< 列王記Ⅱ 10 >

1 アハブ、サマリヤに七十人の子あり茲にヱヒウ書をしたためてサマリヤにおくり邑の牧伯等と長老等とアハブの子等の師傳等とに傳へて云ふ
Mu Samaliya waaliyo batabani ba Akabu nsanvu. Awo Yeeku n’awandiika amabaluwa n’agaweereza e Samaliya eri abakungu b’e Yezuleeri, n’eri abakadde ab’ekibuga, n’eri abakuza b’abaana ba Akabu. N’awandiika nti,
2 汝らの主の子等汝らとともにあり又汝等は車も馬も城もあり且武器もあれば此書汝らの許にいたらば
“Amangwago ng’ebbaluwa eno ebatuuseeko, ng’abaana ba mukama wammwe bwe bali nammwe, ate nga mulina amagaali n’embalaasi, era n’ekibuga kiriko enkomera n’ebyokulwanyisa,
3 汝らの主の子等の中より最も優れる方正き者を選みだ出してその父の位に置ゑ汝等の主の家のために戰へよ
mulonde ku batabani ba mukama wammwe asinga obulungi, ng’asaanira, mumuteeke ku ntebe ey’obwakabaka eya kitaawe, mulwanirire ennyumba ya mukama wammwe.”
4 彼ら大に恐れて言ふ二人の王等すでに彼に當ることを得ざりしなれば我儕いかでか當ることを得んと
Naye ekyo ne bakitya nnyo, ne boogera nti, “Obanga bakabaka ababiri tebaayinza kumwesimbamu, ffe tunaayinza tutya?”
5 乃ち家宰邑宰長老師傳等ヱヒウに言おくりけるは我儕は汝の僕なり凡て汝が我儕に命ずる事を爲ん我儕は王を立るを好まず汝の目に善と見ゆる所を爲せ
Awo eyavunaanyizibwanga ebyolubiri, n’omukulembeze ow’ekibuga, n’abakuza ab’abaana ne baweereza obubaka eri Yeeku nti, “Ffe tuli baddu bo era tunaakola byonna by’onootulagira. Tetujja kufuula muntu n’omu kabaka; gw’oba okola ky’olowooza nga kye kisinga obulungi.”
6 是においてヱヒウ再度かれらに書をおくりて云ふ汝らもし我に與き我言にしたがふならば汝らの主の子なる人々の首をとりて明日の今頃ヱズレルにきたりて吾許にいたれと當時王の子七十人はその師傳なる邑の貴人等とともに居る
Awo Yeeku n’abawandiikira ebbaluwa eyookubiri ng’agamba nti, “Obanga muli ku lwange era nga muŋŋondera, mutemeeko emitwe gy’abatabani ba mukama wammwe, mugindetere e Yezuleeri, mugintuseeko enkya mu kiseera nga kino.” Abalangira ensanvu baabeeranga n’abakuza baabwe abaali abaami abakulu mu kibuga ekyo.
7 その書かれらに至りしかば彼等王の子等をとらへてその七十人をことごとく殺しその首を籃につめてこれをヱズレルのヱヒウの許につかはせり
Ebbaluwa bwe yabatuukako, ne bakwata abalangira ensanvu bonna ne babatta, ne bateeka emitwe gyabwe mu bisero, mwe baagiweerereza eri Yeeku e Yezuleeri.
8 すなはち使者いたりてヱヒウに告て人衆王の子等の首をたづさへ來れりと言ければ明朝までそれを門の入口に二山に積おけと言り
Omubaka n’agenda n’agamba Yeeku nti, “Emitwe gy’abalangira bagireese.” Yeeku n’alagira nti, “Mugituume entuumo bbiri ku mulyango gwa wankaaki okutuusa enkya.”
9 朝におよび彼出て立ちすべての民に言ふ汝等は義し我はわが主にそむきて之を弑したり然ど此すべての者等を殺せしは誰なるぞや
Yeeku n’afuluma, n’ayimirira mu maaso g’abantu bonna n’ayogera nti, “Mmwe temuliiko musango, era nze nasalira mukama wange olukwe ne mutta, naye ani asse bano bonna?
10 然ば汝等知れヱホバがアハブの家につきて告たまひしヱホバの言は一も地に隕ず即ちヱホバはその僕エリヤによりて告し事を成たまへりと
Kale mukitegeere nga tewali kigambo kya Mukama, kye yayogera ku nnyumba ya Akabu ekitalituukirira, kubanga Mukama akoze ekyo kye yayogerera mu muddu we Eriya.”
11 斯てヱヒウはアハブの家に屬する者のヱズレルに遺れるを盡く殺しまたその一切の重立たる者その親き者およびその祭司等を殺して彼に屬する者を一人も遺さざりき
Bw’atyo Yeeku n’atta ab’enju ya Akabu bonna abaali basigaddewo mu Yezuleeri; n’atta n’abakungu be, ne mikwano gye enfirabulago, ne bakabona be, obutalekaawo n’omu.
12 ヱヒウすなはち起て往てサマリヤに至りしがヱヒウ途にある時牧者の集會所において
Awo Yeeku n’asitula n’ayolekera Samaliya. N’asisinkana baganda ba Akaziya kabaka wa Yuda mu kkubo okumpi n’ennyumba eyasalirwangamu endiga ebyoya,
13 ユダの王アハジアの兄弟等に遇ひ汝等は何人なるやと言けるに我儕はアハジアの兄弟なるが王の子等と王母の子等の安否を問んとて下るなりと答へたれば
n’ababuuza nti, “Mmwe b’ani?” Ne bamuddamu nti, “Tuli baganda ba Akaziya, era tuzze okulamusa abaana ba kabaka n’abaana ba nnamasole.”
14 彼等を生擒れと言り即ちかれらを生擒りその集會所の穴の側にて彼等四十二人を盡く殺し一人をも遺さざりき
N’alagira nti, “Mubakwate.” Ne babakwata, abasajja amakumi ana mu babiri bonna ne babattira kumpi n’obunnya obw’ennyumba gye baasalirangamu endiga ebyoya. N’atalekaawo n’omu.
15 斯てヱヒウ其處より進みゆきしがレカブの子ヨナダブの己を迎にきたるに遭ければその安否をとふてこれに汝の心はわが心の汝の心と同一なるがごとくに眞實なるやと言けるにヨナダブ答へて眞實なりと言たれば然ば汝の手を我に伸よと言ひその手を伸ければ彼を挽て己の車に登らしめて
Eyo bwe yavaayo, n’asanga Yekonadabu mutabani wa Lekabu ng’ajja okumusisinkana. Yeeku n’amulamusa, n’amubuuza nti, “Ossa kimu nange, nga nze bwe nzisa ekimu naawe?” Yekonadabu n’addamu nti, “Weewaawo.” Yeeku n’amugamba nti, “Obanga weewaawo, mpa omukono gwo.” N’amuwa omukono gwe, Yeeku n’amulinnyisa gy’ali mu ggaali.
16 言ふ我とともに來りて我がヱホバに熱心なるを見よと斯かれを己の車に乗しめ
Yeeku n’amugamba nti, “Jjangu tugende ffembi olabe obunyiikivu bwange eri Mukama.” Awo n’atambulira wamu naye mu ggaali lye.
17 サマリヤにいたりてアハブに屬する者のサマリヤに遺れるを盡く殺して遂にその一族を滅せりヱホバのエリヤに告たまひし言語のごとし
Awo Yeeku bwe yatuuka e Samaliya, n’atta bonna abaali basigaddewo ab’omu nnyumba ya Akabu, n’abazikiriza ng’ekigambo kya Mukama kye yayogera eri Eriya bwe kyali.
18 茲にヱヒウ民をことごとく集てこれに言けるはアハブは少くバアルに事たるがヱヒウは大にこれに事へんとす
Awo Yeeku n’akuŋŋaanya abantu bonna, n’abagamba nti, “Akabu yaweerezaako Baali ebbanga ttono naye Yeeku anaamuweereza okusingawo.
19 然ば今バアルの諸の預言者諸の臣僕諸の祭司等を我許に召せ一人も來らざる者なからしめよ我大なる祭祀をバアルのためになさんとするなり凡て來らざる者は生しおかじと但しヱヒウ、バアルの僕等を滅さんとて偽りて斯なせるなり
Kale nno muyite bannabbi bonna aba Baali, bakabona be bonna, n’abaweereza be bonna, waleme okubulawo n’omu kubanga ŋŋenda okuwaayo ssaddaaka enkulu ennyo eri Baali, ne buli ataabeerewo alittibwa.” Naye okukola ekyo, Yeeku yasala lukwe alyoke azikirize abaasinzanga Baali.
20 ヱヒウすなはちバアルの祭禮を設よと言ければ之を宣たり
Yeeku n’alagira nti, “Mukole olukuŋŋaana olutukuvu eri Baali.” Ne balulangirira.
21 是てヱヒウあまねくイスラエルに人をつかはしたればバアルの僕たる者皆きたれり一人も來らずして遺れるものはあらざりき彼等バアルの家にいりたればバアルの家は末より末まで充わたれり
Awo n’aweereza obubaka okubuna Isirayiri yonna, abaweereza ba Baali bonna ne bajja, n’okusigala n’etasigala muntu n’omu. Ne bakuŋŋaanira mu ssabo lya Baali, ne lijjulira ddala okuva ku luuyi olumu okutuukira ddala ku luuyi olulala.
22 時にヱヒウ衣裳を掌どる者てむかひ禮服をとりいだしてバアルの凡の僕等にあたへよといひければすなはち禮服をとりいだせり
Yeeku n’agamba eyavunaanyizibwanga ebyambalo byabwe nti, “Leetera abaweereza ba Baali bonna ebyambalo.” Bonna n’abaleetera ebyambalo.
23 斯ありてヱヒウはレカブの子ヨナダブとともにバアルの家にいりしがバアルの僕等に言ふ汝等尋ね見て此には只バアルの僕のみあらしめヱホバの僕を一人も汝らの中にあらしめざれと
Awo Yeeku ne Yekonadabu mutabani wa Lekabu ne bagenda mu ssabo lya Baali. Yeeku n’agamba abaweereza ba Baali nti, “Mwetegereze nnyo mulabe nga mu mmwe temuliimu muweereza wa Mukama, wabula abasinza Baali bokka.”
24 彼等犠牲と燔祭を献げんとて入し時ヱヒウ八十人の者を外に置て言ふ凡てわがその手にわたすところの人を一人にても逃れしむる者は己の生命をもてその人の生命に代べしと
Ne bayingira okuwaayo ssaddaaka n’ebiweebwayo ebyokebwa. Naye Yeeku yali atadde abasajja kinaana ebweru w’essabo, ng’abalabudde nti, “Omuntu yenna anaataako n’omu ku basajja abo be ntadde mu mikono gyammwe, anaaliwa n’obulamu bwe ye.”
25 期て燔祭を献ぐることの終りし時ヱヒウその士卒と諸將に言ふ入てかれらを殺せ一人をも出すなかれとすなはち刃をもて彼等を撃ころせり而して士卒と諸將これを投いだしてバアルの家の内殿に入り
Amangwago bwe yamala okuwaayo ekiweebwayo ekyokebwa, n’alagira abaserikale n’abaami nti, “Muyingire mubatte; waleme okuwonawo n’omu.” Bwe baamala okubatta n’ekitala, ne basuula emirambo gyabwe ebweru, ne bayingira munda mu ssabo ekkulu erya Baali.
26 諸の像をバアルの家よりとりいだしてこれを燒り
Ne bafulumya empagi ezaali mu ssabo lya Baali, ne bazookya.
27 即ちかれらバアルの像をこぼちバアルの家をこぼち其をもて厠を造りしが今日までのこる
Ne bamenyaamenya empagi ya Baali, ne bamenyaamenya ne ssabo lya Baali, ne balifuula kabuyonjo ne leero.
28 ヱヒウかくイスラエルの中よりバアルを絶さりたりしかども
Awo Yeeku n’amalirawo ddala okusinza kwa Baali mu Isirayiri.
29 ヱヒウは尚かのイスラエルに罪を犯させたるネバテの子ヤラベアムの罪に離るることをせざりき即ち彼なほベテルとダンにあるところの金の犢に事たり
Naye teyaleka kukola ebibi ebya Yerobowaamu mutabani wa Nebati, bye yayonoonyesa Isirayiri, ng’okusinza ennyana eza zaabu ezaali mu Beseri ne mu Ddaani.
30 ヱホバ、ヱヒウに言たまひけらく汝わが義と視るところの事を行ふにあたりて善く事をなしまたわが心にある諸の事をアハブの家になしたれば汝の子孫は四代までイスラエルの位に坐せんと
Mukama n’agamba Yeeku nti, “Olw’okukola obulungi n’otuukiriza byonna mu maaso gange, n’okola ennyumba ya Akabu byonna ebyali ku mutima gwange bye nnali nteeseteese okukola, bazzukulu bo kyebaliva batuula ku ntebe ey’obwakabaka eya Isirayiri okutuusa ku muzzukulu owa nnakana.”
31 然るにヱヒウは心を盡してイスラエルの神ヱホバの律法をおこなはんとはせず尚かのイスラエルに罪を犯させたるヤラベアムの罪に離れざりき
Naye Yeeku n’atassaayo mwoyo okutambulira mu mateeka ga Mukama Katonda wa Isirayiri. Era teyakyuka okuva mu kkubo ery’ebibi erya Yerobowaamu, lye yayonoonyesa Isirayiri.
32 是時にあたりてヱホバ、イスラエルを割くことを始めたまへりハザエルすなはちイスラエルの一切の邊境を侵し
Mu biro ebyo Mukama n’atandika okukendeeza ensalo za Isirayiri. Kazayeeri n’abawangula ng’atandikira
33 ヨルダンの東においてギレアデの全地ガド人ルベン人マナセ人の地を侵しアルノン河の邊なるアロエルよりギレアデにいたりバシヤンにおよべり
ku luuyi olw’ebuvanjuba mu nsi ey’e Gireyaadi mu bitundu eby’Abagaadi, n’Abalewubeeni, n’Abamanase okuva ku Aloweri okuliraana ekiwonvu kya Alunoni n’okuyita e Gireyaadi okutuuka e Basani.
34 ヱヒウのその餘の行爲とその凡て爲たる事むよびその大なる能はイスラエルの王の歴代志の書に記さるるにあらずや
Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Yeeku, n’ebintu byonna ebikulu bye yakola, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe egya bassekabaka ba Isirayiri?
35 ヱヒウその先祖等とともに寝りたればこれをサマリヤに葬りぬその子ヱホアハズこれに代て王となれり
Yeeku n’afa, n’aziikibwa mu Samaliya, Yekoyakaazi mutabani we n’amusikira.
36 ヱヒウがサマリヤにをりてイスラエルに王たりし間は二十八年なりき
Ebbanga Yeeku lye yafuga Isirayiri mu Samaliya lyali emyaka amakumi abiri mu munaana.

< 列王記Ⅱ 10 >