< ヘブル人への手紙 13 >
Mweyongere okwagalananga ng’abooluganda.
2 旅人の接待を忘るな、或 人これに由り、知らずして御使を舍したり。
Temwerabiranga kusembeza bagenyi, kubanga waliwo abaasembeza bamalayika nga tebagenderedde.
3 己も共に繋がるるごとく囚人を思へ、また己も肉體に在れば、苦しむ者を思へ。
Mujjukirenga abasibe abali mu kkomera, nga muli nga abaasibirwa awamu n’abo. Munakuwaliranga wamu nabo ababonyaabonyezebwa, kubanga nammwe muli mu mubiri.
4 凡ての人、婚姻のことを貴べ、また寢床を汚すな。神は淫行のもの、姦淫の者を審き給ふべければなり。
Obufumbo mubussangamu ekitiibwa n’ebirayiro byabwo, kubanga abakaba n’abenzi Katonda alibasalira omusango, ne gubasinga.
5 金を愛することなく、有てるものを以て足れりとせよ。主みづから『われ更に汝を去らず、汝を捨てじ』と言ひ給ひたればなり。
Mwewalenga omululu, bye mulina bibamalenga. Kubanga Katonda yagamba nti, “Sirikuleka era sirikwabulira n’akatono.”
6 然れば我ら心を強くして斯く言はん『主わが助主なり、我おそれじ。人われに何をなさん』と。
Kyetuva twogera n’obuvumu nti, “Mukama ye mubeezi wange, siityenga, omuntu ayinza kunkola ki?”
7 神の言を汝らに語りて汝らを導きし者どもを思へ、その行状の終を見てその信仰に效へ。
Mujjukirenga abakulembeze bammwe abaababuulira ekigambo kya Katonda, nga mutunuulira empisa zaabwe nga mugobereranga okukkiriza.
8 イエス・キリストは昨日も今日も永遠までも變り給ふことなし。 (aiōn )
Yesu Kristo nga bwe yali jjo, ne leero bw’ali era bw’aliba emirembe n’emirembe. (aiōn )
9 各樣の異なる教のために惑さるな。飮食によらず、恩惠によりて心を堅うするは善し、飮食によりて歩みたる者は益を得ざりき。
Temusendebwasendebwanga kuyigiriza okw’engeri ennyingi ezitamanyiddwa. Kubanga kirungi omutima okunywezebwa ekisa, so si mu byokulya ebitagasa abo ababirya.
10 我らに祭壇あり、幕屋に事ふる者は之より食する權を有たず。
Tulina ekyoto, abaweereza mu weema ey’Okukuŋŋaanirangamu kye batalina buyinza kuliirangako.
11 大 祭司、罪のために活物の血を携へて至 聖所に入り、その活物の體は陣營の外にて燒かるるなり。
Kabona Asinga Obukulu yatwalanga omusaayi gw’ebisolo, olw’ebibi, mu kifo ekitukuvu era n’ennyama yaabyo n’eyokerwa ebweru w’olusiisira.
12 この故にイエスも己が血をもて民を潔めんが爲に、門の外にて苦難を受け給へり。
Noolwekyo ne Yesu kyeyava abonaabonera era n’afiira ebweru w’ekibuga alyoke atutukuze n’omusaayi gwe ye.
13 されば我らは彼の恥を負ひ、陣營より出でてその御許に往くべし。
Kale naffe tufulume tulage gy’ali ebweru w’olusiisira nga twetisse ekivume kye.
14 われら此處には永遠の都なくして、ただ來らんとする者を求むればなり。
Kubanga wano ku nsi tetulinaawo kibuga kya lubeerera, wabula tulindirira ekyo ekijja.
15 此の故に我らイエスによりて常に讃美の供物を神に献ぐべし、乃ちその御名を頌むる口唇の果なり。
Kale mu Yesu tuweerayo bulijjo ssaddaaka ey’okutendereza Katonda, kye kirabo eky’emimwa, nga twatula erinnya lye.
16 かつ仁慈と施濟とを忘るな、神は斯くのごとき供物を喜びたまふ。
Temwerabiranga kukola bulungi n’okugabananga; kubanga ssaddaaka eziri ng’ezo Katonda zimusanyusa.
17 汝らを導く者に順ひ之に服せよ。彼らは己が事を神に陳ぶべき者なれば、汝らの靈魂のために目を覺しをるなり。彼らを歎かせず、喜びて斯く爲さしめよ、然らずば汝らに益なかるべし。
Muwulirenga abakulembeze bammwe era mubagonderenga, kubanga obuweereza bwabwe kwe kulabirira emyoyo gyammwe, balyoke bakikole n’essanyu nga tebeemulugunya. Kubanga bwe babeemulugunyiza tekibagasa mmwe.
18 我らの爲に祈れ、我らは善き良心ありて凡てのこと正しく行はんと欲するを信ずるなり。
Mutusabirenga, kubanga tumanyidde ddala nga tulina omwoyo mulungi, era twagala okukolanga obulungi mu buli kimu.
19 われ速かに汝らに歸ることを得んために、汝らの祈らんことを殊に求む。
Era okusinga ennyo mbeegayirira munsabire ndyoke nkomewo mangu gye muli.
20 願はくは永遠の契約の血によりて、羊の大牧者となれる我らの主イエスを、死人の中より引上げ給ひし平和の神、 (aiōnios )
Kale, Katonda ow’emirembe eyazuukiza Mukama waffe Yesu, Omusumba w’endiga omukulu ow’endagaano etaggwaawo gye yanyweza n’omusaayi gwe, (aiōnios )
21 その悦びたまふ所を、イエス・キリストに由りて我らの衷に行ひ、御意を行はしめん爲に凡ての善き事につきて、汝らを全うし給はんことを。世々 限りなく榮光、かれに在れ、アァメン。 (aiōn )
abawe buli kirungi kyonna kye mwetaaga okubasobozesa okukola by’ayagala, era atukozese ebisiimibwa mu maaso ge ng’ayita mu Yesu Kristo. Aweebwenga ekitiibwa emirembe n’emirembe. Amiina. (aiōn )
22 兄弟よ、請ふ我が勸の言を容れよ、我なんじらに手短く書き贈りたるなり。
Kaakano mbakuutira abooluganda, mugumiikirizenga ebibabuulirirwa, kubanga mbawandiikidde mu bigambo bitono.
23 なんじら知れ、我らの兄弟テモテは釋されたり。彼もし速かに來らば、我かれと偕に汝らを見ん。
Mbategeeza nti muganda waffe Timoseewo yateebwa, bw’alijja amangu, ndijja naye eyo okubalaba.
24 汝らの凡ての導く者、および凡ての聖徒に安否を問へ。イタリヤの人々、なんぢらに安否を問ふ。
Mulamuse abakulembeze bammwe era n’abakkiriza bonna. Ab’omu Italiya babalamusizza.
Ekisa kibeerenga nammwe mwenna.