< 箴言 知恵の泉 16 >
1 心に謀るところは人にあり 舌の答はヱホバより出づ
Omuntu ateekateeka by’ayagala okukola mu mutima gwe, Naye okuddamu kuva eri Mukama.
2 人の途はおのれの目にことごとく潔しと見ゆ 惟ヱホバ霊魂をはかりたまふ
Amakubo g’omuntu gonna gaba matuufu mu maaso ge ye, naye Mukama y’apima ebigendererwa.
3 なんぢの作爲をヱホバに託せよ さらば汝の謀るところ必ず成るべし
Emirimu gyo gyonna gikwasenga Mukama, naye anaatuukirizanga entegeka zo.
4 ヱホバはすべての物をおのおのその用のために造り 惡人をも惡き日のために造りたまへり
Mukama buli kimu akikola ng’alina ekigendererwa, n’abakozi b’ebibi y’abakolera olunaku lwe batuukibwako ebizibu.
5 すべて心たかぶる者はヱホバに惡まれ 手に手をあはするとも罪をまぬかれじ
Buli muntu alina omutima ogw’amalala wa muzizo eri Mukama; weewaawo talirema kubonerezebwa.
6 憐憫と眞實とによりて愆は贖はる ヱホバを畏るることによりて人惡を離る
Olw’okwagala n’olw’obwesigwa, ekibi kisasulibwa, n’okutya Mukama kuleetera omuntu okwewala okukola ebibi.
7 ヱホバもし人の途を喜ばば その人の敵をも之と和がしむべし
Amakubo g’omuntu bwe gaba gasanyusa Mukama, aleetera abalabe b’omuntu oyo okubeera naye mu mirembe.
8 義によりて得たるところの僅少なる物は不義によりて得たる多の資財にまさる
Akatono akafune mu butuukirivu, kasinga obugagga obungi obufune mu bukyamu.
9 人は心におのれの途を考へはかる されどその歩履を導くものはヱホバなり
Omutima gw’omuntu guteekateeka ekkubo lye, naye Mukama y’aluŋŋamya bw’anaatambula.
10 王のくちびるには神のさばきあり 審判するときその口あやまる可らず
Kabaka ky’ayogera kiba ng’ekiva eri Katonda, n’akamwa ke tekasaanye kwogera bitali bya bwenkanya.
11 公平の權衡と天秤とはヱホバのものなり 嚢にある法馬もことごとく彼の造りしものなり
Ebipimo ne minzaani ebituufu bya Mukama, ebipimo byonna ebikozesebwa y’abikola.
12 惡をおこなふことは王の憎むところなり 是その位は公義によりて堅く立ばなり
Kya muzizo bakabaka okukola ebibi, kubanga entebe ye ey’obwakabaka enywezebwa butuukirivu.
13 義しき口唇は王によろこばる 彼等は正直をいふものを愛す
Akamwa akogera eby’amazima bakabaka ke basanyukira, era baagala oyo ayogera amazima.
14 王の怒は死の使者のごとし 智慧ある人はこれをなだむ
Obusungu bwa kabaka buli ng’ababaka abaleese okufa, omusajja ow’amagezi alibukkakkanya.
15 王の面の光には生命あり その恩寵は春雨の雲のごとし
Kabaka bw’asanyuka kireeta obulamu; n’okuganza kwe, kuli nga ekire eky’enkuba mu biseera ebya ttoggo.
16 智慧を得るは金をうるよりも更に善らずや 聰明をうるは銀を得るよりも望まし
Okufuna amagezi nga kusinga nnyo okufuna zaabu, era n’okufuna okutegeera kikira ffeeza!
17 惡を離るるは直き人の路なり おのれの道を守るは霊魂を守るなり
Ekkubo ly’abagolokofu kwe kwewala ebibi, n’oyo eyeekuuma mu kutambula kwe, awonya emmeeme ye.
Amalala gakulembera okuzikirira, n’omwoyo ogwegulumiza gukulembera ekigwo.
19 卑き者に交りて謙だるは驕ぶる者と偕にありて贓物をわかつに愈る
Okubeera n’omwoyo ogwetoowaza era n’okubeera n’abaavu, kisinga okugabana omunyago n’ab’amalala.
20 愼みて御言をおこなふ者は益をうべし ヱホバに倚賴むものは福なり
Oyo assaayo omwoyo ku kuyigirizibwa alikulaakulana, era alina omukisa oyo eyeesiga Mukama.
21 心に智慧あれば哲者と稱へらる くちびる甘ければ人の知識をます
Abalina emitima egy’amagezi baliyitibwa bategeevu, n’enjogera ennungi eyongera okuyamba okutegeera.
22 明哲はこれを持つものに生命の泉となる 愚なる者をいましむる者はおのれの痴是なり
Amagezi nsulo ya bulamu eri oyo agalina, naye obusirusiru buleetera abasirusiru okubonerezebwa.
23 智慧ある者の心はおのれの口ををしへ 又おのれの口唇に知識をます
Omutima gw’omuntu ow’amagezi gumuwa enjogera ennungi, era akamwa ke kayigiriza abalala.
24 こころよき言は蜂蜜のごとくにして 霊魂に甘く骨に良薬となる
Ebigambo ebirungi biri ng’ebisenge by’omubisi gw’enjuki, biwoomera emmeeme, ne biwonya n’amagumba.
25 人の自から見て正しとする途にして その終はつひに死にいたる途となるものあり
Wabaawo ekkubo erirabika ng’ettuufu eri omuntu, naye ku nkomerero limutuusa mu kufa.
26 勞をるものは飮食のために骨をる 是その口おのれに迫ればなり
Okwagala okulya kuleetera omuntu okukola n’amaanyi, kubanga enjala emukubiriza okweyongera okukola.
27 邪曲なる人は惡を掘る その口唇には烈しき火のごときものあり
Omuntu omusirusiru ategeka okukola ebitali bya butuukirivu, era n’ebigambo bye, biri ng’omuliro ogwokya ennyo.
28 いつはる者はあらそひを起し つけぐちする者は朋友を離れしむ
Omuntu omubambaavu asiikuula entalo, n’ow’olugambo ayawukanya ab’omukwano enfirabulago.
29 強暴人はその鄰をいざなひ 之を善らざる途にみちびく
Omuntu omukyamu asendasenda muliraanwa we n’amutwala mu kkubo eritali ttuufu.
30 その目を閉て惡を謀り その口唇を蹙めて惡事を成遂ぐ
Omuntu atemya ku liiso ateekateeka kwonoona, n’oyo asongoza emimwa ategeka kukola bitali birungi.
Omutwe ogw’envi ngule ya kitiibwa, gufunibwa abo abatambulira mu bulamu obutuukirivu.
32 怒を遅くする者は勇士に愈り おのれの心を治むる者は城を攻取る者に愈る
Omuntu omugumiikiriza asinga omutabaazi, n’oyo afuga obusungu bwe akira awamba ekibuga.
33 人は籤をひく されど事をさだむるは全くヱホバにあり
Akalulu kayinza okukubibwa, naye okusalawo kwa byonna kuva eri Mukama.