< 使徒の働き 18 >

1 この後パウロ、アテネを離れてコリントに到り、
Oluvannyuma lw’ebyo, Pawulo n’asitula okuva mu Asene n’alaga mu Kkolinso.
2 アクラと云ふポントに生れたるユダヤ人に遇ふ。クラウデオ、ユダヤ人にことごとくロマを退くべき命を下したるによりて、近頃その妻プリスキラと共にイタリヤより來りし者なり。
Eyo gye yasisinkana omusajja Omuyudaaya erinnya lye Akula, eyazaalibwa mu Ponto, nga yaakava mu ltaliya ne mukazi we Pulisikira, kubanga Kulawudiyo yali awadde ekiragiro okugoba Abayudaaya bonna mu Ruumi.
3 パウロ其の許に到りしに、同業なりしかば偕に居りて工をなせり。彼らの業は幕屋 製造なり。
Olw’okuba nga baali bakola omulimu gwe gumu ogw’okukola weema, n’abeeranga nabo, era n’akolanga nabo.
4 かくて安息 日 毎に會堂にて論じ、ユダヤ人とギリシヤ人とを勸む。
Buli lwa Ssabbiiti Pawulo yabeeranga mu kkuŋŋaaniro ng’amatiza Abayudaaya n’Abayonaani.
5 シラスとテモテとマケドニヤより來りて後は、パウロ專ら御言を宣ぶることに力め、イエスのキリストたることをユダヤ人に證せり。
Era Siira ne Timoseewo bwe baatuuka nga bava mu Makedoniya, Pawulo n’awaayo ekiseera kye kyonna mu kubuulira Ekigambo n’okukakasa Abayudaaya nti Yesu ye Kristo.
6 然るに、彼ら之に逆ひかつ罵りたれば、パウロ衣を拂ひて言ふ『なんぢらの血は汝らの首に歸すべし、我はいさぎよし、今より異邦人に往かん』
Naye Abayudaaya bwe baatandika okumuwakanya, era n’okuvvoola erinnya lya Yesu, n’akunkumula ebyambalo bye, n’abagamba nti, “Omusaayi gwammwe gubeere ku mitwe gyammwe! Nze ndi mulongoofu. Okuva kaakano nnaagendanga eri Abaamawanga.”
7 遂に此處を去りて、神を敬ふテテオ・ユストと云ふ人の家に到る。この家は會堂に隣れり。
Awo Pawulo n’ava eyo n’alaga mu nnyumba ya Tito Yusito, eyasinzanga Katonda, ng’amaka ge galiraanye n’ekkuŋŋaaniro.
8 會堂 司クリスポその家族 一同と共に主を信じ、また多くのコリント人も聽きて信じ、かつバプテスマを受けたり。
Kulisupo, eyali omukulu w’ekkuŋŋaaniro, n’ennyumba ye yonna, ne bakkiriza Mukama waffe, n’abalala bangi ku Bakkolinso abaawulira ne bakkiriza era ne babatizibwa.
9 主は夜まぼろしの中にパウロに言ひ給ふ『おそるな、語れ、默すな、
Awo ekiro kimu Mukama n’ayogera ne Pawulo mu kwolesebwa, n’amugamba nti, “Totya! Weeyongere okubuulira, so tosirika!
10 我なんぢと偕にあり、誰も汝を攻めて害ふ者なからん。此の町には多くの我が民あり』
Kubanga ndi wamu naawe, tewali ayinza kukulumba n’akukola kabi. Era mu kibuga muno mulimu abantu bange bangi.”
11 かくてパウロ一年 六个月ここに留りて神の言を教へたり。
Bw’atyo Pawulo n’abeerayo ebbanga lya mwaka mulamba n’ekitundu ng’ayigiriza ekigambo kya Katonda.
12 ガリオ、アカヤの總督たる時、ユダヤ人、心を一つにしてパウロを攻め、審判の座に曳きゆき、
Naye Galiyo bwe yalya obwagavana bwa Akaya, Abayudaaya ne beegatta wamu ne balumba Pawulo, ne bamukwata ne bamutwala mu mbuga z’amateeka ewa gavana okumusalira omusango.
13 『この人は律法にかなはぬ仕方にて神を拜むことを人に勸む』と言ひたれば、
Ne bamuwawaabira nti, “Omusajja ono asendasenda abantu okusinza Katonda mu ngeri etakkirizibwa mu mateeka.”
14 パウロ口を開かんとせしに、ガリオ、ユダヤ人に言ふ『ユダヤ人よ、不正または奸惡の事ならば、我が汝らに聽くは道理なれど、
Naye Pawulo bwe yali ng’atandika okuwoza, Galiyo n’akyukira Abayudaaya abaawaaba n’abagamba nti, “Muwulire, mmwe Abayudaaya. Singa omusango guno gubadde gumenya mateeka, nandibadde nteekwa okubawuliriza.
15 もし言・名あるいは汝らの律法にかかはる問題ならば、汝 等みづから理むべし。我かかる事の審判 人となるを好まず』
Naye ensonga zammwe nga bwe zifa ku nkozesa y’ebigambo n’amannya, era nga zikwata ku mateeka gammwe, kirungi mmwe muzeemalire. Nze saagala kusala musango gw’ebyo.”
16 かくて彼らを審判の座より逐ひいだす。
Bw’atyo n’abagoba mu mbuga z’amateeka.
17 ここに人々みな會堂 司ソステネを執へ、審判の座の前にて打ち抃きたり。ガリオは凡て此らの事を意とせざりき。
Awo bonna ne bakyukira Sossene, eyali omukulembeze omuggya ow’ekkuŋŋaaniro, ne bamukwata, ne bamukubira awo mu maaso g’embuga z’amateeka. Kyokka Galiyo teyabafaako.
18 パウロなほ久しく留りてのち、兄弟たちに別を告げ、プリスキラとアクラとを伴ひ、シリヤに向ひて船出す。早くより誓願ありたれば、ケンクレヤにて髮を剃れり。
Pawulo n’amala mu kibuga omwo ennaku eziwerako, oluvannyuma n’asiibula abooluganda n’asaabala ku nnyanja n’agenda e Siriya, ng’atutte Pulisikira ne Akula. Naye yali tannasaabala, enviiri ze ne bazisalirako e Kenkereya olw’obweyamo bwe yali akoze.
19 かくてエペソに著き、其處にこの二人を留めおき、自らは會堂に入りてユダヤ人と論ず。
Bwe baatuuka mu Efeso, banne n’abaleka awo n’agenda n’akubaganya ebirowoozo n’Abayudaaya mu kkuŋŋaaniro.
20 人々かれに今しばらく居らんことを請ひたれど、肯んぜずして、
Ne bamusaba abeere nabo ennaku eziwerako, naye n’atakkiriza.
21 別を告げ『神の御意ならば復なんぢらに返らん』と言ひてエペソより船出し、
N’abagamba nti, “Nsaana okugenda ndyoke nsobole okubaawo ku mbaga ejja mu Yerusaalemi.” Kyokka n’abasuubiza nti agenda kukomawo mu Efeso nga Katonda amukkirizza. Bw’atyo n’asaabala ku nnyanja okuva mu Efeso.
22 カイザリヤにつき、而してエルサレムに上り、教會の安否を問ひてアンテオケに下り、
Pawulo bwe yagoba mu Kayisaliya, n’akyalira Ekkanisa n’oluvannyuma n’aserengeta mu Antiyokiya.
23 此處に暫く留りて後、また去りてガラテヤ、フルギヤの地を次々に經て凡ての弟子を堅うせり。
Eyo n’amalayo ekiseera, n’asitula n’atambula n’ayitaayita mu bibuga ebiri mu bitundu bya Ggalatiya ne Fulugiya, ng’akyalira abayigirizwa bonna ng’abanyweza mu kukkiriza.
24 時にアレキサンデリヤ生れのユダヤ人にて、聖書に通達したるアポロと云ふ能辯なる者エペソに下る。
Waaliwo Omuyudaaya erinnya lye Apolo, nga yazaalibwa mu Alegezanderiya eky’omu Misiri, n’atuuka mu Efeso. Yali musajja muyigirize nnyo, era ng’amanyi nnyo Ebyawandiikibwa.
25 この人は曩に主の道を教へられ、ただヨハネのバプテスマを知るのみなれど、熱心にして詳細にイエスの事を語り、かつ教へたり。
Yali ayigirizibbwa Ekkubo lya Mukama, nga w’amaanyi mu mwoyo, era yayogeranga n’ayigiriza bulungi byonna ebifa ku Yesu, wabula ng’amanyi kubatizibwa kwa Yokaana kwokka.
26 かれ會堂にて臆せずして語り始めしを、プリスキラとアクラと聞きゐて之を迎へ入れ、なほも詳細に神の道を解き明せり。
N’atandika okubuulira n’obuvumu mu kkuŋŋaaniro. Awo Pulisikira ne Akula bwe baamuwulira, ne bamuyita mu maka gaabwe ne bamunnyonnyola bingi eby’Ekkubo lya Katonda.
27 アポロ遂にアカヤに渡らんとしたれば、兄弟たち之を勵まし、かつ弟子たちに彼を受け容るるやうに書き贈れり。彼かしこに往き、既に恩惠によりて信じたる者に多くの益を與ふ。
Awo Apolo n’ayagala okuwunguka agende mu Akaya mu Buyonaani, n’abooluganda ne bamuwagira nnyo mu kirowoozo ekyo. Ne bawandiikira bannaabwe abakkiriza mu Buyonaani bamwanirize n’essanyu. Era bwe yatuuka mu Buyonaani, Katonda n’amukozesa nnyo mu kunyweza Ekkanisa,
28 即ち聖書に基き、イエスのキリストたる事を示して、激甚くかつ公然にユダヤ人を言ひ伏せたるなり。
kubanga yasambajja n’amaanyi mangi ensonga Abayudaaya ze baaleetanga nga bawakanya Enjiri mu bantu, n’asinziiranga mu Byawandiikibwa okulaga nti ddala Yesu ye Kristo.

< 使徒の働き 18 >