< ヨハネの福音書 11 >

1 ここに病める者あり、ラザロと云ふ、マリヤとその姉妹マルタとの村ベタニヤの人なり。
Awo olwatuuka omuntu ayitibwa Laazaalo eyali e Besaniya n’alwala. Besaniya ky’ekibuga Maliyamu ne Maliza bannyina ba Laazaalo mwe baali.
2 此のマリヤは、主に香 油をぬり、頭髮にて御足を拭ひし者にして、病めるラザロはその兄弟なり。
Maliyamu oyo ye yasiiga Mukama waffe amafuta ag’akaloosa ku bigere n’abisiimuuza enviiri ze.
3 姉妹ら人をイエスに遣して『主、視よ、なんぢの愛し給ふもの病めり』と言はしむ。
Awo Maliyamu ne Maliza ne batumira Yesu ne bamutegeeza nti, “Mukama waffe, mukwano gwo gw’oyagala ennyo mulwadde nnyo.”
4 之を聞きてイエス言ひ給ふ『この病は死に至らず、神の榮光のため、神の子のこれに由りて榮光を受けんためなり』
Naye Yesu bwe yakitegeera n’agamba nti, “Ekigendereddwa mu bulwadde buno si kufa, wabula kulaga kitiibwa kya Katonda, era n’okuweesa Omwana wa Katonda ekitiibwa.”
5 イエスはマルタと、その姉妹と、ラザロとを愛し給へり。
Yesu yali mukwano gwa Maliyamu ne Maliza ne Laazaalo, naye bwe yawulira nga Laazaalo alwadde n’ayongera n’asigala we yali
6 ラザロの病みたるを聞きて、その居給ひし處になほ二日とどまり、
n’amalawo ennaku endala bbiri nga tanagenda gye bali.
7 而してのち弟子たちに言ひ給ふ『われら復ユダヤに往くべし』
Awo ennaku bbiri bwe zaayitawo n’agamba abayigirizwa be nti, “Tuddeyo e Buyudaaya.”
8 弟子たち言ふ『ラビ、この程もユダヤ人、なんぢを石にて撃たんとせしに、復かしこに往き給ふか』
Kyokka abayigirizwa be, ne bamugamba nti, “Labbi, mu nnaku ntono ezaakayita Abayudaaya baagezaako okukutta. Ate gy’odda?”
9 イエス答へたまふ『一日に十二 時あるならずや、人もし晝あるかば、此の世の光を見るゆゑに躓くことなし。
Yesu n’abaddamu nti, “Essaawa ez’emisana ziwera kkumi na bbiri, era omuntu bw’atambula emisana teyeesittala kubanga aba alaba.
10 夜あるかば、光その人になき故に躓くなり』
Wabula atambula ekiro ye yeesittala, kubanga omusana teguli mu ye.”
11 かく言ひて復その後いひ給ふ『われらの友ラザロ眠れり、されど我よび起さん爲に往くなり』
Bwe yamala okwogera ebyo n’abagamba nti, “Mukwano gwaffe Laazaalo yeebase, naye ŋŋenda kumuzuukusa.”
12 弟子たち言ふ『主よ、眠れるならば癒ゆべし』
Abayigirizwa ne bamugamba nti, “Mukama waffe oba yeebase anaazuukuka.”
13 イエスは彼が死にたることを言ひ給ひしなれど、弟子たちは寢ねて眠れるを言ひ給ふと思へるなり。
Naye Yesu yayogera ku kufa kwa Laazaalo, kyokka bo abayigirizwa be ne balowooza nti ayogera ku kwebaka tulo.
14 ここにイエス明白に言ひ給ふ『ラザロは死にたり。
Awo n’alyoka abategeereza ddala nti, “Laazaalo afudde.
15 我かしこに居らざりし事を汝 等のために喜ぶ、汝 等をして信ぜしめんとてなり。されど我ら今その許に往くべし』
Naye ku lw’obulungi bwammwe, nsanyuse kubanga ssaaliyo, mulyoke mukkirize; kale mujje tugende gy’ali.”
16 デドモと稱ふるトマス、他の弟子たちに言ふ『われらも往きて彼と共に死ぬべし』
Awo Tomasi eyayitibwanga Didumo n’agamba banne nti, “Ka tugende tufiire wamu naye.”
17 さてイエス來り見 給へば、ラザロの墓にあること既に四日なりき。
Bwe baatuuka e Besaniya Yesu n’asanga nga Laazaalo yaakamala ennaku nnya mu ntaana.
18 ベタニヤはエルサレムに近くして、二 十 五 丁ばかりの距離なるが、
Besaniya kyali kumpi ne Yerusaalemi, kilomita nga ssatu.
19 數多のユダヤ人、マルタとマリヤとをその兄弟の事につき慰めんとて來れり。
Abayudaaya bangi baali bazze okukubagiza Maliza ne Maliyamu olw’okufiirwa mwannyinaabwe.
20 マルタはイエス來給ふと聞きて出で迎へたれど、マリヤはなほ家に坐し居たり。
Maliza bwe yawulira nti Yesu ajja, n’agenda okumusisinkana, kyokka Maliyamu n’asigala mu nnyumba ng’atudde.
21 マルタ、イエスに言ふ『主よ、もし此處に在ししならば、我が兄弟は死なざりしものを。
Awo Maliza n’agamba Yesu nti, “Mukama wange, singa wali wano mwannyinaze teyandifudde.
22 されど今にても我は知る、何事を神に願ひ給ふとも、神は與へ給はん』
Era kaakano mmanyi nti buli ky’onoosaba Katonda, ajja kukikuwa.”
23 イエス言ひ給ふ『なんぢの兄弟は甦へるべし』
Yesu n’agamba Maliza nti, “Mwannyoko ajja kuzuukira.”
24 マルタ言ふ『をはりの日、復活のときに甦へるべきを知る』
Maliza n’amuddamu nti, “Mmanyi nti alizuukira ku lunaku olw’enkomerero.”
25 イエス言ひ給ふ『我は復活なり、生命なり、我を信ずる者は死ぬとも生きん。
Yesu n’amugamba nti, “Nze kuzuukira n’obulamu; akkiriza nze newaakubadde ng’afudde, aliba mulamu,
26 凡そ生きて我を信ずる者は、永遠に死なざるべし。汝これを信ずるか』 (aiōn g165)
na buli muntu omulamu akkiriza nze talifa emirembe n’emirembe. Ekyo okikkiriza?” (aiōn g165)
27 彼いふ『主よ然り、我なんぢは世に來るべきキリスト、神の子なりと信ず』
Maliza n’amugamba nti, “Mukama wange nzikiriza nti ggwe Kristo Omwana wa Katonda, ajja mu nsi.”
28 かく言ひて後、ゆきて竊にその姉妹マリヤを呼びて『師きたりて汝を呼びたまふ』と言ふ。
Awo Maliza bwe yamala okwogera ebyo, n’ava eri Yesu n’agenda eri Maliyamu n’amuzza ku bbali mu kyama ng’agamba nti, “Omuyigiriza azze, akuyita.”
29 マリヤ之をきき、急ぎ起ちて御許に往けり。
Maliyamu olwawulira ekyo n’asitukiramu n’agenda eri Yesu.
30 イエスは未だ村に入らず、尚マルタの迎へし處に居給ふ。
Yesu yali akyali mu kifo Maliza we yamusisinkana nga tannatuuka mu kibuga.
31 マリヤと共に家に居りて慰め居たるユダヤ人、その急ぎ立ちて出でゆくを見、かれは歎かんとて墓に往くと思ひて後に隨へり。
Abayudaaya abaali bazze okukubagiza abaali mu nnyumba ne Maliyamu bwe baamulaba ng’ayimiridde mangu ng’afuluma ne bamugoberera ne balowooza nti agenda ku ntaana akaabire eyo.
32 かくてマリヤ、イエスの居給ふ處にいたり、之を見てその足下に伏し『主よ、もし此處に在ししならば、我が兄弟は死なざりしものを』と言ふ。
Maliyamu bwe yatuuka awali Yesu n’afukamira ku bigere bye, nga bw’agamba nti, “Mukama wange, singa wali wano mwannyinaze teyandifudde.”
33 イエスかれが泣き居り、共に來りしユダヤ人も泣き居るを見て、心を傷め悲しみて言ひ給ふ、
Yesu bwe yamulaba ng’akaaba era n’Abayudaaya abaali naye nga bakaaba n’anyolwa mu mutima, n’ajjula obuyinike.
34 『かれを何處に置きしか』彼ら言ふ『主よ、來りて見 給へ』
N’abuuza nti, “Mwamuteeka wa?” Ne bamugamba nti, “Mukama waffe jjangu olabeyo.”
35 イエス涙をながし給ふ。
Yesu n’akaaba amaziga.
36 ここにユダヤ人ら言ふ『視よ、いかばかり彼を愛せしぞや』
Awo Abayudaaya ne bagamba nti, “Ng’abadde amwagala nnyo!”
37 その中の或 者ども言ふ『盲人の目をあけし此の人にして、彼を死なざらしむること能はざりしか』
Naye abamu ku bo ne bagamba nti, “Ono eyazibula amaaso ga muzibe, lwaki teyaziyiza musajja ono kufa?”
38 イエスまた心を傷めつつ墓にいたり給ふ。墓は洞にして石を置きて塞げり。
Awo Yesu ne yeeyongera okujjula obuyinike. N’atuuka ku ntaana. Yali mpuku ng’eggaliddwawo n’ejjinja.
39 イエス言ひ給ふ『石を除けよ』死にし人の姉妹マルタ言ふ『主よ、彼ははや臭し、四日を經たればなり』
Yesu n’agamba nti, “Muggyeewo ejjinja.” Naye Maliza, mwannyina w’omufu, n’amugamba nti, “Kaakano awunya nnyo, kubanga yaakamala ennaku nnya mu ntaana.”
40 イエス言ひ給ふ『われ汝に、もし信ぜば神の榮光を見んと言ひしにあらずや』
Yesu n’amuddamu nti, “Saakugambye nti bw’onokkiriza onoolaba ekitiibwa kya Katonda?”
41 ここに人々 石を除けたり。イエス目を擧げて言ひたまふ『父よ、我にきき給ひしを謝す。
Ne baggyawo ejjinja. Awo Yesu n’atunula waggulu n’agamba nti, “Kitange nkwebaza olw’okumpulira.
42 常にきき給ふを我は知る。然るに斯く言ふは、傍らに立つ群衆の爲にして、汝の我を遣し給ひしことを之に信ぜしめんとてなり』
Mmanyi nti bulijjo ompulira, naye kino nkyogedde olw’abantu bano abayimiridde wano, balyoke bakkirize nti ggwe wantuma.”
43 斯く言ひてのち、聲 高く『ラザロよ、出で來れ』と呼はり給へば、
Bwe yamala okwogera bw’atyo, n’akoowoola mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Laazaalo fuluma.”
44 死にしもの布にて足と手とを卷かれたるまま出で來る、顏も手拭にて包まれたり。イエス『これを解きて往かしめよ』と言ひ給ふ。
Awo Laazaalo n’ava mu ntaana, ng’amagulu ge n’emikono bizingiddwa mu ngoye eziziikibwamu abafu, nga n’ekiremba kisibiddwa ku maaso ge. Yesu n’abagamba nti, “Mumusumulule atambule.”
45 かくてマリヤの許に來りて、イエスの爲し給ひし事を見たる多くのユダヤ人、かれを信じたりしが、
Bangi ku Bayudaaya abajja ne Maliyamu bwe baalaba Yesu ky’akoze ne bamukkiriza.
46 或 者はパリサイ人に往きて、イエスの爲し給ひし事を告げたり。
Naye abalala ne bagenda eri Abafalisaayo ne babategeeza Yesu kye yakola.
47 ここに祭司長・パリサイ人ら議會を開きて言ふ『われら如何に爲すべきか、此の人おほくの徴を行ふなり。
Awo bakabona abakulu n’Abafalisaayo ne batuuza olukiiko ne bagamba nti, “Tukole ki? Kubanga omuntu ono akola ebyamagero bingi.
48 もし彼をこのまま捨ておかば、人々みな彼を信ぜん、而してロマ人きたりて、我らの土地と國人とを奪はん』
Bwe tumuleka bw’atyo, abantu bonna bajja kumukkiriza bamugoberere, n’ekirivaamu Abaruumi bagenda kujja bazikirize ekifo ekitukuvu n’eggwanga lyaffe.”
49 その中の一人にて此の年の大 祭司なるカヤパ言ふ『なんぢら何をも知らず。
Awo omu ku bo, Kayaafa eyali Kabona Asinga Obukulu mu mwaka ogwo, n’abagamba nti, “Mmwe temuliiko kye mumanyi.
50 ひとりの人、民のために死にて、國人すべての滅びぬは、汝らの益なるを思はぬなり』
Temulaba nti kirungi omuntu omu afe, eggwanga lyonna lireme kuzikirira?”
51 これは己より云へるに非ず、この年の大 祭司なれば、イエスの國人のため、
Ekyo Kayaafa teyakyogera ku bubwe, wabula ye nga Kabona Asinga Obukulu, yayogera eby’obunnabbi nti Yesu yali anaatera okufiirira eggwanga,
52 又ただに國人の爲のみならず、散りたる神の子らを一つに集めん爲に死に給ふことを預言したるなり。
ate si ggwanga lyokka naye n’okukuŋŋaanya abaana ba Katonda abaasaasaana.
53 彼 等この日よりイエスを殺さんと議れり。
Okuva ku lunaku olwo abakulembeze b’Abayudaaya ne basala amagezi okutta Yesu.
54 されば此の後イエス顯にユダヤ人のなかを歩み給はず、此處を去りて、荒野にちかき處なるエフライムといふ町に往き、弟子たちと偕に其處に留りたまふ。
Noolwekyo, Yesu n’alekayo okutambula mu Buyudaaya mu lwatu, wabula n’avaayo n’alaga mu kifo ekiriraanye eddungu, mu kibuga ekiyitibwa Efulayimu, n’abeera eyo n’abayigirizwa be.
55 ユダヤ人の過越の祭 近づきたれば、多くの人々 身を潔めんとて、祭のまへに田舍よりエルサレムに上れり。
Embaga y’Abayudaaya ejjuukirirwako Okuyitako yali eneetera okutuuka, abantu bangi ne bava mu byalo ne bambuka e Yerusaalemi okukola omukolo ogw’okwetukuza ng’embaga tennatuuka.
56 彼らイエスをたづね、宮に立ちて互に言ふ『なんぢら如何に思ふか、彼は祭に來らぬか』
Bwe baali bakuŋŋaanidde mu Yeekaalu, ne banoonya Yesu, ne beebuuzaganya nti, “Mulowooza mutya? Yesu tajje ku mbaga?”
57 祭司長・パリサイ人らは、イエスを捕へんとて、その在處を知る者あらば、告げ出づべく預て命令したりしなり。
Bakabona abakulu n’Abafalisaayo baali balagidde nti, Omuntu yenna bw’amanya Yesu wali abategeeze, balyoke bamukwate.

< ヨハネの福音書 11 >