< 列王記Ⅱ 8 >

1 エリシヤ甞てその子を甦へらせて與へし婦に言しことあり曰く汝起て汝の家族とともに往き汝の寄寓んとおもふ處に寄寓れ其はヱホバ饑饉を呼くだしたまひたれば七年の間この地に臨むべければなりと
Mu biro ebyo Erisa n’agamba omukazi gwe yazuukiriza mutabani we nti, “Golokoka ove wano ogende n’ab’omu nnyumba yo bonna mu nsi gy’oliyinza okubeeramu, kubanga Mukama alireeta ekyeeya mu nsi okumala emyaka musanvu.”
2 是をもて婦起て神の人の言のごとくに爲しその家族とともに往てペリシテ人の地に七年寄寓ぬ
Omukazi n’asitukiramu n’akola ng’omusajja wa Katonda bwe yayogera, n’alaga ye n’ab’omu nnyumba ye mu nsi y’Abafirisuuti okumala emyaka musanvu.
3 かくて七年を經て後婦人ペリシテ人の地より歸りしが自己の家と田畝のために王に呼もとめんとて往り
Oluvannyuma lw’emyaka omusanvu, n’akomawo okuva mu nsi y’Abafirisuuti, n’alaga eri kabaka okumwegayirira addizibwe ekibanja kye n’ennyumba ye.
4 時に王は神の人の僕ゲハジにむかひ請ふエリシヤが爲し諸の大なる事等を我に告よと言てこれと談話をる
Mu kiseera ekyo kye kimu kabaka yali anyumyamu ne Gekazi omuweereza w’omusajja wa Katonda, nga kabaka amugambye nti, “Ntegeeza ebintu ebikulu byonna Erisa by’akoze.”
5 即ち彼エリシヤが死人を甦らせしことを王にものがたりをる時にその子を彼が甦らせし婦自己の家と田畝のために王に呼もとめければゲハジ言ふわが主王よ是すなはちその婦人なり是すなはちエリシヤが甦らせしその子なり
Awo Gekazi bwe yali ng’akyanyumiza kabaka, engeri Erisa bwe yazuukiza abafu, omukazi eyali ne mutabani we, Erisa gwe yazuukiza n’atuuka, okwegayirira kabaka ng’asaba ekibanja kye n’ennyumba ye. Gekazi n’ayogera nti, “Mukama wange kabaka, ono ye mukazi, era ne mutabani we Erisa gwe yazuukiza y’oyo.”
6 王すなはちその婦に尋ねけるにこれを陳たれば王彼のために一人の官吏を派出して言ふ凡て彼に屬する物並に彼がこの地を去し日より今にいたるまでの其田畝の產出物を悉く彼に還せよと
Awo kabaka bwe yabuuza omukazi, n’amutegeeza nti bwe kyali. N’alyoka alagira omu ku bakungu amutereereze ensonga ze; n’amugamba nti, “Muddize buli kintu kyonna ekikye, n’obusuulu bwonna obwa kuŋŋaanyizibwa okuva mu kibanja kye okuva ku lunaku lwe yakivaamu okutuusa kaakano.”
7 エリシヤ、ダマスコに至れる事あり時にスリアの王ベネハダデ病にかかりをりしがこれにつげて神の人此にきたると言ふ者ありければ
Erisa n’agenda e Ddamasiko n’asanga Benikadadi kabaka w’e Busuuli ng’alwadde. Kabaka bwe yategeezebwa nti, “Omusajja wa Katonda atuuse mu kitundu,”
8 王ハザエルに言ふ汝手に禮物をとり往て神の人を迎へ彼によりてヱホバに吾この病は愈るやと言て問へ
n’agamba Kazayeeri nti, “Ffuna ekirabo, ogende osisinkane omusajja wa Katonda, weebuuze ku Mukama ng’oyita mu ye oba, ndiwona endwadde eno.”
9 是においてハザエルかれを迎へんとて出往きダマスコのもろもろの佳物駱駝に四十駄を禮物に携へて到りて彼の前に立ち曰けるは汝の子スリアの王ベネハダデ我を汝につかはして吾この病は愈るやと言しむ
Kazayeeri n’agenda okusisinkana Erisa, n’amutwalira n’ebirabo eby’engeri zonna okuva e Ddamasiko, ku ŋŋamira amakumi ana. N’agenda n’ayimirira mu maaso ge, n’amugamba nti, “Mutabani wo Benikadadi kabaka w’e Busuuli antumye okukubuuza nti, ‘Ndiwona endwadde eno?’”
10 エリシヤかれに言けるは往てかれに汝はかならず愈べしと告よ但しヱホバかれはかならず死んと我にしめしたまふなり
Erisa n’amuddamu nti, “Genda omutegeeze nti, ‘Ojja kuwona;’ naye Mukama akimbikulidde nti talirema kufa.”
11 而して神の人瞳子をさだめて彼の羞るまでに見つめ乃て哭いでたれば
N’amutunuulira n’amaaso ag’enkaliriza, okutuusa Kazayeeri bwe yakwatibwa ensonyi, omusajja wa Katonda n’atandika okukaaba.
12 ハザエルわが主よ何て哭たまふやと言ふにエリシヤ答へけるは我汝がイスラエルの子孫になさんところの害惡を知ばなり即ち汝は彼等の城に火をかけ壯年の人を劍にころし子等を挫ぎ孕女を刳ん
Kazayeeri n’abuuza nti, “Kiki ekikaabya mukama wange?” Erisa n’amuddamu nti, “Kubanga mmanyi obubi bw’olikola Abayisirayiri; olikuma omuliro ku bigo byabwe, n’otta abavubuka baabwe n’ekitala, n’osesebbulira abaana abato ku ttaka, era n’obaaga n’abakyala abali embuto.”
13 ハザエル言けるは汝の僕は犬なるか何ぞ斯る大なる事をなさんエリシヤ答へけるはヱホバ我にしめしたまふ汝はスリアの王となるにいたらん
Awo Kazayeeri n’addamu nti, “Nze ani omuddu wo, embwa obubwa, ayinza okukola ekintu ng’ekyo?” Erisa n’amuddamu nti, “Mukama akimbikulidde nti ggwe ogenda okubeera kabaka w’e Busuuli.”
14 斯て彼エリシヤを離れて去てその主君にいたるにエリシヤは汝に何と言しやと尋ければ答へて彼汝はかならず愈るあらんと我に告たりと言ふ
Awo n’ava mu maaso ga Erisa, n’addayo eri mukama we. Benikadadi n’amubuuza nti, “Erisa yakugambye ki?” Kazayeeri n’amuddamu nti, “Yaŋŋambye nti eky’amazima ojja kuwona.”
15 翌日にいたりてハザエル粗き布をとりて水に浸しこれをもて王の面を覆ひたれば死りハザエルすなはち之にかはりて王となる
Naye olunaku olwaddirira, enkeera, n’addira ekiwero ekinene, n’akinnyika mu mazzi, n’akibikka ku maaso ga kabaka, okutuusa bwe yafa. N’oluvannyuma Kazayeeri n’alya obwakabaka mu kifo kye.
16 イスラエルの王アハブの子ヨラムの五年にはヨシヤパテ尚ユダの王たりき此年にユダの王ヨシヤバテの子ヨラム位に即り
Mu mwaka ogwokutaano nga Yolaamu mutabani wa Akabu ye kabaka wa Isirayiri, Yekolaamu mutabani wa Yekosafaati, kabaka wa Yuda, n’atandika okufuga Yuda.
17 彼は位に即し時三十二歳にして八年の間エルサレムにて世を治めたり
Yalina emyaka amakumi asatu mu ebiri, we yaliira obwakabaka, era n’afugira emyaka munaana mu Yerusaalemi.
18 彼はアハブの家のなせるがごとくにイスラエルの王等の道を行へりアハブの女かれの妻なりければなり斯彼はヱホバの目の前に惡をなせしかども
Yekolaamu n’atambulira mu makubo ga bassekabaka ba Isirayiri ng’ab’ennyumba ya Akabu bwe baakola, n’okuwasa n’awasa omu ku bawala ba Akabu. N’akola ebibi mu maaso ga Mukama.
19 ヱホバその僕ダビデのためにユダを滅すことを好みたまはざりき即ち彼にその子孫によりて恒に光明を與んと言たまひしがごとし
Naye Mukama n’atazikiriza Yuda, ku lwa Dawudi omuddu we, gwe yasuubiza nti alireka ettabaaza ye ng’eyaka n’okutuusa ku bazzukulu be emirembe gyonna.
20 ヨラムの代にエドム叛きてユダの手に服せず自ら王を立たれば
Mu mirembe gya Yekolaamu, Edomu ne bajeemera obufuzi bwa Yuda, ne bassaawo kabaka owaabwe.
21 ヨラムその一切の戰車をしたがへてザイルに渉りしが遂に夜の中に起あがりて自己を圍めるエドム人を撃ちその戰車の長等を撃り斯して民はその天幕に逃ゆきぬ
Awo Yekolaamu n’asomoka n’agenda e Zayiri n’amagaali ge, n’agolokoka mu kiro n’abaduumizi be ne batta Abayedomu abaali bamuzingizza, olwo eggye lye ne lidduka okuddayo ewaabwe.
22 エドムは斯叛きてユダの手に服せずなりしが今日まで然り此時にあたりてリブナもまた叛けり
Okuva mu kiseera ekyo Edomu n’ajeemera obufuzi bwa Yuda n’okutuusa ku lunaku lwa leero. Mu kiseera kye kimu ab’e Libuna nabo ne bajeema.
23 ヨラムのその餘の行爲およびその凡て爲たる事等はユダの王の歴代志の書に記さるるにあらずや
Ebyafaayo ebirala ebyabaawo ku mulembe gwa Yekolaamu, ne bye yakola byonna, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Yuda?
24 ヨラムその先祖等とともに寝りてダビデの邑にその先祖たちと同じく葬られその子アハジアこれに代りて王となれり
Yekolaamu n’afa n’aziikibwa ku biggya bya bajjajjaabe mu kibuga kya Dawudi. Akaziya mutabani we n’amusikira.
25 イスラエルの王アハブの子ヨラムの十二年にユダの王ヨラムの子アハジア位に即り
Mu mwaka ogw’ekkumi n’ebiri nga Yolaamu mutabani wa Akabu ye kabaka wa Isirayiri, Akaziya mutabani wa Yekolaamu kabaka wa Yuda, n’atandika okufuga Yuda.
26 アハジアは位に即し時二十二歳にしてエルサレムにて一年世を治めたりその母はイスラエルの王オムリの孫女にして名をアタリヤといふ
Akaziya yalina emyaka amakumi abiri mu ebiri we yaliira obwakabaka, n’afugira omwaka gumu mu Yerusaalemi. Erinnya lya nnyina ye yali Asaliya, muzzukulu wa Omuli kabaka wa Isirayiri.
27 アハジアはアハブの家の道にあゆみアハブの家のごとくにヱホバの目の前に惡をなせり是かれはアハブの家の婿なりければなり
N’atambulira mu makubo ga b’ennyumba ya Akabu n’akola ebibi mu maaso ga Mukama, ng’ab’omu nnyumba ya Akabu bwe baakola, kubanga yali mukoddomi wa nnyumba ya Akabu.
28 茲にアハブの子ヨラム自身ゆきてスリアの王ハザエルとギレアデのラモテに戰ひけるがスリア人等ヨラムに傷を負せたり
Akaziya n’agenda ne Yolaamu mutabani wa Akabu okutabaala Kazayeeri kabaka w’e Busuuli e Lamosugireyaadi, era eyo Abasuuli ne bafumitirayo Yolaamu, n’afunirayo ebiwundu.
29 是に於てヨラム王はそのスリアの王ハザエルと戰ふにあたりてラマに於てスリア人に負せられたるところの傷を療さんとてヱズレルに歸れりユダの王ヨラムの子アハジアはアハブの子ヨラムが病をるをもてヱズレルに下りて之を訪ふ
Awo kabaka Yolaamu n’addayo e Yezuleeri okumujjanjaba ebiwundu Abasuuli bye baamuleetako ng’ali e Lama, bwe yali ng’alwanagana ne Kazayeeri kabaka w’e Busuuli. Akaziya mutabani wa Yekolaamu kabaka wa Yuda n’aserengeta e Yezuleeri okulaba ku Yolaamu mutabani wa Akabu, kubanga yali afumitiddwa ebiwundu.

< 列王記Ⅱ 8 >