< 歴代誌Ⅰ 8 >

1 ベニヤミンの生る者は長子はベラ その次はアシベル その三はアハラ
Benyamini n’azaala Bera, era oyo ye yali omubereberye, Asuberi nga ye wookubiri, Akala nga ye wookusatu;
2 その四はアハ その五はラパ
Noka nga wakuna, ne Lafa nga ye wookutaano.
3 ベラの子等はアダル、ゲラ、アビウデ
Batabani ba Bera baali Addali, ne Gera, ne Abikudi,
4 アビシユア、ナアマン、アホア
ne Abisuwa, ne Naamani, ne Akowa
5 ゲラ、シフパム、ヒラム
ne Gera, ne Sefufani ne Kulamu.
6 エホデの子等は左のごとし是等はゲバの民の宗家の長なり是はマナハテに移されたり
Bazzukulu ba Ekudi mutabani wa Gera baali bakulu b’enda z’abo abaabeeranga mu Geba nga baabatwala e Manakasi nga basibe era be bano:
7 すなはちナアマンおよびアヒヤとともにゲラこれを移せるなりエホデの子等はすなはちウザとアヒウデ是なり
Naamani, ne Akiya, ne Gera eyabakulembera nga bagenda mu buwaŋŋanguse, ate nga ye kitaawe wa Uzza ne Akikudi.
8 シヤハライムはその妻ホシムとバアラを去し後モアブの國においてまた子等を擧けたり
Sakalayimu n’azaala abaana abalala mu nsi y’e Mowaabu, ng’amaze okugoba abakyala be ababiri, Kusimu ne Baala.
9 彼がその妻ホデシによりて擧けたる子等はヨバブ、ヂビア、メシヤ、マルカム
Kodesi yamuzaalira Yokabu, ne Zibiya, ne Mesa, ne Malukamu,
10 ヱウツ、シヤキヤおよびミルマ是その子等にして宗家の長なり
ne Yewuzi, ne Sakiya, ne Miruma, era bano be baali abakulu b’enda za bajjajjaabwe.
11 彼またホシムによりてアビトブとエルパアルを擧けたり
Kusimu yamuzaalira Abitubu ne Erupaali.
12 エルパアルの子等はエベル、ミシヤムおよびシヤメル彼はオノとロドとその郷里を建たる者なり
Batabani ba Erupaali baali Eberi, ne Misamu, ne Semedi, eyazimba Ono ne Loodi n’ebibuga ebibyetoolodde,
13 またベリア、シマあり是等はアヤロンの民の宗家の長たる者にしてガテの民を逐はらへり
Beriya, ne Sema abakulu b’enda z’abo abaabeeranga e Ayalooni, era be baagoba abaabeeranga mu Gaasi.
14 またアヒオ、シヤシヤク、エレモテ
Abaana abalala baali Akiyo, ne Sasaki, ne Yeremosi,
15 ゼバデヤ、アラデ、アデル
ne Zebadiya, ne Aladi, ne Ederi
16 ミカエル、イシパ、ヨハ是等はベリアの子等なり
ne Mikayiri, ne Isupa, ne Yoka,
17 ゼバデヤ、メシユラム、ヘゼキ、ヘベル
ne Zebadiya, ne Mesullamu, ne Kizuki, ne Keberi,
18 イシメライ、ヱズリア、ヨバブ是等はエルパアルの子等なり
ne Isumerayi, ne Izuliya, ne Yobabu.
19 ヤキン、ジクリ、ザベデ
Batabani ba Simeeyi baali Yakimu, ne Zikuli, ne Zabudi,
20 エリエナイ、チルタイ、エリエル
ne Eryenayi, ne Ziresayi, ne Eryeri,
21 アダヤ、ベラヤ、シムラテ是等はシマの子等なり
ne Adaaya, ne Beraya, ne Simulasi.
22 イシパン、へベル、エリエル
Batabani ba Sasaki baali Isupani, ne Eberi, ne Eryeri,
23 アブドン、ジクリ、ハナン
ne Abudoni, ne Zikuli, ne Kanani,
24 ハナニヤ、エラム、アントテヤ
ne Kananiya, ne Eramu, ne Anusosiya,
25 イペデヤ、ペヌエル是等はシヤシヤタの子等なり
Sasaki ne Ifudeya ne Penueri.
26 シヤムセライ、シハリア、アタリヤ
Batabani ba Yerokamu baali Samuserayi, ne Sekaliya, ne Asaliya,
27 ヤレシヤ、エリヤ、ジクリ是等はヱロハムの子等なり
ne Yaalesiya, ne Eriya, ne Zikuli.
28 是等は歴代の宗家の長にして首たるものなり是らはエルサレムに住たり
Bano wammanga be baali abakulu b’enda, abaami, nga bwe bayogerwako mu nnyiriri zaabwe, era baabeeranga mu Yerusaalemi.
29 ギベオンの祖はギベオンに住りその妻の名はマアカといふ
Yeyeri omukulembeze we Gibyoni yabeeranga Gibyoni, ne mukyala we ye yali Maaka.
30 その長子はアブドン、次はツル、キシ、バアル、ナダブ
Mutabani we omuggulanda yali Abudoni, ne Zuuli n’amuddirira, ne Kiisi n’amuddako, ne Baali, ne Nadabu,
31 ゲドル、アヒオ、ザケル
ne Gedoli, ne Akiyo, ne Zekeeri
32 ミクロテはシメアを生り是等も又その兄弟等とともにヱルサレムに住てこれに對ひ居り
ne Mikuloosi n’azaala Simeeyi. Nabo baabeeranga kumpi ne baganda baabwe mu Yerusaalemi.
33 ネル、キシを生み キシ、サウルを生みサウルはヨナタン、マルキシユア、アビナダプ、エシバアルを生り
Neeri n’azaala Kiisi, ne Kiisi n’azaala Sawulo, ne Sawulo n’azaala Yonasaani, ne Malukisuwa, ne Abinadaabu ne Esubaali.
34 ヨナタンの子はメリバアル、メリバアル、ミカを生り
Mutabani wa Yonasaani yali Meribubaali, ye Mefibosesi, eyazaala Mikka.
35 ミカの子等はピトン、メレク、ダレア、アハズ
Batabani ba Mikka baali Pisoni, ne Mereki, ne Taleya ne Akazi.
36 アハズはヱホアダを生み ヱホアダはアレメテ、アズマウテおよびジムリを生み ジムリはモザを生み
Akazi n’azaala Yekoyaada, Yekoyaada n’azaala Alemesi, ne Azumavesi, ne Zimuli, ne Zimuli n’azaala Moza.
37 モザはビネアを生り その子はラパ その子はニレアサ その子はアゼル
Moza n’azaala Bineya, Bineya n’azaala Lafa, ne Ereyaasa ne Azeri.
38 アゼルには六人の子あり其名は左のごとしアズリカム、ボケル、イシマエル、シヤリヤ、オバデヤ、ハナン是みなアゼルの子なり
Azeri yazaala abaana aboobulenzi mukaaga, nga be ba Azulikamu, ne Bokeru, ne Isimayiri, ne Seyaliya, ne Obadiya ne Kanani.
39 その兄弟エセクの子等の長子はウラムその次はヱウンその三はエリペレテ
Batabani ba muganda we Eseki baali Ulamu omubereberye, ne Yewusi nga ye owookubiri ne Erifereti nga ye wookusatu.
40 ウラムの子等は大勇士にして善く弓を射る者なりき彼は孫子多くして百五十人もありき是みなベニヤミンの子孫なり
Batabani ba Ulamu baali basajja bazira era nga b’amaanyi, nga balasi ba busaale, nga n’abaana n’abazzukulu bangi ddala. Bonna awamu baali kikumi mu ataano. Abo bonna baali bazzukulu ba Benyamini.

< 歴代誌Ⅰ 8 >