonna e Tiruza, era n’afugira emyaka amakumi abiri mu ena.
34 彼は主の目の前に悪を行い、ヤラベアムの道に歩み、ヤラベアムがイスラエルに犯させた罪をおこなった。
N’akola ebibi mu maaso ga Mukama, ng’atambulira mu ngeri za Yerobowaamu, ne mu kibi kye, kye yayonoonyesa Isirayiri.