< マタイの福音書 24 >

1 イエスは神殿から出て行き,進んで行こうとした。弟子たちが彼に神殿の建物を示そうとして近寄って来た。
Awo Yesu bwe yali ng’ava mu luggya lwa Yeekaalu, abayigirizwa be ne bajja w’ali okumulaga enzimba ya Yeekaalu,
2 しかし,イエスは彼らに言った,「あなた方はこれらすべてのものを見ていないのか。ここで石が崩されずにほかの石の上に残ることはないだろう」 。
naye n’abagamba nti, “Bino byonna temubiraba? Ddala ddala mbagamba nti tewaliba jjinja na limu eririsigala nga litudde ku linnaalyo eritalibetentebwa.”
3 彼がオリーブ山の上で座っていた時,弟子たちがひそかに彼のもとに来て,こう言った。「わたしたちに教えてください。それらのことはいつ起きるのですか。あなたの来臨と時代の終わりのしるしは何ですか」。 (aiōn g165)
Awo Yesu bwe yali ng’atudde ku lusozi olwa Zeyituuni, abayigirizwa be ne bajja gy’ali ne bamubuuza mu kyama nti, “Ebyo biribaawo ddi? Era kabonero ki akalitegeeza okujja kwo n’enkomerero y’ensi nti eri kumpi?” (aiōn g165)
4 イエスは彼らに答えた,「だれもあなた方を惑わすことがないように注意しなさい。
Yesu n’abaddamu nti, “Temukkirizanga muntu yenna kubalimbalimba.
5 多くの者がわたしの名においてやって来て,『わたしがキリストだ』と言って,多くの者を惑わすだろう。
Kubanga bangi balijja mu linnya lyange nga bagamba nti, ‘Nze Kristo’, era balirimba bangi.
6 あなた方は戦争のことや戦争のうわさを聞くだろう。動転しないように気を付けなさい。これらのすべてのことは起こらなければならないが,終わりはまだなのだ。
Munaatera okuwulira entalo n’eŋŋambo z’entalo. Temwekanganga, kubanga ebyo biteekwa okubaawo, naye enkomerero eriba tennatuuka.
7 民族は民族に,王国は王国に敵対して立ち上がるからだ。あちこちでききんと伝染病と地震がある。
Amawanga galirwana ne gannaago, n’obwakabaka bulirwana n’obwakabaka, era walibaawo enjala mu bifo bingi ne musisi aliyuuguumya ebifo bingi.
8 だが,これらのすべてのことは産みの苦しみの始まりだ。
Naye bino byonna biriba ntandikwa butandikwa ng’ey’okulumwa okuzaala.”
9 その時,人々はあなた方を苦しみに引き渡し,あなた方を殺すだろう。あなた方はわたしの名のためにすべての民族から憎まれるだろう。
“Muliweebwayo ne mubonyaabonyezebwa era ne muttibwa, era mulikyayibwa amawanga gonna olw’erinnya lyange.
10 その時,多くの者がつまずき,互いに引き渡し合い,互いに憎み合うだろう。
Era bangi balisendebwasendebwa okukola ebibi, n’abalala baliryamu bannaabwe olukwe, n’abalala ne bakyawagana.
11 多くの偽預言者たちが現われて,多くの者を惑わすだろう。
Era bannabbi ab’obulimba bangi balijja ne bawubisa abantu bangi.
12 不法が増してゆくので,多くの者の愛が冷えてゆくだろう。
Olw’obujeemu okuyinga obungi, era bangi okwagala kwabwe kuliwola.
13 だが,最後まで耐え忍ぶ者,その者が救われるだろう。
Naye abo abaligumiikiriza okutuuka ku nkomerero be balirokolebwa.
14 王国のこの福音は,あらゆる民族に対する証言のために,全世界で宣教されるだろう。そしてそれから終わりが来る。
Era Enjiri ey’obwakabaka eribuulirwa mu nsi yonna, nga bwe bujulirwa eri amawanga gonna n’oluvannyuma enkomerero n’eryoka etuuka.”
15 「それで,預言者ダニエルを通して語られた,荒廃させる嫌悪すべきものが,聖なる所に立っているのを見るなら(読者は理解せよ),
“Noolwekyo bwe muliraba ‘eky’omuzizo eky’entiisa,’ nnabbi Danyeri kye yayogerako, nga kiyimiridde mu kifo ekitukuvu asoma bino ategeere,
16 その時,ユダヤにいる者たちは山に逃げなさい。
n’abo abalibeera mu Buyudaaya baddukiranga mu nsozi.
17 屋上にいる者は自分の家から物を取り出そうとして降りてはいけない。
Alibeera waggulu ku kasolya, takkanga kuyingira mu nnyumba ye kubaako byaggyamu.
18 畑にいる者は外衣を取りに戻ってはいけない。
N’oyo alibeera mu nnimiro taddangayo eka okunonayo olugoye lwe.
19 だが,それらの日,妊娠している者たちと乳を飲ませている母親たちにとっては災いだ!
Naye ziribasanga abakyala abaliba balina embuto, n’abaliba bayonsa mu nnaku ezo.
20 あなた方の逃走が冬や安息日に起こらないように祈っていなさい。
Naye musabe ekiseera ky’okudduka kireme kutuukira mu biro bya butiti oba ku lunaku lwa Ssabbiiti.
21 その時,世のはじめから今に至るまで起きたことがなく,また二度と起きないような苦しみがあるからだ。
Kubanga wagenda kubeerawo okubonyaabonyezebwa okunene ennyo okutabangawo kasookedde ensi ebaawo era tewaliddayo kubaawo kikifaanana.
22 それらの日が短くされなかったなら,肉なる者はだれも救われないだろう。だが,選ばれた者たちのために,その日々は短くされるのだ。
Singa ennaku ezo tezakendezebwako, tewandibadde n’omu alokolebwa. Naye olw’abalonde be ennaku ezo zirikendezebwako.
23 「その時,だれかがあなた方に,『見よ,ここにキリストがいる!』とか,『あそこだ』などと告げても,それを信じてはいけない。
Bwe wabangawo omuntu agamba nti, ‘Kristo ali wano, oba ali wali,’ temubakkirizanga.
24 偽キリストたちや偽預言者たちが現われて,できるなら選ばれた者たちをさえ惑わそうとして,しるしと不思議な業を行なうからだ。
Kubanga bakristo ab’obulimba balijja, ne bannabbi ab’obulimba nabo balijja ne bakola eby’amagero n’ebyewuunyo; nga singa kibadde kisoboka, bandilimbyelimbye n’abalonde ba Katonda.
25 「見よ,わたしはあなた方にあらかじめ告げている。
Laba mbalabudde nga bukyali!”
26 だから,人々があなた方に,『見よ,彼は荒野にいる』と言っても,出て行ってはいけない。『見よ,奥の部屋にいる』と言っても,それを信じてはいけない。
“Noolwekyo omuntu bw’abagambanga nti Kristo akomyewo ali eri mu ddungu, temugendangayo. Oba nti ali mu bisenge eby’omunda, temukkirizanga.
27 いなずまが東から出て,西にまで輝きわたるように,人の子の来臨もそのようだからだ。
Kubanga nga bwe mulaba okumyansa kw’eraddu nga kutabaala ebire okuva ebuvanjuba ne kusala okulaga ebugwanjuba, n’okujja kw’Omwana w’Omuntu bwe kutyo.
28 どこでも死体のあるところ,そこにハゲワシたちも集まって来るのだ。
Era mukimanyi nti awabeera ekifudde awo ensega we zikuŋŋaanira.”
29 だが,それらの日の苦しみのすぐ後に,太陽は暗くなり,月は光を放たなくなり,星々は天から落ち,天にあるもろもろの力は揺り動かされるだろう。
“Amangu ddala ng’okubonyaabonyezebwa “kw’omu nnaku ezo kuwedde, ‘enjuba eriggyako ekizikiza era n’omwezi teguliyaka, n’emmunyeenye zirigwa n’amaanyi g’eggulu galinyeenyezebwa.’”
30 そしてその時,人の子のしるしが天に現われるだろう。その時,地のすべての部族は悲しみ,人の子が力と大いなる栄光をもって天の雲に乗って来るのを見るだろう。
“Oluvannyuma lw’ebyo akabonero k’Omwana w’omuntu kalirabika ku ggulu, era walibaawo okukungubaga kw’amawanga gonna ag’omu nsi, era baliraba Omwana w’Omuntu ng’ajja ku bire by’eggulu, mu maanyi ne mu kitiibwa ekinene.
31 彼は大きならっぱの音と共に自分の使いたちを遣わし,彼らは四方の風から,天の一方の果てから他方の果てまで,自分の選ばれた者たちを集め寄せるだろう。
Era alituma bamalayika be nga bwe bafuuwa amakondeere mu ddoboozi ery’omwanguka, ne bakuŋŋaanya abalonde be nga babaggya mu mpewo ennya okuva ku ludda olumu olw’eggulu okutuuka ku ludda olulala.”
32 「さあ,イチジクの木からこのたとえを学びなさい。その枝が柔らかくなり,葉を出すと,あなた方は夏の近いことを知る。
“Kale muyigire ku lugero lw’omutiini. Amatabi gaagwo bwe gatandika okutojjera nga mumanya nti ebiseera eby’ebbugumu binaatera okutuuka.
33 そのようにあなた方も,これらのすべてのことが起こるのを見たなら,彼が戸口にまで近づいていることを知りなさい。
Noolwekyo nammwe bwe muliraba ebintu ebyo byonna, nga mumanya nti ekiseera kiri kumpi, era kisemberedde ddala ku luggi.
34 本当にはっきりとあなた方に告げる。これらのすべてのことが実現するまでは,この世代は過ぎ去らない。
Ddala ddala mbagamba nti, omulembe guno teguliggwaawo okutuusa ng’ebintu ebyo byonna bituukiridde.
35 天と地は過ぎ去るだろう。それでも,わたしの言葉は過ぎ去らないのだ。
Eggulu n’ensi biriggwaawo naye ebigambo byange tebiriggwaawo.”
36 だが,その日や時刻についてはだれも知らない。天のみ使いたちも知らず,ただ父だけが知っておられる。
“Naye eby’olunaku olwo wadde essaawa tewali n’omu abimanyi, newaakubadde bamalayika ab’omu ggulu nabo tebakimanyi, wadde Omwana, okuggyako Kitaffe yekka.
37 「人の子の来臨はノアの日々と同じようだ。
Kubanga nga bwe kyali mu biseera bya Nuuwa, okujja kw’Omwana w’Omuntu nakwo bwe kuliba.
38 というのも,洪水前のそれらの日,ノアが箱船に入るその日まで,人々は食べたり飲んだり,めとったり嫁いだりしていて,
Nga bwe kyali mu biseera by’amataba, abantu nga balya nga banywa, nga bawasa n’abalala nga bafumbirwa, olunaku ne lutuuka Nuuwa n’ayingira mu lyato,
39 洪水が来て彼らすべてをさらって行くまで,気づかなかったのだ。人の子の来臨もそのようになるだろう。
abantu ne batamanya, amataba ne gajja ne gabasaanyaawo ne buli kintu, bwe kutyo n’okudda kw’Omwana w’Omuntu bwe kulibeera.
40 その時,二人の男が畑にいるだろう。一方は取り去られ,他方は残される。
Mu biseera ebyo abasajja babiri baliba bakola mu nnimiro, omu n’atwalibwa omulala n’alekebwa.
41 二人の女が引き臼をひいているだろう。一方は取り去られ,他方は残される。
Abakazi babiri baliba basa ku mmengo zaabwe mu nnyumba y’emu, omu n’atwalibwa omulala n’alekebwa.”
42 だから,見張っていなさい。あなた方は自分たちの主が来るその時を知らないからだ。
“Noolwekyo mubeere beetegefu, kubanga olunaku Mukama wammwe lw’aliddirako temulumanyi.
43 だが,このことを知っておきなさい。家の主人は,夜のどの見張り時に盗人が来るかを知っているなら,見張っていて,自分の家に押し入られることを許さなかっただろう。
Naye mutegeere kino: ssinga ssemaka amanya essaawa omubbi w’anaayingirira okumenya ennyumba ye, yandisigadde ng’atunula, n’ataganya mubbi kumuyingirira.
44 だから,あなた方も用意をしておきなさい。あなた方の思いもしない時に人の子は来るからだ。
Noolwekyo nammwe bwe mutyo mweteeketeeke, kubanga Omwana w’omuntu alijjira mu kiseera kye mutamulowoolezaamu.”
45 「それでは,主人が,時節に応じて家の者たちに食物を与えさせるため,彼らの上に任命した,忠実で賢い召使いは,いったいだれか。
“Kale aliwa omuddu omugezi era omwesigwa mukama we gwe yawa obuvunaanyizibwa okulabirira abaddu ab’omu maka ge, n’okubawa emmere mu kiseera ekituufu?
46 主人がやって来た時,そうしているのを見られるその召使いは幸いだ。
Alina omukisa omuddu oyo, mukama we gw’alisanga ng’akola bw’atyo.
47 本当にはっきりとあなた方に告げるが,主人は彼を自分のすべての持ち物の上に任命するだろう。
Ddala ddala mbagamba nti, alimukwasa ebintu bye byonna.
48 だが,それが悪い召使いで,心の中で,『わたしの主人は来るのが遅れている』と言い,
Naye obanga omuddu omubi bw’agamba mu mutima gwe nti, ‘Mukama wange tajja kudda mangu,’
49 自分の仲間の召使いたちを打ちたたき始め,酔っぱらいたちと食べたり飲んだりしているなら,
n’adda ku baddu banne, n’abakuba, n’alya, n’anywa n’abatamiivu, okutuusa lw’alidda.
50 その召使いの主人は,彼の思いもしない日,彼の知らない時にやって来て,
Mukama w’omuddu oyo n’akomawo ku lunaku lw’atamusuubidde ne mu kiseera ky’atamanyi,
51 彼をずたずたに切り裂き,その受け分を偽善者たちと共にならせるだろう。そこには嘆きと歯ぎしりとがあるだろう。
alimubonereza, era omugabo gwe guliba okubeera awamu n’abannanfuusi, eriba okukaaba n’okuluma obujiji.”

< マタイの福音書 24 >

The World is Destroyed by Water
The World is Destroyed by Water