< 詩篇 87 >

1 ヱホバの基はきよき山にあり
Zabbuli ya Batabani ba Koola. Oluyimba. Atadde emisingi gye ku lusozi olutukuvu.
2 ヱホバはヤコブのすべての住居にまさりてシオンのもろもろの門を愛したまふ
Mukama ayagala emiryango gya Sayuuni okusinga ennyumba zonna eza Yakobo.
3 神の都よなんぢにつきておほくの榮光のことを語りはやせり (セラ)
Ebintu eby’ekitiibwa bikwogerwako, ggwe ekibuga kya Katonda.
4 われはラハブ、バビロンをも我をしるものの中にあげん ペリシテ、ツロ、エテオピアを視よこの人はかしこに生れたりといはん
“Mu mawanga ge mmanyi mwe muli Lakabu, ne Babulooni; era ndyogera ku Bufirisuuti, ne ku Ttuulo ne ku Esiyopya nti, ‘Ono yazaalirwa mu Sayuuni.’”
5 シオンにつきては如此いはん 此もの彼ものその中にうまれたり至上者みづからシオンを立たまはんと
Bwe baliba boogera ku Sayuuni baligamba nti, “Ono n’oli baazaalirwa omwo,” n’oyo Ali Waggulu Ennyo alikinyweza.
6 ヱホバもろもろの民をしるしたまふ時このものは彼處にうまれたりと算へあげたまはん (セラ)
Mukama aliwandiika mu kitabo bw’ati, omuli amannya g’abantu nti, “Ono yazaalibwa omwo.”
7 うたふもの踊るもの皆いはん わがもろもろの泉はなんぢの中にありと
Banaakubanga ebivuga nga bwe bayimba nti, “Ensulo zange zonna ziri mu ggwe.”

< 詩篇 87 >