< ガラテヤ人への手紙 2 >
1 その後 十四年を歴て、バルナバと共にテトスをも連れて、復エルサレムに上れり。
Bwe waayitawo emyaka kkumi n’ena ne nzirayo ne Balunabba ne Tito e Yerusaalemi.
2 我が上りしは默示に因りてなり。かくて異邦人の中に宣ぶる福音を彼らに告げ、また名ある者どもに私に告げたり、これは我が走ること、又すでに走りしことの空しからざらん爲なり。
Nagendayo olw’okubikulirwa kwe nafuna, ne mbanjulira Enjiri gye mbuulira Abaamawanga. Nayogera n’abakulembeze b’Ekkanisa mu kyama balyoke bategeere bye njigiriza, si kulwa nga nteganira bwereere, ne bakkiriza nti bituufu.
3 而して我と偕なるギリシヤ人テトスすら割禮を強ひられざりき。
Tito gwe nnali naye ne batamuwaliriza kukomolebwa, newaakubadde nga yali munnaggwanga.
4 これ私に入りたる僞 兄弟あるに因りてなり。彼らの忍び入りたるは、我らがキリスト・イエスに在りて有てる自由を窺ひ、且われらを奴隷とせん爲なり。
Naye olw’abooluganda ab’obulimba abaayingizibwa mu kyama okuketta eddembe lye tulina mu Kristo Yesu, balyoke batufuule abaddu,
5 然れど福音の眞理の汝らの中に留らんために、我ら一 時も彼らに讓り從はざりき。
abo tetwabawuliriza essaawa n’emu, amazima g’enjiri galyoke geeyongerenga mu mmwe.
6 然るに、かの名ある者どもより――彼らは如何なる人なるにもせよ、我には關係なし、神は人の外面を取り給はず――實にかの名ある者どもは我に何をも加へず、
Naye abo abaabalibwa ng’okuba ekintu eky’omuwendo, abataaliko bwe baali gye ndi kubanga Katonda tasosola mu bantu, nze gye ndi tebalina kye bannyongerako,
7 反つてペテロが割禮ある者に對する福音を委ねられたる如く、我が割禮なき者に對する福音を委ねられたるを認め、
naye mu ngeri endala bwe baalaba nga nateresebwa Enjiri ey’abatali bakomole, nga Peetero bwe yateresebwa ey’abakomole,
8 (ペテロに能力を與へて割禮ある者の使徒となし給ひし者は、我にも異邦人のために能力を與へ給へり)
oyo eyakolera mu Peetero olw’obutume bw’abakomole, ye yakolera ne mu nze ku lw’Abaamawanga.
9 また我に賜はりたる恩惠をさとりて、柱と思はるるヤコブ、ケパ、ヨハネは、交誼の印として我とバルナバとに握手せり。これは我らが異邦人にゆき、彼らが割禮ある者に往かん爲なり。
Yakobo ne Keefa ne Yokaana abaalabikanga ng’empagi bwe baalaba ekisa ekya mpeebwa, ne batukwata mu ngalo eza ddyo nze ne Balunabba nga bassa kimu naffe nti ffe tubeere mu Bamawanga, naye bo babeere mu b’abakomole.
10 唯その願ふところは我らが貧しき者を顧みんことなり、我も固より此の事を勵みて行へり。
Kye baatusaba kyokka tujjukirenga abaavu, ate ng’ekyo kye nnali nesunga okukola.
11 されどケパがアンテオケに來りしとき、責むべき事のありしをもて面前これと諍ひたり。
Naye Peetero ate era nga ye Keefa, bwe yajja mu Antiyokiya ne mmunenya mu lwatu kubanga yali mukyamu.
12 その故はある人々のヤコブの許より來るまでは、かれ異邦人と共に食しゐたるに、かの人々の來りてよりは、割禮ある者どもを恐れ、退きて異邦人と別れたり。
Kubanga abaava eri Yakobo bwe baali tebannajja, yalyanga n’Abamawanga, naye bwe bajja n’atandika okubeeyawulako ng’atya abakomole.
13 他のユダヤ人も彼とともに僞行をなし、バルナバまでもその僞行に誘はれゆけり。
Abayudaaya abalala bonna ne bamwegattako mu bukuusa, ekyo ne kireetera ne Balunabba okusendebwasendebwa obukuusa bwabwe.
14 されど我かれらが福音の眞理に循ひて正しく歩まざるを見て、會衆の前にてケパに言ふ『なんぢユダヤ人なるにユダヤ人の如くせず、異邦人のごとく生活せば、何ぞ強ひて異邦人をユダヤ人の如くならしめんとするか』
Naye bwe nalaba nga tebatambula bulungi ng’amazima g’enjiri bwe gali, ne ŋŋamba Keefa mu maaso gaabwe bonna nti, “Obanga ggwe Omuyudaaya ogoberera empisa z’Abamawanga ezitali za Kiyudaaya, owaliriza otya Abaamawanga okugobereranga empisa z’Ekiyudaaya?”
15 我らは生來のユダヤ人にして、罪人なる異邦人にあらざれども、
Ffe mu buzaaliranwa tuli Bayudaaya so si Bamawanga aboonoonyi.
16 人の義とせらるるは律法の行爲に由らず、唯キリスト・イエスを信ずる信仰に由るを知りて、キリスト・イエスを信じたり。これ律法の行爲に由らず、キリストを信ずる信仰によりて義とせられん爲なり。律法の行爲によりては義とせらるる者 一人だになし。
Kyokka tukimanyi bulungi nti omuntu taweebwa butuukirivu lwa kugondera mateeka, wabula abufuna lwa kukkiriza Yesu Kristo, era naffe kyetwava tukkiriza Yesu Kristo tulyoke tuweebwe obutuukirivu olw’okumukkiriza so si lwa kugondera mateeka. Kubanga tewali n’omu aliweebwa obutuukirivu olw’ebikolwa eby’amateeka.
17 若しキリストに在りて義とせららんことを求めて、なほ罪人と認められなば、キリストは罪の役者なるか、決して然らず。
Naye oba nga bwe twanoonya okuweebwa obutuukirivu mu Kristo twasangibwa okuba aboonoonyi, kitegeeza nti Kristo muweereza wa kibi? Kikafuuwe.
18 我もし前に毀ちしものを再び建てなば、己みづから犯罪者たるを表す。
Kubanga bwe nzimba nate bye nazikiriza, nneeraga nzekka okuba omwonoonyi.
19 我は神に生きんために、律法によりて律法に死にたり。
Kubanga olw’amateeka nnafa eri mateeka, ndyoke mbeere omulamu mu Katonda. Nakomererwa wamu ne Kristo;
20 我キリストと偕に十字架につけられたり。最早われ生くるにあらず、キリスト我が内に在りて生くるなり。今われ肉體に在りて生くるは、我を愛して我がために己が身を捨て給ひし神の子を信ずるに由りて生くるなり。
kyokka ndi mulamu, si ku bwange, wabula ku bwa Kristo abeera mu nze; era obulamu bwe nnina kaakano mu mubiri, mbulina lwa kukkiriza Omwana wa Katonda, eyanjagala ne yeewaayo yekka ku lwange.
21 我は神の恩惠を空しくせず、もし義とせらるること律法に由らば、キリストの死に給へるは徒然なり。
Ssidibya kisa kya Katonda; naye oba nga obutuukirivu buva mu mateeka, nga Kristo yafiira bwereere.